1 Ebyomumirembe Ekisooka
14 Awo Kabaka Kiramu+ owa Ttuulo n’atuma ababaka eri Dawudi, n’amuweereza n’embaawo z’entolokyo, abazimbi abazimbisa amayinja,* n’ababazzi, bamuzimbire ennyumba.*+ 2 Dawudi n’ategeera nti Yakuwa yali anywezezza obwakabaka bwe ku Isirayiri,+ kubanga yagulumiza obwakabaka bwe ku lw’abantu be Isirayiri.+
3 Dawudi n’awasa abakazi abalala+ mu Yerusaalemi, n’azaala abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.+ 4 Gano ge mannya g’abaana be yazaalira mu Yerusaalemi:+ Sammuwa, Sobabu, Nasani,+ Sulemaani,+ 5 Ibukali, Eriswa, Erupereti, 6 Noga, Nefegi, Yafiya, 7 Erisaama, Beeriyada, ne Erifereti.
8 Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yali afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yonna,+ bonna ne bagenda okumunoonya.+ Dawudi bwe yakiwulira n’agenda okubalwanyisa. 9 Awo Abafirisuuti ne bagenda ne bazinda Ekiwonvu ky’Abaleefa.+ 10 Dawudi ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti: “Ŋŋende nnwanyise Abafirisuuti? Onoobawaayo mu mukono gwange?” Yakuwa n’amugamba nti: “Genda, nja kubawaayo mu mukono gwo.”+ 11 Dawudi n’agenda e Bbaali-perazimu+ n’abalwanyisa n’abatta. Dawudi n’agamba nti: “Katonda ow’amazima ankulembeddemu n’awaguza mu balabe bange ng’amazzi agawaguza ng’akozesa omukono gwange.” Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo baakituuma Bbaali-perazimu.* 12 Abafirisuuti ne baleka eyo bakatonda baabwe. Dawudi n’alagira ne babookya.+
13 Oluvannyuma Abafirisuuti baddamu okuzinda ekiwonvu.+ 14 Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Katonda, Katonda ow’amazima n’amugamba nti: “Tobalumba butereevu, wabula weetooloole obave emabega obalumbire mu maaso g’obuti bwa bbaka.+ 15 Bw’onoowulira mu masanso g’obuti bwa bbaka omusinde gw’abatambula, awo ng’ogenda obalwanyisa, kubanga Katonda ow’amazima ajja kuba akukulembeddemu okutta eggye ly’Abafirisuuti.”+ 16 Dawudi n’akola nga Katonda ow’amazima bwe yamulagira,+ ne batta eggye ly’Abafirisuuti okuva e Gibiyoni okutuuka e Gezeri.+ 17 Ettutumu lya Dawudi ne libuna mu nsi zonna, era Yakuwa n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.+