LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ebiweebwayo ebitali bimu (1-31)

        • Ebiweebwayo ebya buli lunaku (1-8)

        • Eby’oku Ssabbiiti (9, 10)

        • Ebya buli mwezi (11-15)

        • Eby’oku Kuyitako (16-25)

        • Eby’Embaga ey’Amakungula (26-31)

Okubala 28:2

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +2By 8:13; Nek 10:32, 33

Okubala 28:3

Marginal References

  • +Kuv 29:38; Lev 6:9; Ezk 46:15

Okubala 28:4

Footnotes

  • *

    Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”

Marginal References

  • +Kuv 29:39

Okubala 28:5

Footnotes

  • *

    Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.

  • *

    Yini yali egyaamu lita 3.67. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 29:40; Kbl 15:4

Okubala 28:6

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Kuv 29:38, 42; 2By 2:4; Ezr 3:3

Okubala 28:7

Marginal References

  • +Kuv 29:39, 40

Okubala 28:8

Footnotes

  • *

    Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Kuv 29:41

Okubala 28:9

Marginal References

  • +Kuv 16:29; 20:10; Ezk 20:12

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 76-77

Okubala 28:10

Marginal References

  • +Kbl 28:3, 7

Okubala 28:11

Footnotes

  • *

    Obut., “Ku ntandikwa y’emyezi gyammwe.”

Marginal References

  • +Kbl 10:10; 1By 23:31; 2By 2:4; Nek 10:32, 33

Okubala 28:12

Marginal References

  • +Lev 2:11
  • +Lev 1:10

Okubala 28:13

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Lev 1:10, 13

Okubala 28:14

Marginal References

  • +Kbl 15:8, 10
  • +Kbl 15:6, 7
  • +Kbl 15:5

Okubala 28:16

Marginal References

  • +Kuv 12:14; Lev 23:5; Ma 16:1; Ezk 45:21; 1Ko 5:7

Okubala 28:17

Marginal References

  • +Kuv 12:15; Lev 23:6; 1Ko 5:8

Okubala 28:19

Marginal References

  • +Lev 22:20, 22; Ma 15:21

Okubala 28:20

Marginal References

  • +Lev 2:1

Okubala 28:24

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’omugaati.”

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Okubala 28:25

Marginal References

  • +Kuv 13:6
  • +Kuv 12:16; Lev 23:8; Ma 16:8

Okubala 28:26

Marginal References

  • +Kuv 23:16
  • +Lev 23:15, 16
  • +Kuv 34:22; Ma 16:10; Bik 2:1
  • +Lev 23:16, 21

Okubala 28:27

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Lev 23:16, 18

Okubala 28:30

Marginal References

  • +Lev 23:16, 19

Okubala 28:31

Marginal References

  • +Lev 1:3

General

Kubal. 28:22By 8:13; Nek 10:32, 33
Kubal. 28:3Kuv 29:38; Lev 6:9; Ezk 46:15
Kubal. 28:4Kuv 29:39
Kubal. 28:5Kuv 29:40; Kbl 15:4
Kubal. 28:6Kuv 29:38, 42; 2By 2:4; Ezr 3:3
Kubal. 28:7Kuv 29:39, 40
Kubal. 28:8Kuv 29:41
Kubal. 28:9Kuv 16:29; 20:10; Ezk 20:12
Kubal. 28:10Kbl 28:3, 7
Kubal. 28:11Kbl 10:10; 1By 23:31; 2By 2:4; Nek 10:32, 33
Kubal. 28:12Lev 2:11
Kubal. 28:12Lev 1:10
Kubal. 28:13Lev 1:10, 13
Kubal. 28:14Kbl 15:8, 10
Kubal. 28:14Kbl 15:6, 7
Kubal. 28:14Kbl 15:5
Kubal. 28:16Kuv 12:14; Lev 23:5; Ma 16:1; Ezk 45:21; 1Ko 5:7
Kubal. 28:17Kuv 12:15; Lev 23:6; 1Ko 5:8
Kubal. 28:19Lev 22:20, 22; Ma 15:21
Kubal. 28:20Lev 2:1
Kubal. 28:25Kuv 13:6
Kubal. 28:25Kuv 12:16; Lev 23:8; Ma 16:8
Kubal. 28:26Kuv 23:16
Kubal. 28:26Lev 23:15, 16
Kubal. 28:26Kuv 34:22; Ma 16:10; Bik 2:1
Kubal. 28:26Lev 23:16, 21
Kubal. 28:27Lev 23:16, 18
Kubal. 28:30Lev 23:16, 19
Kubal. 28:31Lev 1:3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 28:1-31

