LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi alya emigaati egy’okulaga e Nobu (1-9)

      • Dawudi yeefuula ng’omulalu e Gaasi (10-15)

1 Samwiri 21:1

Marginal References

  • +1Sa 22:9, 19
  • +1Sa 18:13

1 Samwiri 21:4

Marginal References

  • +Kuv 25:30; Lev 24:5, 9; Mat 12:3, 4
  • +Kuv 19:15; Lev 15:16; 2Sa 11:11

1 Samwiri 21:5

Marginal References

  • +Lev 15:18

1 Samwiri 21:6

Marginal References

  • +Lev 24:7-9; Mak 2:25, 26; Luk 6:3, 4

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2002, lup. 26-27

1 Samwiri 21:7

Marginal References

  • +1Sa 22:9; Zb 52:obugambo obuli waggulu
  • +Lub 36:1

1 Samwiri 21:9

Marginal References

  • +1Sa 17:51, 54
  • +1Sa 17:2, 50
  • +Kuv 28:6

1 Samwiri 21:10

Marginal References

  • +1Sa 27:1
  • +Yos 11:22; 1Sa 5:8; 17:4; 27:2; Zb 56:obugambo obuli waggulu

1 Samwiri 21:11

Marginal References

  • +1Sa 18:6-8; 29:4, 5

1 Samwiri 21:12

Marginal References

  • +Zb 56:3, 6

1 Samwiri 21:13

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’ali mu mukono gwabwe.”

Marginal References

  • +Zb 34:obugambo obuli waggulu

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 32

General

1 Sam. 21:11Sa 22:9, 19
1 Sam. 21:11Sa 18:13
1 Sam. 21:4Kuv 25:30; Lev 24:5, 9; Mat 12:3, 4
1 Sam. 21:4Kuv 19:15; Lev 15:16; 2Sa 11:11
1 Sam. 21:5Lev 15:18
1 Sam. 21:6Lev 24:7-9; Mak 2:25, 26; Luk 6:3, 4
1 Sam. 21:71Sa 22:9; Zb 52:obugambo obuli waggulu
1 Sam. 21:7Lub 36:1
1 Sam. 21:91Sa 17:51, 54
1 Sam. 21:91Sa 17:2, 50
1 Sam. 21:9Kuv 28:6
1 Sam. 21:101Sa 27:1
1 Sam. 21:10Yos 11:22; 1Sa 5:8; 17:4; 27:2; Zb 56:obugambo obuli waggulu
1 Sam. 21:111Sa 18:6-8; 29:4, 5
1 Sam. 21:12Zb 56:3, 6
1 Sam. 21:13Zb 34:obugambo obuli waggulu
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Samwiri 21:1-15

1 Samwiri

21 Oluvannyuma Dawudi yagenda e Nobu+ eri Akimereki kabona. Akimereki bwe yalaba Dawudi n’atya, era n’amubuuza nti: “Lwaki oli wekka, era lwaki toli na muntu yenna?”+ 2 Awo Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti: “Kabaka alina ky’antumye okukola, naye aŋŋambye nti, ‘Tewaba muntu yenna amanya kye nkutumye okukola, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Ndagaanye n’abasajja bange mbeeko we mbasisinkana. 3 Bw’oba olinawo emigaati etaano gimpe, oba mpa ekirala kyonna ekiriwo.” 4 Naye kabona n’agamba Dawudi nti: “Tewali migaati gya bulijjo, emigaati emitukuvu gye giriwo,+ kasita abasajja bo baba nga babadde beewala okwegatta n’abakazi.”+ 5 Dawudi n’addamu kabona nti: “Tubadde tetwegatta na bakazi nga bwe kibadde ku mirundi emirala nga ŋŋenze okutabaala.+ Bwe kiba nti abasajja bange beekuuma nga batukuvu ne bwe baba ku mirimu egya bulijjo, kati tebaasingewo nnyo okuba abatukuvu leero nga bali ku mulimu ogw’enjawulo!” 6 Awo kabona n’amuwa emigaati emitukuvu,+ kubanga tewaaliwo migaati mirala okuggyako emigaati egy’okulaga egyali giggiddwa mu maaso ga Yakuwa, ku lunaku lwe gyaggibwawo basseewo emiggya.

7 Omu ku baweereza ba Sawulo yaliwo ku lunaku olwo, ng’alina ebyali bimwetaagisizza okusigala mu maaso ga Yakuwa. Omuweereza oyo yali ayitibwa Dowegi+ Omwedomu,+ era ye yali akulira abasumba ba Sawulo.

8 Awo Dawudi n’agamba Akimereki nti: “Wano olinawo effumu lyonna oba ekitala? Sireese kitala kyange wadde eby’okulwanyisa byange ebirala, kubanga kabaka ky’antumye okukola kibadde kya mangu.” 9 Awo kabona n’amugamba nti: “Ekitala kya Goliyaasi+ Omufirisuuti gwe wattira mu Kiwonvu Ela+ kiri wano emabega wa efodi,+ kizingiddwa mu lugoye. Bw’oba oyagala okukitwala, kitwale, kubanga kye kiriwo kyokka.” Awo Dawudi n’amugamba nti: “Tewali kikyenkana. Kimpe.”

10 Ku lunaku olwo Dawudi yeeyongera okudduka+ olwa Sawulo, era oluvannyuma n’atuuka eri Kabaka Akisi owa Gaasi.+ 11 Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w’ensi ya Isirayiri? Ono si gwe baayimbira nga bwe bazina, nga bagamba nti,

‘Sawulo asse enkumi,

Ne Dawudi asse emitwalo’?”+

12 Dawudi yalowooza ku bigambo ebyo, ne kimuleetera okutya ennyo+ Kabaka Akisi owa Gaasi. 13 Awo ne yeefuula ng’omulalu+ ng’ali mu maaso gaabwe, era ne yeeyisa ng’omulalu ng’ali awo mu bo.* Yali akolobozakoloboza ku nzigi z’omulyango gw’ekibuga, era ng’akulukusa endusu ku kirevu kye. 14 Awo Akisi n’agamba abaweereza be nti: “Mulaba omusajja mulalu! Lwaki mumuleese gye ndi? 15 Mulabye nga mbuliddwa abalalu, mulyoke mundeetere omusajja ono okulalukira mu maaso gange? Omusajja ono asaanidde okujja mu nnyumba yange?”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share