LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Seba yeewaggula; Yowaabu atta Amasa (1-13)

      • Seba awonderwa era n’atemebwako omutwe (14-22)

      • Gavumenti ya Dawudi (23-26)

2 Samwiri 20:1

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “weema.”

Marginal References

  • +2Sa 20:21
  • +Bal 3:26, 27; 2Sa 15:10
  • +2Sa 19:43
  • +1Sk 12:16

2 Samwiri 20:2

Marginal References

  • +Nge 24:21
  • +2Sa 19:15, 41, 42

2 Samwiri 20:3

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwe.”

Marginal References

  • +2Sa 5:11
  • +2Sa 15:16
  • +2Sa 16:21, 22

2 Samwiri 20:4

Marginal References

  • +2Sa 17:25; 19:13; 1By 2:17

2 Samwiri 20:6

Marginal References

  • +1Sa 26:6; 2Sa 10:10; 23:18; 1By 18:12
  • +2Sa 20:1
  • +2Sa 15:12

2 Samwiri 20:7

Marginal References

  • +2Sa 8:16
  • +2Sa 8:18; 15:18; 1Sk 1:38

2 Samwiri 20:8

Marginal References

  • +Yos 18:21, 25; 21:8, 17
  • +2Sa 17:25; 19:13

2 Samwiri 20:10

Marginal References

  • +2Sa 3:27; 1Sk 2:5

2 Samwiri 20:13

Marginal References

  • +2Sa 20:1

2 Samwiri 20:14

Marginal References

  • +1Sk 15:20; 2Sk 15:29

2 Samwiri 20:19

Marginal References

  • +Kuv 19:5; Ma 32:9

2 Samwiri 20:21

Footnotes

  • *

    Obut., “ayimusizza omukono gwe ku.”

Marginal References

  • +Yos 17:14, 15; Bal 2:8, 9
  • +2Sa 20:1

2 Samwiri 20:22

Marginal References

  • +Mub 9:14, 15, 18

2 Samwiri 20:23

Marginal References

  • +2Sa 8:16; 19:13
  • +2Sa 23:20; 1By 27:5
  • +1By 12:27
  • +2Sa 8:18; 15:18; 1Sk 1:38, 44

2 Samwiri 20:24

Marginal References

  • +1Sk 4:6; 12:18
  • +1Sk 4:3

2 Samwiri 20:25

Marginal References

  • +2Sa 15:27
  • +2Sa 17:15; 19:11; 1Sk 4:4

2 Samwiri 20:26

Footnotes

  • *

    Obut., “kabona.”

General

2 Sam. 20:12Sa 20:21
2 Sam. 20:1Bal 3:26, 27; 2Sa 15:10
2 Sam. 20:12Sa 19:43
2 Sam. 20:11Sk 12:16
2 Sam. 20:2Nge 24:21
2 Sam. 20:22Sa 19:15, 41, 42
2 Sam. 20:32Sa 5:11
2 Sam. 20:32Sa 15:16
2 Sam. 20:32Sa 16:21, 22
2 Sam. 20:42Sa 17:25; 19:13; 1By 2:17
2 Sam. 20:61Sa 26:6; 2Sa 10:10; 23:18; 1By 18:12
2 Sam. 20:62Sa 20:1
2 Sam. 20:62Sa 15:12
2 Sam. 20:72Sa 8:16
2 Sam. 20:72Sa 8:18; 15:18; 1Sk 1:38
2 Sam. 20:8Yos 18:21, 25; 21:8, 17
2 Sam. 20:82Sa 17:25; 19:13
2 Sam. 20:102Sa 3:27; 1Sk 2:5
2 Sam. 20:132Sa 20:1
2 Sam. 20:141Sk 15:20; 2Sk 15:29
2 Sam. 20:19Kuv 19:5; Ma 32:9
2 Sam. 20:21Yos 17:14, 15; Bal 2:8, 9
2 Sam. 20:212Sa 20:1
2 Sam. 20:22Mub 9:14, 15, 18
2 Sam. 20:232Sa 8:16; 19:13
2 Sam. 20:232Sa 23:20; 1By 27:5
2 Sam. 20:231By 12:27
2 Sam. 20:232Sa 8:18; 15:18; 1Sk 1:38, 44
2 Sam. 20:241Sk 4:6; 12:18
2 Sam. 20:241Sk 4:3
2 Sam. 20:252Sa 15:27
2 Sam. 20:252Sa 17:15; 19:11; 1Sk 4:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 20:1-26

2 Samwiri

20 Waaliwo omusajja ow’omutawaana eyali ayitibwa Seba,+ mutabani wa Bikuli Omubenyamini. Yafuuwa eŋŋombe+ n’agamba nti: “Tetulina mugabo mu Dawudi, era tetulina busika mu mutabani wa Yese.+ Ggwe Isirayiri, buli omu addeyo eri bakatonda* be!”+ 2 Awo abasajja ba Isirayiri bonna ne baabulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli;+ naye bo abasajja ba Yuda, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi, baanywerera ku kabaka waabwe.+

3 Dawudi bwe yatuuka mu nnyumba ye* e Yerusaalemi,+ n’addira abazaana ekkumi be yali alese okulabirira ennyumba,+ n’abateeka mu nnyumba bakuumirwenga omwo. Yabawanga emmere, naye teyeegattanga nabo.+ Baasigala mu nnyumba omwo okutuusa lwe baafa, nga balinga bannamwandu, wadde nga bbaabwe yali akyali mulamu.

