LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 46
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obunnabbi obukwata ku Misiri (1-26)

        • Nebukadduneeza wa kulumba Misiri (13, 26)

      • Ebisuubizo eri Isirayiri (27, 28)

Yeremiya 46:1

Marginal References

  • +Yer 1:10

Yeremiya 46:2

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Yer 25:15, 19; Ezk 29:2; 32:2
  • +2By 35:20
  • +2Sk 23:36; Yer 25:1; 36:1

Yeremiya 46:3

Footnotes

  • *

    Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.

Yeremiya 46:6

Marginal References

  • +2Sk 24:7

Yeremiya 46:8

Marginal References

  • +Ezk 29:3; 32:2

Yeremiya 46:9

Marginal References

  • +Ezk 27:2, 10
  • +Lub 10:6, 13; Ezk 30:4, 5
  • +Is 66:19

Yeremiya 46:10

Marginal References

  • +2Sk 24:7

Yeremiya 46:11

Marginal References

  • +Lub 37:25; Yer 8:22
  • +Ezk 30:21

Yeremiya 46:12

Marginal References

  • +Ezk 32:9

Yeremiya 46:13

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Yer 43:10; Ezk 29:19; 30:10

Yeremiya 46:14

Footnotes

  • *

    Oba, “Menfisi.”

Marginal References

  • +Yer 44:1; Ezk 29:10; 30:6
  • +Yer 43:4, 7; Ezk 30:18

Yeremiya 46:17

Footnotes

  • *

    Obut., “ekiseera ekigereke.”

Marginal References

  • +Ezk 29:3

Yeremiya 46:18

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku oyo anaawamba Misiri.

Marginal References

  • +Yos 19:17, 22; Bal 4:6; Zb 89:12
  • +1Sk 18:42

Yeremiya 46:19

Footnotes

  • *

    Oba, “Menfisi.”

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kijja kufuuka matongo.”

Marginal References

  • +Ezk 32:15

Yeremiya 46:21

Marginal References

  • +Yer 46:5, 15

Yeremiya 46:22

Footnotes

  • *

    Oba, “abasennya enku.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 11

Yeremiya 46:24

Marginal References

  • +Ezk 30:10

Yeremiya 46:25

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Tebesi.

Marginal References

  • +Nak 3:8
  • +Ezk 30:14
  • +Kuv 12:12; Is 19:1; Yer 43:12, 13
  • +Yer 17:5; 42:14

Yeremiya 46:26

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.

Marginal References

  • +Yer 43:10, 11; Ezk 32:11
  • +Ezk 29:13, 14

Yeremiya 46:27

Footnotes

  • *

    Obut., “n’ezzadde lyo.”

Marginal References

  • +Is 41:13; 43:1, 2; 44:2
  • +Is 11:11; Yer 50:19; Ezk 39:27; Am 9:14; Zef 3:20
  • +Yer 23:3, 6; 30:10, 11

Yeremiya 46:28

Footnotes

  • *

    Oba, “kukugolola.”

Marginal References

  • +Yer 25:9
  • +Yer 5:10; Am 9:8
  • +Yer 10:24

Indexes

  • Research Guide

    Okumanya, lup. 148

General

Yer. 46:1Yer 1:10
Yer. 46:2Yer 25:15, 19; Ezk 29:2; 32:2
Yer. 46:22By 35:20
Yer. 46:22Sk 23:36; Yer 25:1; 36:1
Yer. 46:62Sk 24:7
Yer. 46:8Ezk 29:3; 32:2
Yer. 46:9Ezk 27:2, 10
Yer. 46:9Lub 10:6, 13; Ezk 30:4, 5
Yer. 46:9Is 66:19
Yer. 46:102Sk 24:7
Yer. 46:11Lub 37:25; Yer 8:22
Yer. 46:11Ezk 30:21
Yer. 46:12Ezk 32:9
Yer. 46:13Yer 43:10; Ezk 29:19; 30:10
Yer. 46:14Yer 44:1; Ezk 29:10; 30:6
Yer. 46:14Yer 43:4, 7; Ezk 30:18
Yer. 46:17Ezk 29:3
Yer. 46:18Yos 19:17, 22; Bal 4:6; Zb 89:12
Yer. 46:181Sk 18:42
Yer. 46:19Ezk 32:15
Yer. 46:21Yer 46:5, 15
Yer. 46:24Ezk 30:10
Yer. 46:25Nak 3:8
Yer. 46:25Ezk 30:14
Yer. 46:25Kuv 12:12; Is 19:1; Yer 43:12, 13
Yer. 46:25Yer 17:5; 42:14
Yer. 46:26Yer 43:10, 11; Ezk 32:11
Yer. 46:26Ezk 29:13, 14
Yer. 46:27Is 41:13; 43:1, 2; 44:2
Yer. 46:27Is 11:11; Yer 50:19; Ezk 39:27; Am 9:14; Zef 3:20
Yer. 46:27Yer 23:3, 6; 30:10, 11
Yer. 46:28Yer 25:9
Yer. 46:28Yer 5:10; Am 9:8
Yer. 46:28Yer 10:24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 46:1-28

Yeremiya

46 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku mawanga:+ 2 Eri Misiri,+ nga bikwata ku ggye lya Falaawo Neeko+ kabaka wa Misiri, eyali ku lubalama lw’Omugga Fulaati, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni gwe yawangulira e Kalukemisi mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu+ owa Yuda, mutabani wa Yosiya:

 3 “Muteeketeeke engabo zammwe ennene n’entono,*

Mugende mu lutalo.

 4 Mmwe abeebagazi b’embalaasi muteeke amatandiiko ku mbalaasi era muzeebagale.

Muyimirire mu bifo byammwe era mwambale sseppeewo zammwe.

