LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omukono gwa Katonda gwa kubonereza Isirayiri (1-4)

      • Bwasuli—Muggo gwa Katonda ogw’obusungu (5-11)

      • Bwasuli eribonerezebwa (12-19)

      • Aba Yakobo abalisigalawo balikomawo (20-27)

      • Katonda alisalira Bwasuli omusango (28-34)

Isaaya 10:1

Marginal References

  • +Lev 19:15; Ma 1:16, 17

Isaaya 10:2

Footnotes

  • *

    Oba, “ne bamulekwa.”

Marginal References

  • +Am 2:7, 8
  • +Ma 27:19; Yak 1:27

Isaaya 10:3

Footnotes

  • *

    Oba, “Era ekitiibwa kyammwe mulikireka wa?”

Marginal References

  • +Kos 9:7
  • +Ma 28:49, 50
  • +Kos 5:13

Isaaya 10:4

Marginal References

  • +Is 5:25; 9:12

Isaaya 10:5

Marginal References

  • +Lub 10:9, 11
  • +2Sk 17:3; Is 8:3, 4; 10:24

Isaaya 10:6

Marginal References

  • +2Sk 17:6
  • +Ma 28:45, 63; 2Sk 17:22, 23

Isaaya 10:8

Marginal References

  • +2Sk 18:19, 24

Isaaya 10:9

Marginal References

  • +Am 6:2
  • +2By 35:20
  • +2Sk 17:24
  • +2Sk 19:11, 13
  • +2Sk 17:5; 18:9, 10
  • +2Sk 16:8, 9

Isaaya 10:10

Marginal References

  • +2Sk 19:17, 18

Isaaya 10:11

Marginal References

  • +2Sk 18:33, 34; 2By 32:16, 19

Isaaya 10:12

Footnotes

  • *

    Obut., “ndibonereza.”

Marginal References

  • +2Sk 18:19, 28, 35

Isaaya 10:13

Marginal References

  • +2Sk 15:29; 17:6; 18:11; 1By 5:26
  • +2Sk 16:8; 18:16
  • +2Sk 18:19, 25

Isaaya 10:15

Marginal References

  • +Is 10:5

Isaaya 10:16

Marginal References

  • +2By 32:21
  • +Is 30:30, 31

Isaaya 10:17

Marginal References

  • +Zb 84:11
  • +Is 9:5; 30:27; 31:8, 9; Nak 1:6

Isaaya 10:18

Marginal References

  • +Is 37:36

Isaaya 10:20

Marginal References

  • +2By 28:20, 21; Kos 5:13; 14:3

Isaaya 10:21

Marginal References

  • +Is 65:9; Kos 1:10, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 22

Isaaya 10:22

Footnotes

  • *

    Oba, “ekibonerezo kiribabuutikira.”

Marginal References

  • +Is 1:9
  • +Is 28:22
  • +Bar 9:27, 28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 22

Isaaya 10:23

Marginal References

  • +Ma 28:45, 63

Isaaya 10:24

Marginal References

  • +2Sk 18:13; Is 10:5
  • +Kuv 14:3, 9

Isaaya 10:25

Marginal References

  • +2Sk 19:35

Isaaya 10:26

Marginal References

  • +2By 32:21; Is 30:32; Nak 3:7
  • +Bal 7:25; 8:21; Zb 83:11
  • +Kuv 14:21, 27

Isaaya 10:27

Marginal References

  • +Is 9:4; Nak 1:13
  • +Is 14:25
  • +2Sk 19:35; Is 37:35, 36

Isaaya 10:28

Marginal References

  • +Yos 7:2
  • +1Sa 13:2; 14:31

Isaaya 10:29

Marginal References

  • +Yos 21:8, 17; 2By 16:6
  • +Bal 20:13
  • +Kos 5:8

Isaaya 10:30

Marginal References

  • +Yos 21:8, 18; Yer 1:1

Isaaya 10:32

Marginal References

  • +1Sa 22:18, 19

Isaaya 10:33

Marginal References

  • +2By 32:21; Is 37:36

Isaaya 10:34

Footnotes

  • *

    Oba, “embazzi.”

