LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • nwt Eseza 1:1-10:3
  • Eseza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eseza
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eseza

ESEZA

1 Awo mu kiseera kya Akaswero,* ng’ono ye Akaswero eyali afuga amasaza 127,+ okuva e Buyindi okutuuka mu Esiyopiya,* 2 mu nnaku ezo Kabaka Akaswero bwe yali atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eyali mu lubiri lw’e Susani,*+ 3 mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abaami be bonna n’abaweereza be ekijjulo, era ab’amagye ga Buperusi+ ne Bumeedi,+ n’abakungu, n’abaami b’ebitundu, baali mu maaso ge. 4 Awo n’abalaga eby’obugagga by’obwakabaka bwe obw’ekitiibwa, awamu n’ekitiibwa kye, era n’ettendo lye, okumala ennaku nnyingi, ennaku 180. 5 Ennaku ezo bwe zaggwaako, kabaka n’agabula abantu bonna ekijjulo, ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa, abaali mu lubiri lw’e Susani.* Ekijjulo ekyo kyamala ennaku musanvu, era yakibagabulira mu luggya lw’omu lubiri lwa kabaka. 6 Waaliwo entimbe ez’engoye eza kitaani, n’ez’engoye ezaakolebwa mu ppamba omulungi, n’ez’engoye eza bbulu, nga zisibiddwa ku miyondo egyalukibwa mu lugoye olulungi ne ku miguwa egyalukibwa mu wuzi eza kakobe, nga biyisiddwa mu mpeta eza ffeeza ezaali ku mpagi ez’amayinja agalabika obulungi. Era waaliwo entebe ezigalamirwako eza zzaabu n’eza ffeeza ku mayinja amaalirire amamyufu, ameeru, aga luulu, n’amaddugavu.

7 Omwenge gwagabulirwa mu bikopo* ebya zzaabu, era ebikopo ebyo byali tebifaanagana. Omwenge kabaka gwe yagabula gwali mungi ddala, nga kabaka bwe yandigabudde. 8 Ku olwo tewaaliwo yali awalirizibwa kunywa ng’etteeka bwe lyali liragira, kubanga kabaka n’abakungu b’omu lubiri lwe baali bakoze entegeka nti buli muntu akole nga bw’ayagala.

9 Nnaabakyala Vasuti+ naye yagabula abakazi ekijjulo mu nnyumba* ya Kabaka Akaswero.

10 Ku lunaku olw’omusanvu, kabaka bwe yanywa omwenge n’asanyuka, n’agamba Mekumani ne Bizusa ne Kalubona+ ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abakungu omusanvu ab’omu lubiri abaaweerezanga Kabaka Akaswero, 11 baleete Nnaabakyala Vasuti mu maaso ga kabaka ng’ataddeko eky’oku mutwe eky’obwa nnaabakyala, alage abantu n’abaami obulungi bwe, kubanga yali alabika bulungi nnyo. 12 Naye Nnaabakyala Vasuti n’agaana okujja nga kabaka bwe yali alagidde ng’ayitira mu bakungu b’omu lubiri. Kino kyanyiiza nnyo kabaka, n’aswakiira.

13 Awo kabaka n’ayogera n’abasajja ab’amagezi abaali bamanyi ebintu ebyaliwo emabega* (bw’etyo ensonga ya kabaka bwe yategeezebwanga abo bonna abaali bamanyi amateeka n’ebikwata ku misango; 14 era abo abaali ab’oku lusegere ennyo naye be bano: Kalusena, Sesali, Adumasa, Talusiisi, Meresi, Malusena, ne Memukani, abaami musanvu+ ab’omu Buperusi ne Bumeedi abajjanga mu maaso ga kabaka era abaali mu bifo eby’oku mwanjo mu bwakabaka). 15 Awo kabaka n’ababuuza nti: “Okusinziira ku mateeka, Nnaabakyala Vasuti akolebwe ki olw’obutagondera ekyo Kabaka Akaswero ky’amulagidde okuyitira mu bakungu b’omu lubiri?”

16 Memukani n’ayogera mu maaso ga kabaka n’abaami nti: “Nnaabakyala Vasuti ekintu ekyo takikoze kabaka yekka,+ naye akikoze n’abaami bonna n’abantu bonna abali mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero. 17 Kubanga ekyo nnaabakyala ky’akoze, abakazi bonna bajja kukiwulira batandike okunyooma babbaabwe nga bagamba nti, ‘Kabaka Akaswero yalagira batwale Nnaabakyala Vasuti mu maaso ge naye n’agaana okugenda.’ 18 Era ku lunaku luno abakyala b’abaami b’omu Buperusi ne Bumeedi abategedde nnaabakyala ky’akoze bajja kwogera mu ngeri y’emu eri babbaabwe, abaami ba kabaka, era wajja kubaawo obunyoomi bungi n’obusungu. 19 Bwe kiba nga kirungi eri kabaka, kabaka ayise ekiragiro era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatasobola kusazibwamu,+ nti Vasuti taddangamu okujja mu maaso ga Kabaka Akaswero, era mu kifo kye eky’obwannaabakyala kabaka ateekewo omukazi omulala amusinga. 20 Era ekiragiro kya kabaka bwe kinaawulirwa mu bwakabaka bwe bwonna obunene ennyo, abakazi bonna bajja kuwa babbaabwe ekitiibwa, ka babe abo ab’ebitiibwa oba abatali ba bitiibwa.”

21 Ekintu ekyo kyasanyusa kabaka n’abaami be era kabaka n’akola nga Memukani bwe yateesa. 22 Bw’atyo n’aweereza amabaluwa mu masaza g’obwakabaka gonna,+ buli ssaza mu mpandiika yaalyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo, buli musajja okubeeranga n’obuyinza mu nnyumba ye era n’okwogera olulimi lw’eggwanga lye.

2 Ebyo bwe byaggwa, ng’obusungu bwa Kabaka Akaswero+ bukkakkanye, n’ajjukira Vasuti kye yali akoze+ era n’ekibonerezo kye yali asazeewo okumuwa.+ 2 Awo abaweereza ba kabaka ne bagamba nti: “Ka banoonyeze kabaka abawala embeerera abalabika obulungi. 3 Era kabaka k’alonde abantu mu masaza gonna ag’omu bwakabaka bwe,+ bakuŋŋaanyize mu lubiri lw’e Susani,* mu nnyumba y’abakazi, abawala embeerera bonna abalabika obulungi, bakwasibwe Kegayi+ omulaawe wa kabaka alabirira abakazi, era babakoleko eby’okwongera okubalungiya. 4 Omuwala anaasanyusa kabaka y’ajja okuba nnaabakyala mu kifo kya Vasuti.”+ Ekyo kabaka kyamusanyusa era n’akola bw’atyo.

5 Waaliwo omusajja Omuyudaaya mu lubiri lw’e Susani*+ eyali ayitibwa Moluddekaayi+ mutabani wa Yayiri mutabani wa Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini,+ 6 eyatwalibwa mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi n’abo abaawaŋŋangusibwa ne Yekoniya*+ kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni gwe yatwala mu buwaŋŋanguse. 7 Oyo ye yali alabirira Kadasa, kwe kugamba, Eseza, omwana wa kitaawe omuto,+ kubanga teyalina kitaawe wadde nnyina. Omuwala oyo yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi nnyo, era kitaawe ne nnyina bwe baafa, Moluddekaayi n’amutwala n’amukuza ng’omwana we. 8 Ekigambo kya kabaka n’etteeka lye bwe byalangibwa, era abawala bangi bwe baakuŋŋaanyizibwa mu lubiri lw’e Susani* ne bakwasibwa Kegayi,+ Eseza naye yatwalibwa mu nnyumba* ya kabaka n’akwasibwa Kegayi eyali alabirira abakazi.

9 Omuwala oyo yamusanyusa nnyo, n’amwagala,* bw’atyo n’alagira mangu bamukoleko eby’okwongera okumulungiya+ era bamuwe emmere ey’enjawulo, era n’amuwa abawala abaweereza musanvu abalondemu okuva mu nnyumba ya kabaka. Ate era yamuggyayo n’amutwala awamu n’abaweereza be mu kifo ekisingayo obulungi mu nnyumba y’abakazi. 10 Eseza teyayogera bikwata ku bantu be+ wadde ab’eŋŋanda ze, kubanga Moluddekaayi+ yali amulagidde obutabibuulira muntu yenna.+ 11 Buli lunaku Moluddekaayi yayitaayitanga mu maaso g’oluggya lw’ennyumba y’abakazi okumanya Eseza bw’ali n’engeri gye bamuyisaamu.

12 Buli muwala yalina okugenda eri Kabaka Akaswero oluvannyuma lw’okukolebwako okumala emyezi 12 ng’abakazi bwe baali balagiddwa okukolebwako, kubanga baalina okukolebwako bwe bati—baalina okumala emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga miira,+ n’emyezi mukaaga nga basiigibwa amafuta ga basamu+ n’amafuta amalala ag’okubakolako. 13 Ebyo bwe byaggwanga omuwala yabanga atuuse okugenda eri kabaka, era bwe yalinga ava mu nnyumba y’abakazi okugenda mu nnyumba ya kabaka, yaweebwanga buli kye yasabanga. 14 Yagendayo akawungeezi, ate enkeera n’agenda mu nnyumba y’abakazi ey’okubiri eyali erabirirwa Saasugazi omulaawe wa kabaka,+ eyalabiriranga abazaana. Teyaddangayo eri kabaka okuggyako nga kabaka amusiimye n’amutumya ng’akozesa erinnya lye.+

15 Eseza muwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, era Moluddekaayi gwe yali akuzizza ng’omwana we,+ bwe yatuuka okugenda eri kabaka, teyasaba kintu kyonna okuggyako ebyo Kegayi omulaawe wa kabaka eyalabiriranga abakazi bye yamugamba. (Eseza yaganja mu maaso ga buli muntu eyamulabanga.) 16 Awo Eseza n’atwalibwa eri Kabaka Akaswero mu nnyumba ya kabaka mu mwezi ogw’ekkumi, kwe kugamba, omwezi gwa Tebesi,* mu mwaka ogw’omusanvu+ ogw’obufuzi bwe. 17 Kabaka yayagala Eseza okusinga abawala abalala bonna era Eseza yaganja nnyo eri kabaka era n’asiimibwa* okusinga abawala embeerera abalala bonna. Awo n’amussaako eky’oku mutwe n’amufuula nnaabakyala+ mu kifo kya Vasuti.+ 18 Kabaka n’akolera abaami be bonna n’abaweereza be embaga ennene, embaga ya Eseza, era n’alagira wabeewo okusumululwa* mu masaza, era n’agaba ebirabo nga kabaka bwe yandikoze.

19 Abawala embeerera+ bwe baakuŋŋaanyizibwa omulundi ogw’okubiri, Moluddekaayi yali atudde ku mulyango gwa kabaka. 20 Eseza teyayogera bikwata ku ba ŋŋanda ze na bantu be+ nga Moluddekaayi bwe yamulagira; Eseza yeeyongera okukolera ku ebyo Moluddekaayi bye yamugamba nga bwe yakolanga ng’akyali mu mikono gye.+

21 Mu nnaku ezo nga Moluddekaayi atuula ku mulyango gwa kabaka, Bigusani ne Teresi abakungu ba kabaka ab’omu lubiri abaali abakuumi b’oku mulyango baanyiiga ne bakola olukwe okutta* Kabaka Akaswero. 22 Naye Moluddekaayi bwe yakitegeera, amangu ago n’ategeeza Nnaabakyala Eseza. Eseza n’ayogera ne kabaka mu linnya lya* Moluddekaayi. 23 Ensonga n’enoonyerezebwako ne kizuulibwa nti bwe kityo bwe kyali, era bombi ne bawanikibwa ku muti; oluvannyuma ne kiwandiikibwa mu maaso ga kabaka mu kitabo ky’ebyafaayo by’ebiseera ebyo.+

3 Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Akaswero yakuza Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi,+ era n’amugulumiza okusinga abaami abalala bonna abaali naye.+ 2 Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka ne bavunnamiranga Kamani, kubanga kabaka bw’atyo bwe yali alagidde. Naye ye Moluddekaayi n’agaana okumuvunnamiranga. 3 Abaweereza ba kabaka abaali ku mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti: “Lwaki togondera kiragiro kya kabaka?” 4 Baamugambanga buli lunaku naye nga tabawuliriza, awo ne bagamba Kamani alabe obanga enneeyisa ya Moluddekaayi yali esobola okugumiikirizikika,+ kubanga yali yabagamba nti Muyudaaya.+

5 Kamani bwe yakiraba nti Moluddekaayi yali agaanye okumuvunnamira, n’asunguwala nnyo.+ 6 Naye yalaba ng’okutta* Moluddekaayi yekka tekimala, kubanga baali bamubuulidde ebifa ku bantu ba Moluddekaayi; kyeyava atandika okunoonya engeri gy’ayinza okusaanyaawo Abayudaaya bonna, abantu ba Moluddekaayi, abaali mu bwakabaka bwa Akaswero bwonna.

7 Mu mwezi ogusooka, omwezi gwa Nisaani,* mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Akaswero,+ baakubira Puli+ (oba, Akalulu) mu maaso ga Kamani, okumanya olunaku n’omwezi, era akalulu ne kagwa ku mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali.*+ 8 Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti: “Waliwo abantu abasaasaanye era ababunye mu mawanga,+ mu masaza gonna ag’obwakabaka bwo.+ Amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna era tebagondera mateeka ga kabaka; okubaleka obulesi tekirina bwe kigasa kabaka. 9 Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, ekiragiro ekiragira bazikirizibwe ka kiwandiikibwe. Nja kuwa abaami ttalanta* za ffeeza 10,000 baziteeke mu ggwanika lya kabaka.”*

10 Awo kabaka n’aggya ku mukono gwe empeta ye eramba+ n’agiwa Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi,+ eyali omulabe w’Abayudaaya. 11 Kabaka n’agamba Kamani nti: “Ffeeza akuweereddwa era n’abantu; bikozese nga bw’olaba.” 12 Awo abawandiisi ba kabaka+ ne bayitibwa mu mwezi ogusooka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu, ne bawandiika+ byonna Kamani bye yalagira abakungu ba kabaka ne bagavana abaali bafuga amasaza ag’enjawulo, era n’abaami abaali bakulira amawanga ag’enjawulo. Baawandiikira buli ssaza mu mpandiika yaalyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ebyo bye baawandiika baabiwandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ye eramba.+

13 Awo amabaluwa ne gaweebwa ababaka ne bagatwala mu masaza ga kabaka gonna, nga galagira okusaanyaawo, n’okutta, n’okuzikiriza Abayudaaya bonna, abavubuka n’abakadde, abato n’abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,+ era n’okunyaga ebintu byabwe.+ 14 Ebyali mu mabaluwa byali bya kuba tteeka mu buli ssaza, era byali bya kulangirirwa eri abantu bonna basobole okweteekerateekera olunaku luno. 15 Awo ababaka ne bagenda ne bakola mu bwangu+ nga kabaka bwe yali alagidde; etteeka lyayisibwa ne mu lubiri lw’e Susani.*+ Awo kabaka ne Kamani ne batuula ne banywa omwenge, naye ekibuga Susani* kyali mu kasattiro.

4 Moluddekaayi+ bwe yamanya byonna ebyali bikoleddwa,+ n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu ne yeeyiira evvu; n’agenda wakati mu kibuga n’atema emiranga. 2 Oluvannyuma yagenda n’akoma ku mulyango gwa kabaka, kubanga tewaali yalina kuyingira mu mulyango gwa kabaka ng’ayambadde ebibukutu. 3 Mu buli ssaza+ ekigambo kya kabaka n’etteeka lye gye byatuuka, waaliyo okukungubaga okw’amaanyi mu Bayudaaya, n’okusiiba,+ n’okukaaba, n’okukuba ebiwoobe. Bangi baagalamira ku bibukutu ne mu vvu.+ 4 Abaweereza ba Eseza abakazi n’abalaawe be bwe baagenda ne bamutegeeza, Nnaabakyala Eseza n’anakuwala nnyo. Awo n’aweereza Moluddekaayi engoye ez’okwambala aggyemu ebibukutu, naye n’azigaana. 5 Eseza n’ayita Kasaki omu ku balaawe ba kabaka, kabaka gwe yali ataddewo okumuweereza, n’amutuma eri Moluddekaayi amubuulire ekyali kibaddewo.

6 Awo Kasaki n’agenda eri Moluddekaayi mu kibangirizi ky’ekibuga mu maaso g’omulyango gwa kabaka. 7 Moluddekaayi n’amubuulira byonna ebyali bimutuuseeko, era n’amutegeeza ne ssente+ Kamani ze yali agambye okuwaayo mu ggwanika lya kabaka Abayudaaya basobole okuzikirizibwa.+ 8 Yamuwa n’ekiwandiiko ekyalimu etteeka eryali liweereddwa mu Susani*+ okubazikiriza. Yali wa kukiraga Eseza, akimunnyonnyole era amugambe+ agende eri kabaka amusabe abakwatirwe ekisa, era ye kennyini amwegayirire ku lw’abantu be.

9 Awo Kasaki n’addayo n’ategeeza Eseza ebyo Moluddekaayi bye yali amugambye. 10 Eseza n’atuma Kasaki agambe Moluddekaayi nti:+ 11 “Abaweereza ba kabaka bonna n’abantu b’omu masaza ga kabaka bakimanyi nti omusajja oba omukazi yenna agenda eri kabaka mu luggya olw’omunda+ nga tayitiddwa, etteeka liragira nti alina okuttibwa, okuggyako nga kabaka amugololedde omuggo gwe ogwa zzaabu.+ Naye nze kati mmaze ennaku 30 nga siyitibwa kugenda eri kabaka.”

12 Bwe baategeeza Moluddekaayi ekyo Eseza kye yali agambye, 13 Moluddekaayi n’addamu Eseza nti: “Tolowooza nti mu Bayudaaya bonna ggwe ojja okuwonawo olw’okuba oli mu nnyumba ya kabaka. 14 Bw’onoosirika mu kiseera kino, obuyambi n’okununulibwa kw’Abayudaaya bijja kuva mu kifo ekirala,+ naye ggwe n’ab’ennyumba ya kitaawo mujja kuzikirira. Era ani amanyi obanga eno ye nsonga lwaki wafuuka nnaabakyala?”+

15 Eseza n’addamu Moluddekaayi nti: 16 “Genda okuŋŋaanye Abayudaaya bonna abali mu Susani* musiibe+ ku lwange, era temulya wadde okunywa okumala ennaku ssatu,+ emisana n’ekiro. Nange nja kusiiba awamu n’abaweereza bange abakazi, olwo ndyoke ŋŋende eri kabaka, wadde nga tekikkirizibwa mu mateeka. Bwe nnaaba wa kufa kale nnaafa.” 17 Awo Moluddekaayi n’agenda n’akola byonna Eseza bye yamugamba.

5 Awo ku lunaku olw’okusatu+ Eseza n’ayambala ebyambalo eby’obwannaabakyala n’ayimirira mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya kabaka oluli mu maaso g’ennyumba ya kabaka. Kabaka yali atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka mu nnyumba* ey’obwakabaka ng’atunudde mu mulyango. 2 Kabaka olwalaba Nnaabakyala Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’asanyuka okumulaba, bw’atyo n’amugololera omuggo ogwa zzaabu+ ogwali mu mukono gwe. Eseza n’asembera n’agukwatako.

3 Awo kabaka n’amubuuza nti: “Nnaabakyala Eseza, mutawaana ki? Oyagala nkukolere ki? Ne bw’onoosaba kimu kya kubiri eky’obwakabaka bwange, kijja kukuweebwa!” 4 Eseza n’agamba nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, kabaka k’ajje ne Kamani+ olwa leero ku kijjulo kye mmutegekedde.” 5 Awo kabaka n’agamba abasajja be nti: “Mugambe Kamani ajje mangu nga Eseza bw’agambye.” Bwe batyo kabaka ne Kamani ne bagenda ku kijjulo Eseza kye yali ategese.

6 Bwe baali banywa omwenge, kabaka n’agamba Eseza nti: “Kiki ky’osaba? Kijja kukuweebwa! Era kiki ky’oyagala nkukolere? Ne bw’osaba ekitundu ekimu eky’okubiri eky’obwakabaka, kijja kukuweebwa!”+ 7 Awo Eseza n’agamba nti: “Kye nsaba era kye njagala onkolere kye kino: 8 Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso ga kabaka, era kabaka bw’aba alaba nga kirungi okumpa kye nsaba n’okunkolera kye njagala, kabaka ne Kamani ka bajje ku kijjulo kye ŋŋenda okubateekerateekera enkya, era enkya nja kukola nga kabaka bw’agambye.”

9 Ku lunaku olwo Kamani yavaayo ng’ajaganya era nga n’omutima gwe musanyufu. Naye bwe yalaba Moluddekaayi ku mulyango gwa kabaka, era nga tayimuse wadde okulaga nti amutidde, n’amusunguwalira nnyo.+ 10 Kyokka Kamani n’afuga obusungu bwe n’agenda ewuwe, n’atumya mikwano gye ne mukazi we Zeresi.+ 11 Awo Kamani ne yeewaana olw’eby’obugagga bye ebingi, n’abaana be abangi,+ n’olw’engeri kabaka gye yali amukuzizzaamu era n’amugulumiza okusinga abaami ba kabaka n’abaweereza be.+

12 Kamani n’agattako nti: “Ate era, Nnaabakyala Eseza nze nzekka gwe yayise okugenda ne kabaka ku kijjulo kye yateeseteese.+ Era n’enkya ampise ŋŋende ne kabaka.+ 13 Naye bino byonna tebirina kye bingasa nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atuula ku mulyango gwa kabaka.” 14 Zeresi mukazi we ne mikwano gye bonna ne bamugamba nti: “Lagira basimbe ekikondo, ng’obuwanvu kya mikono 50,* era enkya ku makya ogambe kabaka bawanikeko Moluddekaayi.+ Oluvannyuma ojja kugenda ne kabaka owoomerwe ekijjulo.” Kamani yalaba ng’amagezi agamuweereddwa malungi, bw’atyo n’alagira ne basimba ekikondo.

6 Ekiro ekyo kabaka yabulwa otulo.* Bw’atyo n’alagira baleete ekitabo ky’ebyafaayo eby’omu biseera ebyo,+ ne kisomerwa mu maaso ga kabaka. 2 Ne basanga awaawandiikibwa nti Moluddekaayi yaloopa Bigusani ne Teresi, abakungu ba kabaka ababiri ab’omu lubiri, abakuumi b’oku mulyango, abaali bakoze olukwe okutta* Kabaka Akaswero.+ 3 Awo kabaka n’abuuza nti: “Kitiibwa ki era mpeera ki ebyaweebwa Moluddekaayi olw’ekyo?” Abaweereza ba kabaka ne bamuddamu nti: “Tewali na kimu kyamuweebwa.”

4 Oluvannyuma kabaka n’abuuza nti: “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali azze mu luggya olw’ebweru+ olw’ennyumba ya* kabaka, okwogera ne kabaka, Moluddekaayi awanikibwe ku kikondo kye yali amukoledde.+ 5 Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Kamani+ y’ayimiridde mu luggya.” Bw’atyo kabaka n’agamba nti: “Mumugambe ayingire.”

6 Kamani bwe yayingira, kabaka n’amugamba nti: “Kiki ekigwanidde okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa?” Awo Kamani n’agamba mu mutima gwe nti: “Ani kabaka gwe yandyagadde okuwa ebitiibwa okusinga nze?”+ 7 Kamani n’agamba kabaka nti: “Omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa, 8 baleete ebyambalo+ kabaka by’ayambala n’embalaasi kabaka gye yeebagala ng’eteekeddwako eky’oku mutwe eky’obwakabaka. 9 Ebyambalo ebyo n’embalaasi bikwasibwe omu ku baami ba kabaka abasinga okussibwamu ekitiibwa, era bambaze omuntu oyo kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa era bamwebagaze embalaasi bamuyise mu kibangirizi ky’ekibuga nga balangirira nti, ‘Kino kye kigwanira okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa!’”+ 10 Amangu ago kabaka n’agamba Kamani nti: “Yanguwa otwale ebyambalo n’embalaasi nga bw’ogambye, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka. Mukolere byonna by’oyogedde obutalekaayo na kimu.”

11 Awo Kamani n’atwala ebyambalo n’embalaasi, n’ayambaza Moluddekaayi+ n’amwebagaza embalaasi, n’amuyisa mu kibangirizi ky’ekibuga ng’agenda alangirira nti: “Kino kye kigwanira okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa!” 12 Oluvannyuma Moluddekaayi yaddayo ku mulyango gwa kabaka, naye ye Kamani n’ayanguwa okuddayo ewuwe ng’anakuwadde era nga yeebisse ku mutwe. 13 Kamani bwe yabuulira mukazi we Zeresi+ ne mikwano gye bonna ebintu byonna ebyali bimutuuseeko, abasajja be abagezigezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti: “Otandise okutoowazibwa mu maaso ga Moluddekaayi, era Moluddekaayi oyo bw’aba nga wa mu lulyo lw’Abayudaaya, tojja kumusinga, wabula ojja kuwangulwa mu maaso ge.”

14 Baali bakyayogera naye, abakungu ba kabaka ab’omu lubiri ne bajja, ne batwala Kamani mu bwangu ku kijjulo Eseza kye yali ateeseteese.+

7 Awo kabaka ne Kamani+ ne bagenda ku kijjulo kya Nnaabakyala Eseza. 2 Ku lunaku olw’okubiri, bwe baali banywa omwenge, kabaka n’addamu nate n’agamba Eseza nti: “Kiki ky’osaba, Nnaabakyala Eseza? Kijja kukuweebwa! Era kiki ky’oyagala nkukolere? Ne bw’onoosaba ekitundu ekimu eky’okubiri eky’obwakabaka bwange, kijja kukuweebwa!”+ 3 Nnaabakyala Eseza n’addamu nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, Ai kabaka, era bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, nkusaba owonye obulamu bwange era nkusaba abantu bange+ baleme kuttibwa. 4 Kubanga nze n’abantu bange tutundiddwa+ tusaanyizibwewo, tuttibwe, era tuzikirizibwe.+ Singa tubadde tutundiddwa kufuuka baddu abasajja oba abakazi, nnandisirise. Naye akabi kano tekasaanidde kukkirizibwa kubaawo kubanga kagenda kufiiriza kabaka.”

