LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 27
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amateeka ga kuwandiikibwa ku mayinja (1-10)

      • Ku Lusozi Ebali ne ku Lusozi Gerizimu (11-14)

      • Ebikolimo byogerwa (15-26)

Ekyamateeka 27:2

Marginal References

  • +Yos 8:30-32

Ekyamateeka 27:3

Marginal References

  • +Kbl 13:26, 27

Ekyamateeka 27:4

Marginal References

  • +Ma 11:29

Ekyamateeka 27:5

Marginal References

  • +Kuv 20:25

Ekyamateeka 27:7

Marginal References

  • +Lev 3:1
  • +Lev 7:15
  • +Ma 12:7

Ekyamateeka 27:8

Marginal References

  • +Kuv 24:12

Ekyamateeka 27:9

Marginal References

  • +Kuv 19:5; Ma 26:18

Ekyamateeka 27:10

Marginal References

  • +1Sk 2:3; Mat 19:17; 1Yo 5:3

Ekyamateeka 27:12

Marginal References

  • +Ma 11:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 4-5

Ekyamateeka 27:13

Marginal References

  • +Yos 8:33

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 4-5

Ekyamateeka 27:14

Marginal References

  • +Ma 33:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 4-5

Ekyamateeka 27:15

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

  • *

    Oba, “omubazzi era omuweesi.”

  • *

    Oba, “Kibeere bwe kityo!”

Marginal References

  • +Kuv 20:4; Ma 4:15, 16; Is 44:9
  • +Kuv 34:17; Lev 19:4
  • +Ma 7:25; 29:17

Ekyamateeka 27:16

Marginal References

  • +Kuv 20:12; Ma 21:18-21; Nge 20:20; 30:17; Mat 15:4

Ekyamateeka 27:17

Marginal References

  • +Ma 19:14; Nge 23:10

Ekyamateeka 27:18

Marginal References

  • +Lev 19:14

Ekyamateeka 27:19

Footnotes

  • *

    Oba, “mulekwa.”

Marginal References

  • +Ma 16:20; Nge 17:23; Mi 3:11
  • +Kuv 22:21, 22; Ma 10:17, 18; Mal 3:5; Yak 1:27

Ekyamateeka 27:20

Footnotes

  • *

    Obut., “abikkudde ekyambalo kya kitaawe.”

Marginal References

  • +Lev 18:8; 1Ko 5:1

Ekyamateeka 27:21

Marginal References

  • +Kuv 22:19; Lev 18:23; 20:15

Ekyamateeka 27:22

Marginal References

  • +Lev 18:9; 20:17

Ekyamateeka 27:23

Marginal References

  • +Lev 18:17; 20:14

Ekyamateeka 27:24

Marginal References

  • +Kuv 20:13; 21:12; Kbl 35:31

Ekyamateeka 27:25

Marginal References

  • +Mat 27:3, 4

Ekyamateeka 27:26

Marginal References

  • +Ma 28:15; Bag 3:10

General

Ma. 27:2Yos 8:30-32
Ma. 27:3Kbl 13:26, 27
Ma. 27:4Ma 11:29
Ma. 27:5Kuv 20:25
Ma. 27:7Lev 3:1
Ma. 27:7Lev 7:15
Ma. 27:7Ma 12:7
Ma. 27:8Kuv 24:12
Ma. 27:9Kuv 19:5; Ma 26:18
Ma. 27:101Sk 2:3; Mat 19:17; 1Yo 5:3
Ma. 27:12Ma 11:29
Ma. 27:13Yos 8:33
Ma. 27:14Ma 33:10
Ma. 27:15Kuv 20:4; Ma 4:15, 16; Is 44:9
Ma. 27:15Kuv 34:17; Lev 19:4
Ma. 27:15Ma 7:25; 29:17
Ma. 27:16Kuv 20:12; Ma 21:18-21; Nge 20:20; 30:17; Mat 15:4
Ma. 27:17Ma 19:14; Nge 23:10
Ma. 27:18Lev 19:14
Ma. 27:19Ma 16:20; Nge 17:23; Mi 3:11
Ma. 27:19Kuv 22:21, 22; Ma 10:17, 18; Mal 3:5; Yak 1:27
Ma. 27:20Lev 18:8; 1Ko 5:1
Ma. 27:21Kuv 22:19; Lev 18:23; 20:15
Ma. 27:22Lev 18:9; 20:17
Ma. 27:23Lev 18:17; 20:14
Ma. 27:24Kuv 20:13; 21:12; Kbl 35:31
Ma. 27:25Mat 27:3, 4
Ma. 27:26Ma 28:15; Bag 3:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 27:1-26

