OMUBUULIZI
1 Ebigambo by’omubuulizi,*+ mutabani wa Dawudi, eyali kabaka mu Yerusaalemi.+
2 Omubuulizi agamba nti: “Butaliimu!”
“Butaliimu! Byonna butaliimu!”+
3 Omuntu aganyulwa ki mu kukola ennyo,
Mu mirimu gyonna gy’afuba okukola wansi w’enjuba?+
6 Empewo egenda ebukiikaddyo ate n’ekyuka n’egenda ebukiikakkono;
Egenda yeetooloola obutasalako; egenda ate n’edda.
7 Emigga* gyonna gikulukutira mu nnyanja, naye ennyanja tejjula.+
Mu kifo emigga we giva, we gidda ne giddamu okukulukuta.+
8 Ebintu byonna bikooya;
Tewali ayinza kubyogerako.
Eriiso terimatira kulaba;
N’okutu tekukoowa kuwulira.
10 Waliwo ekintu kyonna omuntu ky’ayinza okugamba nti, “Laba, kino kipya”?
Ekintu ekyo kiba kyaliwo dda;
Kiba kyaliwo nga ffe tetunnabaawo.
11 Tewali ajjukira bantu abaaliwo mu biseera eby’edda;
Tewali ajja kujjukira abo abanaddawo;
Ate nabo tebalijjukirwa abo abaliddawo oluvannyuma.+
12 Nze omubuulizi nnali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.+ 13 Nnassaayo omutima okunoonyereza n’amagezi+ ku byonna ebikoleddwa wansi w’eggulu+—ebintu byonna ebinakuwaza, Katonda by’awadde abaana b’abantu okukola.
15 Ekyakyama tekisoboka kugololwa,
N’ekitaliiwo tekisoboka kubalibwa.
16 Nnayogera mu mutima gwange nti: “Laba! Nfunye amagezi mangi okusinga bonna abansookawo mu Yerusaalemi,+ era omutima gwange gufunye amagezi mangi n’okumanya.”+ 17 Nnassaayo omutima okumanya ebikwata ku magezi, n’okumanya eddalu,* era n’okumanya obusirusiru,+ ne ndaba nga nabyo kuba kugoba mpewo.
18 Kubanga amagezi amangi galeeta obuyinike bungi,
Era buli ayongera ku kumanya kw’alina yeeyongerako obulumi.+
2 Nnagamba mu mutima gwange nti: “Kale nno ka ngezeeko eby’amasanyu* ndabe ebirungi ebivaamu.” Naye laba! ekyo nakyo bwali butaliimu.
2 Nnagamba nti, “Okuseka ddalu!”
Era nneebuuza nti, “Okusanyuka kugasa ki omuntu?”
3 Nnanywa omwenge+ naye ne nsigala nga ndi wa magezi; nnanoonyereza ne ku busirusiru nsobole okumanya abantu kye bagwanidde okukola mu nnaku entono ze bamala wansi w’eggulu. 4 Nnakola ebintu eby’ekitalo.+ Nneezimbira amayumba+ era ne nneesimbira ennimiro z’emizabbibu.+ 5 Nneeteerawo ebifo ebirabika obulungi mwe nnasimba emiti egy’ebibala ebya buli ngeri. 6 Nneesimira ebidiba by’amazzi okufukiriranga emiti emito egyali mu kibira kyange. 7 Nnafuna abaweereza abasajja n’abakazi,+ era nnalina n’abaweereza abaazaalibwa mu nnyumba yange.* Nnafuna n’ebisolo bingi—ente, endiga, n’embuzi+—okusinga bonna abansookawo mu Yerusaalemi. 8 Nnafuna ffeeza ne zzaabu mungi,+ eby’obugagga bya bakabaka n’eby’omu masaza.+ Nneefunira abayimbi abasajja n’abakazi, awamu n’ebisanyusa abaana b’abantu—abakazi bangi. 9 Nnatutumuka okusinga abo bonna abansookawo mu Yerusaalemi.+ Era nnasigala ndi wa magezi.
10 Buli kyonna kye nnayagalanga okukola nnakikolanga.*+ Omutima gwange saagumma kya masanyu kyonna,* era gwali musanyufu olw’ebyo byonna bye nnakola; eyo ye mpeera gye* nnafuna olw’ebyo byonna bye nnafuba okukola.+ 11 Kyokka bwe nnafumiitiriza ku byonna emikono gyange bye gyali gikoze, ne byonna bye nnafuba okukola,+ nnalaba nga byonna butaliimu era nga kugoba mpewo;+ tewaali kintu kyonna kya mugaso wansi w’enjuba.+
12 Awo ebirowoozo byange ne mbissa ku magezi n’eddalu n’obusirusiru.+ (Kubanga omuntu addawo nga kabaka avuddewo ayinza kukola ki? Ayinza kukola ebyo byokka ebyali bikoleddwa.) 13 Era ne ndaba ng’amagezi gasinga obusirusiru,+ ng’ekitangaala bwe kisinga ekizikiza.