5 Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnaabakyala Eseza nti: “Ani oyo, era ali ludda wa oyo eyeetantadde okukola bw’atyo?” 6 Eseza n’agamba nti: “Atuwalana era omulabe waffe ye Kamani ono omubi.”

Awo Kamani n’atya olwa kabaka ne nnaabakyala. 7 Kabaka n’asituka nga musunguwavu nnyo n’ava ku kijjulo n’agenda mu luggya lw’olubiri; naye Kamani n’asituka okwegayirira Nnaabakyala Eseza aleme kuttibwa, kubanga yalaba nga kabaka amaliridde okumubonereza. 8 Kabaka n’akomawo okuva mu luggya lw’olubiri n’ayingira mu nnyumba mwe baali banywera omwenge; Kamani yali agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n’agamba nti: “Ayagala na kukwatira nnaabakyala mu nnyumba yange?” Kabaka olwali okwogera ekyo, Kamani ne bamubikka mu maaso. 9 Awo Kalubona,+ omu ku bakungu ba kabaka ab’omu lubiri, n’agamba nti: “Waliwo n’ekikondo Kamani kye yakoledde Moluddekaayi+ eyayogera ebyawonya obulamu bwa kabaka.+ Kiri kumpi n’ennyumba ye, era obuwanvu kya mikono 50.”* Awo kabaka n’agamba nti: “Mumuwanike okwo.” 10 Ne bawanika Kamani ku kikondo kye yali akoledde Moluddekaayi, obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.

8 Ku lunaku olwo Kabaka Akaswero yawa Nnaabakyala Eseza ennyumba ya Kamani+ omulabe w’Abayudaaya;+ era Moluddekaayi n’ajja mu maaso ga kabaka olw’okuba Eseza yali amubuulidde nti amulinako oluganda.+ 2 Awo kabaka n’aggya ku ngalo ye empeta ye eramba+ gye yali aggye ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, era Eseza n’assaawo Moluddekaayi okukulira ennyumba ya Kamani.+

3 Ate era Eseza n’addamu n’ayogera ne kabaka, n’agwa ku bigere bye, n’akaaba, n’amwegayirira ajjulule olukwe Kamani Omwagagi lwe yali akoze n’akabi ke yali ateeseteese okutuusa ku Bayudaaya.+ 4 Awo kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zzaabu, Eseza+ n’asituka n’ayimirira mu maaso ga kabaka. 5 Eseza n’agamba nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, era bwe mba nga nsiimibwa mu maaso ge era nga kisaanira mu maaso ga kabaka, era nga ndi mulungi mu maaso ge, ekiragiro ka kiwandiikibwe ekisazaamu ebiwandiiko kalinkwe Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi+ bye yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza ga kabaka gonna. 6 Kubanga nnyinza ntya okugumira okulaba akabi akanaatuuka ku bantu bange, era nnyinza ntya okugumira okulaba ab’eŋŋanda zange nga bazikirizibwa?”

7 Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnaabakyala Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti: “Laba! Ennyumba ya Kamani ngiwadde Eseza,+ era ndagidde ne bamuwanika ku kikondo,+ kubanga yakola olukwe okutuusa akabi ku Bayudaaya. 8 Muwandiike mu linnya lya kabaka ku lw’Abayudaaya ekyo kye mulaba nga kirungi, era ekiwandiiko mukisseeko akabonero n’empeta ya kabaka eramba, kubanga ekiwandiiko ekiwandiikibwa mu linnya lya kabaka era ne kissibwako akabonero n’empeta ya kabaka eramba tekiyinza kusazibwamu.”+

9 Bwe kityo abawandiisi ba kabaka ne bayitibwa mu mwezi ogw’okusatu, omwezi gwa Sivaani,* ku lunaku olw’abiri mu essatu; ne bawandiika nga byonna bwe byali Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ab’amasaza,+ bagavana, n’abaami b’ebitundu,+ okuva mu Buyindi okutuuka mu Esiyopiya, amasaza 127, buli ssaza mu mpandiika yaalyo na buli ggwanga mu lulimi lwalyo, n’Abayudaaya mu mpandiika yaabwe ne mu lulimi lwabwe.

10 Yawandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero era n’assaako akabonero ng’akozesa empeta ya kabaka eramba,+ ebiwandiiko ne bitwalibwa ababaka abaali beebagadde embalaasi ezidduka ennyo ezaakozesebwanga mu mirimu gya kabaka. 11 Mu biwandiiko ebyo kabaka yakkiriza Abayudaaya abaali mu bibuga eby’enjawulo okukuŋŋaana balwanirire obulamu bwabwe, basaanyeewo, batte, era bazikirize amagye ag’eggwanga lyonna oba ag’essaza agayinza okubalumba, awamu n’abakazi n’abaana, era banyage n’ebintu byabwe.+ 12 Kino kyali kya kubaawo ku lunaku lumu mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali.*+ 13 Ebyali biwandiikiddwa byali bya kuyisibwa ng’etteeka mu masaza gonna. Byali bya kulangirirwa eri abantu bonna, Abayudaaya basobole okuba abeetegefu okuwoolera eggwanga ku balabe baabwe ku lunaku olwo.+ 14 Ababaka abaali beebagadde embalaasi ezaakozesebwanga mu mirimu gya kabaka baagenderawo mangu ago, nga badduka nnyo olw’okuba kabaka yali alagidde; era etteeka lyayisibwa ne mu lubiri lw’e Susani.*+