4 Awo kabaka n’agamba Amasa+ nti: “Mpitira abasajja ba Yuda bajje gye ndi mu nnaku ssatu, era naawe obeerewo.” 5 Amasa n’agenda okuyita abasajja ba Yuda, naye n’atakomerawo mu kiseera ekyamugerekerwa. 6 Dawudi kyeyava agamba Abisaayi+ nti: “Seba+ mutabani wa Bikuli ayinza okuba omubi ennyo gye tuli n’okusinga Abusaalomu.+ Twala abaweereza ba mukama wo omuwondere, sikulwa ng’asanga ekibuga ekiriko bbugwe n’ayingira omwo n’atubulako.” 7 Awo abasajja ba Yowaabu,+ Abakeresi, Abaperesi,+ n’abasajja bonna ab’amaanyi ne bamuwondera; baava mu Yerusaalemi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli. 8 Bwe baali banaatera okutuuka ku jjinja eddene eriri mu Gibiyoni,+ Amasa+ n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ekyambalo kye eky’olutalo nga yeesibye olukoba mu kiwato, era nga luliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasembera okumusisinkana, ekitala ne kisowokamu ne kigwa.

9 Yowaabu n’agamba Amasa nti: “Oli bulungi muganda wange?” Awo Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo n’aba ng’agenda okumunywegera. 10 Naye Amasa teyassaayo mwoyo ku kitala Yowaabu kye yali akutte, era Yowaabu yakimufumita mu lubuto,+ ebyenda ne biyiika wansi. Teyayongera kumufumita gwa kubiri; ogwo omulundi ogwasooka gwali gumala okumutta. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli.

11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi ne Amasa n’agamba nti: “Omuntu yenna ali ku ludda lwa Yowaabu era na buli yenna ali ku ludda lwa Dawudi, agoberere Yowaabu!” 12 Amasa yali agalamidde mu musaayi wakati mu luguudo. Omusajja oyo bwe yalaba nga buli atuuka awo ayimirira, n’aggya Amasa mu luguudo n’amutwala mu nsiko, n’amubikkako olugoye, kubanga yalaba nga buli atuuka w’ali ayimirira. 13 Bwe yamala okumuggya mu luguudo, abantu bonna ne bagoberera Yowaabu okuwondera Seba+ mutabani wa Bikuli.

14 Seba yayita mu bika byonna ebya Isirayiri n’atuuka mu Abbeeri eky’e Besu-maaka,+ Ababikuli bonna ne bakuŋŋaana, nabo ne bamugoberera.

15 Yowaabu n’abasajja be ne bagenda ne bamuzingiza mu Abbeeri eky’e Besu-maaka, ne bakola ekifunvu okulwanyisa ekibuga ekyo ekyali kyetooloddwa ekifunvu. Abantu bonna abaali ne Yowaabu baali basima wansi wa bbugwe basobole okumusuula wansi. 16 Awo omukazi ow’amagezi n’ayima mu kibuga n’akoowoola ng’agamba nti: “Muwulirize bassebo! Mbeegayiridde mugambe Yowaabu nti, ‘Sembera wano mbeeko kye nkugamba.’” 17 Awo Yowaabu n’asembera, omukazi n’amubuuza nti: “Ggwe Yowaabu?” Yowaabu n’amuddamu nti: “Ye nze.” Omukazi n’amugamba nti: “Wuliriza ebigambo by’omuzaana wo.” Yowaabu n’amuddamu nti: “Mpuliriza.” 18 Omukazi n’amugamba nti: “Edda baagambanga nti, ‘Bagende beebuuze mu Abbeeri, era awo ensonga we yakomanga.’ 19 Nkiikiridde abantu ab’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Oyagala kuzikiriza ekibuga ekikulu ennyo mu Isirayiri. Kale lwaki oyagala okusaanyaawo obusika bwa Yakuwa?”+ 20 Yowaabu n’agamba nti: “Kikafuuwe nze okukisanyaawo oba okukizikiriza. 21 Ekyo sisobola kukikola, naye mu kibuga kyammwe mulimu omusajja ow’omu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi+ ayitibwa Seba,+ mutabani wa Bikuli, ajeemedde* Kabaka Dawudi. Bwe mumuwaayo nja kuleka ekibuga kyammwe ŋŋende.” Omukazi n’agamba Yowaabu nti: “Tujja kukukasukira omutwe gwe nga tuguyisa waggulu ku bbugwe!”

22 Amangu ago omukazi ow’amagezi n’agenda n’ayogera n’abantu bonna, ne batemako Seba mutabani wa Bikuli omutwe ne bagukasukira Yowaabu. Awo Yowaabu n’afuuwa eŋŋombe, abantu bonna ne bava mu kibuga, buli omu n’addayo ewuwe,+ ne Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi eri kabaka.

23 Yowaabu ye yali akulira eggye lya Isirayiri lyonna,+ nga Benaya+ mutabani wa Yekoyaada+ y’akulira Abakeresi n’Abaperesi.+ 24 Adolaamu+ ye yali akulira abo abaakozesebwanga emirimu egy’obuddu, nga Yekosafaati+ mutabani wa Akirudi y’awandiika ebyabangawo. 25 Seva ye yali omuwandiisi, ate Zadooki+ ne Abiyasaali+ baali bakabona. 26 Ira Omuyayiri naye yafuuka omu ku baami* ba Dawudi abakulu.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share