Okubala

28 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Lagira Abayisirayiri obagambe nti, ‘Mukakase nti muwaayo gye ndi ekiweebwayo kyange, emmere yange. Ebiweebwayo byange ebyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* gye ndi, birina okuweebwayo mu biseera byabyo ebigereke.’+

3 “Era bagambe nti, ‘Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye munaawangayo eri Yakuwa: buli lunaku endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa.+ 4 Endiga emu ojjanga kugiwaayo ku makya, ate endala ogiweeyo akawungeezi;*+ 5 ojjanga kugiweerayo wamu ne kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke.+ 6 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku,+ ekiweebwayo okuba evvumbe eddungi* ekyalagirwa ku Lusozi Sinaayi, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, 7 awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, nga kimu kya kuna ekya yini ku buli ndiga ento ennume.+ Eky’okunywa eky’omwenge ojja kukiyiwa mu kifo ekitukuvu okuba ekiweebwayo eri Yakuwa eky’eby’okunywa. 8 Era endiga endala ojjanga kugiwaayo akawungeezi.* Ojja kugiweerayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekiri ng’ekyo eky’oku makya era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako ekiri ng’ekyo eky’oku makya, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+

9 “‘Naye ku lunaku lwa Ssabbiiti+ mujjanga kuwaayo endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, n’ebigera bya efa bibiri bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, nga bwa kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, era muweeyo n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako. 10 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya Ssabbiiti, awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako.+

11 “‘Ku ntandikwa ya buli mwezi* mujjanga kuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo kino ekyokebwa: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu,+ 12 n’ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse+ obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olw’endiga emu,+ 13 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera ky’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni ng’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke olwa buli ndiga ento ennume, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi,*+ ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 14 Ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako bijja kuba kimu kya kubiri ekya yini y’omwenge olwa buli nte ennume,+ ne kimu kya kusatu ekya yini olw’endiga ennume,+ ne kimu kya kuna ekya yini olwa buli ndiga ento ennume.+ Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi ekinaaweebwangayo mu myezi gyonna mu mwaka. 15 Ng’oggyeeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, omwana gw’embuzi gumu gujja kuweebwangayo eri Yakuwa okuba ekiweebwayo olw’ekibi.

16 “‘Olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka lujja kubanga lwa Kuyitako kwa Yakuwa.+ 17 Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo wanaabangawo okukwata embaga. Emigaati egitali mizimbulukuse ginaaliibwanga okumala ennaku musanvu.+ 18 Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna. 19 Mujjanga kuwaayo eri Yakuwa ekiweebwayo kino ekyokebwa n’omuliro: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu. Zirina okuba nga nnamu bulungi.+ 20 Mujjanga kuwaayo ebiweebwayo ebigenderako eby’emmere ey’empeke eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni,+ era bijja kuba ebigera bisatu bya kkumi olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume. 21 Mujjanga kuwaayo kimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu, 22 n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira. 23 Ebyo bye munaawangayo okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa eky’oku makya ekya buli lunaku. 24 Munaawangayo ebintu ebyo bwe mutyo buli lunaku okumala ennaku musanvu, ng’emmere,* ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa. Kijjanga kuweebwayo wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako. 25 Ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu.+ Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+

26 “‘Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye,+ lwe munaawangayo eri Yakuwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eyaakakungulwa,+ mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu ku mbaga yammwe ey’amakungula.+ Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ 27 Era kino kye munaawangayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume bbiri, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu;+ 28 ebiweebwayo ebigenderako eby’emmere ey’empeke eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni bijja kuba ebigera bisatu bya kkumi olwa buli nte ennume, n’ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume, 29 n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu; 30 n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira.+ 31 Ezo ze munaawangayo awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke. Zirina okuba nga nnamu bulungi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share