-
Yeremiya 46:20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
20 Misiri eringa ente enduusi enyirira,
Naye kawawa ajja kuva ebukiikakkono agirume.
-
-
Ezeekyeri 31:18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 “‘Muti ki mu miti egy’omu Edeni ogwali gukwenkana ekitiibwa n’amaanyi?+ Naye ojja kuserengesebwa wansi mu ttaka awamu n’emiti gy’omu Edeni. Ojja kugalamira wamu n’abatali bakomole, awamu n’abo abattibwa n’ekitala. Kino kye kijja okutuuka ku Falaawo n’abantu be bonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
-