Ekyamateeka

27 Awo Musa awamu n’abakadde ba Isirayiri ne bayimirira mu maaso g’abantu. Musa n’agamba nti: “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbawa leero. 2 Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, osimbanga amayinja amanene n’ogasiigako ennoni.+ 3 Era ogawandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano ng’omaze okusomoka, osobole okuyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, nga Yakuwa Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.+ 4 Bwe mulimala okusomoka Yoludaani, musimbanga amayinja gano ku Lusozi Ebali+ ne mugasiiga ennoni, nga bwe mbalagira leero. 5 Era Yakuwa Katonda wo omuzimbiranga eyo ekyoto, ekyoto eky’amayinja. Togayisangako kintu kya kyuma.+ 6 Ekyoto kya Yakuwa Katonda wo okizimbisanga amayinja agatali mateme, era n’owaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa Katonda wo ku kyoto ekyo. 7 Onoowaayo ssaddaaka ez’emirembe+ n’oziriira eyo,+ era n’osanyukira mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+ 8 Ku mayinja owandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano+ mu ngeri etegeerekeka obulungi.”

9 Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne boogera ne Isirayiri yonna ne bagamba nti: “Ggwe Isirayiri, sirika owulirize. Leero ofuuse ggwanga lya Yakuwa Katonda wo.+ 10 Wulirizanga eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo era okolerenga ku biragiro bye+ n’amateeka ge bye nkulagira leero.”

11 Ku lunaku olwo Musa n’alagira abantu nti: 12 “Bwe muliba mumaze okusomoka Yoludaani, bino bye bika ebiriyimirira ku Lusozi Gerizimu+ okuwa abantu omukisa: Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, Yusufu, ne Benyamini. 13 Ate bino bye biriyimirira ku Lusozi Ebali+ okulangirira ebikolimo: Lewubeeni, Gaadi, Aseri, Zebbulooni, Ddaani, ne Nafutaali. 14 Abaleevi balyogera n’eddoboozi ery’omwanguka eri abantu ba Isirayiri bonna ne babagamba nti:+

15 “‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole+ oba ekifaananyi eky’ekyuma,*+ ekintu eky’omuzizo eri Yakuwa,+ ekyakolebwa n’emikono gy’omukozi,* n’akikweka, akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’*)

16 “‘Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

17 “‘Omuntu ajjulula obubonero obulamba ensalosalo ya muliraanwa we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

18 “‘Omuntu awabya muzibe okumuggya mu kkubo ettuufu, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

19 “‘Omuntu akyamya ensala y’omusango+ gw’omugwira oba ogw’omwana atalina kitaawe* oba ogwa nnamwandu,+ akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

20 “‘Omuntu eyeebaka ne muka kitaawe, akolimirwe, kubanga aba aweebudde kitaawe.’*+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

21 “‘Omuntu eyeebaka n’ensolo yonna, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

22 “‘Omuntu eyeebaka ne mwannyina, omwana wa kitaawe oba omwana wa nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

23 “‘Omuntu eyeebaka ne maama wa mukazi we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

24 “‘Omuntu ateega munne n’amutta, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

25 “‘Omuntu akkiriza okugulirirwa okutta omuntu atalina musango, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

26 “‘Omuntu atassa mu nkola bigambo bya Mateeka gano, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share