14 Omuntu ow’amagezi ebintu aba abiraba bulungi;*+ naye omusirusiru atambulira mu kizikiza.+ Ate era nkirabye nti bombi enkomerero yaabwe y’emu.+ 15 Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Ekituuka ku basirusiru nange kye kijja okuntuukako.”+ Kati olwo amagezi amangi ge nnalina gangasa ki? Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Kino nakyo butaliimu.” 16 Kubanga ow’amagezi n’omusirusiru tebalijjukirwa ebbanga lyonna.+ Mu biseera ebijja buli omu alyerabirwa. Ow’amagezi alifa atya? Ng’omusirusiru bw’afa.+
17 Nnakyawa obulamu,+ olw’okuba byonna ebyali bikolebwa wansi w’enjuba byali binnakuwaza, kubanga byonna bwali butaliimu,+ era nga kugoba mpewo.+ 18 Nnakyawa byonna bye nnafuba okukola wansi w’enjuba,+ kubanga nnali ŋŋenda kubirekera oyo eyandinziriridde.+ 19 Ani amanyi oba aliba wa magezi oba musirusiru?+ So ng’ate ebintu byange byonna bye nnafuna wansi w’enjuba olw’okukola ennyo n’okukozesa amagezi bijja kusigala mu mikono gye. Ekyo nakyo butaliimu. 20 N’olwekyo nnawulira nga mpeddemu essuubi mu mutima olw’ebyo byonna bye nnafuba okukola wansi w’enjuba. 21 Kubanga omuntu ayinza okukola ennyo, ng’akozesa amagezi, n’okumanya, n’obukugu, naye ebintu bye byonna aba alina okubirekera omuntu ataabikolerera.+ Ekyo nakyo butaliimu era kya nnaku nnyo.
22 Omuntu aganyulwa ki mu kukola ennyo ne mu kutegana kw’ategana* wansi w’enjuba?+ 23 Kubanga ekiseera kyonna eky’obulamu bwe by’akola bimuleetera bulumi na nnaku,+ ate nga n’ekiro omutima gwe teguwummula.+ Ekyo nakyo butaliimu.
24 Eri omuntu, tewali kisinga kulya na kunywa na kweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.+ Ndabye nti ekyo nakyo kiva mu mukono gwa Katonda ow’amazima,+ 25 kubanga ani ansinga okulya obulungi n’okunywa obulungi?+
26 Katonda ow’amazima, oyo amusanyusa amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu,+ naye omwonoonyi amuwa ogw’okukuŋŋaanya eby’okuwa oyo amusanyusa.+ Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
3 Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo,
Na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kiba n’ekiseera kyakyo:
2 Ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
Ekiseera eky’okusimba n’ekiseera eky’okusiguukulula ekyasimbibwa;
3 Ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
Ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 Ekiseera eky’okukaaba n’ekiseera eky’okuseka;
Ekiseera eky’okukuba ebiwoobe n’ekiseera eky’okuzina;*
5 Ekiseera eky’okukasuka amayinja n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanya awamu;
Ekiseera eky’okugwa mu kifuba n’ekiseera eky’obutagwa mu kifuba;
6 Ekiseera eky’okunoonya n’ekiseera eky’okulekera awo okunoonya;
Ekiseera eky’okutereka n’ekiseera eky’okusuula;
7 Ekiseera eky’okuyuza+ n’ekiseera eky’okutunga;
Ekiseera eky’okusirika+ n’ekiseera eky’okwogera;+
8 Ekiseera eky’okwagala n’ekiseera eky’okukyawa;+
Ekiseera eky’olutalo n’ekiseera eky’emirembe.
9 Kiki omukozi ky’afuna olw’okukola ennyo?+ 10 Ndabye ebintu Katonda by’awadde abaana b’abantu okukolanga. 11 Buli kintu yakikola nga kirungi* era yakikola mu kiseera kyakyo.+ Yateeka mu mitima gyabwe ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna; kyokka abantu tebalitegeerera ddala bintu Katonda ow’amazima by’akoze okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.
12 Nkirabye nti eri abantu teri kisinga kusanyuka n’okukola ebirungi mu bulamu bwabwe,+ 13 era nti buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+
14 Nkitegedde nti buli kintu Katonda ow’amazima ky’akola kijja kubeerawo emirembe gyonna. Tewali kiyinza kukyongerwako era tewali kiyinza kukiggibwako. Katonda ow’amazima yakikola bw’atyo abantu balyoke bamutye.+
15 Buli ekibeerawo kyali kibaddewo, era buli ekigenda okujja kyali kibaddewo;+ naye Katonda ow’amazima anoonya ekyo ekiwonderwa.*
16 Ndabye na kino wansi w’enjuba: Awandibadde obwenkanya waliwo bikolwa bibi, n’awandibadde obutuukirivu waliwo bikolwa bibi.+ 17 Kyennava ŋŋamba mu mutima gwange nti: “Katonda ow’amazima ajja kulamula abatuukirivu n’ababi,+ kubanga waliwo ekiseera ekya buli mulimu na buli ekikolebwa.”
