-
Isaaya 3:18-23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Ku lunaku olwo Yakuwa alibaggyako eby’okwewunda byonna: obukomo,
Ebiremba n’obujolobero obulinga omwezi ogwakaboneka,+
19 Eby’oku matu, obunyere, n’ebitambaala bye beebikkirira ku mitwe,
20 Ebitambaala bye basiba ku mitwe, obujegere bw’oku magulu, n’emisipi egy’omu kifuba,
Obucupa obulimu eby’akaloosa, n’embira,
21 Empeta ez’oku ngalo n’ez’oku nnyindo,
22 Amaganduula, ebizibaawo, ebyambalo eby’okungulu, n’obusawo,
23 Obulabirwamu+ n’engoye eza kitaani,*
Ebiremba n’ebitambaala bye beebikkirira ku mitwe.
-
-
Yeremiya 4:30Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 Kaakano nga bw’oyonooneddwa, onookola ki?
Wayambalanga engoye emmyufu,
Ne weetonaatona amajolobero aga zzaabu,
Wasiiganga ku maaso go langi enzirugavu okugalungiya.
-