LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Abakkolinso 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okukuŋŋaanya eby’okuwa Abakristaayo ab’omu Yerusaalemi (1-4)

      • Pawulo ateekateeka olugendo lwe (5-9)

      • Okukyala kwa Timoseewo n’okwa Apolo (10-12)

      • Okubuulirira n’okulamusa (13-24)

1 Abakkolinso 16:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 24:17; Bar 15:26; 2Ko 8:3, 4

1 Abakkolinso 16:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 55

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2013, lup. 14

    7/15/2008, lup. 27-28

    12/1/2002, lup. 5

    9/1/1995, lup. 11-12

    2/1/1992, lup. 22

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    1/2002, lup. 7

1 Abakkolinso 16:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ko 8:19

1 Abakkolinso 16:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 19:21; 2Ko 1:15, 16

1 Abakkolinso 16:7

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 20:2

1 Abakkolinso 16:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 19:1

1 Abakkolinso 16:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 19:10, 11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 18

1 Abakkolinso 16:10

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 16:1, 2
  • +Baf 2:19, 20

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2009, lup. 14-15

1 Abakkolinso 16:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 18:24, 25

1 Abakkolinso 16:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 5:6
  • +1Ko 15:58; Baf 1:27
  • +Bik 4:29
  • +Bef 6:10; Bak 1:11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2015, lup. 13-17

    1/1/2003, lup. 28

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    2/2000, lup. 8

1 Abakkolinso 16:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 13:4; 1Pe 4:8

1 Abakkolinso 16:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Baf 2:29, 30; 1Se 5:12; 1Ti 5:17

1 Abakkolinso 16:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 1:16

1 Abakkolinso 16:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 16:3, 5; Fir 2

Ebirala

1 Kol. 16:1Bik 24:17; Bar 15:26; 2Ko 8:3, 4
1 Kol. 16:32Ko 8:19
1 Kol. 16:5Bik 19:21; 2Ko 1:15, 16
1 Kol. 16:7Bik 20:2
1 Kol. 16:8Bik 19:1
1 Kol. 16:9Bik 19:10, 11
1 Kol. 16:10Bik 16:1, 2
1 Kol. 16:10Baf 2:19, 20
1 Kol. 16:12Bik 18:24, 25
1 Kol. 16:131Se 5:6
1 Kol. 16:131Ko 15:58; Baf 1:27
1 Kol. 16:13Bik 4:29
1 Kol. 16:13Bef 6:10; Bak 1:11
1 Kol. 16:141Ko 13:4; 1Pe 4:8
1 Kol. 16:16Baf 2:29, 30; 1Se 5:12; 1Ti 5:17
1 Kol. 16:171Ko 1:16
1 Kol. 16:19Bar 16:3, 5; Fir 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Abakkolinso 16:1-24

1 Abakkolinso

16 Kale ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza abatukuvu ebintu,+ nammwe mukole nga bwe nnalagira ebibiina by’e Ggalatiya. 2 Buli lunaku olusooka mu wiiki buli omu ku mmwe abeeko ky’aterekawo okusinziira ku ebyo by’alina, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 3 Naye bwe ndijja eyo, abo be mulisemba mu mabaluwa gammwe+ be ndituma okutwala ekirabo kyammwe e Yerusaalemi. 4 Kyokka bwe kiriba kisaanira nange okugendayo, bajja kugenda nange.

5 Naye nja kujja gye muli nga mmaze okuyita e Masedoniya,+ kubanga eyo gye ŋŋenda okuyita; 6 era oboolyawo nja kubeera nammwe, mpozzi n’okumalirako ddala ekiseera eky’obutiti, mulyoke mumperekereko gye ndiba ŋŋenda. 7 Kubanga saagala kubalaba nga mpitawo buyisi, olw’okuba nsuubira okubeera nammwe okumala ekiseera,+ Yakuwa* bw’aliba ayagadde. 8 Naye ŋŋenda kusigala mu Efeso+ okutuusa ku Mbaga ya Pentekooti; 9 kubanga oluggi olunene olw’emirimu lunziguliddwawo,+ naye waliwo abalabe bangi.

10 Timoseewo bw’atuuka eyo,+ mukakase nti taba na kutya kwonna ng’ali nammwe kubanga naye akola omulimu gwa Yakuwa*+ nga nze. 11 N’olwekyo, waleme kubaawo amunyooma. Mumusiibule ajje gye ndi, kubanga nze n’ab’oluganda tumulindiridde.

12 Ku bikwata ku muganda waffe Apolo,+ nnamwegayirira nnyo ajje gye muli n’ab’oluganda. Teyalina kigendererwa kya kujja gye muli mu kiseera kino, naye bw’anaafuna akakisa ajja kujja.

13 Mutunulenga,+ munywerere mu kukkiriza,+ mubeere bavumu,+ mubeere ba maanyi.+ 14 Buli kimu kye mukola mukikolenga mu kwagala.+

15 Mbeegayirira ab’oluganda: Mumanyi nti ab’ennyumba ya Siteefana bye bibala ebibereberye mu Akaya era beewaayo okuweereza abatukuvu. 16 Nammwe mugonderenga abantu abali ng’abo na buli muntu yenna akola naffe era afuba.+ 17 Naye nsanyukira nnyo okubeerawo kwa Siteefana,+ Folutunaato, ne Akayiko, kubanga wadde nga mmwe temuli wano nange, bo babakiikiridde. 18 Basanyusizza omwoyo gwange n’ogwammwe. N’olwekyo, abantu ng’abo mubawenga ekitiibwa.

19 Ebibiina by’omu Asiya bibalamusizza. Akula ne Pulisika n’ab’omu kibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba yaabwe+ babalamusizza nnyo mu Mukama waffe. 20 Ab’oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.

21 Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange.

22 Singa omuntu yenna tayagala Mukama waffe, akolimirwe. Ai Mukama waffe, jjangu! 23 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeere nammwe. 24 Okwagala kwange kubeere nammwe mmwenna abali obumu ne Kristo Yesu.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza