EZEEKYERI
1 Awo ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogw’okuna, mu mwaka ogwa 30, bwe nnali n’abantu abaali mu buwaŋŋanguse+ okumpi n’Omugga Kebali,+ eggulu ne libikkulibwa ne ndaba okwolesebwa kwa Katonda. 2 Ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogwo, nga gwe gwali omwaka ogw’okutaano bukya Kabaka Yekoyakini atwalibwa mu buwaŋŋanguse,+ 3 Yakuwa yayogera nange nze Ezeekyeri* mutabani wa Buuzi kabona, nga ndi kumpi n’Omugga Kebali mu nsi y’Abakaludaaya.+ Omukono gwa Yakuwa gwanzijako nga ndi eyo.+
4 Bwe nnali nkyatunula, ne ndaba embuyaga ey’amaanyi+ ng’eva ebukiikakkono, era waaliwo ekire ekinene n’omuliro ogumyansa*+ nga byetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi, era wakati mu muliro mwalimu ekintu ekifaanana ng’ekyuma ekimasamasa.*+ 5 Mu muliro ogwo mwalimu ebyali bifaanana ng’ebiramu ebina,+ nga buli kimu kifaanana ng’omuntu. 6 Buli kiramu kyalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina.+ 7 Ebigere byabyo byali bitereevu, nga bifaanana ng’eby’ennyana, era nga bimasamasa ng’ekikomo ekizigule.+ 8 Byalina emikono ng’egy’abantu nga giri wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo zonna ennya, era byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro. 9 Ebiwaawaatiro byabyo byali bikoonagana. Buli kiramu kyagendanga butereevu mu maaso nga tekikyuka.+
10 Obwenyi bwabyo bwali bufaanana bwe buti: Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina obwenyi ng’obw’omuntu, n’obwenyi ng’obw’empologoma+ ku luuyi olwa ddyo, n’obwenyi ng’obw’ente ennume+ ku luuyi olwa kkono, era buli kimu kyalina obwenyi+ ng’obw’empungu.+ 11 Bwe butyo obwenyi bwabyo bwe bwali. Ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluziddwa waggulu waabyo. Buli kiramu kyalina ebiwaawaatiro bibiri ebyali bikoonagana era n’ebiwaawaatiro ebirala bibiri ebyali bibisse omubiri gwakyo.+
12 Buli kimu kyagendanga butereevu mu maaso; omwoyo gye gwabirazanga nabyo gye byagendanga.+ Tebyakyukanga nga bigenda. 13 Ebiramu ebyo ebina byali bifaanana ng’amanda agaaka, era ekintu ekyali kifaanana ng’emimuli egyaka ennyo kyali kidda eno n’eri nga kiri wakati w’ebiramu ebina, era ebimyanso byali biva mu muliro.+ 14 Ebiramu ebyo bwe byagendanga ate n’ebidda, byali ng’okumyansa kw’eggulu.
15 Bwe nnali nkyatunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba ku ttaka nnamuziga emu emu okuliraana buli kiramu eky’obwenyi obuna.+ 16 Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanagana era nga zaakaayakana ng’ejjinja lya kirisoliti. Buli nnamuziga yali erabika ng’erimu nnamuziga endala wakati waayo. 17 Bwe zaatambulanga, zaali zisobola okugenda ku buli luuyi ku njuyi zonna ennya nga tezisoose kukyuka. 18 Empanka za nnamuziga ennya zaali ngulumivu, era nga ziwuniikiriza, zaali zijjudde amaaso enjuyi zonna.+ 19 Ebiramu ebina bwe byatambulanga, nga nnamuziga zigendera wamu nabyo, era ebiramu ebyo bwe byasitulwanga okuva wansi, nga ne nnamuziga nazo zisitulwa.+ 20 Byagendanga omwoyo gye gwabirazanga, yonna omwoyo gye gwagendanga. Nnamuziga zaasitulwanga wamu nabyo, kubanga omwoyo ogwali gukolera ku biramu* ebina era gwe gwali ne mu nnamuziga. 21 Ebiramu ebyo bwe byatambulanga, nga ne nnamuziga zitambula; bwe byayimiriranga, nga nazo ziyimirira; era bwe byasitulwanga okuva wansi, nga ne nnamuziga nazo zisitulibwa wamu nabyo, kubanga omwoyo ogwali gukolera ku biramu ebina era gwe gwali ne mu nnamuziga.
22 Waggulu w’emitwe gy’ebiramu ebina waaliwo ekintu ekyali kitangalijja nga bbalaafu awuniikiriza.+ 23 Wansi w’ekintu ekyo we waali ebiramu ebina, era ebiwaawaatiro bya buli kiramu byali byegolodde nga bikoonagana. Buli kiramu kyalina ebiwaawaatiro bibiri eby’okubikka oluuyi olumu olw’omubiri gwabyo, era n’ebiwaawaatiro ebirala bibiri eby’okubikka oluuyi olulala. 24 Bwe nnawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, kwali ng’okuyira kw’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ Bwe byatambulanga, omusinde gwabyo gwali ng’ogw’eggye. Bwe byayimiriranga, nga bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Waggulu w’ekintu ekyali waggulu w’emitwe gy’ebiramu ebina waaliwo eddoboozi. (Bwe byayimiriranga nga bissa ebiwaawaatiro byabyo.) 26 Waggulu w’ekintu ekyali waggulu w’emitwe gyabyo, waaliyo ekyali kifaanana ng’ejjinja lya safiro,+ era kyali kifaanana ng’entebe y’obwakabaka.+ Ku ntebe eyo kwali kutuddeko eyali afaanana ng’omuntu.+ 27 Awo ne ndaba bwe yali afaanana okuva ku ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye okudda waggulu. Yali afaanana ng’ekyuma ekimasamasa+ ekyetooloddwa omuliro. Okuva mu kiwato kye okukka wansi yali afaanana ng’omuliro,+ era yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi 28 ekyali kifaanana nga musoke+ aba ku kire ku lunaku olw’enkuba. Ekitangaala eky’amaanyi ekyali kimwetoolodde bwe kityo bwe kyali kifaanana. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.+ Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
2 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu,* yimirira njogere naawe.”+ 2 Bwe yayogera nange, omwoyo ne gunnyingiramu ne gunnyimiriza+ nsobole okuwulira Oyo eyali ayogera nange.
3 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, nkutuma eri abantu ba Isirayiri,+ eri amawanga amajeemu aganjeemedde.+ Bo ne bajjajjaabwe bamenye amateeka gange okutuusa leero.+ 4 Nkutuma eri abaana abajeemu era ab’emitima emikakanyavu,+ obagambe nti ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna. 5 Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize—kubanga ba mu nnyumba njeemu+—bajja kumanya nti waaliwo nnabbi mu bo.+
6 “Naye ggwe omwana w’omuntu, tobatya+ era totya bye boogera, wadde nga weetooloddwa emiyonza n’amaggwa*+ era ng’oli mu njaba. Totya bye boogera+ era totya maaso gaabwe,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu. 7 Ojja kubabuulira ebigambo byange, ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize, kubanga bajeemu.+
8 “Naye ggwe omwana w’omuntu, wuliriza bye nkugamba. Toba mujeemu ng’ennyumba eno enjeemu. Yasamya akamwa ko olye kye nkuwa.”+
9 Bwe nnatunula, ne ndaba omukono ogwali gugoloddwa gye ndi+ nga gukutte omuzingo* ogwali guwandiikiddwako.+ 10 Bwe yagwanjululiza mu maaso gange, gwaliko ebigambo munda ne kungulu.+ Gwali guwandiikiddwako ennyimba ez’okukungubaga, n’ebintu ebireetera abantu okunakuwala n’okukuba ebiwoobe.+
3 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, lya ekyo ekiri mu maaso go.* Lya omuzingo guno, ogende oyogere n’ab’ennyumba ya Isirayiri.”+
2 Awo ne njasamya akamwa kange, n’ampa omuzingo ngulye. 3 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, lya omuzingo guno gwe nkuwa ogujjuze mu lubuto lwo.” Ne ngulya, era gwali guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki mu kamwa kange.+
4 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, genda mu b’ennyumba ya Isirayiri obabuulire ebigambo byange. 5 Kubanga totumiddwa eri abantu aboogera olulimi oluzibu okutegeera oba olutamanyiddwa, wabula eri ennyumba ya Isirayiri. 6 Totumiddwa eri amawanga amangi agoogera olulimi oluzibu okutegeera oba olutamanyiddwa, olulimu ebigambo by’otayinza kutegeera. Singa nkutumye eri abantu ng’abo, bandikuwulirizza.+ 7 Naye ab’ennyumba ya Isirayiri bajja kugaana okukuwuliriza, kubanga tebaagala kumpuliriza;+ ab’ennyumba ya Isirayiri bonna ba mputtu era ba mitima mikakanyavu.+ 8 Obwenyi bwo mbufudde bugumu ng’obwenyi bwabwe, n’ekyenyi kyo nkikalubizza ng’ebyenyi byabwe.+ 9 Ekyenyi kyo nkifudde ng’ejjinja erisingayo obugumu, era nkifudde kigumu okusinga ejjinja ery’embaalebaale.+ Tobatya era totiisibwatiisibwa bwenyi bwabwe,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.”
10 Era n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ssaayo omwoyo era wuliriza byonna bye nkugamba. 11 Genda eri abantu bo abali mu buwaŋŋanguse,*+ oyogere nabo, obagambe nti ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna, ka babe nga banaawuliriza oba tebaawulirize.”+
12 Awo omwoyo ne gunsitula,+ ne mpulira emabega wange eddoboozi eddene ennyo nga ligamba nti: “Ekitiibwa kya Yakuwa kitenderezebwe mu kifo kye.” 13 Waaliwo eddoboozi ly’ebiwaawaatiro by’ebiramu ebina nga bikoonagana,+ n’eddoboozi lya nnamuziga ezaali zibiriraanye,+ n’eddoboozi eddene ennyo. 14 Omwoyo ne gunsitula ne guntwala, ne ŋŋenda nga nnyiikadde era nga nsunguwadde, era omukono gwa Yakuwa ne gumbaako. 15 Ne ŋŋenda e Teru-abibu eri abantu abaali mu buwaŋŋanguse, abaali babeera okumpi n’Omugga Kebali,+ ne mbeera eyo gye baali babeera; nnabeera nabo okumala ennaku musanvu, nga nsobeddwa.+
16 Ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Yakuwa n’aŋŋamba nti:
17 “Omwana w’omuntu, nkulonze okuba omukuumi eri ennyumba ya Isirayiri;+ bw’owuliranga ekigambo ekiva mu kamwa kange, obawanga okulabula okuva gye ndi.+ 18 Bwe ŋŋamba omuntu omubi nti, ‘Ojja kufa,’ naye ggwe n’otomulabula, n’otoyogera naye kumulabula ave mu kkubo lye ebbi, asobole okusigala nga mulamu,+ ajja kufa olw’ensobi ze olw’okuba mubi,+ naye omusaayi gwe nja kuguvunaana ggwe.+ 19 Kyokka bw’olabula omubi, naye n’atakyuka kuleka bikolwa bye ebibi, wadde okuva mu kkubo lye ebbi, ajja kufa olw’ensobi ze, naye ggwe ojja kuwonya obulamu bwo.+ 20 Ate omuntu omutuukirivu bw’alekera awo okukola eby’obutuukirivu, n’akola ebibi,* nja kuteeka enkonge mu maaso ge era ajja kufa.+ Bw’oba tewamulabula, ajja kufa olw’ebibi bye era ebikolwa bye eby’obutuukirivu tebirijjukirwa, naye omusaayi gwe nja kuguvunaana ggwe.+ 21 Naye bw’olabula omuntu omutuukirivu aleme kwonoona, era n’atayonoona, mazima ajja kusigala nga mulamu olw’okuba yalabulwa,+ era ggwe ojja kuba owonyezza obulamu bwo.”
22 Awo amaanyi ga Yakuwa ne ganzijako nga ndi eyo, n’aŋŋamba nti: “Situka ogende mu lusenyi, eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi, era laba! ekitiibwa kya Yakuwa kyali eyo,+ nga kiringa ekitiibwa kye nnalaba ku lubalama lw’Omugga Kebali,+ era ne nvunnama ku ttaka. 24 Awo omwoyo ne gunnyingiramu era ne gunnyimiriza,+ n’ayogera nange era n’aŋŋamba nti:
“Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 Era ggwe omwana w’omuntu, bajja kukussaako emiguwa bakusibe, oleme kugenda mu bo. 26 N’olulimi lwo nja kululeetera okukwatira ku kibuno, obe nga tosobola kwogera era obe nga tosobola kubanenya, kubanga ba mu nnyumba njeemu. 27 Naye bwe nnaayogera naawe, nja kwasamya akamwa ko, era ojja kubagamba nti+ ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna. Oyo anaawuliriza awulirize,+ n’oyo anaagaana okuwuliriza agaane, kubanga ba mu nnyumba njeemu.+
4 “Era ggwe omwana w’omuntu, ddira ettoffaali oliteeke mu maaso go, olyoleko ekibuga Yerusaalemi. 2 Kizingize+ okizimbeko ekigo,+ okole ekifunvu ebweru wa bbugwe waakyo,+ osseewo ensiisira okukirumba, era okyetoolooze ebyuma ebimenya ebisenge.+ 3 Ddira ekikalango eky’ekyuma okiteekewo kibe ng’ekisenge eky’ekyuma wakati wo n’ekibuga. Kisseeko amaaso go, kijja kuba nga kizingiziddwa; ojja kukizingiza. Kano kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.+
4 “Era weebakire ku ludda lwo olwa kkono, weeteekeko* ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.+ Ojja kwetikka ebibi byabwe ennaku z’onoomala nga weebakidde ku ludda olwo. 5 Nja kukusalira ennaku 390, nga zenkanankana n’emyaka egy’okwonoona kwabwe,+ era ojja kwetikka ebibi by’ennyumba ya Isirayiri. 6 Oteekwa okumalako ennaku ezo.
“Ku mulundi ogw’okubiri, ojja kwebakira ku ludda lwo olwa ddyo weetikke ebibi by’ennyumba ya Yuda+ okumala ennaku 40. Buli lunaku mwaka, buli lunaku mwaka. Ekyo kye nkusalidde. 7 Ojja kutunula eri Yerusaalemi ekizingiziddwa+ ng’ofungizza omukono gw’ekyambalo kyo, olangirire ebinaakituukako.
8 “Laba! Nja kukusiba emiguwa obe nga tosobola kukyuka kwebakira ku ludda lulala, okutuusa lw’onoomalako ennaku ez’okuzingiza kwo.
9 “Ddira eŋŋaano, ssayiri, ebijanjaalo, empindi, obulo, n’eŋŋaano ey’ekika ekirala,* obiteeke mu kintu kimu obifumbemu emmere gy’onoolya okumala ennaku 390 nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.+ 10 Emmere gy’onoolyanga onoomalanga kugipima, era buli lunaku onoolyanga sekeri 20.* Onoogiriiranga mu biseera ebigereke.
11 “Amazzi g’onoonywanga ganaabanga mapime, era onoonywanga kimu kya mukaaga ekya yini.* Onooganyweranga mu biseera ebigereke.
12 “Ojja kugirya nga bwe wandiridde omugaati omwetooloovu ogwa ssayiri; ojja kugifumbisa empitambi enkalu nga balaba.” 13 Yakuwa era n’agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayiri bwe banaalyanga emmere yaabwe—nga si nnongoofu—nga bali mu mawanga gye nnaabasaasaanyiza.”+
14 Awo ne ŋŋamba nti: “Nedda Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Okuva mu buto bwange n’okutuusa leero, sifuukangako atali mulongoofu nga ndya ennyama y’ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa,+ era siryangako nnyama etali nnongoofu.”+
15 Awo n’alyoka aŋŋamba nti: “Kale, nkukkirizza ogifumbise obusa bw’ente mu kifo ky’empitambi.” 16 Era n’ayongera n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ŋŋenda kusaanyaawo amaterekero g’emmere* mu Yerusaalemi.+ Emmere banaalyanga mpime,+ nga beeraliikirivu nnyo, era n’amazzi banaanywanga magere,+ nga bali mu ntiisa. 17 Kino kijja kubaawo kubanga olw’okubulwa emmere n’amazzi buli omu ajja kutunuulira munne ng’atidde, era bajja kukogga olw’ensobi zaabwe.
5 “Naye ggwe omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi okikozese ng’akamweso k’omusazi w’enviiri, omwe omutwe gwo n’ekirevu kyo, oluvannyuma oddire minzaani opime enviiri ezo, era ozigabanyeemu ebitundu bisatu. 2 Ekitundu ekimu eky’okusatu ojja kukyokera munda mu kibuga ng’ennaku ez’okukizingiza ziweddeko.+ Ekitundu ekimu eky’okusatu ekirala ojja kukisalirasalira ku njuyi zonna ez’ekibuga,+ng’okozesa ekitala, ate ekitundu ekimu eky’okusatu ekinaaba kisigaddewo okisaasaanye kitwalibwe empewo, era nja kusowolayo ekitala kiziwondere.+
3 “Era toolako enviiri ntonotono ozisibe mu kikondoolo ky’ekyambalo kyo. 4 Era toolako endala ozisuule mu muliro, ozookye. Omuliro gujja kuva okwo gusaasaane eri ennyumba ya Isirayiri yonna.+
5 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Kino kye kibuga Yerusaalemi. Nkitadde wakati mu mawanga, era ensi zikyetoolodde. 6 Naye kijeemedde ebiragiro byange n’amateeka gange, era kikoze ebintu ebibi n’okusinga amawanga n’ensi zonna ezikyetoolodde.+ Abantu baamu beesambye ebiragiro byange, era tebatambulidde mu mateeka gange.’
7 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba mwali bantu bazibu okusinga amawanga agabeetoolodde, ate nga temwatambulira mu mateeka gange n’ebiragiro byange, wabula ne mugoberera ebiragiro by’amawanga gonna agabeetoolodde,+ 8 bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba, nfuuse mulabe wo, ggwe ekibuga,+ era nja kutuukiriza emisango wakati mu ggwe gye nnabasalira. Nja kukikola ng’amawanga galaba.+ 9 Nja kukola mu ggwe ekintu kye sikolangako era kye siriddamu kukola, olw’ebikolwa byo byonna eby’omuzizo.+
10 “‘“Bataata bajja kulya abaana baabwe,+ n’abaana bajja kulya bakitaabwe. Nja kubabonereza, era abo abanaasigalawo mbasaasaanye mu njuyi zonna.”’*+
11 “‘Kale, nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘olw’okuba ekifo kyange ekitukuvu mwakifuula ekitali kirongoofu nga mukissaamu ebifaananyi ebyenyinyaza era nga mukikoleramu ebintu eby’omuzizo,+ nja kubeesamba; eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa, era sijja kubasaasira.+ 12 Ekimu eky’okusatu ku bantu abali mu kibuga bajja kufa endwadde oba enjala. Ekimu eky’okusatu ekirala bajja kuttibwa n’ekitala ebweru w’ekibuga.+ N’ekimu eky’okusatu ekinaasigalawo nja kukisaasaanya mu njuyi zonna,* era nja kusowolayo ekitala kibawondere.+ 13 Awo obusungu bwange bujja kukoma, n’ekiruyi kyange kijja kukkakkana, era nja kuba mumativu.+ Bwe nnaamala okubamalirako ekiruyi kyange, bajja kumanya nti nze Yakuwa ayogedde nabo, njagala abantu okunneemalirako.+
14 “‘Nja kukufuula matongo era ekivume mu mawanga agakwetoolodde ne mu maaso ga buli ayitawo.+ 15 Bwe nnaakusalira omusango nga ndiko obusungu n’ekiruyi, era ne nkubonereza nnyo, ojja kufuuka ekivume era ekintu ekinyoomebwa,+ era ojja kuba kyakulabirako era ekintu eky’entiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Yakuwa nze nkyogedde.
16 “‘Nja kubasindikira enjala eneebatta ng’obusaale. Obusaale bwe nnaabasindikira bujja kubazikiriza.+ Nja kusaanyaawo amaterekero gammwe ag’emmere* enjala yeeyongerere ddala okubatta.+ 17 Nja kubasindikira enjala n’ensolo enkambwe,+ era bijja kutta abaana bammwe. Endwadde n’ettemu bijja kubayitirirako, era nja kubaleetako ekitala.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.’”
6 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tunula eri ensozi za Isirayiri olangirire ebinaazituukako. 3 Zigambe nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri muwulire ekigambo kya Yakuwa Mukama Afuga Byonna: Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensozi, obusozi, emigga, n’ebiwonvu: “Laba! nja kubaleetako ekitala, era nja kusaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu. 4 Ebyoto byammwe n’ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa,+ era abantu bammwe abanaaba battiddwa nja kubasuula mu maaso g’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.*+ 5 Nja kusuula emirambo gy’abantu ba Isirayiri mu maaso g’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, era nja kusaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.+ 6 Mu bifo byonna gye mubeera, ebibuga bijja kuzikirizibwa,+ era ebifo ebigulumivu bijja kumenyebwamenyebwa bifuuke matongo.+ Ebyoto byammwe bijja kumenyebwamenyebwa bisaanewo, ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza bijja kusaanawo, ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa, n’ebintu byonna bye mukola bijja kumalibwawo. 7 Abo abanattibwa bajja kugwa wakati mu mmwe,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+
8 “‘“Naye nja kulekawo ensigalira, kubanga abamu ku mmwe mujja kuwona ekitala nga muli mu mawanga, bwe munaaba musaasaanidde mu nsi zonna.+ 9 Abo abanaawonawo bajja kunzijukira nga bali eyo mu mawanga gye banaatwalibwa mu buwambe.+ Bajja kumanya nga nnanakuwala olw’emitima gyabwe egitali myesigwa* egyanvaako,+ n’olw’amaaso gaabwe ageegomba* ebifaananyi ebyenyinyaza.+ Bajja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi era eby’omuzizo bye baakola era babyetamwe.+ 10 Bajja kumanya nti nze Yakuwa, era nti nnali sitiisatiisa butiisatiisa bwe nnagamba nti nja kubatuusaako akabi kano.”’+
11 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Kuba mu ngalo era samba wansi ku ttaka era kungubaga olw’ebintu byonna ebibi n’olw’eby’omuzizo ebyakolebwa ennyumba ya Isirayiri, kubanga bajja kuttibwa n’ekitala, era bajja kufa enjala n’endwadde.+ 12 Oyo ali ewala ajja kufa endwadde, oyo ali okumpi ajja kuttibwa n’ekitala, na buli anaawonawo ajja kufa enjala; era nja kubamalirako ekiruyi kyange.+ 13 Era mujja kumanya nti nze Yakuwa,+ abantu baabwe abanaaba battiddwa bwe banaaba bagaŋŋalamye awali ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, okwetooloola ebyoto byabwe,+ ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez’ensozi, ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi, ne wansi w’amatabi g’emiti eminene, we baaweerangayo ebiweebwayo eby’akaloosa okusanyusa ebifaananyi byabwe byonna ebyenyinyaza.+ 14 Nja kugolola omukono gwange mbabonereze era ensi nja kugifuula matongo; ebifo byonna gye babeera nja kubifuula matongo bibe bibi nnyo n’okusinga eddungu eririraanye Dibula. Era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
7 Yakuwa era n’aŋŋamba nti: 2 “Naye ggwe omwana w’omuntu, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensi ya Isirayiri: ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsi eno. 3 Kaakano enkomerero ekutuuseeko, era nja kukumalirako ekiruyi kyange, era nkusalire omusango okusinziira ku makubo go, era nkuvunaane olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye wakola. 4 Eriiso lyange terijja kukukwatirwa kisa, era sijja kukusaasira,+ wabula nja kukusasula okusinziira ku makubo go, era ojja kutuukibwako ebyo ebiva mu bintu eby’omuzizo bye wakola.+ Era ojja kumanya nti nze Yakuwa.’+
5 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba! Akabi, akabi akatali ka bulijjo.+ 6 Enkomerero ejja; enkomerero egenda kujja; ejja kukutuukako mbagirawo. Laba! Yiiyo ejja. 7 Mmwe abali mu nsi, akabi kaboolekedde. Ekiseera kijja, olunaku lusembedde.+ Ku nsozi kuliko butabanguko so si kujaganya.
8 “‘Nnaatera okukufukako obusungu bwange,+ era nja kukumalirako ekiruyi kyange,+ era nkusalire omusango okusinziira ku makubo go, era nkuvunaane olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye wakola. 9 Eriiso lyange terijja kukukwatirwa kisa, era sijja kukusaasira.+ Nja kukusasula okusinziira ku makubo go, era ojja kutuukibwako ebyo ebiva mu bintu eby’omuzizo bye wakola. Era ojja kumanya nti nze Yakuwa, nze nkukuba.+
10 “‘Laba, olunaku! Laba, olunaku lujja!+ Akabi kaboolekedde; omuggo gumulisizza, era okwetulinkiriza kumeruse. 11 Ebikolwa eby’obukambwe bifuuse omuggo ogw’ebikolwa ebibi.+ Tebajja kuwonawo, wadde obugagga bwabwe, wadde abantu baabwe, oba ettutumu lyabwe. 12 Ekiseera kijja, olunaku lujja kutuuka. Agula aleme okusanyuka n’atunda aleme okukungubaga, kubanga obusungu bwolekezeddwa abantu baabwe bonna.*+ 13 Ekyatundibwa tekijja kuddira oyo eyakitunda ne bw’anaaba awonyeewo, kubanga okwolesebwa kukwata ku bantu bonna. Tewali n’omu anaakomawo, era olw’ebibi bye, tewali n’omu anaawonyaawo obulamu bwe.
14 “‘Bafuuye ekkondeere,+ era buli omu yeeteeseteese, naye tewali n’omu agenda mu lutalo, kubanga nsunguwalidde abantu bonna.+ 15 Ebweru eriyo ekitala,+ ate endwadde n’enjala biri munda. Buli ali ku ttale ajja kuttibwa n’ekitala, ate abo abali mu kibuga bajja kufa enjala n’endwadde.+ 16 Abantu baabwe abanaasobola okuwonawo bajja kuddukira mu nsozi, era okufaananako ng’amayiba ag’omu biwonvu, buli omu ajja kunakuwala olw’ebibi bye.+ 17 Emikono gyabwe gyonna gijja kunafuwa, n’amaviivi gaabwe gonna gajja kukulukutirako amazzi.*+ 18 Bambadde ebibukutu+ era bakankana.* Bajja kuswala, era buli mutwe gujja kuba gwa kiwalaata.*+
19 “‘Bajja kusuula ffeeza waabwe mu nguudo, ne zzaabu waabwe ajja kufuuka ekintu ekibeenyinyaza. Ffeeza waabwe ne zzaabu tebijja kusobola kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa.+ Tebajja kukkuta, era tebajja kujjuza mbuto zaabwe, kubanga ffeeza waabwe ne zzaabu waabwe bifuuse enkonge ebaviiriddeko okwonoona. 20 Beenyumiririzanga mu majolobero gaabwe agaali galabika obulungi, era ffeeza ne zzaabu bamukozeemu ebifaananyi eby’omuzizo era ebyenyinyaza.+ Eyo ye nsonga lwaki nja kufuula zzaabu waabwe ne ffeeza waabwe ekintu ekibeenyinyaza. 21 Ffeeza waabwe ne zzaabu waabwe nja kumuwaayo anyagibwe abagwira n’abantu ababi ab’omu nsi, era bajja kumwonoona.
22 “‘Nja kubaggyako amaaso gange,+ era bajja kwonoona ekifo kyange ekyekusifu,* era abanyazi bajja kukiyingiramu bakyonoone.+
23 “‘Kola olujegere,*+ kubanga ensi ejjuddemu obussi olw’emisango okusalibwa mu ngeri etali ya bwenkanya+ era ekibuga kijjudde ebikolwa eby’obukambwe.+ 24 Nja kuleeta amawanga agasingayo obubi+ era gajja kutwala amayumba gaabwe;+ nja kukomya amalala g’abo ab’amaanyi, era ebifo byabwe ebitukuvu bijja kwonoonebwa.+ 25 Ennaku ey’amaanyi bw’eneebajjira, bajja kunoonya emirembe naye tebajja kugifuna.+ 26 Wajja kubaawo emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa, era bajja kufuna amawulire ag’okumukumu, era abantu bajja kwagala okumanya nnabbi by’ayoleseddwa,+ naye bakabona bajja kuba tebakyalina mateeka ge bayigiriza bantu, era abakadde tebajja kuwa bantu magezi.+ 27 Kabaka ajja kukungubaga,+ n’omwami ajja kuggwaamu essuubi,* era emikono gy’abantu ab’omu nsi gijja kukankana olw’okutya. Nja kubayisa ng’amakubo gaabwe bwe gali, era nja kubasalira omusango nga nabo bwe baagusaliranga abalala. Era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”+
8 Ku lunaku olw’okutaano, olw’omwezi ogw’omukaaga, mu mwaka ogw’omukaaga, bwe nnali ntudde mu nnyumba yange era nga n’abakadde ba Yuda batudde mu maaso gange, omukono gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna ne gunkwata nga ndi eyo. 2 Bwe nnatunula, ne ndaba omuntu eyali afaanana ng’omuliro. Wansi w’ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye,+ waaliwo omuliro. N’okuva ku kiwato kye okwambuka yali ayakaayakana ng’ekyuma ekimasamasa.*+ 3 N’agolola ekyalabika ng’omukono, n’akwata omuvumbo gw’enviiri zange, omwoyo ne gunsitula mu bbanga* ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa okwava eri Katonda ne gunteeka ku mulyango ogutunudde ebukiikakkono oguyingira mu luggya olw’omunda,+ awaali ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya, ekisunguwaza Katonda.+ 4 Era laba! ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kyali eyo;+ kyali kifaanana ng’ekintu kye nnalaba mu lusenyi.+
5 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso go otunule ebukiikakkono.” Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula ebukiikakkono, era laba, ebukiikakkono w’omulyango gw’ekyoto waaliwo ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya nga kiri mu mulyango oguyingira. 6 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo ab’ennyumba ya Isirayiri bye bakolera wano,+ ebindeetera okwesamba ekifo kyange ekitukuvu ne nkiba wala?+ Naye ojja kulaba eby’omuzizo ebisinga n’ebyo obubi.”
7 Awo n’antwala ku mulyango oguyingira mu luggya, era bwe nnatunula, ne ndaba ekituli mu kisenge. 8 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, kuba ekituli mu kisenge.” Ne nkuba ekituli mu kisenge ne ndaba omulyango oguyingira. 9 Awo n’aŋŋamba nti: “Yingira olabe ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo bye bakolera wano.” 10 Ne nnyingira ne ndaba ebifaananyi by’ebintu ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo,+ era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza* eby’ennyumba ya Isirayiri;+ byali byoleddwa ku kisenge kyonna. 11 Era abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, nga ne Yaazaniya mutabani wa Safani+ ayimiridde wakati mu bo. Buli omu yali akutte ekyoterezo mu mukono gwe, ng’omukka ogw’obubaani ogw’akaloosa gunyooka.+ 12 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba abakadde b’ennyumba ya Isirayiri kye bakola mu kizikiza, buli omu mu kisenge eky’omunda omuli ebifaananyi by’asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Yakuwa tatulaba. Yakuwa alese ensi.’”+
13 Era n’aŋŋamba nti: “Ojja kulaba ebintu ebirala eby’omuzizo ebibi ennyo ebisinga n’ebyo bye bakola.” 14 Awo n’antwala awayingirirwa ku mulyango ogw’ebukiikakkono ogw’ennyumba ya Yakuwa, ne ndaba abakazi abatudde nga bakaabira katonda Tammuzi.
15 Era n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Ojja kulaba eby’omuzizo ebibi ennyo n’okusinga ebyo.”+ 16 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Yakuwa.+ Eyo ku mulyango gwa yeekaalu ya Yakuwa, wakati w’ekisasi n’ekyoto, waaliwo abasajja nga 25. Yeekaalu ya Yakuwa baali bagikubye amabega nga batunudde ebuvanjuba; baali bavunnamidde enjuba nga batunudde ebuvanjuba.+
17 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Olowooza kintu kitono nnyo abantu b’ennyumba ya Yuda okukola ebintu bino eby’omuzizo, okujjuza ensi ebikolwa eby’obukambwe+ ne babeera nga bannyiiza? Basonga ettabi* mu nnyindo yange. 18 N’olwekyo, nja kubamalirako ekiruyi kyange. Eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa+ era sijja kubasaasira. Ne bwe banaakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, sijja kubawuliriza.”+
9 Awo n’aŋŋamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Yita abagenda okubonereza ekibuga, buli omu ajje ng’akutte mu mukono gwe eky’okulwanyisa ekizikiriza!”
2 Awo ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku ludda oluliko omulyango ogw’eky’engulu+ ogutunudde ebukiikakkono, nga buli omu akutte mu mukono gwe eky’okulwanyisa eky’okwasaayasa; era mu bo mwalimu omusajja ng’ayambadde ekyambalo kya kitaani, ng’alina mu kiwato kye akacupa ka bwino w’omuwandiisi. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.+
3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri+ ne kiva waggulu ku bakerubi we kyali, ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu;+ Katonda n’ayita omusajja eyali ayambadde ekyambalo kya kitaani, eyalina mu kiwato kye akacupa ka bwino ow’okuwandiisa. 4 Yakuwa n’amugamba nti: “Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abantu abasinda era abakaaba+ olw’ebintu byonna eby’omuzizo ebikolebwa mu kibuga.”+
5 Ne mpulira ng’agamba abalala nti: “Muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte abantu. Eriiso lyammwe teribasaasira era temubaako gwe mukwatirwa ekisa.+ 6 Mutte abasajja abakadde, abavubuka, abawala embeerera, abaana abato, n’abakazi.+ Naye temusemberera muntu yenna aliko akabonero.+ Mutandikire mu kifo kyange ekitukuvu.”+ Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.+ 7 N’abagamba nti: “Yeekaalu mugifuule etali nnongoofu era empya muzijjuze emirambo gy’abattiddwa.+ Kale mugende!” Ne bagenda ne batta abantu b’omu kibuga.
8 Bwe baali babatta, nze nzekka eyalekebwawo, era nnavunnama wansi ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ogenda kuzikiriza Abayisirayiri bonna abasigaddewo, ng’ofuka obusungu bwo ku Yerusaalemi?”+
9 Awo n’aŋŋamba nti: “Ensobi y’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda nnene nnyo.+ Ensi ejjudde okuyiwa omusaayi+ n’ekibuga kijjudde obulyi bw’enguzi.+ Bagamba nti, ‘Yakuwa alese ensi, era Yakuwa talaba.’+ 10 Naye nze, eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa era sijja kubasaasira.+ Nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe.”
11 Awo omusajja eyali ayambadde ekyambalo ekya kitaani eyalina mu kiwato kye akacupa ka bwino w’omuwandiisi, n’akomawo n’agamba nti: “Nkoledde ddala nga bw’ondagidde.”
10 Bwe nnali nkyatunula, ne ndaba ekintu ekitangalijja ng’endabirwamu nga kiri waggulu wa bakerubi. Kyaliko ekintu ekifaanana ng’ejjinja lya safiro nga kiri waggulu wa bakerubi, era kyali kifaanana ng’entebe y’obwakabaka.+ 2 Awo Katonda n’agamba omusajja eyali ayambadde ekyambalo kya kitaani nti:+ “Yingira wakati wa nnamuziga ezeetooloola,+ wansi wa bakerubi, oggye amanda agaaka+ wakati wa bakerubi, ojjuze ebibatu byo byombi ogamansire ku kibuga.”+ Omusajja n’ayingira nga mmulaba.
3 Omusajja we yayingirira, bakerubi baali bayimiridde ku ludda olwa ddyo olwa yeekaalu. Awo ekire ne kijjula oluggya olw’omunda. 4 Ekitiibwa kya Yakuwa+ ne kiva ku bakerubi ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu, yeekaalu n’ejjula ekire,+ era n’oluggya lwonna lwali lujjudde ekitangaala ky’ekitiibwa kya Yakuwa. 5 Okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi kwali kuwulirwa mu luggya olw’ebweru, era kwali ng’eddoboozi ly’Omuyinza w’Ebintu Byonna ng’ayogera.+
6 Katonda n’alagira omusajja eyali ayambadde ekyambalo kya kitaani nti: “Ggya omuliro wakati wa nnamuziga ezeetooloola, wakati wa bakerubi,” awo omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga. 7 Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi,+ n’atoola ku muliro n’aguteeka mu bibatu by’omusajja eyali ayambadde ekyambalo kya kitaani,+ omusajja oyo n’agukwata n’afuluma. 8 Bakerubi baalina ekyali kifaanana ng’emikono gy’abantu wansi w’ebiwaawaatiro byabwe.+
9 Bwe nnali nkyatunula, ne ndaba nnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu emu okuliraana buli kerubi, era nnamuziga zaali zaakaayakana ng’ejjinja lya kirisoliti.+ 10 Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanagana, nga buli emu erabika ng’erimu nnamuziga endala wakati waayo. 11 Bwe zaatambulanga, zaali zisobola okugenda ku njuyi zonna ennya nga tezisoose kukyuka, kubanga omutwe gye gwabanga gutunudde nazo gye zaagendanga nga tezisoose kukyuka. 12 Emibiri gya bakerubi gyonna, emigongo gyabwe, emikono gyabwe, ebiwaawaatiro byabwe, ne nnamuziga za bakerubi abo abana, byali bijjudde amaaso ku njuyi zonna.+ 13 Awo ne mpulira eddoboozi erigamba nnamuziga ezo nti, “nnamuziga ezeetooloola!”
14 Buli kerubi yalina obwenyi buna. Obusooka bwali bwenyi bwa kerubi, obw’okubiri bwali bwenyi bwa muntu, obw’okusatu bwali bwenyi bwa mpologoma n’obw’okuna bwali bwenyi bwa mpungu.+
15 Bakerubi baagendanga waggulu; bakerubi abo bye biramu bye* nnalaba ku Mugga Kebali.+ 16 Bakerubi bwe baatambulanga, nga ne nnamuziga zigendera ku mabbali gaabwe; bakerubi bwe baayimusanga ebiwaawaatiro byabwe basobole okubeera waggulu w’ensi, nnamuziga tezaakyukanga era tezaavanga ku mabbali ga bakerubi.+ 17 Bwe baayimiriranga, nga nazo ziyimirira; era bwe baagendanga waggulu, nga nazo zigenda waggulu, kubanga omwoyo ogwali gukolera ku biramu ebyo* gwe gwali ne mu nnamuziga.
18 Awo ekitiibwa kya Yakuwa+ ne kiva mu mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi.+ 19 Awo bakerubi ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe ne bayimuka okuva wansi nga ndaba. Ne nnamuziga ne zigendera wamu nabo nga ziri ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira ku mulyango ogw’ebuvanjuba ogw’ennyumba ya Yakuwa, era ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kyali waggulu waabwe.+
20 Ebyo bye biramu bye* nnalaba wansi w’entebe y’obwakabaka eya Katonda wa Isirayiri, ku Mugga Kebali,+ awo ne mmanya nti be bakerubi. 21 Buli omu ku bakerubi abana yalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina, era wansi w’ebiwaawaatiro byabwe waaliwo ekyali kifaanana ng’emikono gy’abantu.+ 22 Endabika y’obwenyi bwabwe yali ng’obwo bwe nnalaba ku Mugga Kebali.+ Buli kerubi yagendanga butereevu mu maaso.+
11 Awo omwoyo ne gunsitula ne guntwala ku mulyango ogw’ebuvanjuba ogw’ennyumba ya Yakuwa, omulyango ogutunudde ebuvanjuba.+ Eyo ku mulyango ne ndabayo abasajja 25, era mu bo mwalimu ne Yaazaniya mutabani wa Azzuli, ne Peratiya mutabani wa Benaya, abaali abakulu b’abantu.+ 2 Awo Katonda n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, bano be basajja abateesa okukola ebibi era abawa amagezi amabi mu kibuga kino. 3 Bagamba nti, ‘Kino si kye kiseera okuzimba amayumba?+ Ekibuga* ye ntamu,*+ era ffe nnyama.’
4 “Kale omwana w’omuntu, langirira. Langirira ebyo ebinaabatuukako.”+
5 Awo omwoyo gwa Yakuwa ne gunzijako,+ n’aŋŋamba nti: “Yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, kye mwogedde kituufu era mmanyi kye mulowooza.* 6 Muleetedde bangi okufiira mu kibuga kino, era enguudo zaakyo muzijjuzza emirambo.”’”+ 7 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Emirambo gye musaasaanyizza mu kibuga ye nnyama, era ekibuga ye ntamu.+ Naye mmwe mujja kuggibwa mu kibuga kino.’”