18 Era nnayogera mu mutima gwange ku baana b’abantu nti Katonda ow’amazima ajja kubagezesa abalage nti balinga ensolo, 19 kubanga ekituuka ku bantu kye kituuka ne ku nsolo. Ng’ensolo bw’efa n’omuntu bw’atyo bw’afa;+ byonna birina omwoyo gwe gumu.+ N’olwekyo omuntu talina ky’asinga nsolo, kubanga byonna butaliimu. 20 Byonna bigenda mu kifo kimu.+ Byonna byava mu nfuufu+ era byonna bidda mu nfuufu.+ 21 Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, era obanga ogw’ensolo gukka wansi?+ 22 Era nnalaba nti eri omuntu, ekisinga obulungi kwe kusanyuka olw’ebyo byonna by’ateganidde,+ eyo ye mpeera ye;* kubanga ani ayinza okumusobozesa okulaba ebiribaawo ng’amaze okufa?+
4 Nnaddamu ne ndowooza ku bikolwa byonna eby’okunyigiriza abalala ebikolebwa wansi w’enjuba. Nnalaba amaziga g’abo abanyigirizibwa, era nga tewali ababudaabuda.+ Tewaali ababudaabuda olw’okuba abaali babanyigiriza baalina obuyinza. 2 Nnalowooza nti omufu asinga omulamu.+ 3 Naye abasinga bombi y’oyo atannazaalibwa,+ atannalaba binakuwaza ebikolebwa wansi w’enjuba.+
4 Era nkirabye nti okuvuganya kwe kuleetera abantu okukola ennyo n’okwolesa obukugu;+ ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
5 Omusirusiru azinga emikono n’afa enjala.*+
6 Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.+
7 Nnaddamu ne ndowooza ku kintu ekirala ekitaliimu ekikolebwa wansi w’enjuba: 8 Wabaawo omuntu ng’ali bw’omu bw’ati, nga talina munne, wadde omwana, wadde muganda we, kyokka ng’akola butaweera. Amaaso ge tegamatira bya bugagga.+ Naye amala ne yeebuuza nti, ‘Ani gwe nteganira era lwaki nneerumya’?+ Ekyo nakyo butaliimu era kinakuwaza.+
9 Ababiri basinga omu,+ kubanga bafuna empeera ennungi* olw’ebyo bye bafuba okukola. 10 Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka. Naye omuntu bw’aba yekka n’agwa, ani ayinza okumuyamba okusituka?
11 Ate era ababiri bwe bagalamira awamu babuguma, naye ali obw’omu ayinza atya okubuguma? 12 Omuntu ayinza okusinza amaanyi oyo ali yekka, naye ababiri tasobola kubasinza maanyi. N’omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.
13 Omwana omwavu naye nga wa magezi asinga kabaka omukadde omusirusiru+ atakyayagala kuwabulwa.+ 14 Omwana oyo yava mu kkomera n’afuuka kabaka,+ wadde nga yazaalibwa mwavu mu bwakabaka bwa kabaka oyo.+ 15 Nnalowooza ku bantu bonna abalamu abatambulatambula wansi w’enjuba, ne ku muvubuka addira kabaka mu bigere. 16 Wadde ng’aba n’abawagizi bangi, abantu abaddawo oluvannyuma tebamusanyukira.+ Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
5 Weegenderezanga buli lw’ogenda mu nnyumba ya Katonda ow’amazima;+ okugenda okuwuliriza+ kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’abasirusiru bwe bakola,+ kubanga tebamanyi nti kye bakola kibi.
2 Topapanga kwogera, era omutima gwo tegwanguyirizanga kwogera mu maaso ga Katonda ow’amazima,+ kubanga Katonda ow’amazima ali mu ggulu, naye ggwe oli ku nsi. Eyo ye nsonga lwaki ebigambo byo bisaanidde okuba ebitono.+ 3 Ebintu ebiteganya omuntu bye bimuviirako okuloota,+ era okwogera ennyo kuleetera omuntu okwogera eby’ekisirusiru.+ 4 Buli lw’obaako kye weeyamye eri Katonda, tolwangawo kukituukiriza;+ kubanga Katonda tasanyukira basirusiru.+ Kye weeyama okituukirizanga.+ 5 Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’ototuukiriza.+ 6 Toganyanga kamwa ko kukuleetera* kwonoona,+ era toyogeranga mu maaso ga malayika* nti tewagenderedde.+ Lwaki osunguwaza Katonda ow’amazima olw’ebyo by’oyogera, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?+ 7 Ng’okutegana ennyo bwe kuviirako omuntu okuloota,+ n’ebigambo ebingi nabyo butaliimu. Otyanga Katonda ow’amazima.+
8 Bw’olabanga ow’obuyinza ng’anyigiriza omwavu era ng’akola ebitali bya bwenkanya n’ebitali bya butuukirivu mu ssaza lyo, teweewuunyanga.+ Kubanga ow’obuyinza oyo wabaawo amusingako amutunuulidde, era abo bombi wabaawo ababasingako.
9 Ate era ebiva mu ttaka bonna babigabana; ne kabaka by’alya biva mu nnimiro.+
10 Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.+ Ekyo nakyo butaliimu.+
11 Ebintu ebirungi bwe byeyongera obungi, n’ababirya beeyongera.+ Kati olwo bigasa ki nnannyini byo, okuggyako okubitunuulira obutunuulizi n’amaaso ge?+
12 Otulo tw’omuntu akolera abalala tumuwoomera, k’abe ng’alya bitono oba bingi, naye ebintu ebingi omugagga by’aba nabyo tebimuganya kwebaka.