Muwagale amafumu era mwambale ebyambalo byammwe eby’olutalo.

 5 ‘Lwaki ndaba nga batidde nnyo?

Badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa.

Batidde ne babuna emiwabo, abalwanyi baabwe tebatunudde mabega.

Entiisa eri buli wamu,’ Yakuwa bw’agamba.

 6 ‘Abadduka ennyo tebasobola kudduka, n’abalwanyi tebasobola kuwonawo.

Mu bukiikakkono ku lubalama lw’Omugga Fulaati,

Beesittadde ne bagwa.’+

 7 Ani oyo ajja ng’alinga Omugga Kiyira,

Ng’alinga emigga gy’amazzi ageefuukuula?

 8 Misiri y’ejja ng’eringa Omugga Kiyira,+

Ng’eringa amazzi ageefuukuula,

Era egamba nti, ‘Nja kugenda mbuutikire ensi.

Nja kuzikiriza ekibuga n’abo abakibeeramu.’

 9 Mmwe embalaasi mugende!

Mmwe amagaali mudduke nnyo!

Abalwanyi ka bagende mu maaso,

Ab’e Kkuusi n’ab’e Puti abakwata engabo,+

N’ab’e Ludimu+ abamanyi okukozesa omutego gw’obusaale.+

10 “Olunaku olwo lwa Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye; lunaku lwa kuwoolera ggwanga ku balabe be. Ekitala kijja kulya kikkute, era kijja kunywa omusaayi kiwone ennyonta, kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, ateeseteese ssaddaaka mu nsi ey’ebukiikakkono ku lubalama lw’Omugga Fulaati.+

11 Ggwe omuwala wa Misiri embeerera,

Genda e Gireyaadi ofune basamu.+

Oteganidde bwereere okukozesa eddagala eritali limu,

Kubanga tewali kijja kukuwonya.+

12 Amawanga gawulidde bw’oweddemu ekitiibwa,+

Okukaaba kwo kubunye mu nsi yonna.

Kubanga omulwanyi yeesittala ku mulwanyi munne,

Bombi ne bagwa wansi.”

13 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku kujja kwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni okulumba ensi ya Misiri:+

14 “Mukirangirire mu Misiri, mukirangirire mu Migudooli.+

Mukirangirire mu Noofu* ne mu Tapanesi.+

Mugambe nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mweteeketeeke,

Kubanga ekitala kijja kulya wonna wonna okukwetooloola.

15 Lwaki abasajja bo ab’amaanyi bamaliddwawo?

Tebasobodde kwerwanako,

Olw’okuba Yakuwa abasindise ne bagwa.

16 Bangi beesittala ne bagwa.

Buli omu n’agamba munne nti:

“Situka tuddeyo eri abantu baffe, mu nsi yaffe

kubanga ekitala kikambwe.”’

17 Balangiridde nti,

‘Falaawo kabaka wa Misiri yeewaana bwewaanyi,

Alese omukisa* ne guyita.’+

18 ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Kabaka, ayitibwa Yakuwa ow’eggye,

‘Ajja* kujja abeere ng’Olusozi Taboli+ bwe lugulumidde mu nsozi

Era ng’Olusozi Kalumeeri+ bwe lwesimbye ku lubalama lw’ennyanja.

19 Ggwe omuwala abeera mu Misiri,

Teekateeka emigugu egy’okugenda nagyo mu buwaŋŋanguse.

Kubanga Noofu* kijja kufuuka ekintu eky’entiisa;

Kijja kukumibwako omuliro* kisigale nga tekiriimu muntu.+

20 Misiri eringa ente enduusi enyirira,

Naye kawawa ajja kuva ebukiikakkono agirume.

21 N’abasirikale baayo abapangise abali wakati mu yo balinga ennyana engevvu,

Naye nabo bakyuse ne baddukira wamu.

Tebasigaddeewo kwerwanako,+

Kubanga olunaku olw’akatyabaga lubajjidde,

Kye kiseera eky’okubabonereza.’

22 ‘Eddoboozi lyayo liringa ery’omusota ogwewalula,

Bagirumba mu bungi nga balina embazzi,

Nga balinga abasajja abatema emiti.*

23 Bajja kutema ekibira kyayo,’ Yakuwa bw’agamba, ‘wadde nga kyalabika ng’ekiziyivu.

Kubanga bangi okusinga enzige, tebabalika.

24 Omuwala wa Misiri ajja kuswazibwa.

Ajja kuweebwayo eri abantu b’omu bukiikakkono.’+

25 “Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri agamba nti: ‘Kaakano mbonereza Amoni+ ow’e No,*+ ne Falaawo, ne Misiri, ne bakatonda baayo,+ ne bakabaka baayo; Falaawo n’abo bonna abamwesiga.’+

26 “‘Nja kubawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni+ n’abaweereza be. Naye oluvannyuma Misiri ejja kubeeramu abantu nga bwe kyali edda,’ Yakuwa bw’agamba.+

27 ‘Naye ggwe omuweereza wange Yakobo, totya,

Era totekemuka ggwe Isirayiri.+

Kubanga nja kukulokola nkuggye ewala

Era n’abaana bo* nja kubalokola mbaggye mu nsi gye baatwalibwa mu buwambe.+

Yakobo ajja kudda abe mu mirembe nga tewali kimutaataaganya,

Nga tewali n’omu abatiisa.+

28 Kale ggwe omuweereza wange Yakobo, totya,’ Yakuwa bw’agamba, ‘kubanga ndi wamu naawe.

Nja kuzikiriza amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza,+

Naye ggwe sijja kukuzikiriza.+

Nja kukukangavvula* ku kigero ekisaanira,+

Era siireme kukubonereza.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share