LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Yeremiya 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Enjawulo eriwo wakati wa bakatonda b’amawanga ne Katonda omulamu (1-16)

      • Okuzikirizibwa n’okuwaŋŋangusibwa kuli kumpi (17, 18)

      • Yeremiya alojja ennaku ye (19-22)

      • Essaala ya Yeremiya (23-25)

        • Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye (23)

Yeremiya 10:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 18:3, 30; 20:23; Ma 12:30
  • +Is 47:13

Yeremiya 10:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 40:20; 44:14, 15; 45:20; Kab 2:18

Yeremiya 10:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 115:4; Is 40:19
  • +Is 41:7

Yeremiya 10:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kab 2:19
  • +Is 46:7
  • +Is 41:23; 44:9; 1Ko 8:4

Yeremiya 10:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 15:11; 2Sa 7:22; Zb 86:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 38

Yeremiya 10:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 22:28
  • +Zb 89:6; Dan 4:35

Yeremiya 10:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 51:17; Kab 2:18
  • +Is 44:19

Yeremiya 10:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Sk 10:22

Yeremiya 10:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yos 3:10; Dan 6:26
  • +Dan 4:3; Kab 1:12; Kub 15:3
  • +Nak 1:5

Yeremiya 10:11

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Olunyiriri 11 lwasooka kuwandiikibwa mu Lulamayiki.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 2:18; Yer 51:17, 18; Zef 2:11

Yeremiya 10:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 3:19; Is 45:18
  • +Zb 136:3, 5; Is 40:22; Yer 51:15, 16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 51-53

Yeremiya 10:13

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 37:2; 38:34
  • +Yob 36:27; Zb 135:7
  • +Lub 8:1; Kuv 14:21; Kbl 11:31; Yon 1:4

Yeremiya 10:14

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

  • *

    Oba, “mukka.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 42:17; 44:11
  • +Yer 51:17; Kab 2:18, 19

Yeremiya 10:15

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “Butaliimu.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 41:29

Yeremiya 10:16

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “Omugabo gwa.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 32:9; Zb 135:4
  • +Is 47:4

Yeremiya 10:18

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “kuvuumuula.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 28:63; Yer 16:13

Yeremiya 10:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 8:21

Yeremiya 10:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 4:20
  • +Yer 31:15

Yeremiya 10:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 5:31
  • +Yer 2:8; 8:9
  • +Yer 23:1; Ezk 34:5, 6

Yeremiya 10:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 1:15; 4:6; 6:22; Kab 1:6
  • +Yer 9:11

Yeremiya 10:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 17:5; 37:23; Nge 16:3; 20:24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2021 lup. 6

    Zuukuka!,

    Na. 1 2019 lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2011, lup. 14

    4/15/2008, lup. 9-10

    11/1/2005, lup. 28

    11/1/2000, lup. 11-12

    9/1/1999, lup. 26-27

    Sinza Katonda, lup. 51-53

    Okumanya, lup. 12

Yeremiya 10:24

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 6:1; 38:1
  • +Yer 30:11

Yeremiya 10:25

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 34:2
  • +Yer 51:34
  • +Is 10:22
  • +Zb 79:6, 7; Yer 8:16; Kuk 2:22

Ebirala

Yer. 10:2Lev 18:3, 30; 20:23; Ma 12:30
Yer. 10:2Is 47:13
Yer. 10:3Is 40:20; 44:14, 15; 45:20; Kab 2:18
Yer. 10:4Zb 115:4; Is 40:19
Yer. 10:4Is 41:7
Yer. 10:5Kab 2:19
Yer. 10:5Is 46:7
Yer. 10:5Is 41:23; 44:9; 1Ko 8:4
Yer. 10:6Kuv 15:11; 2Sa 7:22; Zb 86:8
Yer. 10:7Zb 22:28
Yer. 10:7Zb 89:6; Dan 4:35
Yer. 10:8Yer 51:17; Kab 2:18
Yer. 10:8Is 44:19
Yer. 10:91Sk 10:22
Yer. 10:10Yos 3:10; Dan 6:26
Yer. 10:10Dan 4:3; Kab 1:12; Kub 15:3
Yer. 10:10Nak 1:5
Yer. 10:11Is 2:18; Yer 51:17, 18; Zef 2:11
Yer. 10:12Nge 3:19; Is 45:18
Yer. 10:12Zb 136:3, 5; Is 40:22; Yer 51:15, 16
Yer. 10:13Yob 37:2; 38:34
Yer. 10:13Yob 36:27; Zb 135:7
Yer. 10:13Lub 8:1; Kuv 14:21; Kbl 11:31; Yon 1:4
Yer. 10:14Is 42:17; 44:11
Yer. 10:14Yer 51:17; Kab 2:18, 19
Yer. 10:15Is 41:29
Yer. 10:16Ma 32:9; Zb 135:4
Yer. 10:16Is 47:4
Yer. 10:18Ma 28:63; Yer 16:13
Yer. 10:19Yer 8:21
Yer. 10:20Yer 4:20
Yer. 10:20Yer 31:15
Yer. 10:21Yer 5:31
Yer. 10:21Yer 2:8; 8:9
Yer. 10:21Yer 23:1; Ezk 34:5, 6
Yer. 10:22Yer 1:15; 4:6; 6:22; Kab 1:6
Yer. 10:22Yer 9:11
Yer. 10:23Zb 17:5; 37:23; Nge 16:3; 20:24
Yer. 10:24Zb 6:1; 38:1
Yer. 10:24Yer 30:11
Yer. 10:25Is 34:2
Yer. 10:25Yer 51:34
Yer. 10:25Is 10:22
Yer. 10:25Zb 79:6, 7; Yer 8:16; Kuk 2:22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 10:1-25