13 Waliwo ekintu eky’ennaku kye* ndabye wansi w’enjuba: eby’obugagga ebyaterekebwa nnyini byo ne yeerumya yekka. 14 Eby’obugagga ebyo byasaanawo olw’ekizibu ekyagwawo, era omwana gw’azaala aba talina kya kumuwa ng’obusika.+
15 Ng’omuntu bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng’ali bwereere, bw’atyo bw’aligenda.+ Tasobola kugenda na kintu na kimu ku ebyo byonna bye yateganira.+
16 Kino nakyo kikwasa ennaku:* Nga bwe yajja bw’atyo bw’aligenda; kati olwo omuntu akola ennyo naye ng’alinga agoba empewo kimugasa ki?+ 17 Ate era bulijjo tawoomerwa by’alya,* era aba munakuwavu nnyo, mulwadde, era musunguwavu.+
18 Nnalaba nga kino kye kirungi era nga kye kisaana: omuntu okunywa n’okulya n’okusanyuka olw’ebyo by’aba afubye+ okukola mu kiseera ekitono Katonda ow’amazima ky’aba amuwadde, kubanga eyo ye mpeera ye.*+ 19 Ate era Katonda ow’amazima bw’awa omuntu eby’obugagga+ era n’amusobozesa okubyeyagaliramu, omuntu oyo asaanidde akkirize empeera* emuweereddwa era asanyuke olw’ebyo by’afubye okukola. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+ 20 Kubanga tajja na kukiraba* nti ennaku z’obulamu ziyita mangu, olw’okuba Katonda ow’amazima ajjuzza omutima gwe essanyu.+
6 Waliwo ekintu ekirala eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba era nga kitera okubaawo mu bantu: 2 Katonda ow’amazima awa omuntu eby’obugagga n’ekitiibwa, omuntu oyo n’atabaako ky’ajula; kyokka Katonda ow’amazima n’atamusobozesa kubyeyagaliramu, wadde ng’omuntu omulala ayinza okubyeyagaliramu. Ekyo nakyo butaliimu era kya nnaku nnyo. 3 Omusajja ne bw’azaala abaana ekikumi n’awangaala emyaka mingi era n’akaddiwa, kyokka n’agenda mu ntaana nga teyeeyagaliddeeko mu bintu bye, nze ŋŋamba nti omwana eyazaalibwa ng’afudde amusinga.+ 4 Kubanga omwana oyo baba baamuzaalira bwereere era yagendera mu kizikiza, era nga n’erinnya lye lyetooloddwa ekizikiza. 5 Wadde nga teyalaba ku njuba era nga teyamanya kintu kyonna, asinga omusajja oli.*+ 6 Kigasa ki omuntu okuwangaala emyaka enkumi bbiri naye nga si musanyufu? Bonna tebagenda mu kifo kimu?+
7 Omuntu ateganira kujjuza lubuto lwe,+ naye tamatira. 8 Kiki ow’amagezi ky’asinga omusirusiru,+ era omuntu omwavu okuba nti amanyi engeri y’okweyimirizaawo kimugasa ki? 9 Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna. Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
10 Buli ekyali kibaddewo kyatuumibwa dda erinnya, n’omuntu ky’ali kimanyiddwa; tasobola kuwakana* n’oyo amusinga amaanyi. 11 Ebigambo* gye bikoma okuba ebingi, gye bikoma okuba ebitaliimu; kati olwo bigasa ki omuntu? 12 Ani amanyi omuntu ky’agwanidde okukola mu nnaku entono ez’obulamu bwe obutaliimu obuyita obuyisi ng’ekisiikirize,+ era ani ayinza okumubuulira ebiribaawo wansi w’enjuba ng’amaze okufa?
7 Erinnya eddungi* lisinga amafuta amalungi,+ n’olunaku olw’okufiirako lusinga olw’okuzaalibwako. 2 Okugenda mu nnyumba omuli okukungubaga kisinga okugenda mu nnyumba omuli embaga,+ kubanga okufa ye nkomerero ya buli muntu, era abalamu basaanidde okukifumiitirizaako. 3 Okuba mu nnaku kisinga okuseka,+ kubanga okunyiikaala kuleetera omutima okulongooka.+ 4 Omutima gw’ab’amagezi guba mu nnyumba omuli okukungubaga, naye omutima gw’abasirusiru guba mu nnyumba omuli okusanyuka.+
5 Okuwuliriza ow’amagezi ng’akunenya+ kisinga okuwuliriza oluyimba lw’abasirusiru. 6 Kubanga ng’amaggwa bwe gatulika nga gaakira wansi w’entamu, n’enseko z’omusirusiru bwe ziba bwe zityo;+ ekyo nakyo butaliimu. 7 Okunyigirizibwa kuyinza okulalusa ow’amagezi, n’enguzi eyonoona omutima.+
8 Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo. Okuba omugumiikiriza kisinga okuba ow’amalala.+ 9 Toyanguyirizanga* kusunguwala,+ kubanga abasirusiru be baba ab’obusungu.*+
10 Tobuuzanga nti, “Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?” kubanga ekyo tekiba kibuuzo kya magezi.+
11 Omuntu ow’amagezi bw’afuna obusika kiba kintu kirungi era kigasa abo abalaba ekitangaala ky’enjuba.* 12 Kubanga amagezi kya bukuumi+ nga ne ssente bwe ziri eky’obukuumi,+ naye ensonga lwaki okumanya kwe kusinga okuba okw’omugaso y’eno: Amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.+
13 Lowooza ku ebyo Katonda ow’amazima bye yakola, kubanga ani ayinza okugolola kye yakyamya?+ 14 Ku lunaku olulungi, beera musanyufu,+ naye ku lunaku olw’ebizibu,* kimanye nti zombi Katonda ye yazikola,+ abantu baleme okutegeera* ebintu ebiribatuukako mu biseera eby’omu maaso.+
15 Mu bulamu bwange obutaliimu+ ndabye ebintu byonna. Ndabye omutuukirivu afiira mu butuukirivu+ bwe n’omubi awangaala wadde nga mubi.+
16 Toyitirizanga kuba mutuukirivu+ era teweetwalanga kuba wa magezi nnyo.+ Lwaki weereetera emitawaana?+ 17 Toyitirizanga kuba mubi era tobanga musirusiru.+ Lwaki ofa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka?+ 18 Kirungi okukolera ku kulabula kuno ate na kuli oleme kukusuula muguluka;+ oyo atya Katonda ajja kukukolerako kwombi.
19 Omuntu alina amagezi gamufuula wa maanyi okusinga abantu ekkumi ab’amaanyi abali mu kibuga.+ 20 Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.+
21 Ate era tossa mwoyo ku buli kigambo abantu kye boogera,+ sikulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akwogerako bubi;* 22 kubanga okimanyi mu mutima gwo nti naawe emirundi mingi oyogera bubi ku balala.+
23 Bino byonna nnabifumiitirizaako nga nkozesa amagezi ge nnina, ne ŋŋamba nti: “Nja kuba wa magezi.” Naye ekyo saakituukako. 24 Ebibaddewo bitusukkiriddeko era bya munda nnyo, ani ayinza okubitegeera?+ 25 Omutima gwange nnagussa ku bintu ebirala kubanga nnayagala mmanye amagezi kye gali era n’ensonga lwaki ebintu bibaawo. Nnayagala nnoonye ebintu bino era mbinoonyerezeeko, era ntegeere ng’obusirusiru bubi, n’eddalu busirusiru.+ 26 Kino kye nnazuula: Omukazi alinga ekitimba ky’omuyizzi, era alina omutima ogulinga akatimba k’omuvubi, n’engalo eziringa enjegere z’ekkomera, mubi okusinga okufa. Omuntu asanyusa Katonda ow’amazima ajja kuwona omukazi oyo,+ naye omukazi oyo ajja kukwasa omwonoonyi.+
27 Omubuulizi*+ agamba nti, “Laba! Kino kye nnazuula. Mbadde nnoonyereza ku bintu kimu ku kimu nsobole okutuuka ku kusalawo, 28 naye kye mbaddenga nnoonya sikifunye. Mu bantu olukumi nzuddemu omusajja omutuukirivu omu, naye mu abo bonna sirabyemu mukazi n’omu omutuukirivu. 29 Kino kyokka kye nzudde: Katonda ow’amazima yakola abantu nga bagolokofu+ naye bo ne beegunjizaawo amakubo amalala.”+
8 Ani alinga omuntu ow’amagezi? Ani amanyi engeri y’okugonjoolamu ekizibu? Amagezi galabisa bulungi omuntu mu maaso, era n’entunula ye embi erongooka.
2 Ŋŋamba nti: “Gondera ebiragiro bya kabaka+ olw’ekirayiro ekyalayirwa mu maaso ga Katonda.+ 3 Toyanguyirizanga kuva mu maaso ge.+ Teweenyigiranga mu kintu kibi;+ kubanga asobola okukola kyonna ky’ayagala, 4 era ekigambo kya kabaka kiba kya nkomeredde;+ ani ayinza okumubuuza nti, ‘Okola ki?’”
5 Oyo akwata ebiragiro tajja kutuukibwako kabi,+ era ow’omutima ogw’amagezi ajja kumanya ekiseera ekituufu n’enkola entuufu.+ 6 Wadde ng’abantu balina ebibatawaanya bingi, buli kintu kirina ekiseera kyakyo n’engeri gye kikolebwamu.+ 7 Okuva bwe kiri nti tewali amanyi kinaabaawo, olwo ani ayinza okumubuulira engeri gye kinaabaawo?
8 Nga bwe watali muntu alina buyinza ku mwoyo* oba asobola kuguziyiza, n’olunaku lw’okufa tewali alulinako buyinza.+ Ng’omusirikale bw’atakkirizibwa kuva mu lutalo, n’ebikolwa ebibi tebisobola kukkiriza abo ababikola okubireka.*
9 Ebyo byonna mbirabye, era omutima gwange ne gulowooza ku ebyo byonna ebikoleddwa wansi w’enjuba, mu kiseera omuntu w’abeeredde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.*+ 10 Ababi abaayingiranga era ne bafuluma mu kifo ekitukuvu, nnabalaba nga baziikibwa, naye mangu ddala beerabirwa mu kibuga mwe baakoleranga ebibi.+ Ekyo nakyo butaliimu.
11 Olw’okuba abantu abakola ebibi tebabonerezebwa mangu,+ omutima gw’omuntu kyeguva gumalirira okukola ebintu ebibi.+ 12 Omwonoonyi ne bw’akola ebibi emirundi kikumi era n’awangaala nnyo, nkimanyi nti abo abatya Katonda ow’amazima binaabagenderanga bulungi, olw’okuba bamutya.+ 13 Naye omubi tebijja kumugendera bulungi+ era tajja kwongera ku nnaku ze eziringa ekisiikirize,+ olw’okuba tatya Katonda.
14 Waliwo ekintu ekimalamu amaanyi ekibaawo ku nsi: Abatuukirivu okuyisibwa ng’abakozi b’ebibi,+ n’ababi okuyisibwa ng’abakola eby’obutuukirivu.+ Ŋŋamba nti ekyo nakyo butaliimu.
15 N’olwekyo nnasemba eky’okusanyuka,+ kubanga eri omuntu teri kisinga kulya, kunywa, na kusanyuka; ebyo binaabangawo mu kutegana kwe mu kiseera ky’obulamu+ Katonda ow’amazima bwe yamuwa wansi w’enjuba.
16 Nnamalirira okufuna amagezi n’okulaba byonna ebikolebwa ku nsi,+ nga n’okwebaka seebaka emisana n’ekiro.* 17 Nnalowooza ku byonna Katonda ow’amazima by’akola, ne nkiraba nti omuntu tasobola kutegeera bikolebwa wansi w’enjuba.+ Abantu ne bwe bagezaako batya, tebayinza kubitegeera. Ne bwe bagamba nti basobola okubimanya olw’okuba bagezi nnyo, tebasobola kubitegeera.+
9 Bino byonna nnabirowoozaako ne nkiraba nti abatuukirivu n’ab’amagezi, awamu ne bye bakola, biri mu mikono gya Katonda ow’amazima.+ Abantu tebamanyi kwagala na bukyayi ebyaliwo nga tebannabaawo. 2 Ebintu ebituuka ku bantu bonna bye bimu,+ abatuukirivu n’ababi,+ abalungi n’abalongoofu era n’abatali balongoofu, abawaayo ssaddaaka n’abatawaayo ssaddaaka. Tewali njawulo wakati w’omulungi n’omwonoonyi; tewali njawulo wakati w’oyo ayanguyiriza okulayira n’oyo atayanguyiriza kulayira. 3 Kino kye kintu eky’ennaku ekibaawo wansi w’enjuba: Olw’okuba ebituuka ku bantu bonna bye bimu,+ emitima gy’abantu gijjudde ebibi; mu kiseera ky’obulamu bwabwe emitima gyabwe giba gijjudde eddalu, n’ekiddirira kufa.*
4 Buli akyali omulamu aba n’essuubi, kubanga embwa ennamu esinga empologoma enfu.+ 5 Abalamu bamanyi nti balifa,+ naye abafu tebaliiko kye bamanyi,+ era tebakyalina mpeera yonna kubanga beerabirwa; tebakyajjukirwa.+ 6 Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe, byaggwaawo, era tebakyenyigira mu kintu kyonna ekikolebwa wansi w’enjuba.+
7 Genda olye emmere yo ng’osanyuka era onywe omwenge gwo n’omutima omusanyufu,+ kubanga Katonda ow’amazima asiima by’okola.+ 8 Ebyambalo byo ka bibeerenga byeru* bulijjo, era tolemanga kusiiga mafuta ku mutwe gwo.+ 9 Nyumirwa obulamu ne mukyala wo+ gw’oyagala ennyo ennaku zonna ez’obulamu bwo Katonda z’akuwadde wansi w’enjuba, ennaku zonna ez’obulamu bwo obutaliimu, kubanga ogwo gwe mugabo gwo mu bulamu ne mu byonna by’ofuba okukola wansi w’enjuba.+ 10 Buli kintu omukono gwo kye gufuna okukola, okikolanga n’amaanyi go gonna, kubanga emagombe* gy’ogenda teriiyo mulimu,+ wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.
11 Era nnina ekirala kye ndabye wansi w’enjuba; abawenyuka emisinde, bulijjo si be bawangula empaka, ab’amaanyi, bulijjo si be bawangula olutalo,+ ab’amagezi, bulijjo si be baba n’emmere, abagezi, bulijjo si be baba n’eby’obugagga,+ n’abamanyi ebingi, bulijjo si be baba obulungi,+ kubanga ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa* bibatuukako bonna. 12 Kubanga omuntu tamanyi kiseera kye.+ Ng’ebyennyanja bwe bikwatibwa mu katimba, era ng’ebinyonyi bwe bikwatibwa mu mutego, n’abaana b’abantu bwe baba bwe batyo ekiseera ekizibu bwe kibatuukako nga tebakisuubira.
13 Era waliwo kye nneetegerezza ekikwata ku magezi wansi w’enjuba, ne kinneewuunyisa nnyo: 14 Waaliwo ekibuga ekitono nga kirimu abantu batono; kabaka ow’amaanyi n’akirumba, n’akizingiza n’akizimbako ekikomera. 15 Mu kibuga ekyo mwalimu omusajja omwavu naye nga wa magezi, era yawonya ekibuga ng’akozesa amagezi ge. Kyokka tewaali n’omu eyajjukira omusajja oyo omwavu.+ 16 Kale ne ŋŋamba nti: ‘Amagezi gasinga amaanyi;+ naye amagezi g’omwavu ganyoomebwa era ebigambo bye tebabiwuliriza.’+
17 Okuwuliriza ebigambo ab’amagezi bye boogera mu bukkakkamu kisinga okuwuliriza okuleekaana ku oyo afuga abasirusiru.
18 Amagezi gasinga eby’okulwanyisa, naye omwonoonyi omu bw’ati ayinza okuzikiriza ebirungi bingi.+
10 Ng’ensowera enfu bwe zireetera amafuta ag’akaloosa okwonooneka ne gawunya bubi, n’obusirusiru obutonotono bubuutikira amagezi g’omuntu n’ekitiibwa kye.+
2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumutwala mu kkubo ettuufu,* naye omutima gw’omusirusiru gumutwala mu kkubo ekkyamu.*+ 3 Mu makubo ge gonna, omusirusiru tayoleka magezi,*+ era alaga abantu bonna nga bw’ali omusirusiru.+
4 Obusungu* bw’omufuzi bwe bukubuubuukira, tova mu kifo ky’olimu,+ kubanga obukkakkamu buziyiza ebibi eby’amaanyi.+
5 Waliwo ekintu eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba, ye nsobi abali mu buyinza gye bakola:+ 6 Abasirusiru bateekebwa mu bifo ebya waggulu, naye abalina obusobozi* ne bateekebwa mu bifo ebya wansi.
7 Ndabye abaweereza nga beebagadde embalaasi, kyokka ng’abakungu batambuza bigere ng’abaweereza.+
8 Omuntu asima ekinnya ayinza okukigwamu;+ n’oyo amenya ekisenge ky’amayinja omusota guyinza okumubojja.
9 Omuntu asima amayinja gayinza okumutuusaako akabi, era n’oyo ayasa enku ziyinza okumutuusaako akabi.*
10 Embazzi bw’eba terina bwogi n’etawagalwa, agikozesa alina okukozesa amaanyi mangi. Naye amagezi gayamba omuntu okutuuka ku buwanguzi.
11 Omusota bwe gubojja omuntu nga tegunnalogebwa guleme kubojja, aloga emisota aba takyagasa.
12 Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bisanyusa,+ naye emimwa gy’omusirusiru gimuzikiriza.+ 13 Ebigambo ebisooka okuva mu kamwa ke bya busirusiru,+ n’ebigambo ebisembayo okuva mu kamwa ke ddalu ery’akabi. 14 Kyokka omusirusiru yeeyongera bweyongezi kwogera.+
Omuntu tamanyi binaabaawo; ani ayinza okumubuulira ebinaabaawo ng’amaze okufa?+
15 Okufuba kw’omusirusiru kumukooya, n’atasobola na kumanya kkubo lya kuyitamu kutuuka mu kibuga.
16 Ensi eba mu buzibu kabaka waayo bw’aba nga mulenzi muto,+ ate nga n’abakungu baayo bakeera kulya bijjulo. 17 Ensi eba bulungi, kabaka waayo bw’aba nga mwana w’abakungu, era nga n’abakungu baayo baliira mu kiseera ekituufu okusobola okufuna amaanyi, so si kutamiira.+
18 Olw’obugayaavu obungi, akasolya kagwamu, era n’ennyumba etonnya lwa kulera ngalo.+
19 Omugaati gufumbibwa* kuleeta nseko, n’omwenge guleeta essanyu mu bulamu,+ naye ssente zikola ku byetaago byonna.+
20 Tokolimiranga kabaka wadde mu birowoozo byo,*+ era toyogeranga bubi ku* bagagga ng’oli mu kisenge kyo, kubanga ekinyonyi* kiyinza okutwala eddoboozi lyo,* era ekitonde ekirina ebiwaawaatiro kiyinza okuddamu bye wayogedde.
11 Suula omugaati gwo ku mazzi,+ kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.+ 2 Ku by’olina gabirako abantu musanvu oba munaana,+ kubanga tomanyi katyabaga kanaagwaawo ku nsi.
3 Ebire bwe bijjula amazzi, bivaamu enkuba n’etonnya ku nsi; n’omuti bwe gugwa ku luuyi olw’ebukiikaddyo oba olw’ebukiikakkono, we gugwa we gusigala.
4 Atunuulira embuyaga talisiga, n’oyo atunuulira ebire talikungula.+
5 Nga bw’otomanyi ngeri mwoyo gye gukolera mu magumba g’omwana ali mu nda y’omukazi,*+ era bw’otyo bw’otomanyi mulimu gwa Katonda ow’amazima, akola ebintu byonna.+
6 Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi,+ kubanga tomanyi zinaamera, oba zino oba ziri, era obanga zonna zinaamera.
7 Ekitangaala kisanyusa, era kiba kirungi amaaso okulaba omusana. 8 Omuntu bw’awangaala emyaka emingi, asaanidde agisanyukiremu gyonna.+ Naye akijjukire nti ennaku ez’obuyinike ziyinza okuba ennyingi; byonna ebinajja butaliimu.+
9 Muvubuka, sanyuka ng’okyali muto era omutima gwo gubeere musanyufu ng’okyali muvubuka. Tambulira mu makubo g’omutima gwo era genda amaaso go gye gakutwala; naye kimanye nti Katonda ow’amazima ajja kukusalira omusango olw’ebyo byonna.+ 10 N’olwekyo, omutima gwo guggyeemu ebintu ebikuteganya, era n’omubiri gwo guggyeemu ebintu eby’akabi, kubanga obuto n’obuvubuka butaliimu.+
12 Kale jjukiranga Omutonzi wo ow’Ekitalo ng’okyali muvubuka,+ ng’ennaku ez’obuyinike tezinnajja,+ nga n’emyaka teginnatuuka mw’oligambira nti: “Sikyanyumirwa bulamu”; 2 Ng’ekitangaala ky’enjuba, n’omwezi, n’emmunyeenye tekinnaggwaawo,+ nga n’ebire tebinnaleeta nnamutikkwa wa nkuba;* 3 ku lunaku abakuumi b’ennyumba lwe balitandika okukankana, n’abasajja ab’amaanyi ne bakutama, n’abakazi ne balekera awo okusa olw’okuba basigadde batono, n’abakyala abalingiza mu madirisa nga tebakyalaba bulungi;+ 4 ng’enzigi ezitunudde mu luguudo ziggaddwa, n’eddoboozi ly’okusa nga likendedde, ng’omuntu azuukuka olw’okuwulira eddoboozi ly’akanyonyi, era nga n’abawala bayimba mu ddoboozi ery’ekimpoowooze.+ 5 Era omuntu aba atya ebigulumivu, era nga yeeraliikirira obuzibu obuyinza okumutuukako mu nguudo. Omuti gw’omuloozi gumulisa,+ n’ejjanzi ligenda lyekulula, n’ekibala ekyagazisa omuntu okulya kyatika, olw’okuba omuntu agenda mu nnyumba ye ey’olubeerera+ era ng’abakungubazi batambulatambula mu nguudo;+ 6 ng’omuguwa ogwa ffeeza tegunnakutuka, nga n’ekibya ekya zzaabu tekinnayatika, era ng’ensuwa eri ku luzzi tennayatika, nga ne nnamuziga ekozesebwa okusena amazzi mu luzzi tennayatika. 7 Olwo enfuufu n’edda mu ttaka+ gye yali mu kusooka, n’omwoyo* ne gudda eri Katonda ow’amazima eyaguwa abantu.+
8 Omubuulizi*+ agamba nti: “Butaliimu! Byonna butaliimu!”+
9 Ng’oggyeeko okuba nti omubuulizi yali afuuse wa magezi, yayigirizanga abantu bye yali amanyi,+ era yafumiitirizanga n’anoonyereza asobole okusengeka engero nnyingi.+ 10 Omubuulizi yafuba okunoonya ebigambo ebisanyusa+ era n’okuwandiika ebigambo ebituufu era eby’amazima.
11 Ebigambo by’abantu ab’amagezi biringa emiwunda,+ era ebigambo byabwe ebikuŋŋaanyiziddwa biringa emisumaali egikomereddwa ne ginywera; omusumba abigaba ali omu. 12 Mwana wange, ng’oggyeeko ebyo, ebirala byonna obyegenderezanga: Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, era okubisoma ekisukkiridde kukooya omubiri.+
13 Ng’ebintu byonna bimaze okuwulirwa, eky’enkomerero kye kino: Tyanga Katonda ow’amazima+ era okwatenga ebiragiro bye,+ kubanga ekyo omuntu ky’ateekeddwa okukola.+ 14 Kubanga Katonda ow’amazima alisalira abantu omusango okusinziira ku ebyo bye bakola, nga mw’otwalidde na buli ekikolebwa mu nkiso, ka kibe kirungi oba kibi.+
Oba, “by’oyo akuŋŋaanya abantu.”
Obut., “eyimirira.”
Oba, “eyaka.”
Oba, “Emigga gy’omu kiseera eky’obutiti.”
Oba, “obusirusiru obungi ennyo.”
Oba, “okusanyuka.”
Obut., “abaana b’ennyumba.”
Obut., “amaaso gange kye gansabanga.”
Oba, “kusanyuka kwonna.”
Oba, “ogwo gwe mugabo gwe.”
Obut., “amaaso ge gaba mu mutwe gwe.”
Obut., “ne mu kutegana kw’omutima gwe.”
Obut., “eky’okubuukabuuka.”
Oba, “mu ngeri entegeke obulungi; nga kisaanira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekyayita.”
Oba, “ogwo gwe mugabo gwe.”
Obut., “era alya omubiri gwe.”
Oba, “baganyulwa nnyo.”
Obut., “kuleetera mubiri gwo.”
Oba, “g’omubaka.”
Oba, “omutawaana gwe.”
Oba, “Guno nagwo mutawaana gwa maanyi.”
Obut., “aliira mu nzikiza.”
Oba, “ogwo gwe mugabo gwe.”
Oba, “omugabo.”
Oba, “kukijjukira.”
Obut., “awummula okusinga omusajja oli.”
Oba, “kuwoza.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebintu.”
Obut., “Erinnya.”
Obut., “Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “obusungu ke kabonero akalaga nti omuntu musirusiru.”
Kwe kugamba, abalamu.
Oba, “olw’emitawaana.”
Oba, “okuzuula.”
Obut., “ng’akukolimira.”
Oba, “Oyo akuŋŋaanya abantu.”
Oba, “mukka; mpewo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “obubi bw’ababi tebusobola kubawonya.”
Oba, “n’amulumya.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’abantu tebeebaka emisana wadde ekiro.”
Obut., “era oluvannyuma—eri abafu!”
Kwe kugamba, ebyambalo ebya langi encamufu ebyoleka essanyu, so si eby’okukungubaga.
Laba Awanny.
Oba, “ebigwa obugwi.”
Obut., “guba ku mukono gwe ogwa ddyo.”
Obut., “guba ku mukono gwe ogwa kkono.”
Obut., “omutima gwe tegubaamu magezi.”
Obut., “Omwoyo; Omukka.”
Obut., “abagagga.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “alina okuzeegendereza.”
Oba, “Emmere efumbibwa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku kitanda kyo.”
Obut., “tokolimiranga.”
Obut., “ekitonde ekibuuka eky’omu bbanga.”
Oba, “obubaka.”
Obut., “magumba agali mu nda y’omukazi.”
Obut., “ebire ne bikomawo oluvannyuma lw’enkuba.”
Oba, “n’amaanyi ag’obulamu.”
Oba, “Oyo akuŋŋaanya abantu.”