18 Katonda ki alinga ggwe
Asonyiwa ensobi n’okwonoona+ kw’abo abasigaddewo ab’obusika bwo?+
Tolisunguwala mirembe na mirembe,
Kubanga osanyukira okwagala okutajjulukuka.+
19 Oliddamu okutusaasira,+ era olirinnyirira ebisobyo byaffe.
Ebibi byabwe byonna olibisuula ebuziba mu nnyanja.+