15 Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ekyambalo eky’obwakabaka ekyakolebwa mu lugoye olwa bbulu n’olweru, era ng’ayambadde engule ey’ekitiibwa eya zzaabu n’ekizibaawo ekyakolebwa mu lugoye olulungi olwa kakobe.+ Ekibuga Susani* ne kibaamu okuleekaana olw’essanyu. 16 Abayudaaya ne bafuna obuweerero,* ne basanyuka, ne bajaguza, era ne batandika okuweebwa ekitiibwa. 17 Era mu masaza gonna ne mu bibuga byonna, buli yonna ekigambo kya kabaka n’etteeka lye gye byatuukanga, Abayudaaya baasanyukanga, ne bajaganya, ne balya ebijjulo era ne bajaguza. Era abantu bangi ab’amawanga amalala ne batandika okweyita Abayudaaya,+ kubanga baali bagwiriddwa entiisa y’Abayudaaya.

9 Mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,*+ ku lunaku olw’ekkumi n’essatu, ekigambo kya kabaka n’etteeka lye bwe byatuuka okussibwa mu nkola,+ ku lunaku abalabe b’Abayudaaya lwe baali balindiridde okubakajjalako, ebintu byakyuka, Abayudaaya ne bawangula abo abaali batabaagala.+ 2 Abayudaaya baakuŋŋaana wamu mu bibuga byabwe mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero+ okulwanyisa abo abaali baagala okubakolako akabi, era tewali muntu yasobola kubaŋŋanga kubanga abantu bonna baali bagwiriddwa entiisa y’Abayudaaya.+ 3 Era abaami b’ebitundu bonna, n’ab’amasaza,+ ne bagavana, n’abo abaakolanga emirimu gya kabaka baayamba Abayudaaya kubanga baali batya Moluddekaayi. 4 Moluddekaayi yalina obuyinza bungi+ mu nnyumba* ya kabaka, era ettutumu lye lyabuna mu masaza gonna, kubanga obuyinza bwe bwagenda bweyongera.

5 Abayudaaya batta abalabe baabwe bonna n’ekitala, ne babazikiriza, era abo abaali batabaagala ne babakola kyonna kye baayagala.+ 6 Mu lubiri lw’e Susani*+ Abayudaaya batta era ne bazikiriza abasajja 500. 7 Era batta Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa 8 ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa 9 ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vayizasa, 10 abaana ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa, omulabe w’Abayudaaya.+ Naye bwe baamala okubatta, tebaanyaga kintu kyonna.+

11 Ku lunaku olwo omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri lw’e Susani* ne gutegeezebwa kabaka.

12 Awo kabaka n’agamba Nnaabakyala Eseza nti: “Mu lubiri lw’e Susani* Abayudaaya basse era ne bazikiriza abasajja 500 ne batabani ba Kamani ekkumi. Kiki kye bakoze mu masaza ga kabaka amalala?+ Kaakano kiki ky’osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky’oyagala nkukolere kati? Nakyo kijja kukukolerwa.” 13 Eseza n’addamu nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka,+ n’enkya nsaba Abayudaaya abali mu Susani* bakkirizibwe okukolera ku tteeka lye bakoleddeko olwa leero;+ era ne batabani ba Kamani ekkumi ka bawanikibwe ku kikondo.”+ 14 Kabaka n’alagira bakole bwe batyo. Etteeka ne liyisibwa mu Susani,* era batabani ba Kamani ekkumi ne bawanikibwa.

15 Awo Abayudaaya abaali mu Susani* ne bakuŋŋaana ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi gwa Adali,+ ne batta abasajja 300 mu Susani,* naye tebaanyaga kintu kyonna.

16 Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka nabo baakuŋŋaana wamu ne beerwanako.+ Baasaanyaawo abalabe baabwe,+ ne batta abantu 75,000 abaali batabaagala; naye tebaanyaga kintu kyonna. 17 Ebyo byaliwo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi gwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula, ne balufuula olunaku olw’okuliirako ebijjulo n’okusanyukirako.

18 Ate bo Abayudaaya abaali mu Susani* baakuŋŋaana ku lunaku olw’ekkumi n’essatu+ n’olw’ekkumi n’ennya+ olw’omwezi ogwo, era ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirako ebijjulo n’okusanyukirako. 19 Eyo ye nsonga lwaki Abayudaaya ab’omu bibuga eby’omu masaza amalala olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi gwa Adali baalufuula lunaku lwa kusanyukirako+ era lwa kuliirako bijjulo, era lunaku lwa kujagulizaako, era lwa kuweerezaganirako mmere.+

20 Awo Moluddekaayi+ n’awandiika ebintu ebyo era n’aweereza amabaluwa eri Abayudaaya bonna abaali mu masaza ga Kabaka Akaswero gonna, ag’okumpi n’ag’ewala. 21 Yabalagira okukuzanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano ez’omwezi gwa Adali buli mwaka, 22 kubanga ku nnaku ezo Abayudaaya baawona abalabe baabwe, era mu mwezi ogwo obuyinike bwabwe bwafuuka ssanyu, n’okukungubaga kwabwe+ ne kufuuka olunaku olw’okujagulizaako. Baalina okuzikwatanga ng’ennaku ez’okuliirako ebijjulo, ez’okusanyukirako, ez’okuweerezaganirako emmere, era ez’okuweerako abaavu ebirabo.

23 Abayudaaya bakkiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka eyo gye baali batandise era n’okukola ekyo Moluddekaayi kye yali abawandiikidde. 24 Kubanga Kamani+ mutabani wa Kammedasa, Omwagagi,+ eyali omulabe w’Abayudaaya bonna, yali akoze olukwe okuzikiriza Abayudaaya,+ era ng’akubye Puli,+ oba Akalulu, abeeraliikirize era abazikirize. 25 Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n’ayisa etteeka mu buwandiike,+ nga ligamba nti: “Olukwe lwe yakolera Abayudaaya+ lumuddire”; era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kikondo.+ 26 Eyo ye nsonga lwaki ennaku ezo zaatuumibwa Pulimu ekiva mu kigambo Puli.*+ Bwe kityo, olw’ebyo byonna ebyali biwandiikiddwa mu bbaluwa n’olw’ebyo bye baali balabye ebikwata ku nsonga eno n’ebyali bibatuuseeko, 27 Abayudaaya beeteerawo etteeka nti bo ne bazzukulu baabwe n’abantu bonna abanaabeegattangako tebalekangayo+ kukuza nnaku ezo ebbiri mu biseera byazo buli mwaka n’okukola ebyo ebyali biwandiikiddwa okukolebwa ku nnaku ezo. 28 Era ennaku ezo zaali za kujjukirwanga era nga za kukuzibwa buli mulembe, buli maka, buli ssaza, na buli kibuga. Ennaku zino eza Pulimu tezaalina kuggibwawo mu Bayudaaya era bazzukulu baabwe tebaalina kulekayo kuzijjukiranga.

29 Nnaabakyala Eseza, muwala wa Abikayiri, ne Moluddekaayi Omuyudaaya baakozesa obuyinza bwabwe ne bawandiika okukakasa ebbaluwa ey’okubiri ekwata ku Pulimu. 30 Awo ebbaluwa ne ziweerezebwa eri Abayudaaya bonna abaali mu masaza 127+ ag’omu bwakabaka bwa Akaswero,+ nga zirimu ebigambo eby’emirembe n’amazima, 31 okukakasa okukwatibwa kw’ennaku za Pulimu mu biseera byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabakyala Eseza bwe baabalagira,+ era nga nabo bennyini bwe baali bakyetaddeko ne bazzukulu baabwe okuzikwatanga,+ nga mwe muli n’okusiiba+ n’okwegayirira.+ 32 Ekiragiro kya Eseza kyakakasa ensonga ezo ezikwata ku Pulimu+ era ne kiwandiikibwa mu kitabo.

10 Awo Kabaka Akaswero n’atandika okukozesa abantu mu matwale ge gonna emirimu egy’obuddu, ku lukalu ne ku bizinga.

2 Ebintu byonna eby’ekitalo era eby’amaanyi bye yakola ne byonna ebikwata ku bitiibwa kabaka bye yawa Moluddekaayi+ okumugulumiza,+ byawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera+ kya bakabaka ba Bumeedi ne Buperusi.+ 3 Moluddekaayi Omuyudaaya ye yali addirira Kabaka Akaswero era yali mukulu mu Bayudaaya era nga baganda be bamuwa ekitiibwa. Yakola nnyo okulaba nti abantu be baba bulungi era nti ne bazzukulu baabwe bonna baba mu mirembe.

Kirowoozebwa nti ono ye yali Zakisiisi eyasooka, mutabani wa Daliyo Omukulu.

Oba, “Kuusi.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “bibya.”

Oba, “lubiri.”

Obut., “abaali bamanyi ebiseera.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Ayitibwa Yekoyakini mu 2Sk 24:8.

Oba, “Susa.”

Oba, “lubiri.”

Oba, “n’amulaga okwagala okutajjulukuka.”

Laba Ebyong. B15.

Oba, “n’alagibwa okwagala okutajjulukuka.”

Kino kiyinza okuba kitegeeza okusumululwa mu kkomera oba okusonyiyibwa omusolo.

Obut., “okussa omukono ku.”

Oba, “ku lwa.”

Obut., “ng’okussa omukono ku.”

Laba Ebyong. B15.

Laba Ebyong. B15.

Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nja kuteeka ttalanta 10,000 mu ggwanika lya kabaka zisasulwe abo abanaakola omulimu.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “lubiri.”

Mita nga 22.3 (ffuuti 73). Laba Ebyong. B14.

Obut., “otulo twa kabaka twadduka.”

Obut., “okussa omukono ku.”

Oba, “olw’olubiri lwa.”

Mita nga 22.3 (ffuuti 73). Laba Ebyong. B14.

Laba Ebyong. B15.

Laba Ebyong. B15.

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Obut., “ekitangaala.”

Laba Ebyong. B15.

Oba, “lubiri.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

Oba, “Susa.”

“Puli,” kitegeeza “Akalulu,” ate “Pulimu” kitegeeza “Obululu,” era okwo kwe kwava erinnya ly’Embaga y’Abayudaaya eyitibwa “Pulimu,” ekwatibwa mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku kalenda entukuvu. Laba Ebyong. B15.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share