1 Samwiri
29 Abafirisuuti+ baakuŋŋaanyiza amagye gaabwe gonna mu Afeki, ng’Abayisirayiri basiisidde okumpi n’oluzzi mu Yezuleeri.+ 2 Abafuzi b’Abafirisuuti baali bayitawo n’abasirikale baabwe nga bali mu bibinja eby’ekikumi ekikumi n’olukumi olukumi, era Dawudi n’abasajja be baali mabega ne Akisi.+ 3 Naye abaami b’Abafirisuuti ne bagamba nti: “Abebbulaniya bano bakola ki wano?” Akisi n’addamu abaami b’Abafirisuuti nti: “Ono ye Dawudi omuweereza wa Sawulo kabaka wa Isirayiri, abadde nange okumala omwaka gumu n’okusingawo.+ Sirina kibi kyonna kye nnali mmulabyemu okuva ku lunaku lwe yaddukira gye ndi n’okutuusa leero?” 4 Naye abaami b’Abafirisuuti ne bamusunguwalira, ne bamugamba nti: “Gamba omusajja oyo addeyo+ mu kitundu kye wamuwa. Tomukkiriza kugenda naffe mu lutalo, aleme kutwefuulira nga tuli mu lutalo.+ Omusajja oyo anaakola ki okusobola okuganja eri mukama we? Ekinaamuleetera okuganja si kwe kutta abasajja baffe? 5 Oyo si ye Dawudi gwe baayimbira nga bwe bazina, nga bagamba nti:
‘Sawulo asse enkumi,
Ne Dawudi asse emitwalo’?”+
6 Awo Akisi+ n’ayita Dawudi n’amugamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, oli mwesimbu, era mbadde njagala ogende nange mu lutalo n’eggye lyange,+ kubanga sikulabangamu kibi kyonna okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi okutuusa leero.+ Naye abaami b’Abafirisuuti tebakwesiga.+ 7 Kale ddayo mirembe, era tokola kintu kyonna kunyiiza bafuzi b’Abafirisuuti.” 8 Kyokka, Dawudi n’agamba Akisi nti: “Naye lwaki, nkoze ki? Kibi ki ky’olabye mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe nnajja gy’oli okutuusa leero? Lwaki sigenda naawe ne nnwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?” 9 Awo Akisi n’addamu Dawudi nti: “Gye ndi obadde mulungi, ng’olinga malayika wa Katonda.+ Naye abaami b’Abafirisuuti baŋŋambye nti, ‘Tomukkiriza kugenda naffe mu lutalo.’ 10 Kale keera ku makya awamu n’abaweereza ba mukama wo abajja naawe; mugolokoke mugende ku makya nga bwakatangaala.”
11 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagolokoka ku makya ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti, ate bo Abafirisuuti ne bagenda e Yezuleeri.+