LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obubaka obukwata ku Ttuulo (1-18)

Isaaya 23:1

Marginal References

  • +Yer 25:17, 22; 47:4; Ezk 26:3; 27:2; Yow. 3:4; Am 1:9, 10; Zek 9:3, 4
  • +2By 9:21; Ezk 27:25
  • +Lub 10:2, 4; Yer 2:10; Ezk 27:6

Isaaya 23:2

Marginal References

  • +Lub 10:15; Ezk 27:8

Isaaya 23:3

Footnotes

  • *

    Obut., “ensigo.”

  • *

    Kwe kugamba, akagga akava ku Mugga Kiyira.

Marginal References

  • +Yer 2:18
  • +Ezk 27:32, 33; 28:4

Isaaya 23:4

Footnotes

  • *

    Obut., “embeerera.”

Marginal References

  • +Yer 47:4

Isaaya 23:5

Marginal References

  • +Is 19:1, 16
  • +Ezk 27:35; 28:19

Isaaya 23:8

Marginal References

  • +Ezk 28:2

Isaaya 23:9

Marginal References

  • +Dan 4:37; Yak 4:6

Isaaya 23:10

Marginal References

  • +Is 23:1; Ezk 26:14, 17

Isaaya 23:11

Marginal References

  • +Ezk 26:5, 15

Isaaya 23:12

Marginal References

  • +Ezk 26:13
  • +Ezk 27:6

Isaaya 23:13

Marginal References

  • +Is 13:19; Kab 1:6
  • +Is 10:12; Nak 3:18; Zef 2:13
  • +Ezk 26:8, 9

Isaaya 23:14

Marginal References

  • +Is 23:1

Isaaya 23:15

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’ennaku.”

Marginal References

  • +Yer 25:8, 11; 27:3, 6

Isaaya 23:18

Marginal References

  • +Is 60:5

General

Is. 23:1Yer 25:17, 22; 47:4; Ezk 26:3; 27:2; Yow. 3:4; Am 1:9, 10; Zek 9:3, 4
Is. 23:12By 9:21; Ezk 27:25
Is. 23:1Lub 10:2, 4; Yer 2:10; Ezk 27:6
Is. 23:2Lub 10:15; Ezk 27:8
Is. 23:3Yer 2:18
Is. 23:3Ezk 27:32, 33; 28:4
Is. 23:4Yer 47:4
Is. 23:5Is 19:1, 16
Is. 23:5Ezk 27:35; 28:19
Is. 23:8Ezk 28:2
Is. 23:9Dan 4:37; Yak 4:6
Is. 23:10Is 23:1; Ezk 26:14, 17
Is. 23:11Ezk 26:5, 15
Is. 23:12Ezk 26:13
Is. 23:12Ezk 27:6
Is. 23:13Is 13:19; Kab 1:6
Is. 23:13Is 10:12; Nak 3:18; Zef 2:13
Is. 23:13Ezk 26:8, 9
Is. 23:14Is 23:1
Is. 23:15Yer 25:8, 11; 27:3, 6
Is. 23:18Is 60:5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 23:1-18

Isaaya

23 Obubaka obukwata ku Ttuulo:+

Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi!+

Kubanga omwalo gusaanyiziddwawo; tekikyasoboka kuguyingira.

Kino kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.+

 2 Musirike mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja.

Abasuubuzi b’e Sidoni+ abasomoka ennyanja babajjuzza.

 3 Ku mazzi amangi kwayitako emmere ey’empeke* ey’e Sikoli,*+

Ebikungulwa ebya Kiyira, omusolo gwe,

Ne bireeta amagoba g’amawanga.+

 4 Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni, ggwe ekigo ky’ennyanja,

Kubanga ennyanja egambye nti:

“Sirumwanga ku bisa, era sizaalangako,

Wadde okukuza abaana ab’obulenzi oba ab’obuwala.”*+

 5 Nga bwe kyali nga bawulidde ebikwata ku Misiri,+

Abantu balinyolwa nnyo bwe baliwulira ebikwata ku Ttuulo.+

 6 Musomoke mugende e Talusiisi!

Mukube ebiwoobe mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja!

 7 Kino kye kibuga kyammwe ekyalimu okujaganya okuva edda ennyo, okuva mu biseera byakyo ebyasooka?

Ebigere byakyo byakitwalanga mu nsi ez’ewala kibeere eyo.

 8 Ani asazeewo kino kituuke ku Ttuulo,

Ekyatikkiranga abalala engule,

Ekyalina abasuubuzi abaali abaami,

Ekyalina abasuubuzi abaali bassibwamu ekitiibwa mu nsi yonna?+

 9 Ekyo Yakuwa ow’eggye y’akisazeewo,

Amalewo amalala ge kirina olw’obulungi bwakyo,

Afeebye abo bonna abaali bassibwamu ekitiibwa mu nsi yonna.+

10 Ggwe muwala wa Talusiisi, yanjaala mu nsi yo ng’Omugga Kiyira.

Tewakyali kifo na kimu we bakolera maato.+

11 Agolodde omukono gwe ku nnyanja;

Akankanyizza obwakabaka.

Yakuwa alagidde ebigo bya Foyiniikiya bizikirizibwe.+

12 Agamba nti: “Toliddamu kujaganya,+

Ggwe anyigirizibwa, ggwe muwala wa Sidoni embeerera.

Situka ogende e Kittimu.+

Naye n’eyo tolifunirayo kiwummulo.”

13 Laba! Ensi y’Abakaludaaya.+

Ab’eggwanga lino—so si Bwasuli+—

Baakifuula kifo kya nsolo ezibeera mu ddungu.

Baazimba eminaala egisinziirwako okukirwanyisa;

Baamenya embiri zaakyo,+

Baakifuula bifunfugu.

14 Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,

Kubanga ebigo byammwe bisaanyiziddwawo.+

15 Ku lunaku olwo Ttuulo kiryerabirwa okumala emyaka 70,+ ng’emyaka* kabaka gy’awangaala bwe giba. Emyaka 70 bwe giriggwaako, Ttuulo kiriba nga malaaya ayogerwako mu luyimba luno:

16 “Kwata entongooli weetooloole ekibuga, ggwe malaaya eyeerabirwa.

Suna bulungi entongooli yo;

Yimba ennyimba nnyingi

Basobole okukujjukira.”

17 Emyaka 70 bwe giriggwaako, Yakuwa aliddamu okulowooza ku Ttuulo, era kiriddamu okufuna empeera; kiriddamu okwenda n’obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 18 Naye amagoba gaakyo n’empeera yaakyo birifuuka bitukuvu eri Yakuwa. Tebiriterekebwa so tebiriteekebwa ku bbali, kubanga empeera yaakyo eriba yaabo ababeera mu maaso ga Yakuwa, basobole okulya bakkute era bambale engoye ennungi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share