8 “‘Mutidde ekitala,+ naye nja kubaleetako ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 9 ‘Nja kubaggya mu kibuga mbaweeyo mu mukono gw’abagwira mbabonereze.+ 10 Mujja kuttibwa n’ekitala.+ Nja kubalamulira ku nsalo za Isirayiri,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+ 11 Ekibuga tekijja kubeera ntamu gye muli, era nammwe temujja kuba nnyama mu kyo; nja kubalamulira ku nsalo za Isirayiri, 12 era mujja kumanya nti nze Yakuwa, kubanga temwatambulira mu mateeka gange era temwagoberera biragiro byange,+ naye ne mukwata ebiragiro by’amawanga agabeetoolodde.’”+
13 Bwe nnamala okulagula, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa, ne nvunnama wansi ne njogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ogenda kuzikiriza Abayisirayiri bonna abasigaddewo?”+
14 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 15 “Omwana w’omuntu, abantu b’omu Yerusaalemi bagambye ab’ennyumba ya Isirayiri yonna awamu ne baganda bo abalina obuyinza obw’okununula eby’obusika nti, ‘Mwesambire ddala Yakuwa. Ensi yaffe; yatuweebwa ebeere yaffe.’ 16 Kale yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Wadde nga nnabasindika wala nnyo okubeera mu mawanga era ne mbasaasaanyiza mu nsi ez’enjawulo,+ okumala akaseera katono nja kubabeerera ekifo ekitukuvu mu nsi ze bagenzeemu.’”+
17 “Kale yogera nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kubakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa, era nja kubawa ensi ya Isirayiri.+ 18 Bajja kuddayo mu nsi ya Isirayiri bagiggyemu ebintu byayo byonna ebyenyinyaza n’ebikolwa eby’omuzizo.+ 19 Nja kubawa omutima oguli obumu*+ era mbateekemu omwoyo omuggya;+ nja kubaggyamu omutima ogukaluba ng’ejjinja,+ mbawe omutima omugonvu,*+ 20 basobole okutambulira mu mateeka gange n’okukwata ebiragiro byange n’okubigondera. Awo bajja kuba bantu bange nange mbeere Katonda waabwe.”’
21 “‘“Naye abo abamaliridde okweyongera okukola ebintu byabwe ebyenyinyaza n’ebikolwa byabwe eby’omuzizo nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”
22 Awo bakerubi ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, nga nnamuziga zibali ku lusegere,+ nga n’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kiri waggulu waabwe.+ 23 Ekitiibwa kya Yakuwa+ ne kiva mu kibuga ne kiyimirira waggulu ku lusozi oluli ebuvanjuba w’ekibuga.+ 24 Mu kwolesebwa okwampeebwa okuyitira mu mwoyo gwa Katonda, omwoyo gwansitula ne guntwala eri abantu abaali mu buwaŋŋanguse mu Bukaludaaya. Awo okwolesebwa kwe nnali ndaba ne kukoma. 25 Ne ntandika okutegeeza abantu abaali mu buwaŋŋanguse ebintu byonna Yakuwa bye yali andaze.
12 Era Yakuwa n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, oli mu b’ennyumba enjeemu. Balina amaaso ag’okulaba, naye tebalaba; balina amatu ag’okuwulira, naye tebawulira,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.+ 3 Kale ggwe omwana w’omuntu, siba omugugu gwo ng’omuntu agenda mu buwaŋŋanguse. Awo emisana nga balaba ojja kugenda mu buwaŋŋanguse. Va w’obeera owaŋŋangukire mu kifo ekirala nga balaba. Oboolyawo banaalabuka, wadde nga ba mu nnyumba njeemu. 4 Emisana nga balaba, fulumya omugugu gwo gw’osibye okugenda nagwo mu buwaŋŋanguse, era akawungeezi nga balaba, ogende ng’olinga omuntu atwalibwa mu buwaŋŋanguse.+
5 “Kuba ekituli mu kisenge nga balaba, oyiseemu ebintu byo.+ 6 Teeka ebintu byo ku kibegaabega nga balaba, obifulumye mu nzikiza. Weebikke mu maaso obe nga tosobola kulaba wansi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”+
7 Ne nkola nga bwe nnalagirwa. Nnafulumya omugugu gwange emisana, omugugu ng’ogw’okugenda nagwo mu buwaŋŋanguse, era akawungeezi ne nkuba ekituli mu kisenge nga nkozesa emikono gyange. Era bwe bwaziba, ne nfulumya ebintu byange nga balaba, nga mbisitulidde ku kibegaabega.
8 Ku makya, Yakuwa n’addamu okwogera nange, n’aŋŋamba nti: 9 “Omwana w’omuntu, ab’ennyumba ya Isirayiri, ennyumba enjeemu, tebakubuuzizza nti, ‘Okola ki?’ 10 Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Obubaka buno bukwata ku mwami+ ali mu Yerusaalemi n’ab’ennyumba ya Isirayiri bonna abali mu kibuga.”’
11 “Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.+ Ekyo kye nkoze kye kijja okubakolebwa. Bajja kugenda mu buwaŋŋanguse, mu buwambe.+ 12 Omwami ali mu bo ajja kusitulira ebintu bye ku kibegaabega agendere mu nzikiza. Ajja kukuba ekituli mu kisenge ayiseemu ebintu bye.+ Era ajja kwebikka mu maaso aleme kulaba wansi.’ 13 Nja kumusuulako ekitimba kyange, era kijja kumukwasa.+ Nja kumutwala e Babulooni mu nsi y’Abakaludaaya, naye tajja kukiraba; era eyo gy’ajja okufiira.+ 14 Era abo bonna abali naye, abamuyamba, n’amagye ge, nja kubasaasaanya mu njuyi zonna;+ nja kusowolayo ekitala kibawondere.+ 15 Era bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaabasaasaanyiza mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo. 16 Naye abamu ku bo nja kubawonya okuttibwa ekitala, enjala, n’endwadde, basobole okwogera ku bikolwa byabwe byonna eby’omuzizo nga bali mu mawanga gye banaaba bagenze; era bajja kumanya nga nze Yakuwa.”
17 Era Yakuwa n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 18 “Omwana w’omuntu, emmere yo girye ng’okankana, n’amazzi go ganywe ng’ojugumira, era ng’oli mweraliikirivu.+ 19 Gamba abantu b’omu nsi nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba abantu ab’omu Yerusaalemi, mu nsi ya Isirayiri: “Bajja kulya emmere yaabwe nga beeraliikirivu, era bajja kunywa amazzi gaabwe nga bali mu kutya, kubanga ensi yaabwe ejja kufuuka matongo+ olw’ebikolwa eby’obukambwe eby’abantu bonna abagirimu.+ 20 Ebibuga ebirimu abantu bijja kuzikirizibwa, n’ensi ejja kufuuka matongo;+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’”+
21 Era Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 22 “Omwana w’omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu Isirayiri olugamba nti, ‘Ennaku ziyitawo naye tewali kwolesebwa kwonna kutuukirira’?+ 23 Kale bategeeze nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kukomya olugero olwo, era tebajja kuddamu kulukozesa mu Isirayiri.”’ Naye bagambe nti, ‘Ekiseera kinaatera okutuuka,+ era okwolesebwa kwonna kujja kutuukirira.’ 24 Kubanga mu nnyumba ya Isirayiri+ temujja kuddamu kubaamu kwolesebwa kwa bulimba wadde okulagula okw’obulimba. 25 ‘“Nze Yakuwa nja kwogera, era ekigambo kyonna kye nnaayogera kijja kutuukirira awatali kulwa.+ Mu nnaku zammwe,+ mmwe ab’omu nnyumba enjeemu, nja kwogera ekigambo era nkituukirize,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”
26 Era Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 27 “Omwana w’omuntu, abantu b’omu* Isirayiri bagamba nti, ‘Ebyo by’alaba mu kwolesebwa bya kubaawo mu biseera bya mu maaso, n’ebyo by’alanga bikwata ku biseera bya mu maaso nnyo.’+ 28 Kale bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “‘Tewali kigambo kyange na kimu kijja kulwa; byonna bye njogera bijja kutuukirira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’”
13 Yakuwa era n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu langirira ebinaatuuka ku bannabbi ba Isirayiri,+ era ogambe abo abeeyiiyiza obunnabbi*+ nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa. 3 Yakuwa Mukama Afuga Byonna agamba nti: “Zibasanze bannabbi abasirusiru, abalagula ebiri mu mitima gyabwe, kyokka nga tebalina kye balabye!+ 4 Ggwe Isirayiri, bannabbi bo bafuuse ng’ebibe ebiri mu matongo. 5 Temujja kugenda mu bifo bbugwe we yamenyeka okumudaabiriza ku lw’ennyumba ya Isirayiri,+ Abayisirayiri basobole okuwonawo mu lutalo ku lunaku lwa Yakuwa.”+ 6 “Abo abafunye okwolesebwa okw’obulimba era ne balagula eby’obulimba bagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba,’ so nga Yakuwa tabatumye, era balindiridde ebigambo byabwe bituukirire.+ 7 Okwolesebwa kwe mufunye si kwa bulimba, ne bye mulagudde si bya bulimba bwe mugambye nti, ‘Yakuwa agambye bw’ati,’ so nga sirina kye njogedde?”’
8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “‘Olw’okuba mwogedde eby’obulimba era nga n’okwolesebwa kwammwe kwa bulimba, ndi mulabe wammwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”+ 9 Nja kugolola omukono gwange mbonereze bannabbi abafuna okwolesebwa okw’obulimba era abalagula eby’obulimba.+ Tebajja kuba mu bantu be mbuulira ebyama byange; amannya gaabwe tegajja kuwandiikibwa mu kitabo ekiwandiikibwamu ab’ennyumba ya Isirayiri, era tebajja kukomawo mu nsi ya Isirayiri; mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.+ 10 Ebyo byonna bijja kubatuukako olw’okuba bawabizza abantu bange nga bagamba nti, “Waliwo emirembe!” so nga tewali mirembe.+ Ekisenge ekitali kigumu bwe kizimbibwa, bakisiigako langi enjeru.’+
11 “Abo abakisiigako langi enjeru bagambe nti kijja kugwa. Enkuba ey’amaanyi, omuzira, ne kibuyaga ow’amaanyi bijja kukisuula.+ 12 Ekisenge bwe kinaagwa, bajja kubabuuza nti, ‘Langi gye mwasiigako eruwa?’+
13 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kuleeta kibuyaga ow’amaanyi, n’enkuba ey’amaanyi, awamu n’omuzira nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi. 14 Nja kumenya ekisenge kye mwasiiga langi enjeru, nkisuule wansi, era omusingi gwakyo gujja kusigala kungulu. Ekibuga bwe kinaagwa, mujja kufiiramu; era mujja kumanya nti nze Yakuwa.’
15 “‘Bwe nnaamalira ekiruyi kyange ku kisenge ne ku abo abaakisiiga langi enjeru, nja kubagamba mmwe nti: “Ekisenge tekikyaliwo era n’abo abaakisiiga langi tebakyaliwo.+ 16 Bannabbi ba Isirayiri tebakyaliwo, abo abaalaguliranga Yerusaalemi era abaayolesebwanga nti Yerusaalemi kijja kufuna emirembe so nga tewali mirembe,”’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
17 “Omwana w’omuntu, obwenyi bwo bwolekeze bawala b’abantu bo abeeyiiyiza obunnabbi, olangirire ebinaabatuukako. 18 Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna: “Zibasanze mmwe abakazi abatungira abantu obugoye obw’okwesiba ku mikono* era ababatungira ebitambaala eby’okwebikka ku mitwe okusobola okubakwasa mu mutego! Muyigga obulamu bw’abantu bange naye ne mugezaako okuwonya obulamu bwammwe? 19 Munvumaganya mu bantu bange nga mwagala okufuna embatu za ssayiri n’obutundutundu bw’emigaati,+ ne mutta abantu abatagwanira kufa, kyokka ne muwonyaawo abo abatagwanira kuba balamu; kino mukikola nga mulimba abantu bange abawuliriza ebigambo byammwe eby’obulimba.”’+
20 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Bakazi mmwe, ndi mulabe w’obugoye bwammwe bwe mukozesa okuyigga abantu nga gy’obeera nti binyonyi, era nja kubusika ku mikono gyammwe, nte abo be muyigga ng’ebinyonyi. 21 Nja kuyuzaayuza ebitambaala byammwe eby’oku mitwe nnunule abantu bange mu mukono gwammwe, era temujja kuddamu kubakwasa mu mutego; mujja kumanya nti nze Yakuwa.+ 22 Kubanga omutuukirivu wange gwe saanakuwaza,* mumumazeemu amaanyi olw’obulimba bwammwe,+ era munywezezza emikono gy’omubi,+ aleme kuva mu kkubo lye ebbi, asigale nga mulamu.+ 23 Kale bakazi mmwe, temujja kuddamu kufuna kwolesebwa kwa bulimba era temujja kuddamu kulagula;+ nja kununula abantu bange mu mukono gwammwe, era mujja kumanya nti nze Yakuwa.’”
14 Awo abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja ne batuula mu maaso gange.+ 2 Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 3 “Omwana w’omuntu, abasajja bano bamaliridde okugoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza,* era bataddewo enkonge ereetera abantu okwonoona. Mbaleke banneebuuzeeko?+ 4 Kaakano yogera nabo obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna: “Omuyisirayiri bw’aba amaliridde okugoberera ebifaananyi bye ebyenyinyaza era n’assaawo enkonge ereetera abantu okwonoona, n’ajja okwebuuza ku nnabbi, nze Yakuwa nja kumuddamu okusinziira ku bungi bw’ebifaananyi bye ebyenyinyaza. 5 Nja kuleeta entiisa mu mitima gy’ab’ennyumba ya Isirayiri,* kubanga bonna banvuddeko ne bagoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza.”’+
6 “Kale tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna: “Mukomeewo era muleke ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza era muggye amaaso gammwe ku bikolwa byammwe byonna eby’omuzizo.+ 7 Kubanga Omuyisirayiri oba omugwira abeera mu Isirayiri bw’anvaako n’amalirira okugoberera ebifaananyi bye ebyenyinyaza era n’assaawo enkonge ereetera abantu okwonoona, ate n’ajja okwebuuza ku nnabbi wange,+ nze Yakuwa kennyini nja kumuddamu. 8 Nja kwolekeza omuntu oyo obwenyi bwange era mmufuule ekyokulabirako era olugero; nja kumutta mmuggye mu bantu bange;+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’
9 “‘Naye singa nnabbi abuzaabuzibwa n’abaako ky’ayogera, nze Yakuwa nze nnaaba mbuzaabuzizza nnabbi oyo.+ Nja kugolola omukono gwange mmulwanyise mmusaanyeewo mu bantu bange Abayisirayiri. 10 Bajja kubonerezebwa olw’ensobi zaabwe; ekibonerezo kya nnabbi kijja kuba kye kimu n’eky’oyo amwebuuzaako, 11 ennyumba ya Isirayiri erekere awo okunvaako n’okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Bajja kuba bantu bange nange nja kuba Katonda waabwe,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
12 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 13 “Omwana w’omuntu, ensi bw’eyonoona mu maaso gange n’etekuuma bwesigwa, nja kugigololera omukono gwange ngirwanyise, nsanyeewo amaterekero gaayo ag’emmere.*+ Nja kugireetamu enjala+ nzite abantu baamu bonna n’ensolo.”+ 14 “‘Abasajja bano abasatu; Nuuwa,+ Danyeri,+ ne Yobu,+ ne bwe bandibadde mu nsi eyo, bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
15 “‘Oba singa ndeetera ensolo enkambwe okuyita mu nsi ne zigimalamu abantu,* n’efuuka matongo nga tekyayitamu muntu yenna olw’ensolo enkambwe,+ 16 nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘abasajja abo abasatu ne bwe bandigibaddemu, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe; bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka, era ensi yandifuuse matongo.’”
17 “‘Oba singa ndeeta ekitala mu nsi eyo, ne ŋŋamba nti: “Ekitala ka kiyite mu nsi,”+ kitte abantu baamu bonna n’ensolo,+ 18 nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘abasajja abo abasatu ne bwe bandibadde mu nsi eyo, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe; bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka.’”
19 “‘Oba singa nsindika endwadde mu nsi eyo+ ne ngifukako ekiruyi kyange, ne nzita abantu baamu bonna n’ensolo, 20 nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘Nuuwa,+ Danyeri,+ ne Yobu,+ ne bwe bandibadde mu nsi eyo, tebandiwonyezza batabani baabwe wadde bawala baabwe; bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe.’”+
21 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Bwe kityo bwe kiriba nga ndeese ku Yerusaalemi ebibonerezo byange ebina:+ ekitala, enjala, ensolo enkambwe, n’endwadde,+ okukimalamu abantu n’ensolo.+ 22 Naye abamu abanaasigala mu kibuga ekyo bajja kuwonawo babafulumye ebweru,+ abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Bajja kujja gye muli, era bwe munaalaba engeri gye beeyisaamu n’ebikolwa byabwe, mujja kuddamu amaanyi olw’akabi ke nnaleeta ku Yerusaalemi n’ebirala byonna bye nnakola ekibuga ekyo.’”
23 “‘Mujja kuddamu amaanyi bwe munaalaba engeri gye beeyisaamu n’ebikolwa byabwe, era mujja kumanya nti nnalina ensonga entuufu okukikola ebyo byonna bye nnakikola,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
15 Yakuwa era n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, omuti gw’omuzabbibu guyinza okugeraageranyizibwa n’omuti omulala gwonna oba n’ettabi ery’omuti gwonna ogw’omu kibira? 3 Omuti oguggibwako guyinza okukozesebwa omulimu gwonna? Oba abantu bayinza okugukolamu akati ak’okuwanikako ebintu? 4 Laba! Gusuulibwa mu muliro okuba enku, era omuliro gugwokya eruuyi n’eruuyi ne gugubabula wakati. Kati olwo guba guyinza okukozesebwa omulimu gwonna? 5 Bwe guba nga gwali tegusobola kukozesebwa kintu kyonna nga mulamba, kati olwo gunaaba n’omugaso gwonna ng’omuliro gumaze okugubabula n’okugwokya?”
6 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Okufaananako omuti gw’omuzabbibu ogw’omu miti egy’omu kibira gwe mpaddeyo okuba enku, bwe ntyo bwe nnaakola abantu b’omu Yerusaalemi.+ 7 Mboolekezza obwenyi bwange. Badduse okuva mu muliro, naye omuliro gujja kubookya. Era mujja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaaboolekeza obwenyi bwange.’”+
8 “‘Era ensi nja kugifuula matongo,+ kubanga tebabadde beesigwa,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
16 Yakuwa era n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tegeeza Yerusaalemi eby’omuzizo bye kikola.+ 3 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba Yerusaalemi, “Wazaalibwa mu nsi y’Abakanani era eyo gy’osibuka. Kitaawo yali Mwamoli,+ ate nnyoko yali Mukiiti.+ 4 Ku lunaku lwe wazaalibwa, tewasalibwako kalira, era tewanaazibwa na mazzi okukutukuza. Tebaakusiiga munnyo, wadde okukuzinga mu bugoye. 5 Tewali n’omu yakusaasira n’akukolera ekimu ku ebyo byonna. Tewali n’omu yakukwatirwa kisa, wabula wasuulibwa ku ttale olw’okuba tewayagalibwa ku lunaku lwe wazaalibwa.
6 “‘“Bwe nnali mpitawo nnakulaba ng’osambagalira mu musaayi gwo, era bwe wali ogalamidde mu musaayi gwo ne nkugamba nti: ‘Ba mulamu!’ Mazima, nnakugamba ng’ogalamidde mu musaayi gwo nti: ‘Ba mulamu!’ 7 Ne nkwaza ng’ebimera ebiroka mu nnimiro, n’osuumuka n’okulira ddala, n’oyambala amajolobero agasingayo okulabika obulungi. Wasuna amabeere ne gakula n’okuza n’enviiri, naye wali okyali bwereere nga toyambadde.”’
8 “‘Bwe nnali mpitawo ne nkulaba ng’otuuse okufumbirwa, ne nkubikkako ekyambalo kyange+ oleme kusigala bukunya, ne ndayira, ne nkola naawe endagaano,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘bw’otyo n’oba wange. 9 Ate era nnakunaaza n’amazzi ne nkumalirako ddala omusaayi, ne nkusiiga amafuta.+ 10 Awo ne nkwambaza ekyambalo ekiriko amasiira ne nkuwa engatto ez’amaliba amagonvu,* ne nkusiba ku mutwe ekitambaala ekya kitaani omulungi, era ne nkwambaza ebyambalo eby’ebbeeyi. 11 Nnakwambaza amajolobero, n’obukomo ku mikono, n’omukuufu mu bulago. 12 Ate era nnakuteeka empeta mu nnyindo, ne nkwambaza eby’oku matu, ne nkutikkira n’engule erabika obulungi ku mutwe. 13 Wayambalanga amajolobero aga zzaabu ne ffeeza, era wayambalanga engoye eza kitaani omulungi era nga za bbeeyi, n’ekyambalo ekiriko amasiira. Obuwunga obutaliimu mpulunguse, omubisi gw’enjuki, n’amafuta g’ezzeyituuni, bye byabanga emmere yo, n’olungiwa okukamala,+ n’oba ng’osaanira okuba nnaabakyala.’”
14 “‘Ettutumu* lyo lyabuna mu mawanga gonna+ olw’obulungi bwo, kubanga bwali butuukiridde olw’ekitiibwa kyange kye nnakussaako,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
15 “‘Naye wafuna amalala olw’obulungi bwo+ n’ofuuka malaaya olw’ettutumu lyo.+ Wayendanga n’abo bonna abaayitangawo,+ obulungi bwo ne buba bwabwe. 16 Waddira ebimu ku byambalo byo n’obitimba ku bifo ebigulumivu gye wakoleranga obwamalaaya;+ ebintu ng’ebyo tebisaanidde kubaawo era tebyandibaddewo. 17 Era waddira amajolobero go agalabika obulungi ge nnakuwa, agaakolebwa mu zzaabu ne ffeeza, n’ogakolamu ebifaananyi by’abasajja n’oyenda nabyo.+ 18 Waddira ebyambalo byo ebiriko amasiira n’obikka ku bifaananyi ebyo,* era n’owaayo gye biri amafuta gange ag’ezzeyituuni n’obubaani bwange.+ 19 Era n’emmere gye nnakuwa okulya eyakolebwa mu buwunga obutaliimu mpulunguse n’amafuta g’ezzeyituuni n’omubisi gw’enjuki, wagiwaayo eri ebifaananyi ebyo okuba evvumbe eddungi.+ Ekyo kyennyini kye kyaliwo,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
20 “‘Era batabani bo ne bawala bo be wanzaalira+ wabawaayo nga ssaddaaka eri ebifaananyi+—obwamalaaya bwo buba tebugenze wala nnyo? 21 Watta abaana bange n’obawaayo nga ssaddaaka ng’obookya* mu muliro.+ 22 Bwe wabanga okola eby’omuzizo byo byonna n’obwamalaaya, tewajjukira kiseera bwe wali omuto, ng’oli bwereere era nga toyambadde, era ng’osambagalira mu musaayi gwo. 23 Oluvannyuma lw’okukola ebibi ebyo byonna, zikusanze, zikusanze,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 24 ‘Weekolera ebifunvu n’ebifo ebigulumivu mu bibangirizi byonna ebya lukale. 25 Wazimba ebifo ebigulumivu mu masaŋŋanzira, obulungi bwo n’obufuula eky’omuzizo ng’oyenda na* buli eyayitangawo,+ era ne weeyongera okukola obwamalaaya.+ 26 Wayenda ku baana b’e Misiri,+ baliraanwa bo abakaba,* era wannyiiza bwe weeyongera okukola obwamalaaya. 27 Kale nja kugolola omukono gwange nkubonereze, nkendeeze ku mmere gye nkuwa,+ era nkuweeyo eri abakazi abaakukyawa bakukole kye baagala,+ nga bano be bawala b’Abafirisuuti abeesisiwala olw’ebikolwa byo eby’obugwenyufu.+
28 “‘Olw’okuba wali toyinza kumatira, wayenda n’abaana b’Abaasuli,+ naye bwe wamala okwenda nabo wasigala tomatidde. 29 Era weeyongera okwenda ku bantu b’omu nsi y’abasuubuzi* ne ku Bakaludaaya,+ naye era wasigala tomatidde. 30 Ng’omutima gwo gwali mulwadde* nnyo,’* bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘bwe wakola ebintu bino byonna, ne weeyisa nga malaaya kaggwensonyi!+ 31 Naye bwe wakola ebifunvu mu masaŋŋanzira n’ozimba ebifo ebigulumivu mu bibangirizi byonna ebya lukale, tewali nga malaaya, kubanga wagaana okusasulwa. 32 Oli mukazi mwenzi alekawo bba n’agenda n’abasajja abalala!+ 33 Abasajja be bawa bamalaaya ebirabo,+ naye ate ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo,+ n’obagulirira okuva mu bitundu byonna ebikwetoolodde bajje bende naawe.+ 34 Oli wa njawulo ku bakazi abalala abakola obwamalaaya. Tewali malaaya alinga ggwe! Ggwe osasula abasajja b’oyenda nabo, naye bo tebakusasula. Enkola yo ya njawulo.’
35 “Kale malaaya ggwe,+ wulira ekigambo kya Yakuwa. 36 Bw’ati bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna nti: ‘Nga bw’okabawadde, obwereere bwo ne bulabibwa ng’oyenda ne baganzi bo n’ebifaananyi byo byonna eby’omuzizo era ebyenyinyaza,*+ n’otuuka n’okubiwa omusaayi gw’abaana bo nga ssaddaaka,+ 37 ŋŋenda kukuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyusanga, abo bonna be wayagala era n’abo be wakyawa. Nja kubakuŋŋaanya okuva mu bifo byonna bakulwanyise, njolese obwereere bwo gye bali era bajja kukulaba ng’oli bukunya.+
38 “‘Nja kukuwa ebibonerezo ebigwanira abakazi abenzi+ n’abakazi abayiwa omusaayi,+ era omusaayi gwo gujja kuyiibwa mu busungu bungi ne mu buggya.+ 39 Nja kukuwaayo mu mikono gyabwe, era bajja kusaanyaawo ebifunvu byo n’ebifo byo ebigulumivu;+ bajja kukwambulamu ebyambalo byo+ batwale amajolobero go agalabika obulungi+ bakuleke ng’oli bwereere, nga toyambadde. 40 Bajja kukulumba n’ekibinja ky’abantu,+ era bajja kukukuba amayinja,+ era bakutte n’ebitala byabwe.+ 41 Bajja kwokya ennyumba zo n’omuliro+ bakubonereze ng’abakazi bangi balaba; nja kukomya obwamalaaya bwo,+ era ojja kulekera awo okusasula b’oyenda nabo. 42 Nja kukumalirako ekiruyi kyange,+ obusungu bwange bukuveeko;+ era nja kukkakkana mbe nga sikyali munyiivu.’
43 “‘Olw’okuba tewajjukira kiseera bwe wali omuto,+ n’onsunguwaza ng’okola ebintu bino byonna, nja kukusasula okusinziira ku makubo go,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘era tojja kuddamu kukola bya bugwenyufu n’eby’omuzizo byo byonna.
44 “‘Laba! Abantu bajja kukwogerako nti: “Omuwala alinga nnyina!”+ 45 Olinga nnyoko eyanyooma bba n’abaana be, era olinga baganda bo abaanyooma babbaabwe n’abaana baabwe. Nnyammwe yali Mukiiti, ate kitammwe yali Mwamoli.’”+
46 “‘Mukulu wo ye Samaliya+ akuli mu bukiikakkono* wamu ne bawala be,*+ ne muto wo ye Sodomu+ akuli mu bukiikaddyo* wamu ne bawala be.+ 47 Tewakoma ku kutambulira mu makubo gaabwe na kukola bya muzizo bye baakolanga, naye era mu kaseera katono weeyisa bubi nnyo n’okubasinga.+ 48 Kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘muganda wo Sodomu ne bawala be tebaakola ebyo ggwe ne bawala bo bye mukoze. 49 Eno ye yali ensobi ya muganda wo Sodomu: Ye ne bawala be+ baali ba malala,+ era baalina emmere nnyingi+ n’emirembe mingi nnyo,+ naye tebaayamba banaku n’abaavu.+ 50 Beeyongera okuba ab’amalala,+ era baakola eby’omuzizo mu maaso gange,+ bwe ntyo ne ndaba nga kyali kyetaagisa okubaggyawo.+
51 “‘Ne Samaliya+ teyakola bibi wadde ebyenkana ekimu eky’okubiri eky’ebibi bye wakola. Wakola eby’omuzizo bingi okusinga baganda bo, baganda bo abo ne batuuka n’okulabika ng’abatuukirivu olw’eby’omuzizo byonna bye wakola.+ 52 Kaakano gumira obuswavu kubanga oleetedde enneeyisa ya baganda bo okulabika ng’ennungi. Olw’okuba okoze eby’omuzizo okubasinga, batuukirivu okukusinga. Kale kwatibwa ensonyi era ogumire obuswavu, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.’
53 “‘Nja kukomyawo abantu baabwe abaawambibwa, aba Sodomu ne bawala be, n’aba Samaliya ne bawala be; n’abantu bo abaawambibwa nja kubakomyawo wamu nabo,+ 54 ogumire obuswavu bwo; era ojja kuwulira ng’ofeebezeddwa olw’okuba wakola ebibi okubasinga. 55 Baganda bo, Sodomu ne Samaliya, awamu ne bawala baabwe bajja kuddayo mu mbeera gye baalimu edda, era naawe ne bawala bo mujja kuddayo mu mbeera gye mwalimu edda.+ 56 Muganda wo Sodomu wali toyinza na kumwogerako mu kiseera we wabeerera ow’amalala, 57 ng’ebikolwa byo ebibi tebinnaba kwanikibwa.+ Kaakano bawala ba Busuuli ne baliraanwa be bakuvuma, n’abawala b’Abafirisuuti+ abakwetoolodde bakunyooma. 58 Ojja kwolekagana n’ebyo ebinaava mu mpisa zo ez’obugwenyufu ne mu bikolwa byo eby’omuzizo,’ bw’ayogera Yakuwa.”
59 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Kaakano ŋŋenda kukubonereza okusinziira ku by’okoze,+ kubanga onyoomye ekirayiro n’omenya endagaano yange.+ 60 Naye nja kujjukira endagaano gye nnakola naawe ng’okyali muto, era nja kukola naawe endagaano ey’olubeerera.+ 61 Bw’onooyaniriza baganda bo, bakulu bo ne bato bo, ojja kujjukira enneeyisa yo owulire ng’ofeebezeddwa,+ era nja kubakuwa babe bawala bo, naye si lwa ndagaano gye nnakola naawe.’
62 “‘Nja kukola naawe endagaano; era ojja kumanya nti nze Yakuwa. 63 Bwe nnaakusonyiwa,*+ ojja kujjukira bye wakola okwatibwe nnyo ensonyi oleme na kubaako ky’oyogera olw’okuswala,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
17 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, kokya ekikokyo era ogere olugero olukwata ku nnyumba ya Isirayiri.+ 3 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Empungu ennene,+ erina ebiwaawaatiro ebinene, ebiwanvu, era erina n’ebyoya ebingi ebya langi ennyingi, yagenda e Lebanooni+ n’eggya akatabi akasembayo waggulu ku muti gw’entolokyo.+ 4 Yagumenyako omutunsi n’egutwala mu nsi y’abasuubuzi* n’egusimba mu kibuga ky’abasuubuzi.+ 5 Era yatwala ku nsigo ez’omu nsi+ n’egisimba mu ttaka eggimu. Yagisimba awali amazzi amangi ekule ng’omusafusafu. 6 Yamera, n’efuuka omuzabbibu ogukulira wansi ne gulanda ne gwagaagala,+ ng’ebikoola byagwo n’amatabi gaagwo bitunudde munda, era ne gusimba wansi emirandira gyagwo. Omuzabbibu ogwo gwaleeta emitunsi n’amatabi.+
7 “‘“Awo ne wajja empungu endala ennene,+ ng’erina ebiwaawaatiro ebinene era ebiwanvu.+ Omuzabbibu ogwo ne gusindika emirandira gyagwo okuva mu nnimiro we gwali gusimbiddwa ne gugyolekeza empungu eyo, era ne gusindika ebikoola byagwo n’amatabi gaagwo okubyolekeza empungu egufukirire.+ 8 Omuzabbibu ogwo gwali gwamala dda okusimbibwa mu ttaka eddungi awaali amazzi amangi, gusobole okussaako amatabi, okubala ebibala, era gubeere omuzabbibu ogulabika obulungi.”’+
9 “Gamba nti, ‘Bwati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Omuzabbibu ogwo gunaakula bulungi? Omuntu taakuuleyo mirandira gyagwo+ ebibala byagwo ne bivunda, n’amatabi gaagwo ne gawotoka?+ Gujja kukala kibe nti tekijja kwetaagisa muntu wa maanyi wadde abantu abangi okugukuulayo n’emirandira gyagwo. 10 Ne bwe gunaaba nga gusimbuliziddwa, gunaakula bulungi? Teguukalire ddala nga gufuuyiddwa empewo ey’ebuvanjuba? Gujja kukalira mu nnimiro gye gunaaba gusimbiddwa.”’”
11 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 12 “Buuza ab’omu nnyumba eyo enjeemu nti, ‘Temutegeera makulu ga bintu bino?’ Gamba nti, ‘Kabaka wa Babulooni yajja e Yerusaalemi n’atwala kabaka waayo n’abaami baayo e Babulooni.+ 13 Ate era yatwala omu ku b’omu lulyo olulangira,+ n’akola naye endagaano, n’amulayiza ekirayiro.+ Era yatwala n’abantu ab’ebitiibwa ab’omu nsi,+ 14 obwakabaka obwo bufeebezebwe buleme okuyimuka, wabula bweyongere okubaawo olw’okukuuma endagaano ye.+ 15 Naye kabaka yamujeemera,+ n’atuma ababaka e Misiri okufunayo embalaasi+ n’eggye eddene.+ Binaamugendera bulungi? Omuntu akola ebyo ayinza obutabonerezebwa? Ayinza okumenya endagaano n’atabonerezebwa?’+
16 “‘“Kale nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, “ajja kufiira e Babulooni mu nsi kabaka* eyamussa* ku ntebe y’obwakabaka gy’abeera, nnannyini kirayiro ky’anyoomye, era nnannyini ndagaano gy’amenye.+ 17 Eggye lya Falaawo eddene n’abasirikale be abangi tebajja kusobola kumuyamba mu lutalo,+ abalabe bwe banaakola ekifunvu era ne bazimba ebigo okuzikiriza abantu bangi. 18 Anyoomye ekirayiro era n’amenya endagaano. Wadde nga yasuubiza* okukuuma endagaano eyo, akoze ebintu ebyo byonna era tajja kuwona.”’
19 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nga bwe ndi omulamu, nja kumubonereza olw’okunyooma ekirayiro kyange+ n’olw’okumenya endagaano yange. 20 Nja kumusuulako ekitimba kyange era kijja kumukwasa.+ Nja kumutwala e Babulooni tuwoze naye olw’obutaba mwesigwa gye ndi.+ 21 Ab’omu ggye lye abanadduka bajja kuttibwa n’ekitala, n’abo abanaasigalawo bajja kusaasaanira mu njuyi zonna.*+ Olwo mujja kumanya nti nze Yakuwa nze nkyogedde.”’+
22 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kuggya omutunsi ku katabi akasembayo ku muti gw’entolokyo omuwanvu+ ngusimbe; nja kuggya omutunsi omuto+ waggulu ku masanso gaagwo ngusimbe ku lusozi oluwanvu era olugulumivu.+ 23 Nja kugusimba ku lusozi lwa Isirayiri oluwanvu, gusseeko amatabi, gubale ebibala, era gufuuke omuti gw’entolokyo ogulabika obulungi. Ebinyonyi ebya buli ngeri bijja kubeera wansi waagwo, era byewogome mu kisiikirize ky’amatabi n’ebikoola byagwo. 24 Era emiti gyonna egy’oku ttale gijja kumanya nti nze Yakuwa nze nfeebezza omuti omuwanvu ne ngulumiza omuti omumpi;+ era nga nze nkazizza omuti omubisi ne ndeetera omuti omukalu okumulisa.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde era nze nkikoze.”’”
18 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Makulu ki agali mu lugero luno lwe mugera mu nsi ya Isirayiri olugamba nti, ‘Bataata be balidde ebibala by’ezzabbibu ebituŋŋununa, naye amannyo g’abaana ge ganyenyeera’?+
3 “‘Kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘temujja kuddamu kugera lugero olwo mu Isirayiri. 4 Laba! Obulamu bw’abantu bonna bwange. Obulamu bw’omwana bwange, n’obulamu bwa kitaawe bwange. Oyo akola ekibi y’anaafa.
5 “‘Omuntu bw’aba omutuukirivu era ng’akola eby’obwenkanya era ebituufu, 6 nga taliira ku nsozi+ ssaddaaka eziweereddwayo eri ebifaananyi, ng’essuubi lye talissa mu bifaananyi ebyenyinyaza* eby’ennyumba ya Isirayiri, nga tayenda ku muka munne,+ nga teyeegatta na mukazi ali mu nsonga,+ 7 nga tayisa bubi bantu balala,+ ng’omuntu eyamwewolako amuddiza omusingo gwe,+ nga tanyaga muntu yenna,+ wabula ng’awa abalumwa enjala eby’okulya+ n’abali obwereere eby’okwambala,+ 8 ng’abo b’awola tabasaba magoba,+ nga yeewala okukola ebitali bya bwenkanya,+ ng’asala emisango mu bwenkanya,+ 9 ng’atambulira mu mateeka gange era ng’akwata ebiragiro byange, asobole okuba omwesigwa. Omuntu ng’oyo aba mutuukirivu, era ajja kusigala nga mulamu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
10 “‘Naye bw’azaala omwana, omwana oyo n’aba mubbi,+ mutemu,*+ oba n’akola ekimu ku bintu ebyo ebirala, 11 (wadde nga kitaawe takolanga n’ekimu ku byo)—ng’aliira ku nsozi ssaddaaka eziweereddwayo eri ebifaananyi, ng’ayenda ku muka munne, 12 ng’ayisa bubi abaavu n’abo abali mu bwetaavu,+ ng’anyaga ebintu by’abalala, ng’amwewolako tamuddiza musingo gwe, ng’essuubi lye alissa mu bifaananyi ebyenyinyaza,+ ng’akola ebintu eby’omuzizo,+ 13 ng’abo b’awola abasaba amagoba mangi,+ omwana oyo tajja kusigala nga mulamu. Ajja kuttibwa olw’okukola ebintu ebyo byonna eby’omuzizo. Era omusaayi gwe gujja kuba ku ye yennyini.
14 “‘Naye omusajja bw’azaala omwana, omwana oyo n’alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, naye ye n’atabikola, 15 n’ataliira ku nsozi ssaddaaka eziweereddwayo eri ebifaananyi, n’atassa ssuubi lye mu bifaananyi ebyenyinyaza eby’ennyumba ya Isirayiri, n’atayenda ku muka munne, 16 n’atayisa bubi muntu yenna, n’atatwala musingo gwa muntu eyamwewolako, n’atanyaga kintu kyonna; abalumwa enjala n’abawa eby’okulya n’abali obwereere n’abawa eby’okwambala, 17 n’atanyigiriza baavu, n’atasaba magoba mangi abo b’awola, n’atambulira mu mateeka gange era n’akwata ebiragiro byange, omuntu oyo tajja kufa olw’ensobi za kitaawe. Mazima ajja kusigala nga mulamu. 18 Naye olw’okuba kitaawe yali mukumpanya, nga yabba muganda we, era n’akola ebintu ebibi mu bantu be, ajja kufa olw’ensobi ze.
19 “‘Naye mujja kugamba nti: “Lwaki omwana tavunaanibwa bibi bya kitaawe?” Okuva bwe kiri nti omwana akoze eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu, era n’akwata amateeka gange gonna, ajja kusigala nga mulamu.+ 20 Omuntu akola ebintu ebibi y’anaafa.+ Omwana tajja kuvunaanibwa bibi bya kitaawe, ne taata tajja kuvunaanibwa bibi bya mwana we. Omuntu omutuukirivu ajja kuweebwa empeera olw’obutuukirivu bwe, n’omubi ajja kubonerezebwa olw’ebibi bye.+
21 “‘Omuntu omubi bw’aleka ebibi byonna by’abadde akola, n’akwata amateeka gange gonna era n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu, ajja kusigala nga mulamu, tajja kufa.+ 22 Ebibi byonna bye yakola tebijja kumuvunaanibwa.*+ Ajja kusigala nga mulamu olw’okuba akoze eby’obutuukirivu.’+
23 “‘Ddala nsanyukira okufa kw’omubi?’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Kye njagala si kwe kuba nti aleka ebikolwa bye asigale nga mulamu?’+
24 “‘Naye omuntu omutuukirivu bw’alekera awo okukola eby’obutuukirivu, n’akola ebibi,* n’eby’omuzizo byonna abantu ababi bye bakola, anaasigala nga mulamu? Tewali na kimu ku ebyo bye yakola eby’obutuukirivu ekinajjukirwa.+ Ajja kufa olw’obutaba mwesigwa n’olw’ebibi bye yakola.+
25 “‘Naye mujja kugamba nti: “Yakuwa by’akola si bya bwenkanya.”+ Muwulirize mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri! Bye nkola bye bitali bya bwenkanya?+ Mmwe bye mukola si bye bitali bya bwenkanya?+
26 “‘Omuntu omutuukirivu bw’alekera awo okukola eby’obutuukirivu, n’akola ebibi n’afa olw’ebibi ebyo, ajja kuba afudde olw’ebibi ebyo bye yakola.
27 “‘Omuntu omubi bw’aleka ebintu ebibi by’abadde akola, n’atandika okukola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu, ajja kuwonya obulamu bwe.+ 28 Bw’ategeera ebibi byonna by’abadde akola n’abireka, mazima ajja kusigala nga mulamu. Tajja kufa.
29 “‘Naye ab’ennyumba ya Isirayiri bajja kugamba nti: “Yakuwa by’akola si bya bwenkanya.” Naye mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, ddala bye nkola bye bitali bya bwenkanya?+ Mmwe bye mukola si bye bitali bya bwenkanya?’
30 “‘Kale mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, nja kusalira buli omu omusango okusinziira ku bikolwa bye,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Mukyuke, mukyukire ddala muleke ebibi byammwe byonna, bireme okuba enkonge ebaleetera okubaako omusango. 31 Mweggyeeko ebibi byonna bye mubadde mukola,+ mufune* omutima omuggya n’omwoyo omuggya.+ Lwaki mwagala okufa,+ mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri?’
32 “‘Sisanyukira kufa kwa muntu yenna,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Kale mukyuke musigale nga muli balamu.’”+
19 “Yimba oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri, 2 ogambe nti,
‘Nnyoko yali ani? Yali mpologoma enkazi eyabanga n’empologoma endala.
Yagalamiranga awali empologoma envubuka ez’amaanyi n’ekuza abaana baayo.
3 Yakuza omu ku baana baayo, n’eba empologoma envubuka ey’amaanyi.+
Yayiga okuyigga,
N’etandika n’okulya abantu.
4 Amawanga gaawulira ebigikwatako, ne gagikwasiza mu bunnya bwago,
Ne gagisika n’amalobo ne gagitwala mu nsi ya Misiri.+
5 Nnyina waayo yalindirira, naye bwe yalaba nga tewakyali ssuubi lya mwana gwayo kudda,
N’eddira omwana gwayo omulala n’egutendeka okuba empologoma envubuka ey’amaanyi.
6 Nagwo gwatambuliranga wamu n’empologoma endala ne gufuuka empologoma envubuka ey’amaanyi.
Yayiga okuyigga n’etandika n’okulya abantu.+
7 Yatambuliratambuliranga mu minaala gyabwe n’ezikiriza ebibuga byabwe,
Ensi eyali efuuse amatongo n’ejjula okuwuluguma kwayo.+
8 Awo amawanga okuva mu bitundu ebiriraanyeewo ne gagirumba, ne gagisuulako ekitimba,
N’ekwatibwa mu bunnya bwago.
9 Ne bagisika n’amalobo ne bagiteeka mu kiguli, ne bagitwala eri kabaka wa Babulooni.
Baagisibira eyo, okuwuluguma kwayo kuleme kuddamu kuwulirwa mu nsozi za Isirayiri.
10 Nnyoko yali ng’omuzabbibu+ mu musaayi gwo,* omuzabbibu ogwasimbibwa awali amazzi.
Gwabala nnyo era ne guba n’amatabi mangi olw’okubeera awali amazzi amangi.
11 Amatabi gaagwo gaafuuka magumu nga gagwanira okuba ddamula z’abafuzi.
Gwakula ne gusinga emiti emirala gyonna obuwanvu,
Ne guba nga gusobola okulengerwa olw’obuwanvu bwagwo n’olw’ebikoola byagwo ebingi n’amatabi gaagwo amangi.
12 Naye gwakuulibwa n’obusungu,+ ne gusuulibwa wansi,
Empewo ey’ebuvanjuba n’ekaza ebibala byagwo.
Amatabi gaagwo amagumu gaawogoka ne gakala,+ ne gookebwa omuliro.+
13 Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
Mu nsi enkalu etaliimu mazzi.+
14 Omuliro gwava ku matabi gaagwo ne gulanda ne gwokya emitunsi gyagwo n’ebibala byagwo,
Era tewaasigalawo ttabi na limu eggumu, wadde ddamula ey’okufugisa.+
“‘Luno luyimba lwa kukungubaga, era lunaabanga luyimba lwa kukungubaga.’”
20 Awo ku lunaku olw’ekkumi, olw’omwezi ogw’okutaano, mu mwaka ogw’omusanvu, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja ne batuula mu maaso gange okwebuuza ku Yakuwa. 2 Yakuwa n’aŋŋamba nti: 3 “Omwana w’omuntu, yogera n’abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Muzze okunneebuuzaako? ‘Kale nga bwe ndi omulamu, sijja kubaddamu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’
4 “Oli mwetegefu okubasalira omusango? Omwana w’omuntu, oli mwetegefu okubasalira omusango? Bategeeze eby’omuzizo bajjajjaabwe bye baakola.+ 5 Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ku lunaku lwe nnalonda Isirayiri,+ nnalayirira* abaana ba Yakobo, ne nneemanyisa gye bali nga bali mu nsi ya Misiri.+ Mazima ddala nnabalayirira ne mbagamba nti, ‘Nze Yakuwa Katonda wammwe.’ 6 Ku lunaku olwo nnalayira okubaggya mu nsi ya Misiri mbatwale mu nsi gye nnabanoonyeza,* ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ Ensi eyo ye yali esinga ensi endala zonna okulabika obulungi. 7 Awo ne mbagamba nti, ‘Buli omu asuule ebintu eby’omuzizo ebiri mu maaso ge; temwefuula abatali balongoofu na bifaananyi by’e Misiri ebyenyinyaza.*+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’+
8 “‘“Naye banjeemera, ne bagaana okumpuliriza. Tebaasuula bintu eby’omuzizo ebyali mu maaso gaabwe, era tebaaleka bifaananyi by’e Misiri ebyenyinyaza.+ N’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange n’okubamalirako ekiruyi kyange mu nsi ya Misiri. 9 Naye nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange, lireme okuvumaganyizibwa mu mawanga mwe baali.+ Kubanga nneemanyisa gye bali* mu maaso g’amawanga ago bwe nnabaggya mu nsi ya Misiri.+ 10 Bwe ntyo ne mbaggya mu nsi ya Misiri ne mbatwala mu ddungu.+
11 “‘“Nnabawa amateeka gange ne mbamanyisa n’ebiragiro byange,+ omuntu abigoberera asobole okuba omulamu.+ 12 Era nnabawa ne ssabbiiti zange+ zibe akabonero wakati wange nabo,+ balyoke bamanye nga nze Yakuwa nze mbatukuza.
13 “‘“Naye ab’ennyumba ya Isirayiri banjeemera mu ddungu.+ Tebaatambulira mu mateeka gange era baagaana okukwata ebiragiro byange, ebisobozesa omuntu abigoberera okuba omulamu. Bavvoola ssabbiiti zange. N’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange mu ddungu mbazikirize.+ 14 Nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange, lireme okuvumaganyizibwa mu mawanga, agaalaba nga mbaggya* mu nsi ya Misiri.+ 15 Ate era nnabalayirira mu ddungu nti siribatwala mu nsi gye nnali mbawadde+—ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ ensi esinga ensi endala zonna okulabika obulungi— 16 kubanga baagaana okukwata ebiragiro byange, tebaatambulira mu mateeka gange, era bavvoola ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyali gigoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza.+
17 “‘“Naye nnabakwatirwa* ekisa ne sibazikiriza; saabasaanyaawo mu ddungu. 18 Nnagamba abaana baabwe mu ddungu+ nti, ‘Temutambulira mu biragiro bya bajjajjammwe,+ temukwata mateeka gaabwe, era temwefuula abatali balongoofu na bifaananyi byabwe ebyenyinyaza. 19 Nze Yakuwa Katonda wammwe. Mutambulire mu mateeka gange era mukwate ebiragiro byange.+ 20 Mutukuze ssabbiiti zange,+ era zinaabanga akabonero wakati wange nammwe, mulyoke mumanye nti nze Yakuwa Katonda wammwe.’+
21 “‘“Naye abaana banjeemera.+ Tebaatambulira mu mateeka gange era tebaakwata biragiro byange, ebisobozesa omuntu abigoberera okuba omulamu. Bavvoola ssabbiiti zange, n’olwekyo nnamalirira okubafukako obusungu bwange n’okubamalirako ekiruyi kyange mu ddungu.+ 22 Naye ekyo saakikola,+ wabula nnina kye nnakolawo olw’erinnya lyange,+ lireme okuvumaganyizibwa mu maaso g’amawanga, agaalaba nga mbaggya* mu nsi ya Misiri. 23 Era nnabalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo,+ 24 kubanga tebaakwata biragiro byange, baagaana okukwata amateeka gange,+ bavvoola ssabbiiti zange, era baagoberera* ebifaananyi bya bajjajjaabwe ebyenyinyaza.+ 25 Era nnabaleka okugoberera amateeka agataali malungi, n’ebiragiro ebitandibasobozesezza kuba balamu.+ 26 Ne mbaleka okweyonoona ne ssaddaaka zaabwe, bwe baayokyanga* buli mwana waabwe omuggulanda mu muliro,+ ndyoke mbazikirize, bamanye nti nze Yakuwa.”’
27 “Kale omwana w’omuntu, yogera n’ab’ennyumba ya Isirayiri, obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Bwe bati bajjajjammwe bwe banvumaganya bwe bataali beesigwa gye ndi. 28 Bwe nnabatuusa mu nsi gye nnalayira okubawa,+ ne balaba obusozi obuwanvu bwonna n’emiti egirina ebikoola ebingi,+ baatandika okuwaayo ssaddaaka zaabwe, n’ebiweebwayo byabwe ebinyiiza. Baaweerangayo eyo ssaddaaka zaabwe ez’evvumbe eddungi, era n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa. 29 Ne mbabuuza nti, ‘Ekifo kino ekigulumivu gye mugenda kirina makulu ki? (Kikyayitibwa Ekifo Ekigulumivu n’okutuusa leero.)’”’+
30 “Kaakano, gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nammwe mweyonoona nga bajjajjammwe bwe beeyonoona nga bagoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza okwenda nabyo mu by’omwoyo?+ 31 Era n’okutuusa leero mukyeyonoona nga muwaayo ssaddaaka eri ebifaananyi byammwe byonna ebyenyinyaza, nga mwokya* abaana bammwe mu muliro?+ Kale mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, nnyinza ntya okubaddamu bwe munneebuuzaako?”’+
“‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘sijja kubaddamu.+ 32 N’ekyo kye mulowooza nga mugamba nti, “Ka tubeere ng’amawanga amalala, ng’abantu b’omu nsi endala, abasinza* amayinja n’emiti,”+ tekijja kubaawo.’”
33 “‘Kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘Nja kubafuga n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era nja kubafukako obusungu bwange.+ 34 N’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era n’obusungu obungi, nja kubaggya mu mawanga era mbakuŋŋaanye okuva mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa.+ 35 Nja kubatwala mu ddungu ery’amawanga mbawozeseze eyo nga tutunuuliganye maaso ku maaso.+
36 “‘Nja kuwoza nammwe nga bwe nnawoza ne bajjajjammwe mu ddungu ly’e Misiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 37 ‘Nja kubayisa wansi w’omuggo gw’omusumba+ era nkole nammwe endagaano gye mulina okukwata. 38 Naye nja kuggya mu mmwe abanjeemera n’abo aboonoona mu maaso gange.+ Nja kubaggya mu nsi gye balimu ng’abagwira, naye tebajja kuyingira mu nsi ya Isirayiri;+ mujja kumanya nti nze Yakuwa.’
39 “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Buli omu ku mmwe agende aweereze ebifaananyi bye ebyenyinyaza.+ Naye oluvannyuma bwe mutampulirize, nja kubaabulira, era temujja kuddamu kuvvoola linnya lyange ettukuvu ne ssaddaaka zammwe era n’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.’+
40 “‘Ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi lwa Isirayiri oluwanvu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘ab’ennyumba ya Isirayiri bonna gye banampeererezanga mu nsi.+ Eyo gye nnaabasiimira, era eyo gye mujja okundeetera bye munaaba muwaddeyo n’ebibala ebibereberye eby’ebiweebwayo byammwe, ebintu byammwe byonna ebitukuvu.+ 41 Olw’ebiweebwayo byammwe eby’evvumbe eddungi, nja kubasiima bwe ndibaggya mu mawanga era ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi ez’enjawulo gye mwasaasaanyizibwa;+ era nja kutukuzibwa mu maaso g’amawanga okuyitira mu mmwe.’+
42 “‘Era mujja kumanya nti nze Yakuwa+ bwe nnaabatuusa mu nsi ya Isirayiri+ gye nnalayira okuwa bajjajjammwe. 43 Nga muli eyo, mujja kujjukira engeri gye mweyisangamu n’ebyo bye mwakolanga ne mufuuka abatali balongoofu,+ era mujja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi byonna bye mwakola.+ 44 Awo mujja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaabaako kye nkola olw’erinnya lyange,+ naye nga sikikola okusinziira ku nneeyisa yammwe embi oba olw’ebikolwa byammwe ebikyamu, mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
45 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 46 “Omwana w’omuntu kyuka otunule ku luuyi olw’ebukiikaddyo oyogere eri obukiikaddyo, olangirire ekinaatuuka ku kibira eky’ebukiikaddyo. 47 Gamba ekibira eky’ebukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Yakuwa. Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kukukumako omuliro+ gwokye emiti gyo gyonna emibisi n’emikalu. Omuliro ogwo tegujja kuzikizibwa,+ era abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono bajja kubabulwa. 48 Abantu bonna bajja kukiraba nti nze Yakuwa, nze nkikumyeko omuliro, era tegujja kuzikizibwa.”’”+
49 Ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Banjogerako nti, ‘Tagera bugezi ngero?’”
21 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tunula e Yerusaalemi olangirire ebinaatuuka ku bifo ebitukuvu, ne ku nsi ya Isirayiri. 3 Langirira eri ensi ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Nfuuse mulabe wo, era nja kusowolayo ekitala kyange mu kiraato kyakyo+ nkumaliremu ddala abantu abatuukirivu n’ababi. 4 Okuva bwe kiri nti nja kukumaliramu ddala abantu abatuukirivu n’ababi, ekitala kyange kijja kusowolwayo mu kiraato kyakyo kitte abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono. 5 Abantu bonna bajja kumanya nti nze Yakuwa nze nsowoddeyo ekitala kyange. Tekijja kuddayo mu kiraato kyakyo.”’+
6 “Kale ggwe omwana w’omuntu, sinda nga bw’okankana, sinda nnyo mu maaso gaabwe.+ 7 Bwe banaakubuuza nti, ‘Lwaki osinda?’ ojja kubagamba nti, ‘Nsinda olw’ebyo bye mpulidde.’ Kubanga bijja kubaawo, era emitima gyabwe gijja kusaanuuka olw’okutya, n’emikono gyabwe gijja kunafuwa, era bajja kunyiikaala, n’amaviivi gaabwe gajja kukulukutirako amazzi.*+ ‘Laba! Bijja kubaawo, bijja kutuukirira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
8 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 9 “Omwana w’omuntu langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Gamba nti, ‘Ekitala! Ekitala+ kiwagaddwa era kiziguddwa. 10 Kiwagaddwa kitte abantu bangi; kiziguddwa kimyanse ng’ekimyanso.’”’”
“Tetwandisanyuse?”
“‘Kinaanyooma* ddamula y’omwana wange,+ nga bwe kinyooma buli muti?
11 “‘Kiweereddwayo kizigulwe, omukono gukikozese. Ekitala kino kiwagaddwa era kiziguddwa kikwasibwe anaakikozesa okutta.+
12 “‘Ggwe omwana w’omuntu kaaba era okube ebiwoobe,+ kubanga ekitala kijjiridde abantu bange; kijjiridde abaami ba Isirayiri bonna.+ Bajja kuttibwa n’ekitala awamu n’abantu bange. Kale weekube ku kisambi olw’obuyinike. 13 Ekitala kigezeseddwa,+ era kiki ekinaabaawo nga kinyoomye ddamula? Tejja* kweyongera kubaawo,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
14 “Kale omwana w’omuntu langirira, okube mu ngalo, era oyogere emirundi esatu nti, ‘Ekitala!’ Kye kitala ekitta, kye kitala ekisanjaga abantu ekibeetoolodde.+ 15 Emitima gyabwe gijja kusaanuuka olw’okutya+ era bangi bajja kugwa ku miryango gy’ekibuga kyabwe; nja kubatta n’ekitala. Kimyansa ng’ekimyanso era kiziguddwa okutta! 16 Ekitala, tema ku luuyi olwa ddyo, tema ku luuyi olwa kkono! Genda yonna oluuyi lwo olusala gye lutunudde! 17 Era nja kukuba mu ngalo obusungu bwange bukkakkane.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.”
18 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 19 “Kale ggwe omwana w’omuntu, lamba amakubo abiri ekitala kya kabaka wa Babulooni mwe kinaayita. Amakubo gombi gajja kusibuka mu nsi emu, era ekipande kirina* okuteekebwa mu kifo amakubo ago we gaawukanira okugenda mu bibuga ebibiri. 20 Lamba ekkubo ekitala we kinaayita okugenda okulumba Labba+ eky’Abaamoni, n’ekkubo eddala mwe kinaayita okugenda okulwanyisa Yerusaalemi+ eky’omu Yuda ekiriko bbugwe. 21 Kubanga kabaka wa Babulooni ayimirira mu masaŋŋanzira amakubo abiri we gaawukanira, ne yeeraguza. Anyeenyanyeenya obusaale bwe, yeebuuza ku bifaananyi bye by’asinza,* era yeekebejja ekibumba ky’ensolo. 22 Eby’okulaguzisa ebiri mu mukono gwe ogwa ddyo biraga nti alina kugenda Yerusaalemi, asimbe ebyuma ebimenya ebisenge, alagire batte, alaye enduulu z’olutalo, asimbe ku miryango gy’ekibuga ebyuma ebimenya ebisenge, akole ekifunvu, era azimbe ekigo.+ 23 Naye okulagula okwo kujja kulabika ng’okw’obulimba eri abo* abaali babalayiridde ebirayiro.+ Naye ajjukira ensobi zaabwe era ajja kubawamba.+
24 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mmwe muleetedde ensobi zammwe okujjukirwa nga mwolesa okwonoona kwammwe era nga muleetera ebibi byammwe okulabibwa mu byonna bye mukola. Kale nga bwe mujjukiddwa, mujja kutwalibwa lwa mpaka.’*
25 “Ggwe omwami wa Isirayiri omubi,+ atuusiddwako ebisago eby’amaanyi, ekiseera eky’okukuweerako ekibonerezo ekisembayo kituuse. 26 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ggya ekiremba ku mutwe gwo, era ggya engule ku mutwe gwo.+ Ebintu tebijja kusigala nga bwe biri.+ Gulumiza owa wansi,+ ofeebye owa waggulu.+ 27 Engule nja kugizikiriza, nja kugizikiriza, nja kugizikiriza. Tejja kuweebwa muntu yenna okutuusa nnyini yo lw’alijja,+ era ndigimuwa.’+
28 “Omwana w’omuntu, langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’ayogera ku Baamoni ne ku bivumo byabwe.’ Yogera nti, ‘Ekitala! Ekitala kisowoddwayo okutta; kiziguddwa okuzikiriza, n’okumyansa ng’ekimyanso. 29 Wadde nga waaliwo okwolesebwa n’okulagula okw’obulimba okukukwatako, ojja kutuumibwa ku mirambo gy’abo abanattibwa,* abantu ababi abanaaba batuukiddwako olunaku lwabwe olw’okubonerezebwa okusembayo. 30 Ekitala ka kizzibwe mu kiraato kyakyo. Nja kukusalira omusango mu kifo gye watondebwa, mu nsi gye wasibuka. 31 Nja kukufukako obusungu bwange. Nja kukufuuwako n’omuliro gw’ekiruyi kyange, era nja kukuwaayo mu mukono gw’abasajja abakambwe, abalina obumanyirivu mu kuzikiriza.+ 32 Ojja kufuuka nku;+ omusaayi gwo gujja kuyiibwa mu nsi, era toliddamu kujjukirwa, kubanga nze Yakuwa nze nkyogedde.’”
22 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu oli mwetegefu okulangirira omusango* ogusaliddwa ekibuga ekiyiwa omusaayi+ era n’okukimanyisa ebintu byonna eby’omuzizo bye kikola?+ 3 Ojja kugamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ggwe ekibuga ekiriko omusango gw’okuyiwa omusaayi+ era ekikola ebifaananyi ebyenyinyaza* okweyonoona,+ ekiseera kyo kijja.+ 4 Oliko omusango olw’okuyiwa omusaayi+ era ebifaananyi byo ebyenyinyaza bikufudde atali mulongoofu.+ Oyanguyizza enkomerero y’ennaku zo era n’enkomerero y’emyaka gyo etuuse. Kyennaava nkufuula ekivume eri amawanga era ekintu ekisekererwa ensi zonna.+ 5 Ensi ezikuli okumpi n’ezo ezikuli ewala zijja kukusekerera,+ ggwe akoze erinnya ebbi era alimu obusambattuko. 6 Laba! Abaami ba Isirayiri bonna abali mu ggwe bakozesa obuyinza bwabwe okuyiwa omusaayi.+ 7 Mu ggwe abantu banyooma bakitaabwe ne bannyaabwe.+ Bakumpanya abagwira era bayisa bubi bannamwandu n’abaana abatalina bakitaabwe.”’”*+
8 “‘Onyooma ebifo byange ebitukuvu era ovvoola ssabbiiti zange.+ 9 Mu ggwe mulimu abo abawaayiriza bannaabwe nga baagala okuyiwa omusaayi.+ Baliira ssaddaaka ku nsozi zo era bakolera mu ggwe eby’obugwenyufu.+ 10 Mu ggwe baweebuula ebitanda bya bakitaabwe,*+ era beegatta n’abakazi abatali balongoofu abali mu nsonga.+ 11 Mu ggwe abasajja bakola eby’omuzizo ne baka bannaabwe,+ abalala beegatta ne baka baana baabwe,+ ate abalala beegatta ne bannyinaabwe, abaana ba bakitaabwe.+ 12 Era mu ggwe balya enguzi basobole okuyiwa omusaayi.+ Owola olw’okwagala okufuna amagoba,+ era oggya ku banno ssente mu ngeri ey’olukujjukujju.+ Mazima ddala onneerabiridde ddala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
13 “‘Laba! Nneetamiddwa olw’ebintu by’ofunye mu makubo amakyamu n’olw’ebikolwa eby’ettemu ebikolebwa mu ggwe. 14 Onooba okyalina obuvumu era nga n’emikono gyo gikyalina amaanyi ku lunaku lwe nnaakubonererezaako?+ Nze Yakuwa nze nkyogedde era nja kubaako kye nkolawo. 15 Nja kukusaasaanya mu mawanga era nkubunye mu nsi ez’enjawulo,+ era nja kukomya obutali bulongoofu bwo.+ 16 Ojja kuweebuulwa mu maaso g’amawanga, era ojja kumanya nti nze Yakuwa.’”+
17 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 18 “Omwana w’omuntu, ab’ennyumba ya Isirayiri balinga amasengere agatagasa gye ndi. Bonna balinga ekikomo, ebbaati, ekyuma, n’erisasi mu kyoto. Balinga amasengere ga ffeeza.+
19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba mmwenna mulinga amasengere agatagasa,+ nja kubakuŋŋaanyiza mu Yerusaalemi. 20 Nga bwe bakuŋŋaanya ffeeza, ekikomo, ekyuma, erisasi, n’ebbaati, ne babiteeka mu kyoto ne bafukuta omuliro okubisaanuusa, nange bwe ntyo bwe nnaabakuŋŋaanya nga ndiko obusungu n’ekiruyi, ne nfukuta omuliro ne mbasaanuusa.+ 21 Nja kubakuŋŋaanya wamu mbafukuteko omuliro gw’obusungu bwange,+ era mujja kusaanuukira mu Yerusaalemi.+ 22 Nga ffeeza bw’asaanuusibwa mu kyoto, nammwe mujja kusaanuusibwa mu Yerusaalemi; era mujja kumanya nti nze Yakuwa nze mbafuseeko obusungu bwange.’”
23 Yakuwa era n’ayongera n’aŋŋamba nti: 24 “Omwana w’omuntu, mugambe nti, ‘Oli nsi etejja kulongoosebwa era etejja kutonnyamu nkuba ku lunaku olw’obusungu. 25 Bannabbi be beekobaanye,+ ne baba ng’empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo.+ Batta abantu. Banyaga eby’obugagga n’ebintu eby’omuwendo, era n’abakazi baamu bangi babafudde bannamwandu. 26 Bakabona be bamenye amateeka gange+ era bavvoola ebifo byange ebitukuvu.+ Tebaawula bintu bitukuvu ku bitali bitukuvu,+ era tebategeeza bantu bintu birongoofu na bitali birongoofu;+ tebakwata ssabbiiti zange, era nvumaganyizibwa mu bo. 27 Abaami be abali mu ye balinga emisege egitaagulataagula omuyiggo; bayiwa omusaayi era batta abantu beefunire ebintu mu makubo amakyamu.+ 28 Kyokka bannabbi be babikkirira ebibi by’abaami abo ng’abantu bwe babikkirira ekisenge nga bakisiigako langi enjeru. Bafuna okwolesebwa okw’obulimba era ne balagula eby’obulimba,+ era bagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,” so nga Yakuwa talina ky’ayogedde. 29 Abantu b’omu nsi bakumpanyizza era ne banyaga;+ bayisizza bubi abali mu bwetaavu n’abaavu, bakumpanyizza omugwira era tebamulaze bwenkanya.’
30 “‘Nnanoonya mu bo omuntu ayinza okuddaabiriza bbugwe oba okuyimirira mu maaso gange mu kituli ekyakubibwa mu bbugwe, nneme okuzikiriza ensi,+ naye n’ambula. 31 N’olwekyo, nja kubafukako obusungu bwange, era mbazikirize n’omuliro gw’ekiruyi kyange. Nja kubasasula okusinziira ku makubo gaabwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
23 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, waaliwo abakazi babiri nga bombi nnyaabwe y’omu.+ 3 Bwe baali bakyali bato nga bali e Misiri,+ baatandika okukola obwamalaaya. Nga bali eyo, baayenda ne baba nga tebakyali mbeerera. 4 Omukulu yali ayitibwa Okola,* ate muganda we ng’ayitibwa Okoliba.* Bombi baafuuka bange era baazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Ng’amannya gaabwe bwe gali, Okola ye Samaliya+ ate Okoliba ye Yerusaalemi.
5 “Okola yatandika okukola obwamalaaya+ ng’akyali wange. Yayagalanga nnyo okwenda ne baganzi be,+ baliraanwa be Abaasuli,+ 6 abaami awamu ne bagavana abaayambalanga engoye eza bbulu—bonna baali basajja abalabika obulungi abeebagalanga embalaasi. 7 Yayendanga n’abaana b’e Bwasuli bonna abasingayo obulungi, yeefuula atali mulongoofu+ n’ebifaananyi ebyenyinyaza* eby’abo be yayendanga nabo. 8 Naye teyalekayo bwamalaaya bwe yakolanga e Misiri, kubanga Abamisiri beebakanga naye ng’akyali muto; baakwatiriranga amabeere ge ne benda naye.+ 9 Kyennava mmuwaayo mu mikono gya baganzi be abaana b’e Bwasuli+ be yayendanga nabo. 10 Baamwambula ne bamuleka bukunya,+ ne bawamba batabani be ne bawala be,+ ye ne bamutta n’ekitala. Yamanyibwa nnyo ng’omukazi omubi mu bakazi, era ne bamubonereza.
11 “Muganda we Okoliba bwe yakiraba, n’akabawala nnyo n’ayitirira, era n’akola obwamalaaya okusinga muganda we.+ 12 Yayenda ne baliraanwa be, abaana b’e Bwasuli,+ bagavana era n’abaami abaali balabika obulungi, abaayambalanga engoye ezirabika obulungi, era abeebagalanga embalaasi. 13 Bwe yeefuula atali mulongoofu, nnakiraba nti bombi baali bakutte ekkubo lye limu.+ 14 Naye Okoliba yeeyongera okukola obwamalaaya. Yalaba ebifaananyi by’abasajja ebyali byoleddwa ku kisenge, ebifaananyi by’Abakaludaaya ebyole nga bisiigiddwa langi emmyufu, 15 nga byesibye emisipi mu biwato, n’ebiremba ebirengejja ku mitwe, era nga bifaanana ng’abasajja abalwanyi, nga byonna biraga Abababulooni abaazaalibwa mu nsi y’Abakaludaaya. 16 Bwe yabiraba n’atandika okubyegomba, n’abitumira ababaka mu nsi y’Abakaludaaya.+ 17 Abaana b’e Babulooni ne bajjanga ku kitanda kye, ne bamufuula atali mulongoofu n’obukaba bwabwe. Bwe baamala okumufuula atali mulongoofu n’abaleka ng’abeetamiddwa.
18 “Bwe yatandika okukola obwamalaaya mu lwatu, era ne yeeyambulanga n’asigala bukunya,+ ne mmuleka nga mmwetamiddwa, nga bwe nnaleka muganda we nga mmwetamiddwa.+ 19 Yeeyongera okukola obwamalaaya,+ ng’ajjukira ekiseera bwe yali omuto, bwe yakoleranga obwamalaaya mu nsi ya Misiri.+ 20 Yeegombanga nnyo okwegatta nabo nga bwe kiba eri abakazi abalina baganzi baabwe abalina ebitundu eby’ekyama ebiringa eby’endogoyi n’eby’embalaasi. 21 Ggwe Okoliba, weegomba eby’obugwenyufu bye wakolanga mu Misiri+ ng’okyali muvubuka, bwe baakukwatiriranga amabeere ag’omu buvubuka bwo.+
22 “Kale ggwe Okoliba, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ŋŋenda kukuwendulira baganzi bo+ be waleka ng’obeetamiddwa, bakulumbe nga bava ku njuyi zonna,+ 23 abaana b’e Babulooni+ n’Abakaludaaya bonna,+ abantu b’e Pekodi,+ n’ab’e Sowa, n’ab’e Kowa, awamu n’abaana b’e Bwasuli. Bonna basajja abalabika obulungi, bagavana era baami, bonna balwanyi era balondemu, era bonna beebagadde embalaasi. 24 Bajja kukulumba n’amagaali g’olutalo agakubagana, n’abasirikale bangi nnyo nga bakutte engabo ennene n’entono,* era nga bambadde sseppeewo. Bajja kukuzingiza, era nja kubawa obuyinza bakusalire omusango, era bajja kukusalira omusango nga bwe banaalaba nga kigwana.+ 25 Nja kukulaga obusungu bwange era nabo bajja kukumalirako obusungu bwabwe. Bajja kukusalako ennyindo n’amatu, era abamu ku mmwe abanaasigalawo bajja kuttibwa n’ekitala. Bajja kutwala batabani bo ne bawala bo, era abamu ku mmwe abanaasigalawo bajja kwokebwa omuliro.+ 26 Bajja kukwambulamu ebyambalo byo+ era bakunyageko amajolobero go agalabika obulungi.+ 27 Nja kukomya ebikolwa byo eby’obugwenyufu n’obwamalaaya bwo,+ bye watandikira mu nsi ya Misiri.+ Ojja kulekera awo okubatunuulira, era tojja kuddamu kujjukira Misiri.’
28 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba ndi kumpi kukuwaayo eri abo be wakyawa, abo be waleka ng’obeetamiddwa.+ 29 Bajja kukulaga obukyayi, bakunyageko byonna bye wateganira,+ era bakuleke ng’oli bwereere nga toyambadde. Obuseegu bwo n’ebikolwa byo eby’obugwenyufu, n’obwamalaaya bwo bijja kwanikibwa.+ 30 Ebintu ebyo bijja kukutuukako olw’okuba wagoberera amawanga nga malaaya,+ era olw’okuba weefuula atali mulongoofu n’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza.+ 31 Okutte ekkubo lya muganda wo,+ era nja kuteeka ekikopo kye mu mukono gwo.’+
32 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Ojja kunywa ku kikopo kya muganda wo ekiwanvu era ekinene’+
Ojja kusekererwa era okudaalirwe, kubanga ebintu ebyo bingi mu kikopo ekyo.+
33 Ojja kutamiira era onakuwale,
Ekikopo eky’entiisa era amatongo,
Ekikopo kya muganda wo Samaliya.
34 Ojja kukinywa okikalize,+ omekete ebibajjo byakyo ebyatiseyatise
Era weggyeko amabeere go.
“Kubanga nze nkyogedde,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’
35 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Olw’okuba onneesambidde ddala era n’onneerabirira ddala,*+ ojja kubonerezebwa olw’ebikolwa byo eby’obugwenyufu n’olw’okukola obwamalaaya.’”
36 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu onoolangirira omusango ogusaliddwa Okola ne Okoliba+ era n’obategeeza ebikolwa byabwe ebyenyinyaza? 37 Benze*+ era emikono gyabwe giriko omusaayi. Benze ku bifaananyi byabwe ebyenyinyaza era ne bookya* mu muliro abaana be banzaalira babe emmere eri ebifaananyi byabwe.+ 38 Ate era kino kye bankoze: Ku lunaku olwo ekifo kyange ekitukuvu baakifuula ekitali kirongoofu era ne bavvoola ssabbiiti zange. 39 Bwe baamala okutta abaana baabwe ne babawaayo nga ssaddaaka eri ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza,+ bajja mu kifo kyange ekitukuvu ne bakyonoona+ ku lunaku olwo lwennyini. Ekyo kye baakola mu nnyumba yange. 40 Baatuma n’omubaka ayite abasajja ab’ewala.+ Bwe baali bajja, wanaaba, n’osiiga langi ku maaso, era n’oyambala amajolobero.+ 41 Era watuula ku kitanda ekirabika obulungi,+ nga mu maaso gaakyo waliwo emmeeza+ kwe wali otadde obubaani bwange+ n’amafuta gange.+ 42 Amaloboozi g’ekibinja ky’abasajja abaali mu binyumu gaawulirwa, era mu bo mwalimu n’abasajja abatamiivu abaggibwa mu ddungu. Baayambaza abakazi obukomo ku mikono era ne babassaako n’engule ennungi ku mitwe.
43 “Awo ne njogera ku mukazi oyo eyali ayenjebuse olw’obwenzi nga ŋŋamba nti: ‘Kaakano agenda kweyongera okukola obwamalaaya.’ 44 Baagendanga ewuwe, ng’omuntu bw’agenda ewa malaaya. Bwe batyo bwe baagendanga ewa Okola ne Okoliba, abakazi abagwenyufu. 45 Naye abasajja abatuukirivu bajja kumusalira omusango ogumugwanira olw’obwenzi+ n’olw’okuyiwa omusaayi;+ kubanga abakazi abo benzi era emikono gyabwe giriko omusaayi.+
46 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Eggye lijja kusindikibwa libalumbe, libafuule ekintu eky’entiisa era ebintu byabwe binyagibwe.+ 47 Eggye lijja kubakuba amayinja+ era libatte n’ebitala byabwe. Bajja kutta batabani baabwe ne bawala baabwe+ era bookye amayumba gaabwe n’omuliro.+ 48 Nja kukomya ebikolwa eby’obugwenyufu mu nsi, era abakazi bonna bajja kufuna eky’okuyiga baleme kukoppa mpisa zammwe ez’obugwenyufu.+ 49 Mujja kubonerezebwa olw’ebikolwa byammwe eby’obugwenyufu n’olw’okweyonoona n’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza; mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”+
24 Ku lunaku olw’ekkumi, olw’omwezi ogw’ekkumi mu mwaka ogw’omwenda, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, wandiika ennaku z’omwezi,* ez’olunaku luno lwennyini. Olwa leero kabaka wa Babulooni lw’atandise okulumba Yerusaalemi.+ 3 Gera olugero olukwata ku nnyumba enjeemu, ogambe nti:
“‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Teeka entamu* ku kyoto, ogifukemu amazzi.+
4 Giteekemu ebifi by’ennyama,+ buli kifi ekirungi,
Ekisambi n’omukono; era ogijjuze amagumba agasinga obulungi.
5 Mu kisibo ggyamu endiga esinga okulabika obulungi,+ oteeke enku wansi w’entamu.
Ebifi by’ennyama n’amagumba obifumbire omwo.”’”
6 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Zikisanze ekibuga kino ekiyiwa omusaayi,+ entamu eyatalagga, etaggibwangamu butalagge!
Gitoolemu ennyama kifi ku kifi;+ teweeroboza kya kutoolamu.*
7 Kubanga omusaayi gwakyo guli mu kyo;+ kyaguyiwa ku lwazi olwereere.
Tekyaguyiwa ku ttaka, gubikkibweko enfuufu.+
8 Okusobola okusaanuula obusungu kiwoolerweko eggwanga,
Omusaayi gwakyo ngutadde ku lwazi olwereere olumasamasa,
Guleme kubikkibwako.’+
9 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Zikisanze ekibuga ekiyiwa omusaayi!+
Nja kutuuma entuumu y’enku ennene.
10 Tuuma enku, okumemu omuliro,
Ennyama ogifumbire ddala, oyiwe ssupu, amagumba gasiriire.
11 Teeka entamu enkalu ku muliro ebugume,
Ekikomo kyayo kyengerere.
Obutali bulongoofu bwayo bujja kusaanuuka,+ era obutalagge bwayo buggye omuliro.
12 Kikooya era kiteganya,
Kubanga obutalagge bwayo obungi tebujja kuvaamu.+
Gisuule mu muliro n’obutalagge bwayo!’
13 “‘Ebikolwa byo eby’obugwenyufu byakufuula atali mulongoofu.+ Nnagezaako okukulongoosa naye wali tosobola kulongooka. Tojja kulongooka okutuusa obusungu bwe nkulinako lwe bunakkakkana.+ 14 Nze Yakuwa nze nkyogedde. Kijja kutuukirira. Nja kubaako kye nkolawo, sijja kusaasira, era sijja kwejjusa.+ Bajja kukusalira omusango okusinziira ku nneeyisa yo n’ebikolwa byo,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
15 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 16 “Omwana w’omuntu, mu kaseera katono ŋŋenda kukuggyako omwagalwa wo.+ Tokaaba wadde okukungubaga* wadde okukulukusa amaziga. 17 Sinda mu kasirise, era tokola bulombolombo bwa kukungubaga.+ Weesibe ekiremba ku mutwe,+ era oyambale engatto zo.+ Tobikka ku mimwa gyo*+ era tolya mmere abantu abalala gye bakuleetera.”*+
18 Awo ne njogera n’abantu ku makya, mukyala wange n’afa akawungeezi, era enkeera ne nkola nga bwe nnali ndagiddwa. 19 Abantu ne bambuuza nti: “Tootubuulire ngeri ebintu bino by’okola gye bitukwatako?” 20 Ne mbaddamu nti: “Yakuwa ayogedde nange n’aŋŋamba nti, 21 ‘Gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti: “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ndi kumpi kwonoona ekifo kyange ekitukuvu+ kye mwenyumiririzaamu ennyo, kye mwagala ennyo era kye mussaako omutima. Batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka emabega bajja kuttibwa n’ekitala.+ 22 Olwo mujja kukola nga bwe nkoze. Temujja kubikka ku mimwa gyammwe era temujja kulya mmere abantu abalala gye banaabaleetera.+ 23 Mujja kwesiba ebiremba ku mitwe gyammwe era mujja kwambala engatto zammwe. Temujja kukungubaga wadde okukaaba. Naye mujja kukogga olw’ebibi byammwe,+ era buli omu ajja kusindira munne. 24 Ezeekyeri afuuse kabonero gye muli.+ Ky’akoze nammwe kye mujja okukola. Ebyo bwe binaatuukirira, mujja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”’”
25 “Kale ggwe omwana w’omuntu, ku lunaku lwe nnaabaggyako ekigo kyabwe—ekirungi ekibasanyusa, kye baagala ennyo, era kye bassaako omutima—era ne mbaggyako batabani baabwe ne bawala baabwe,+ 26 oyo anaaba awonyeewo ajja kujja gy’oli akutegeeze.+ 27 Ku lunaku olwo olulimi lwo lujja kusumulukuka, era ojja kwasamya akamwa ko oyogere n’oyo anaaba awonyeewo.+ Ojja kuba kabonero gye bali, era bajja kumanya nti nze Yakuwa.”
25 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, tunula eri Abaamoni+ obategeeze ebinaabatuukako.+ 3 Bagambe nti, muwulire ekigambo kya Yakuwa Mukama Afuga Byonna. Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Olw’okuba wagamba nti ‘Otyo!’ ng’ekifo kyange ekitukuvu kyonooneddwa, ng’ensi ya Isirayiri efuuse matongo, era ng’ab’ennyumba ya Yuda bagenze mu buwaŋŋanguse, 4 ŋŋenda kukuwaayo eri abantu b’Ebuvanjuba obe waabwe. Bajja kusiisira mu ggwe era bajja kusimba omwo weema zaabwe. Bajja kulya ebibala byo era banywe n’amata go. 5 Ekibuga Labba+ nja kukifuula eddundiro ly’eŋŋamira, era ensi y’Abaamoni nja kugifuula ekifo ebisibo mwe biwummulira; mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’”
6 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba mwakuba mu ngalo,+ ne musamba wansi ku ttaka, era ne musanyuka nga bwe mukudaala olw’ebyo ebyatuuka ku Isirayiri,+ 7 nja kugolola omukono gwange mbalwanyise mbaweeyo eri amawanga okuba omunyago. Nja kubazikiriza mulekere awo okubeera eggwanga, era nja kubamalirawo ddala mu nsi.+ Nja kubasaanyaawo, era mujja kumanya nti nze Yakuwa.’
8 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba ab’omu Mowaabu+ ne Seyiri+ bagambye nti, “Laba! Ennyumba ya Yuda eringa amawanga amalala gonna,” 9 ebibuga bya Mowaabu bino ebiri ku nsalo ze: Besu-yesimosi, ne Bbaali-myoni, ne Kiriyasayimu,+ amakula g’ensi ye, nja kubireka birumbibwe. 10 Mowaabu nja kumuwaayo awamu n’Abaamoni eri abantu b’Ebuvanjuba babe baabwe,+ Abaamoni baleme kuddamu kujjukirwa mu mawanga.+ 11 Nja kubonereza Mowaabu,+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’
12 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Edomu awooledde eggwanga ku nnyumba ya Yuda era aliko omusango olw’ekyo;+ 13 kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kugolola omukono gwange nnwanyise Edomu ngimalemu abantu baamu n’ensolo, era ngifuule matongo.+ Bajja kuttibwa n’ekitala okuva e Temani okutuuka e Dedani.+ 14 ‘Nja kukozesa abantu bange Isirayiri okuwoolera eggwanga ku Edomu.+ Bajja kuleeta ku Edomu obusungu bwange n’ekiruyi kyange, Edomu eryoke emanye nga bwe mpoolera eggwanga,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’
15 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Abafirisuuti baagadde nnyo okuwoolera eggwanga n’okuzikiriza olw’obukyayi obungi bwe balina.+ 16 Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kugolola omukono gwange nnwanyise Abafirisuuti,+ era nja kuzikiriza Abakeresi,+ nsaanyeewo n’ab’oku lubalama lw’ennyanja abanaaba basigaddewo.+ 17 Nja kuwoolera eggwanga nga mbawa ebibonerezo eby’amaanyi, era bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaabawoolerako eggwanga.”’”
26 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, ku lunaku olusooka olw’omwezi, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, olw’okuba Ttuulo kyogedde ku Yerusaalemi nti,+ ‘Otyo! Omulyango gw’amawanga gumenyeddwa!+ Kaakano nga bwe kifuuse amatongo, ebintu byonna bijja kujja gye ndi ngaggawale’; 3 kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba, ndi mulabe wo ggwe Ttuulo, era ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo, nange nja kuleeta amawanga mangi gakulwanyise. 4 Gajja kuzikiriza bbugwe wa Ttuulo era gamenye n’eminaala gyakyo,+ era nja kukikalakatako ettaka nkifuule olwazi olwereere olumasamasa. 5 Kijja kufuuka ekifo we baanika obutimba mu nnyanja.’+
“‘Nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘era amawanga gajja kukinyagulula. 6 N’abantu* abali mu bubuga bwakyo obw’omu byalo bajja kuttibwa n’ekitala, era abantu bajja kumanya nti nze Yakuwa.’
7 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ŋŋenda kuleeta Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni alumbe Ttuulo ng’ava ebukiikakkono;+ ye kabaka wa bakabaka,+ era alina embalaasi,+ amagaali ag’olutalo,+ abeebagala embalaasi, n’eggye eririmu abasirikale abangi.* 8 Abantu abali mu bubuga bwo obw’omu byalo ajja kubazikiriza n’ekitala. Ajja kukuzimbako ekigo, akukoleko ekifunvu eky’okuyimako okukulwanyisa, era akulwanyise ng’alina engabo ennene. 9 Ajja kukoona bbugwe wo ng’akozesa ebyuma ebimenya ebisenge, era amenye n’eminaala gyo ng’akozesa embazzi.* 10 Embalaasi ze zijja kuba nnyingi, era zijja kusitula enfuufu ekubikke. Bw’anaaba ayingira mu miryango gyo, omusinde gw’embalaasi, ogwa nnamuziga, n’ogw’amagaali gujja kukankanya bbugwe wo nga bwe kiba ng’abantu bayingira mu kibuga ekirina bbugwe omumenyefu. 11 Ebinuulo by’embalaasi ze bijja kulinnyirira enguudo zo zonna;+ ajja kutta abantu bo n’ekitala, era empagi zo ez’amaanyi zijja kugwa wansi. 12 Bajja kunyaga eby’obugagga byo n’ebyamaguzi byo,+ era bamenye bbugwe wo n’ennyumba zo ezirabika obulungi; amayinja go, n’embaawo zo, n’ettaka lyo bajja kubisuula mu mazzi.’
13 “‘Nja kusirisa amaloboozi g’ennyimba zo, era n’entongooli zo tezijja kuddamu kuwulirwa.+ 14 Nja kukufuula olwazi olwereere olumasamasa, era ojja kufuuka ekifo ekyanikibwamu obutimba.+ Tojja kuddamu kuzimbibwa, kubanga nze Yakuwa nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
15 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba Ttuulo: ‘Ebizinga tebiikankane bwe binaawulira omusinde gw’okugwa kwo, n’okusinda kw’abo abanaaba bafa,* bwe wanaabaawo okusanjaga abantu mu ggwe?+ 16 Abaami b’oku nnyanja bonna bajja kukankana,* era bajja kuva ku ntebe zaabwe, baggyemu eminagiro gyabwe,* era bambulemu n’ebyambalo byabwe ebiriko amasiira. Bajja kutuula wansi nga bakankana buli kiseera, bakutunuulire beewuunye.+ 17 Bajja kukuyimbira oluyimba olw’okukungubaga+ bakugambe nti:
“‘“Ng’ozikiridde+ ggwe ekibuga ekyatenderezebwanga, ekyabeerangamu abalunnyanja!
Ggwe n’abatuuze bo mwali ba maanyi nnyo ku nnyanja,+
Nga muleetera abantu b’omu nsi yonna entiisa.
18 Ebizinga bijja kukankana ku lunaku lw’onoogwa,
Ebizinga by’omu nnyanja bijja kweraliikirira ng’ogenze.”’+
19 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Bwe nnaakufuula amatongo ng’ebibuga ebitabeeramu bantu, bwe nnaaleeta amazzi ageefuukuula ne gakubuutikira, era amazzi amangi ne gakubikka,+ 20 ggwe awamu n’abo abaserengeta mu kinnya* nja kubatwala eri abantu ab’edda; ggwe awamu n’abo abaserengeta mu kinnya+ nja kubaleetera okubeera mu bifo ebisingayo okuba ebya wansi, ebiringa ebifo eby’edda ebyafuuka amatongo, oleme kubeeramu bantu, olwo ndyoke ngulumize* ensi y’abalamu.
21 “‘Nja kukuleetako entiisa ey’amangu, era ojja kulekera awo okubaawo.+ Bajja kukunoonya naye tojja kuddamu kulabibwa,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
27 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Ggwe omwana w’omuntu, yimbira Ttuulo oluyimba olw’okukungubaga,+ 3 ogambe Ttuulo nti,
“‘Ggwe abeera ku miryango gy’ennyanja,
Eyasuubulagananga n’abantu ab’oku bizinga ebingi,
Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Ggwe Ttuulo ogambye nti, ‘Nnalungiwa ne ntuukirira.’+
4 Ensalo zo ziri wakati mu nnyanja,
Era abazimbi bo bakulungiyizza n’otuukirira.
5 Embaawo zo zonna baaziggya mu miti gy’emiberosi egy’e Seniri,+
Era baggya omuti gw’entolokyo e Lebanooni ne bakukolera omulongooti.
6 Baakubajjira enkasi mu miyovu gy’e Basani,
Era ekitundu eky’omu maaso eky’ekyombo kyo baakikola mu miteyasi gye baawaayiramu amasanga, egyaggibwa mu bizinga by’e Kittimu.+
7 Amatanga go gaakolebwa mu ngoye za kitaani eza langi ennyingi ezaggibwa e Misiri,
Era engoye ezaabikkibwanga ku kyombo kyo zaakolebwa mu wuzi eza bbulu n’eza kakobe ezaggibwa mu bizinga by’e Erisa.+
8 “‘“Abantu b’e Sidoni n’e Aluvadi+ be baakukubiranga enkasi.
Ggwe Ttuulo, abasajja bo abakugu be baali abalunnyanja bo.+
9 Abasajja b’e Gebali+ abakugu era abaalina obumanyirivu* be baddaabirizanga ebyombo byo.+
Era ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abalunnyanja baabyo bajjanga gy’oli okusuubula ebyamaguzi.
10 Abasajja b’e Buperusi, n’ab’e Ludi, n’ab’e Puti+ be baali mu magye go, abasajja bo abalwanyi.
Baawanikanga mu ggwe engabo zaabwe ne sseppeewo zaabwe, era baakuweesanga ekitiibwa.
11 Abasajja b’e Aluvadi abaali mu magye go baayimiriranga okwetooloola bbugwe wo,
Era abasajja abazira be baakuumanga eminaala gyo.
Baawanikanga engabo enneekulungirivu ku njuyi zonna eza bbugwe wo,
Ne bakulungiya n’otuukirira.
12 “‘“Ggwe ne Talusiisi+ mwasuubulagananga olw’okuba walina eby’obugagga bingi.+ Wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa ffeeza, ekyuma, ebbaati, n’erisasi.+ 13 Ggwe n’ab’e Yavani, Tubali,+ ne Meseki,+ mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa abaddu+ n’ebintu eby’ekikomo. 14 Ab’e Togaluma+ baakuwanga embalaasi n’ennyumbu, ggwe n’obawa ebyamaguzi byo. 15 Ggwe n’abantu b’e Dedani+ mwasuubulagananga, era walina abasuubuzi ku bizinga bingi; baakuwanga amasanga+ n’emitoogo ng’omusolo. 16 Ggwe ne Edomu mwasuubulagananga olw’okuba walina ebintu bingi. Wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa amayinja ga nofeki, wuzi eza kakobe, ebyambalo eby’amasiira ebya langi ennyingi, engoye ennungi, amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja, n’amayinja ag’omuwendo amatwakaavu.*
17 “‘“Ggwe ne Yuda n’ensi ya Isirayiri mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo,+ bo ne bakuwa eŋŋaano y’e Minnisi,+ emmere ennungi, omubisi gw’enjuki,+ amafuta, ne basamu.+
18 “‘“Ggwe ne Ddamasiko+ mwasuubulagananga olw’okuba walina eby’obugagga n’ebintu ebirala bingi; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa omwenge gw’e Keruboni n’ebyoya by’endiga ebya Zakali.* 19 Ab’e Vedani n’e Yavani okuva mu kitundu ky’e Uzali baakuwanga ekyuma, kasiya,* ne kaane,* ggwe n’obawa ebyamaguzi byo. 20 Dedani+ yakuwanga engoye ez’okwebagalirako, gwe n’omuwa ebyamaguzi byo. 21 Wakozesanga Abawalabu n’abaami bonna ab’e Kedali+ abaasuubulanga obuliga, endiga ennume, n’embuzi.+ 22 Ggwe n’abasuubuzi b’e Seba n’e Laama+ mwasuubulagananga; wabawanga ebyamaguzi byo, bo ne bakuwa amayinja ag’omuwendo, zzaabu, n’eby’akaloosa ebirungi ennyo ebya buli ngeri.+ 23 Ggwe n’ab’e Kalani,+ n’e Kanne, n’e Edeni,+ n’abasuubuzi b’e Seba,+ n’e Asuli,+ n’e Kirumaadi mwasuubulagananga. 24 Mu katale ko mwasuubulagananga engoye ennungi, eminagiro egya bbulu egiriko amasiira aga langi ennyingi, n’ebiwempe ebirimu langi ennyingi, nga byonna bisibiddwa emiguwa.
25 “‘“Ebyombo by’e Talusiisi+ bye byasaabazanga ebyamaguzi byo,
Bw’otyo n’ojjula eby’obugagga wakati mu nnyanja.
26 “‘“Abakukubira enkasi bakutuusizza mu mazzi amangi;
Omuyaga ogw’ebuvanjuba gukumenyeddemenyedde wakati mu nnyanja.
27 Obugagga bwo, ebintu byo, ebyamaguzi byo, abalunnyanja bo, n’abagoba b’ebyombo byo,
Abo abaddaabiriza ebyombo byo, abasuubuzi bo,+ n’abalwanyi bo bonna,+
Kwe kugamba, abantu bonna* abali mu ggwe,
Bajja kubbira wakati mu nnyanja ku lunaku lw’onoogwa.+
28 “‘“Abalunnyanja bo bwe banaaleekaana, olubalama lw’ennyanja lujja kukankana.
29 Abakukubira enkasi bonna n’abalunnyanja, n’abagoba b’ebyombo byo
Bajja kuva mu byombo byabwe bayimirire ku lukalu.
30 Bajja kuyimusa amaloboozi gaabwe bakukaabire,+
Nga bwe bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe, era nga bwe beevulunga mu vvu.
31 Bajja kumwako enviiri zaabwe bambale ebibukutu;
Bajja kukukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.
32 Bajja kukuyimbira oluyimba olw’okukungubaga era bakube ebiwoobe nga bagamba nti:
“‘“‘Ani alinga Ttuulo, kaakano asirikidde wakati mu nnyanja?+
33 Ebyamaguzi byo bwe byagobanga ku lukalu, abantu b’amawanga mangi baafunanga bye beetaaga.+
Obugagga bwo obungi, n’ebyamaguzi byo byagaggawaza bakabaka b’ensi.+
34 Kaakano omenyekedde mu nnyanja, mu buziba,+
Era ebyamaguzi byo byonna bibbidde naawe mu nnyanja, awamu n’abantu.+
35 Abantu bonna ab’oku bizinga bajja kukutunuulira beewuunye,+
Era bakabaka baabwe bajja kukankana olw’okutya+—bajja kweraliikirira.
36 Abasuubuzi b’omu mawanga bajja kufuuwa oluwa olw’ekyo ekinaakutuukako.
Enkomerero yo ejja kujja mangu era ejja kuba ya ntiisa,
Era tojja kuddamu kubaawo emirembe n’emirembe.’”’”+
28 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“‘“Olw’okuba omutima gwo gufunye amalala,+ ogamba nti, ‘Ndi katonda.
Ntudde ku ntebe ya katonda wakati mu nnyanja.’+
Naye oli muntu buntu toli katonda,
Wadde nga mu mutima gwo olowooza nti oli katonda.
3 Laba! Olowooza nti oli wa magezi okusinga Danyeri.+
Olowooza nti tewali kyama kikukwekeddwa.
4 Ogaggawadde olw’amagezi go n’okutegeera kwo,
Era otereka zzaabu ne ffeeza mu mawanika go.+
5 Wagaggawala nnyo+ olw’obukugu bw’olina mu by’obusuubuzi,
Era omutima gwo gwafuna amalala olw’obugagga bwo.”’
6 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Olw’okuba mu mutima gwo olowooza nti oli katonda,
7 ŋŋenda kukusindikira abagwira, abasingayo obukambwe mu mawanga,+
Era bajja kusowolayo ebitala byabwe babyolekeze ebintu byonna ebirungi amagezi go bye gaafuna,
Era bayonoone obulungi bwo.+
9 Oyo anaakutta onooba osobola okumugamba nti, ‘Ndi katonda’?
Mu mukono gw’abo abakutyoboola, ojja kuba muntu buntu so si katonda.”’
10 “‘Ojja kuttibwa abagwira, ofe ng’atali mukomole,
Kubanga nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
11 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 12 “Omwana w’omuntu, yimba oluyimba luno olw’okukungubaga olukwata ku kabaka wa Ttuulo, omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
13 Wali obeera mu Edeni, olusuku lwa Katonda.
Wali otonaatoneddwako buli jjinja ery’omuwendo omungi
—Yodemu, topazi, yasepi;
Kirisoliti, sokamu, yasipero; safiro, nofeki,+ ne zumaliidi;
Era gaali gateekeddwa mu bufuleemu obwa zzaabu.
Gaategekebwa ku lunaku lwe watondebwa.
14 Nnakulonda okuba kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta.
Wali obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu,+ era watambuliranga mu mayinja agaaka omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa mu makubo go okuva ku lunaku lwe watondebwa
Okutuusa lwe watandika okukola ebitali bya butuukirivu.+
16 “‘“Olw’okuba weenyigira nnyo mu by’obusuubuzi,+
Wajjula ebikolwa eby’obukambwe n’otandika okwonoona.+
Nja kulekera awo okukutwala ng’omutukuvu nkugobe ku lusozi lwa Katonda era nkuzikirize,+
Nkuggye mu mayinja agaaka omuliro, ggwe kerubi omukuumi.
17 “‘“Omutima gwo gwafuna amalala olw’obulungi bwo.+
Wayonoona amagezi go olw’obulungi bwo.+
Nja kukusuula ku nsi.+
Nja kukufuula ekyerolerwa mu maaso ga bakabaka.
18 “‘“Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo mu by’obusuubuzi, ovvodde ebifo byo ebitukuvu.
Nja kukuma omuliro mu ggwe gukwokye.+
Nja kukufuula vvu ku nsi mu maaso g’abo bonna abakulaba.
19 Abantu bonna abakumanyi bajja kukutunuulira beewuunye.+
Enkomerero yo ejja kujja mangu era ejja kuba ya ntiisa,
Era tojja kuddamu kubaawo emirembe n’emirembe.”’”+
20 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 21 “Omwana w’omuntu, tunula e Sidoni+ olangirire ebinaakituukako. 22 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Kaakano ndi mulabe wo ggwe Sidoni, era nja kugulumizibwa mu ggwe;
Era abantu bonna bajja kumanya nti nze Yakuwa bwe nnaakubonereza era ne ntukuzibwa okuyitira mu ggwe.
23 Nja kukusindikira endwadde era omusaayi gujja kukulukutira mu nguudo zo.
Abanattibwa bajja kugwa mu ggwe ng’ekitala kikulumbye okuva ku njuyi zonna;
Bajja kumanya nti nze Yakuwa.+
24 “‘“Era ennyumba ya Isirayiri tejja kuddamu kwetooloolwa emiyonza n’amaggwa agafumita,+ abo ababajooga; era abantu bajja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’
25 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Bwe nnaddamu ne nkuŋŋaanya ab’ennyumba ya Isirayiri okuva mu mawanga mwe baasaasaanira,+ nja kutukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga.+ Era bajja kubeera mu nsi+ gye nnawa omuweereza wange Yakobo.+ 26 Bajja kugibeeramu nga bali mu mirembe,+ bazimbe amayumba era basimbe ennimiro z’emizabbibu,+ era bajja kubeera mu mirembe bwe nnaabonereza abo bonna ababeetoolodde ababajooga;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe.”’”
29 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’ekkumi, mu mwaka ogw’ekkumi, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, amaaso go goolekeze Falaawo kabaka wa Misiri olangirire ebinaamutuukako, n’ebinaatuuka ku Misiri yonna.+ 3 Yogera ebigambo bino: ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Kaakano ndi mulabe wo, ggwe Falaawo kabaka wa Misiri,+
Ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja ogugalamidde mu myala egiva ku mugga gwagwo Kiyira,+
Agambye nti, ‘Omugga Kiyira gwange.
Nze nnagwekolera.’+
4 Naye nja kuteeka amalobo mu mba zo, ndeetere ebyennyanja by’omu mugga gwo Kiyira okukwatira ku magalagamba go.
Nja kukuggya mu Mugga gwo Kiyira awamu n’ebyennyanja byonna eby’omu Mugga Kiyira ebikwatidde ku magalagamba go.
5 Nja kukuleka mu ddungu ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu mugga gwo Kiyira.
Ojja kugwa ku ttale, era tewali ajja kukuggyawo wadde okukuziika.+
Nja kukuwaayo oliibwe ensolo ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga.+
6 Awo abantu bonna mu Misiri bajja kumanya nti nze Yakuwa,
Kubanga baali ng’olumuli ab’ennyumba ya Isirayiri bwe baabeesigamako.+
7 Bwe baakukwata omukono, wamenyekamenyeka,
N’oleetera ebibegaabega byabwe okuwogoka.