General

Is. 10:1Lev 19:15; Ma 1:16, 17
Is. 10:2Am 2:7, 8
Is. 10:2Ma 27:19; Yak 1:27
Is. 10:3Kos 9:7
Is. 10:3Ma 28:49, 50
Is. 10:3Kos 5:13
Is. 10:4Is 5:25; 9:12
Is. 10:5Lub 10:9, 11
Is. 10:52Sk 17:3; Is 8:3, 4; 10:24
Is. 10:62Sk 17:6
Is. 10:6Ma 28:45, 63; 2Sk 17:22, 23
Is. 10:82Sk 18:19, 24
Is. 10:9Am 6:2
Is. 10:92By 35:20
Is. 10:92Sk 17:24
Is. 10:92Sk 19:11, 13
Is. 10:92Sk 17:5; 18:9, 10
Is. 10:92Sk 16:8, 9
Is. 10:102Sk 19:17, 18
Is. 10:112Sk 18:33, 34; 2By 32:16, 19
Is. 10:122Sk 18:19, 28, 35
Is. 10:132Sk 15:29; 17:6; 18:11; 1By 5:26
Is. 10:132Sk 16:8; 18:16
Is. 10:132Sk 18:19, 25
Is. 10:15Is 10:5
Is. 10:162By 32:21
Is. 10:16Is 30:30, 31
Is. 10:17Zb 84:11
Is. 10:17Is 9:5; 30:27; 31:8, 9; Nak 1:6
Is. 10:18Is 37:36
Is. 10:202By 28:20, 21; Kos 5:13; 14:3
Is. 10:21Is 65:9; Kos 1:10, 11
Is. 10:22Is 1:9
Is. 10:22Is 28:22
Is. 10:22Bar 9:27, 28
Is. 10:23Ma 28:45, 63
Is. 10:242Sk 18:13; Is 10:5
Is. 10:24Kuv 14:3, 9
Is. 10:252Sk 19:35
Is. 10:262By 32:21; Is 30:32; Nak 3:7
Is. 10:26Bal 7:25; 8:21; Zb 83:11
Is. 10:26Kuv 14:21, 27
Is. 10:27Is 9:4; Nak 1:13
Is. 10:27Is 14:25
Is. 10:272Sk 19:35; Is 37:35, 36
Is. 10:28Yos 7:2
Is. 10:281Sa 13:2; 14:31
Is. 10:29Yos 21:8, 17; 2By 16:6
Is. 10:29Bal 20:13
Is. 10:29Kos 5:8
Is. 10:30Yos 21:8, 18; Yer 1:1
Is. 10:321Sa 22:18, 19
Is. 10:332By 32:21; Is 37:36
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 10:1-34

Isaaya

10 Zibasanze abo abateeka amateeka amabi,+

Abo buli kiseera abassaawo ebiragiro ebinyigiriza,

 2 Okulemesa ensonga z’omwavu okukolebwako mu bwenkanya,

Okulemesa abanaku ab’omu bantu bange okufuna obwenkanya,+

Bannamwandu ne babafuula omunyago gwabwe

Era n’abaana abatalina bakitaabwe* ne babafuula omwandu gwabwe!+

 3 Mulikola mutya ku lunaku lwe mulibonerezebwa,+

Okuzikiriza lwe kulijja nga kuva wala?+

Muliddukira eri ani okubayamba,+

Era obugagga bwammwe mulibuleka wa?*

 4 Tewaliba kirala okuggyako okusitama n’abasibe

Oba okugwa n’abattiddwa.

Olw’ensonga eyo, akyali musunguwavu,

Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.+

 5 Laba, Bwasuli+

Gwe muggo gwe nkozesa okwoleka obusungu bwange,+

Era nkozesa omuggo oguli mu ngalo ze okubonereza!

 6 Ndimusindika eri eggwanga eryewaggula,+

Eri abantu abansunguwaza;

Ndimulagira okutwala omunyago mungi

N’okubalinnyirira ng’ebisooto by’omu nguudo.+

 7 Naye ye talyagala kukola bw’atyo,

Era n’omutima gwe tegulirowooza kukola bwe gutyo;

Kubanga kiri mu mutima gwe okuzikiriza,

Okusaanyaawo amawanga mangi, so si matono.

 8 Kubanga agamba nti,

‘Abaami bange bonna si bakabaka?+

 9 Kalino+ tekiri nga Kalukemisi?+

Kamasi+ tekiri nga Alupadi?+

Samaliya+ tekiri nga Ddamasiko?+

10 Omukono gwange gwawamba obwakabaka obwalina bakatonda abatalina mugaso,

Obwalina ebifaananyi ebyole ebingi okusinga ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya!+

11 Siikole Yerusaalemi n’ebifaananyi bye

Ekyo kye nnakola Samaliya ne bakatonda be abatalina mugaso?’+

12 “Yakuwa bw’alimaliriza omulimu gwe gwonna ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, alibonereza* kabaka wa Bwasuli olw’omutima gwe omunyoomi, n’olw’entunula ye ey’amalala era ey’okwegulumiza.+ 13 Kubanga agamba nti,

‘Kino nja kukikola n’amaanyi g’omukono gwange

N’amagezi gange, kubanga ndi mugezi.

