1 Abassessalonika
4 Eky’enkomerero ab’oluganda, nga bwe mwafuna ebiragiro okuva gye tuli ku ngeri gye mugwanidde okutambulamu okusobola okusanyusa Katonda,+ era nga bwe mutyo bwe mutambula, tubasaba era tubakubiriza mu linnya lya Mukama waffe Yesu mweyongere okutambula bwe mutyo n’okusingawo. 2 Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa okuva eri Mukama waffe Yesu.
3 Katonda ky’ayagala kye kino: mubeere batukuvu+ era mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu.*+ 4 Buli omu ku mmwe agwanidde okumanya engeri y’okufugamu omubiri gwe*+ mu butukuvu+ ne mu kitiibwa, 5 nga temululunkanira bikolwa bya kwegatta+ ng’amawanga agatamanyi Katonda bwe gakola.+ 6 Tewali n’omu asaanidde kusukka w’alina kukoma n’ayisa bubi muganda we mu nsonga eno, kubanga Yakuwa* ajja kubonereza abo abakola ebintu ebyo byonna, nga bwe twabagamba era nga bwe twabalabula. 7 Kubanga Katonda teyatuyitira butali bulongoofu, wabula obutukuvu.+ 8 N’olwekyo, omuntu agaana okuwuliriza okuyigiriza kuno, aba tagaanye kuwuliriza muntu, wabula Katonda+ abawa omwoyo gwe omutukuvu.+
9 Kyokka ku bikwata ku kwagalana ng’ab’oluganda,+ tekitwetaagisa kubawandiikira kubanga mmwe kennyini Katonda abayigiriza okwagalana.+ 10 Mu butuufu bwe mutyo bwe mukola eri ab’oluganda bonna abali mu Masedoniya. Naye ab’oluganda, tubakubiriza okweyongera okukikola ku kigero ekisingawo. 11 Era mukifuule kiruubirirwa kyammwe okubeeranga mu mirembe,+ obuteeyingizanga mu bya balala,+ n’okukola emirimu n’emikono gyammwe,+ nga bwe twabalagira, 12 musobole okuba nga mutambula bulungi mu maaso g’abantu abali ebweru+ era nga temwetaaga kintu kyonna.
13 Ate era ab’oluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa,*+ muleme kunakuwala ng’abo abatalina ssuubi bwe bakola.+ 14 Kubanga bwe tuba nga tukkiriza nti Yesu yafa n’azuukira,+ n’abo abaafa* nga bali bumu ne Yesu, Katonda alibazuukiza babeere wamu ne Yesu.+ 15 Kubanga kino kye tubagamba nga tusinziira ku kigambo kya Yakuwa,* nti abaliba abalamu mu ffe mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe tetulisooka abo abaafa;* 16 kubanga Mukama waffe alikka okuva mu ggulu ng’ayogera n’obuyinza, n’eddoboozi lya malayika omukulu,+ n’ekkondeere lya Katonda, era abo abaafa nga bali bumu ne Kristo be balisooka okuzuukira.+ 17 Oluvannyuma ffe abaliba bakyali abalamu, nga tuli wamu nabo, tulikwakkulirwa mu bire+ okusisinkana Mukama waffe+ mu bbanga; era tunaabeeranga ne Mukama waffe.+ 18 N’olwekyo, buli omu abudeebudenga munne n’ebigambo bino.