LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Sulemaani atandika okuzimba yeekaalu (1-7)

      • Awasinga Obutukuvu (8-14)

      • Empagi ebbiri ez’ekikomo (15-17)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:1

Marginal References

  • +1Sk 6:1, 37
  • +Lub 22:2, 14
  • +2Sa 24:25; 1By 21:18
  • +2Sa 24:18; 1By 21:22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:3

Footnotes

  • *

    Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5), naye abamu bagamba nti “ekipimo eky’edda” ekyogerwako wano kyali kyenkana omukono omuwanvu ogwali sentimita 51.8 (inci 29.4). Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +1Sk 6:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:4

Footnotes

  • *

    Ekipimo ekyakozesebwa tekimanyiddwa.

Marginal References

  • +1Sk 6:3

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:5

Marginal References

  • +1Sk 6:15, 22
  • +1Sk 6:29
  • +1Sk 6:21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:6

Marginal References

  • +1By 29:2, 8
  • +1By 29:3, 4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:7

Marginal References

  • +Kuv 26:29
  • +Kuv 26:1; 1Sk 6:29

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:8

Footnotes

  • *

    Obut., “ennyumba y’Awasinga Obutukuvu.”

  • *

    Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Kuv 26:33; 1Sk 8:6; Beb 9:24
  • +1Sk 6:20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:9

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:10

Footnotes

  • *

    Obut., “ennyumba y’Awasinga Obutukuvu.”

Marginal References

  • +1Sk 6:23-28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:11

Marginal References

  • +1Sk 8:6; 1By 28:18

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:14

Marginal References

  • +Mat 27:51; Beb 10:19, 20
  • +Kuv 26:31, 33

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:15

Marginal References

  • +2Sk 25:13
  • +1Sk 7:15-22; 2Sk 25:17; 2By 4:11-13; Yer 52:22, 23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:17

Footnotes

  • *

    Oba, “ebukiikaddyo.”

  • *

    Oba, “ebukiikakkono.”

  • *

    Litegeeza, “[Yakuwa] k’Anyweze.”

  • *

    Liyinza okuba litegeeza, “Mu Maanyi.”

General

2 Byom. 3:11Sk 6:1, 37
2 Byom. 3:1Lub 22:2, 14
2 Byom. 3:12Sa 24:25; 1By 21:18
2 Byom. 3:12Sa 24:18; 1By 21:22
2 Byom. 3:31Sk 6:2
2 Byom. 3:41Sk 6:3
2 Byom. 3:51Sk 6:15, 22
2 Byom. 3:51Sk 6:29
2 Byom. 3:51Sk 6:21
2 Byom. 3:61By 29:2, 8
2 Byom. 3:61By 29:3, 4
2 Byom. 3:7Kuv 26:29
2 Byom. 3:7Kuv 26:1; 1Sk 6:29
2 Byom. 3:8Kuv 26:33; 1Sk 8:6; Beb 9:24
2 Byom. 3:81Sk 6:20
2 Byom. 3:101Sk 6:23-28
2 Byom. 3:111Sk 8:6; 1By 28:18
2 Byom. 3:14Mat 27:51; Beb 10:19, 20
2 Byom. 3:14Kuv 26:31, 33
2 Byom. 3:152Sk 25:13
2 Byom. 3:151Sk 7:15-22; 2Sk 25:17; 2By 4:11-13; Yer 52:22, 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:1-17

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

3 Awo Sulemaani n’atandika okuzimba ennyumba ya Yakuwa+ mu Yerusaalemi ku Lusozi Moliya,+ Yakuwa gye yalabikira Dawudi kitaawe,+ mu kifo Dawudi kye yateekateeka ku gguuliro lya Olunaani+ Omuyebusi. 2 Yatandika okuzimba ku lunaku olw’okubiri olw’omwezi ogw’okubiri, mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwe. 3 Omusingi gw’ennyumba ya Katonda ow’amazima Sulemaani gwe yazimba gwali emikono 60 obuwanvu, ate obugazi gwali emikono 20,+ okusinziira ku kipimo eky’edda.* 4 Ekisasi ekyali ku nnyumba mu maaso, obuwanvu kyali emikono 20, ng’obugazi bwakyo bwenkanankana n’obugazi bw’ennyumba, ate obugulumivu kyali 120;* munda yakibikka zzaabu omulongoofu.+ 5 Ennyumba ennene yagibikkako embaawo z’emiberosi, oluvannyuma n’agibikka zzaabu omulungi,+ era n’agissaako ebifaananyi by’enkindu+ n’obujegere.+ 6 Era ennyumba yagiwunda n’amayinja ag’omuwendo agaali galabika obulungi;+ zzaabu+ gwe yakozesa yava Paluvayimu. 7 Ate era ennyumba, emikiikiro, ebisenge byayo, n’enzigi zaayo n’abibikka zzaabu;+ era ku bisenge n’ayolako ebifaananyi bya bakerubi.+

8 Era yazimba ekisenge eky’Awasinga Obutukuvu;*+ obuwanvu kyali emikono 20, obuwanvu bwakyo bwali bwenkanankana n’obugazi bw’ennyumba, ate obugazi kyali emikono 20; era munda mwonna n’abikkamu zzaabu omulungi aweza ttalanta* 600.+ 9 Zzaabu ow’emisumaali yali azitowa sekeri* 50; era ebisenge ebya waggulu yabibikka zzaabu.

10 Mu kisenge ky’Awasinga Obutukuvu* yakolamu ebifaananyi bya bakerubi bibiri n’abibikkako zzaabu.+ 11 Ebiwaawaatiro bya bakerubi+ byonna awamu byali emikono 20 obuwanvu; ekiwaawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano nga kituuka ku kisenge ky’ennyumba, ate ekiwaawaatiro kye ekirala kyali kiweza emikono etaano nga kituuka ku kiwaawaatiro kya kerubi omulala. 12 Ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali kiweza emikono etaano nga kituuka ku kisenge ky’ennyumba, ate ekiwaawaatiro kye ekirala kyali kiweza emikono etaano nga kituuka ku kiwaawaatiro kya kerubi omulala. 13 Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluziddwa, nga biweza emikono 20; baali bayimiridde nga batunudde Awatukuvu.

14 Ate era yakola olutimbe+ ng’akozesa wuzi eza bbulu n’eza kakobe n’eza kasaayi n’olugoye olulungi, era olutimbe olwo yalutungako bakerubi.+

15 Era yakola empagi bbiri+ mu maaso g’ennyumba, ng’obuwanvu ziweza emikono 35; omutwe ogwali ku buli emu ku zo gwali emikono etaano.+ 16 Ate era yakola obujegere obwalinga omukuufu n’abuteeka waggulu ku mpagi, era n’akola enkomamawanga 100 n’aziteeka ku bujegere. 17 Empagi ezo yazisimba mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo* ate endala ku mukono ogwa kkono;* empagi ey’oku mukono ogwa ddyo yagituuma Yakini,* ate ey’oku mukono ogwa kkono n’agituuma Bowaazi.*

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share