Nja kujjulula ensalo z’amawanga+

Nnyage eby’obugagga byago,+

Era abantu baamu nja kubafuga ng’omusajja ow’amaanyi.+

14 Ng’omuntu akwata mu kisu,

Omukono gwange gujja kutwala eby’obugagga by’amawanga;

Ng’omuntu akuŋŋaanya amagi agalekeddwawo,

Nja kukuŋŋaanya ensi yonna!

Tewali n’omu ajja kupapaza biwaawaatiro bye oba okwasamya akamwa ke oba okukaaba ng’ekinyonyi.’”

15 Embazzi eneeguluumiriza ku oyo agitemesa?

Omusumeeno guneeguluumiriza ku oyo agusazisa?

Oluga lusobola okuwuuba oyo alukwata?+

Oba omuggo gusobola okusitula oyo ataakolebwa mu muti?

16 N’olwekyo Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,

Alikozza abasajja ba Bwasuli abanene,+

Era wansi w’ekitiibwa kye alikumayo omuliro ne gubumbujja.+

17 Ekitangaala kya Isirayiri+ kirifuuka muliro,+

Era Omutukuvu we alifuuka lulimi lwa muliro;

Gulibumbujja ne gwokya omuddo gwe n’ebisaka bye eby’amaggwa ku lunaku lumu.

18 Alimalirawo ddala ekitiibwa ky’ekibira kye n’ennimiro ye ey’ebibala;

Kiriba ng’omuntu omulwadde bw’akogga.+

19 Emiti gy’ekibira kye egirisigalawo

Giriba mitono nnyo ne kiba nti n’omwana omuto aliba asobola okugibala n’awandiika omuwendo gwagyo.

20 Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaliba basigaddewo,

Ab’ennyumba ya Yakobo abaliba bawonyeewo,

Tebaliddamu kwesigama ku oyo eyabakuba;+

Wabula balyesigama ku Yakuwa,

Omutukuvu wa Isirayiri mu bwesigwa.

21 Walisigalawo batono abalikomawo,

Aba Yakobo abalisigalawo balikomawo eri Katonda ow’Amaanyi.+

22 Wadde ng’abantu bo ggwe Isirayiri

Bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,

Walisigalawo batono nnyo ku bo era be balikomawo.+

Kyasalibwawo nti abantu bo basaanyizibwewo,+

Era obwenkanya bulibabuutikira.*+

23 Kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, yasalawo okusaanyaawo abantu bo,

Era ekyo kijja kukolebwa mu nsi eyo yonna.+

24 N’olwekyo bw’ati Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba: “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutya Mwasuli oyo eyabakubanga n’omuggo+ era eyabagaluliranga oluga lwe nga Misiri bwe yakolanga.+ 25 Kubanga mu kiseera kitono ekiruyi kirikoma; ndiboolekeza obusungu bwange ne mbazikiriza.+ 26 Yakuwa ow’eggye alimugalulira omuggo nga bwe yakola+ lwe yawangula Midiyaani ku lwazi Olebu.+ Oluga lwe luliba ku nnyanja era alirugalula nga bwe yakola ku Misiri.+

27 Ku lunaku olwo omugugu gwe guliva ku kibegaabega kyo,+

Era n’ekikoligo kye kiriva ku nsingo yo,+

Era kirimenyeka+ olw’amafuta.”

28 Atuuse mu Ayasi;+

Ayise mu Miguloni;

Omugugu gwe aguterese e Mikumasi.+

29 Bayise ku musomoko;

Basuze Geba;+

Laama kikankana, abantu b’omu Gibeya+ ekya Sawulo badduse.+

30 Yogerera waggulu era leekaana, ggwe muwala wa Galimu!

Ssaayo omwoyo ggwe Layisa!

Ssaayo omwoyo ggwe Anasosi!+

31 Madumena adduse.

Abantu b’omu Gebimu banoonyezza obuddukiro.

32 Ku lunaku olwo aliyimirira e Nobu.+

Afunyiriza olusozi lwa muwala wa Sayuuni ebikonde,

Abifunyirizza akasozi ka Yerusaalemi.

33 Laba! Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,

Atema amatabi ne gekkata wansi;+

Emiti egisinga obuwanvu gitemebwa,

N’emigulumivu gisuulibwa wansi.

34 Atema ebisaka eby’omu kibira ng’akozesa ekyuma ekitema,*

Era ow’amaanyi alisuula Lebanooni.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share