Yeremiya

10 Muwulire ekigambo Yakuwa ky’aboogeddeko mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri. 2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Temuyiga makubo ga mawanga,+

Era temutya bubonero obw’oku ggulu

Olw’okuba ab’amawanga babutya.+

 3 Empisa z’amawanga tezirina kye zigasa.

Omubazzi atema omuti mu kibira,

N’agukolamu ebifaananyi.+

 4 Babiteekako ffeeza ne zzaabu okubiwunda+

Ne babikomereramu emisumaali bireme okugwa.+

 5 Okufaananako ebifaananyi ebikanga ebisolo mu nnimiro za ccukamba, nabyo tebisobola kwogera;+

Balina kubisitula busituzi olw’okuba tebisobola kutambula.+

Tobitya kubanga tebisobola kukola kabi konna,

Wadde okukola ekirungi kyonna.”+

 6 Tewali alinga ggwe, Ai Yakuwa.+

Oli wa kitalo; erinnya lyo kkulu era lya maanyi.

 7 Ani ataakutye, Ai ggwe Kabaka w’amawanga?+ Kubanga ogwanidde okutiibwa;

Tewali n’omu alinga ggwe,+

Mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna.

 8 Bonna tebategeera era basirusiru.+

Okuyigiriza okuva eri ebifaananyi ebyakolebwa mu muti kubuzaabuza abantu.+

 9 Obubaati bwa ffeeza buva mu Talusiisi,+ ne zzaabu ava Yufaazi,

Abaweesi n’abakugu mu mirimu gy’emikono bamuteeka ku bifaananyi eby’emiti.

Abantu babyambaza engoye ezikoleddwa mu wuzi eza bbulu n’eza kakobe.

Byonna bikolebwa bantu bakugu.

10 Naye Yakuwa ye Katonda ddala.

Ye Katonda omulamu+ era ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe.+

Ensi ejja kukankana olw’obusungu bwe,+

Era tewali ggwanga linaasobola kugumira kiruyi kye.

11 * Bw’oti bw’oba obagamba:

“Bakatonda abataakola ggulu na nsi

Bajja kusaanawo ku nsi ne wansi w’eggulu lino.”+

12 Ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge,

Ye yanyweza ensi ng’akozesa amagezi ge,+

Era ye yabamba eggulu ng’akozesa okutegeera kwe.+

13 Eddoboozi lye lireetera

Amazzi agali mu ggulu okuyira,+

Era aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi.+

Akolera enkuba ebimyanso,*

Era aggya empewo mu materekero ge.+

14 Abantu bonna beeyisa mu ngeri etali ya magezi era etayoleka kumanya.

Abaweesi bonna bajja kuswala olw’ebifaananyi ebyole;+

Kubanga ebifaananyi byabwe eby’ebyuma* bya bulimba,

Era tebiriimu mwoyo.*+

15 Tebirina kye bigasa,* era bigwana kusekererwa.+

Olunaku olw’okubisalira omusango bwe lulituuka birisaanawo.

16 Katonda wa* Yakobo talinga byo,

Kubanga ye yakola ebintu byonna,

Era Isirayiri gwe muggo gw’obusika bwe.+

Yakuwa ow’eggye lye linnya lye.+

17 Ggwe omukazi gwe bazingizza,

Kwata omugugu gwo oguggye wansi.

18 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Mu kiseera kino ŋŋenda kugoba* abantu mu nsi eno,+

Era nja kubaleetera okunakuwala.”

19 Zinsanze olw’obuvune bwange!+

Ekiwundu kyange tekisobola kuwona.

Era nnagamba nti: “Eno ndwadde yange, era nnina okugigumira.

20 Weema yange eyonooneddwa era emiguwa gya weema yange gyonna gikutuse.+

Abaana bange bandese era baweddewo.+

Tewali muntu asigaddewo ow’okusimba weema yange.

21 Abasumba beeyisizza mu ngeri ey’obusirusiru,+

Era tebeebuuzizza ku Yakuwa.+

Eyo ye nsonga lwaki tebeeyisizza mu ngeri ey’amagezi,

Era ye nsonga lwaki endiga zaabwe zonna zisaasaanye.”+

22 Wulira amawulire!

Omusinde ogw’amaanyi guwulirwa nga guva mu nsi y’ebukiikakkono,+

Okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, era ekisulo ky’ebibe.+

23 Nkimanyi bulungi, Ai Yakuwa, nti omuntu talina buyinza kweruŋŋamya.

Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.+

24 Ai Yakuwa, ngolola mu bwenkanya,

Naye tongolola mu busungu,+ oleme okunzikiriza.+

25 Fuka obusungu bwo ku mawanga agakwesamba+

Ne ku bika byonna ebitakoowoola linnya lyo.

Kubanga balidde Yakobo,+

Bamulidde okutuuka okumumalirawo ddala,+

Era ensi ye bagifudde matongo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza