-
Isaaya 28:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
28 Zisanze engule* y’abatamiivu ba Efulayimu+ ey’okweraga*
N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa
Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu eky’abo abatamidde omwenge!
2 Laba! Yakuwa alina omuntu ow’amaanyi.
Ng’enkuba erimu omuzira n’okubwatuka, nga kibuyaga ow’amaanyi ayonoona ebintu,
Ng’enkuba erimu okubwatuka, ereeta amataba ag’amaanyi,
Aligikkata ku ttaka.
-
-
Koseya 9:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Efulayimu bwe yasimbibwa mu ddundiro erirabika obulungi, gye ndi yali afaanana nga Ttuulo;+
Kaakano Efulayimu ajja kutwala abaana be battibwe.”
-