Bwe baakwesigamako, wamenyeka,
N’oleetera amagulu gaabwe okukankana.”+
8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kukuleetako ekitala,+ era nja kukumalamu abantu n’ensolo. 9 Ensi ya Misiri ejja kufuuka matongo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa, kubanga ogambye* nti, ‘Omugga Kiyira gwange; nze nnagukola.’+ 10 Kale ndi mulabe wo ggwe n’omugga gwo Kiyira, era ensi ya Misiri nja kugifuula nkalu era matongo,+ okuva e Migudooli+ okutuuka e Seyene+ ne ku nsalo ya Esiyopiya. 11 Tejja kuyitamu muntu wadde ensolo,+ era tejja kubeeramu bantu okumala emyaka 40. 12 Ensi ya Misiri nja kugifuula matongo okusinga ensi endala ezaali zifuuse amatongo, era okumala emyaka 40+ ebibuga byayo bijja kuba matongo okusinga ebibuga ebirala ebyali bifuuse amatongo; Abamisiri nja kubasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.”+
13 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Oluvannyuma lw’emyaka 40, nja kukuŋŋaanya Abamisiri mbaggye mu mawanga gye baasaasaanyizibwa;+ 14 Abamisiri abaawambibwa nja kubakomyawo mu nsi ya Pasuloosi,+ ensi mwe basibuka, era bajja kufuuka obwakabaka obutali bwa maanyi. 15 Obwakabaka bwa Misiri bujja kuba bwa wansi okusinga obwakabaka obulala bwonna era tebujja kuddamu kufuga mawanga malala;+ Abamisiri nja kubafuula batono nnyo baleme kuddamu kuba na buyinza ku mawanga malala.+ 16 Ab’ennyumba ya Isirayiri tebajja kuddamu kussa bwesige mu Misiri,+ era kijja kubajjukiza nti baakola nsobi okusaba Abamisiri babayambe. Bajja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’”
17 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 18 “Omwana w’omuntu, Kabaka Nebukadduneeza*+ owa Babulooni yakozesa nnyo eggye lye okulwanyisa Ttuulo.+ Buli mutwe gwakutuka ekiwalaata era buli kibegaabega kyayubukako olususu. Kyokka ye n’ab’eggye lye tebaafuna mpeera olw’amaanyi ge baamalira ku Ttuulo.
19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ ŋŋenda kumuwa ensi ya Misiri, era ajja kutwala eby’obugagga byayo era agiggyemu omunyago mungi; ebyo bye bijja okuba empeera y’eggye lye.’
20 “‘Nja kumuwa ensi ya Misiri ng’empeera kubanga yalwanyisa Ttuulo ku lwange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
21 “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Isirayiri nja kubamereza ejjembe,*+ era nja kukuwa akakisa oyogerere mu bo; era bajja kumanya nti nze Yakuwa.”
30 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Mukube ebiwoobe nga mugamba nti, ‘Zitusanze kubanga olunaku lujja!’
3 Mukube ebiwoobe kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Yakuwa luli kumpi.+
Lujja kuba lunaku lwa bire,+ ekiseera ky’amawanga ekigereke.+
4 Misiri ejja kulumbibwa n’ekitala, era Esiyopiya ejja kutya nnyo abantu bwe banattibwa mu Misiri;
Obugagga bwayo butwaliddwa, era emisingi gyayo gimenyeddwa.+
5 Abantu b’omu Esiyopiya,+ n’ab’omu Puti,+ n’ab’omu Ludi, n’ab’omu mawanga amalala,
N’ab’omu Kubu, awamu n’abaana b’omu nsi ya Isirayiri abali mu ndagaano,*
Bonna bajja kuttibwa n’ekitala.”’
6 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
‘N’abo abayamba Misiri bajja kugwa,
Era n’amaanyi ga Misiri ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo.’+
“‘Abantu bajja kuttibwa n’ekitala mu nsi okuva e Migudooli+ okutuuka e Seyene,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 7 ‘Ensi ya Misiri ejja kufuulibwa matongo okusinga ensi endala ezaali zifuuse amatongo, n’ebibuga byayo bijja kufuuka matongo okusinga ebibuga ebirala ebyali bifuuse amatongo.+ 8 Bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaakuma omuliro mu Misiri abo bonna abagiyamba ne bazikirizibwa. 9 Ku lunaku olwo nja kutuma ababaka bagendere ku byombo bakankanye Esiyopiya eterina ky’etya; abantu b’omu Esiyopiya bajja kutya nnyo ku lunaku olugenda okujjira Misiri, kubanga olunaku olwo luteekwa okujja.’
10 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kukozesa Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ okuzikiriza abantu b’e Misiri. 11 Ye n’abasirikale be abasingayo obukambwe mu mawanga,+ bajja kuleetebwa bazikirize ensi eyo. Bajja kusowolayo ebitala byabwe balwanyise Misiri, era bajja kugijjuza emirambo gy’abo abanattibwa.+ 12 Nja kukaliza obugga obuva ku Kiyira,+ era ensi nja kugiwaayo* mu mikono gy’abantu ababi. Nja kukozesa abagwira okufuula ensi eyo amatongo n’okwonoona byonna ebigirimu.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.’
13 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kuzikiriza ebifaananyi ebyenyinyaza* awamu ne bakatonda abatalina mugaso ab’omu Noofu.*+ Ensi ya Misiri tejja kuddamu kuba na mwami Mumisiri, era nja kugireetamu entiisa.+ 14 Pasuloosi+ nja kukifuula matongo, nkume omuliro mu Zowani, n’ekibuga No*+ nkibonereze. 15 Nja kufuka obusungu bwange ku Sini, ekigo kya Misiri, era n’abantu b’omu No nja kubazikiriza. 16 Nja kukuma omuliro mu Misiri; era ekibuga Sini kijja kufuna entiisa, bbugwe wa No ajja kumenyebwa, era ne Noofu* kijja kulumbibwa misana ttuku! 17 Abavubuka b’omu Oni* n’ab’omu Pibesesi bajja kuttibwa n’ekitala, era abantu b’omu bibuga ebirala bajja kutwalibwa mu buwambe. 18 Ekizikiza kijja kukwata mu Tapanesi bwe nnaamenyerayo ebikoligo bya Misiri,+ era amaanyi Misiri ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo.+ Ebire bijja kubikka Tapanesi, era abantu abali mu bubuga bwakyo bajja kutwalibwa mu buwambe.+ 19 Nja kusalira Misiri omusango, era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
20 Ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, kabaka wa Misiri; tegujja kusibibwa gusobole okuwona wadde okusibibwako ekiwero gube n’amaanyi agakwata ekitala.”
22 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Laba ŋŋenda kulwanyisa Falaawo kabaka wa Misiri,+ era nja kumenya emikono gye gyombi, ogw’amaanyi n’ogwo ogumenyese,+ era nja kumusuuza ekitala ky’akutte,+ 23 olwo ndyoke nsaasaanye Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.+ 24 Nja kuwa emikono gya kabaka wa Babulooni+ amaanyi* mmukwase ekitala kyange,+ era nja kumenya emikono gya Falaawo, era ajja kusindira mu maaso ga kabaka wa Babulooni ng’omuntu anaatera okufa bw’asinda. 25 Nja kuwa emikono gya kabaka wa Babulooni amaanyi, naye emikono gya Falaawo gijja kunafuwa; era bajja kumanya nti nze Yakuwa bwe nnaateeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka wa Babulooni n’akikozesa okulwanyisa ensi ya Misiri.+ 26 Abamisiri nja kubasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
31 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’okusatu, mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, gamba Falaawo kabaka wa Misiri n’abantu be bonna nti,+
“‘Ani akwenkana ekitiibwa?
3 Waaliwo Omwasuli, omuti gw’entolokyo mu Lebanooni,
Omuwanvu, ogw’amatabi agalabika obulungi agaaliko ebikoola ebingi;
Ng’amasanso gaagwo gatuuka ne mu bire.
4 Amazzi gaagukuza ne gugejja, era ensulo z’amazzi ez’omu ttaka zaaguwanvuya.
Okumpi ne we gwasimbibwa waaliwo emigga;
Era emikutu gyagyo gyawanga emiti emirala gyonna egy’oku ttale amazzi.
5 Kyegwava guwanvuwa okusinga emiti emirala gyonna egy’oku ttale.
“‘Gwassaako amatabi mangi ne gawanvuwa nnyo
Olw’amazzi amangi ag’omu migga gyagwo.
6 Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga byazimba ebisu byabyo mu matabi gaagwo,
N’ensolo zonna ez’omu nsiko zaazaaliranga abaana baazo wansi w’amatabi gaagwo.
Amawanga gonna ag’abantu abangi geewogomanga mu kisiikirize kyagwo.
7 Omuti ogwo gwalungiwa nnyo era amatabi gaagwo ne gawanvuwa nnyo,
Kubanga emirandira gyagwo gyali gituuka wansi awali amazzi amangi.
8 Mu lusuku lwa Katonda,+ temwali muti mulala ogw’entolokyo ogwali ng’ogwo.
Tewali muti gwa muberosi ogwalina amatabi ng’ag’omuti ogwo.
Tewali muti gwa mwalamoni ogwali gugwenkanya amatabi.
Era tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogwali gulabika obulungi nga gwo.
9 Nnagulungiya n’ebikoola bingi era n’amatabi mangi;
Emiti emirala gyonna egy’omu Edeni, olusuku lwa Katonda ow’amazima, gyagukwatirwa obuggya.’
10 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba omuti ogwo gwawanvuwa nnyo, amasanso gaagwo ne gatuuka mu bire, era omutima gwagwo ne gufuna amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 nja kuguwaayo eri omufuzi w’amawanga ow’amaanyi+ era ajja kugubonereza; nja kugwesamba olw’ebintu ebibi bye gukola. 12 Abagwira, abasingayo obukambwe mu mawanga, bajja kugutema, era bajja kuguleka ku nsozi. Ebikoola byagwo bijja kugwa mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo agamenyese gajja kugwa mu migga gyonna egy’ensi.+ Era n’abantu b’omu mawanga gonna ag’omu nsi bajja kuva mu kisiikirize kyagwo baguleke awo. 13 Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga bijja kubeeranga ku nduli y’omuti ogwo nga gugudde, era n’ensolo zonna ez’omu nsiko zijja kubeeranga ku matabi gaagwo.+ 14 Kijja kuba bwe kityo, emiti gyonna egiri okumpi n’amazzi gireme kuwanvuwa oba okutuusa amasanso gaagyo mu bire, era emiti gyonna egifukirirwa obulungi, gireme kuwanvuwa kutuuka ku bire. Gyonna gijja kufa gikke wansi mu ttaka, awamu n’abaana b’abantu abaserengeta mu kinnya.’*
15 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku lwe gunakkirako emagombe,* nja kuleetera abantu okukungubaga. Nja kuzibikira ensulo ez’omu ttaka nziyize emigga gyazo, amazzi galeme okukulukuta. Era olw’omuti ogwo, nja kuleeta ekizikiza mu Lebanooni era emiti gyonna egy’oku ttale gijja kuwotoka. 16 Omusinde gw’okugwa kwagwo bwe gunaawulirwa, nja kuleetera amawanga okukankana bwe nnaaguserengesa emagombe* awamu n’abo bonna abakka mu kinnya,* era emiti gyonna egy’omu Edeni,+ egisingayo obulungi mu Lebanooni, egyo gyonna egifukirirwa obulungi, gijja kusanyukira wansi mu ttaka. 17 Gigenze naye emagombe,* eri abo abattibwa n’ekitala,+ awamu n’abaamuyambanga* abaabeeranga wansi w’ekisiikirize kye mu mawanga.’+
18 “‘Muti ki mu miti egy’omu Edeni ogwali gukwenkana ekitiibwa n’amaanyi?+ Naye ojja kuserengesebwa wansi mu ttaka awamu n’emiti gy’omu Edeni. Ojja kugalamira wamu n’abatali bakomole, awamu n’abo abattibwa n’ekitala. Kino kye kijja okutuuka ku Falaawo n’abantu be bonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
32 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, yimba oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku Falaawo kabaka wa Misiri, era omugambe nti,
‘Wali ng’empologoma envubuka ey’amaanyi mu mawanga,
Naye kaakano osirisiddwa.
“‘Wali ng’ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja,+ ng’okuba amazzi mu migga gyo,
N’osiikuula amazzi n’ebigere byo, era n’okyafuwaza emigga.’*
3 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Nja kukozesa ekibiina ky’amawanga amangi kikusuuleko ekitimba kyange,
Era bajja kukusikirayo mu kitimba kyange.
4 Nja kukuleka ku lukalu;
Nja kukusuula ku ttale.
Nja kusindika ebinyonyi byonna eby’omu bbanga bikugweko,
Era nja kukuleka ensolo ez’omu nsiko zikulye zikkute.+
5 Nja kusuula ennyama yo ku nsozi,
Era ebiwonvu nja kubijjuza ebisigalira byo.+
6 Nja kuyiwa ku nsi omusaayi gwo ogutiiriika gwanjaale gutuuke ne ku nsonzi,
Era gujja kujjula ne mu migga.’
7 “‘Bw’onoozikizibwa, nja kubikka ku ggulu era emmunyeenye zaalyo nzireeteko ekizikiza.
Enjuba nja kugibikkako ebire,
Era omwezi tegujja kwaka.+
8 Ebyaka byonna eby’oku ggulu nja kubireetako ekizikiza ku lulwo,
Era ensi yo nja kugibikkako ekizikiza,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
9 “‘Nja kunakuwaza emitima gy’abantu bangi bwe nnaatwala abantu bo mu buwambe mu mawanga amalala,
Mu nsi z’otomanyi.+
10 Nja kuwuniikiriza amawanga mangi,
Era bakabaka baabwe bajja kukankana olw’okutya bwe nnaabagalulira ekitala kyange.
Ku lunaku lw’onoogwa,
Bajja kukankana, nga buli omu atya okufiirwa obulamu bwe.’
11 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Ekitala kya kabaka wa Babulooni kijja kukujjira.+
12 Nja kuleka abantu bo battibwe ekitala ky’abalwanyi ab’amaanyi,
Bonna abasingayo obukambwe mu mawanga.+
Bajja kukkakkanya amalala ga Misiri, era abantu baayo bonna bajja kuzikirizibwa.+
13 Nja kuzikiriza ensolo ze zonna eziri okumpi n’amazzi amangi,+
Era tewali kigere kya muntu wadde ekinuulo ky’ensolo ekinaddamu okugasiikuula.’+
14 “‘Mu kiseera ekyo nja kulongoosa amazzi gaabwe,
Era emigga gyabwe nja kugireetera okukulukuta ng’amafuta,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
15 “‘Misiri bwe nnaagifuula amatongo, ng’ebintu byamu byonna binyagiddwa,+
Bwe nnaazikiriza abantu baamu bonna,
Bajja kumanya nti nze Yakuwa.+
16 “‘Luno luyimba lwa kukungubaga, era abantu bajja kuluyimba;
Abakazi ab’omu mawanga bajja kuluyimba.
Bajja kuluyimbira Misiri n’abantu baamu bonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
17 Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti: 18 “Omwana w’omuntu, kungubagira abantu b’e Misiri, ogiserengese wansi mu ttaka, yo n’abantu ab’amawanga ag’amaanyi, awamu n’abo abakka mu kinnya.*
19 “‘Ani gw’osinga okulabika obulungi? Serengeta, ogalamire wamu n’abo abatali bakomole!’
20 “‘Bajja kugwa mu abo abattiddwa n’ekitala.+ Ensi ya Misiri eweereddwayo eri ekitala; giggyeewo n’abantu baamu bonna.
21 “‘Abalwanyi abasingayo okuba ab’amaanyi bajja kuyima wansi emagombe* boogere ne Falaawo n’abamuyamba. Bajja kuttibwa n’ekitala era bajja kuserengeta bagalamire ng’abatali bakomole. 22 Bwasuli ali eyo n’ekibiina kye kyonna. Amalaalo g’Abaasuli geetoolodde kabaka waabwe, bonna battiddwa n’ekitala.+ 23 Amalaalo ge gali wansi mu kinnya,* era ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa n’ekitala olw’okuba baaleeta entiisa mu nsi y’abalamu.
24 “‘Eramu+ ali eyo era abantu be beetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa n’ekitala. Baserengese wansi mu ttaka nga si bakomole. Baaleetanga entiisa mu nsi y’abalamu, naye kaakano bali mu buswavu awamu n’abo abakka mu kinnya.* 25 Eramu bamwalidde obuliri awali abo abattiddwa, era amalaalo ge geetooloddwa abantu be bonna. Bonna si bakomole, era battiddwa n’ekitala olw’okuba baaleeta entiisa mu nsi y’abalamu; bajja kuba mu buswavu awamu n’abo abakka mu kinnya.* Ateekeddwa mu abo abattiddwa.
26 “‘Meseki ne Tubali+ bali eyo n’abantu baabwe bonna. Amalaalo gaabwe* geetoolodde kabaka waabwe. Bonna si bakomole era baafumitibwa n’ekitala, olw’okuba baaleeta entiisa mu nsi y’abalamu. 27 Tebaagalamire wamu n’abalwanyi ab’amaanyi abaafa nga si bakomole, abaaserengeta emagombe* n’eby’okulwanyisa byabwe? Bajja kwezizika ebitala byabwe,* era bajja kuteeka ebibi byabwe ku magumba gaabwe, olw’okuba abalwanyi abo ab’amaanyi baaleeta entiisa mu nsi y’abalamu. 28 Naye ggwe ojja kubetenterwa wakati mu abo abatali bakomole, era ojja kugalamira n’abo abattibwa n’ekitala.
29 “‘Edomu+ ali eyo, ne bakabaka be n’abaami be bonna, abaagalamizibwa awali abo abattibwa n’ekitala, wadde nga baali ba maanyi nnyo; nabo bajja kugalamira wamu+ n’abatali bakomole era n’abo abakka mu kinnya.*
30 “‘Abaami ab’omu bukiikakkono bonna bali eyo, awamu n’Abasidoni bonna+ abaaserengeta mu buswavu wamu n’abo abattibwa, wadde nga baaleeteranga abantu entiisa olw’amaanyi gaabwe. Bajja kugalamira nga si bakomole awamu n’abo abattibwa n’ekitala, era bajja kuswalira wamu n’abo abakka mu kinnya.*
31 “‘Falaawo bw’anaalaba abo bonna, ajja kuddamu amaanyi olw’ekyo ekyatuuka ku bantu be;+ Falaawo n’ab’omu ggye lye lyonna bajja kuttibwa n’ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
32 “‘Olw’okuba yaleeta entiisa mu nsi y’abalamu, Falaawo n’abantu be bonna bajja kuziikibwa n’abatali bakomole, wamu n’abo abattibwa n’ekitala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
33 Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, yogera n’abaana b’abantu bo obagambe nti,+
“‘Singa ndeeta ekitala mu nsi,+ abantu baamu bonna ne bafuna omuntu ne bamufuula omukuumi waabwe, 3 omukuumi oyo n’alaba ekitala nga kijja mu nsi, n’afuuwa eŋŋombe n’alabula abantu,+ 4 omuntu n’awulira eŋŋombe ng’evuga naye n’atafaayo ku kulabula,+ ekitala ne kijja ne kimutta,* omusaayi gwe gunaaba ku mutwe gwe.+ 5 Yawulira eŋŋombe ng’evuga, naye n’atafaayo ku kulabula. Omusaayi gwe gunaaba ku ye. Singa yafaayo ku kulabula, yandiwonyeewo.
6 “‘Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa ŋŋombe+ kulabula bantu, ekitala ne kijja ne kitta omu ku bo, omuntu oyo ajja kuba afudde olw’ensobi ze, naye omusaayi gwe nja kuguvunaana omukuumi.’+
7 “Ggwe omwana w’omuntu, nkulonze okuba omukuumi eri ennyumba ya Isirayiri; bw’owuliranga ekigambo ekiva mu kamwa kange, obawanga okulabula okuva gye ndi.+ 8 Bwe ŋŋamba omubi nti, ‘Mubi ggwe, ojja kufa!’+ naye n’otomulabula akyuse ekkubo lye, omubi oyo ajja kufa ng’omuntu omubi olw’ebibi bye,+ naye omusaayi gwe nja kuguvunaana ggwe. 9 Naye bw’olabula omubi aleke ebikolwa bye naye n’agaana okuva mu kkubo lye, ajja kufa olw’ebibi bye,+ kyokka ggwe ojja kuwonya obulamu bwo.+
10 “Ggwe omwana w’omuntu gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Mugambye nti: “Obujeemu bwaffe n’ebibi byaffe bituzitooweredde ne tukogga;+ kale tunaasobola tutya okusigala nga tuli balamu?’”+ 11 Bagambe nti, ‘“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, “sisanyukira kufa kwa mubi,+ wabula njagala omuntu omubi akyuke aleke ebikolwa bye ebibi,+ asigale nga mulamu.+ Mukyuke, mukyuke muleke ebikolwa byammwe ebibi;+ lwaki mwagala okufa mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri?”’+
12 “Ggwe omwana w’omuntu, gamba abaana b’abantu bo nti, ‘Omuntu omutuukirivu bw’ajeema, obutuukirivu bwe tebujja kumuwonya.+ N’omuntu omubi bw’akyuka n’aleka ebikolwa bye ebibi, tajja kufa.+ N’omuntu omutuukirivu bw’ayonoona, tasigala nga mulamu olw’obutuukirivu bwe ku lunaku lw’ayonoona.+ 13 Bwe ŋŋamba omuntu omutuukirivu nti: “Ojja kusigala ng’oli mulamu,” naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’akola ekibi,*+ tewajja kuba na kimu ku bikolwa bye eby’obutuukirivu ekinajjukirwa, naye ajja kufa olw’ekibi kye yakola.+
14 “‘Bwe ŋŋamba omubi nti: “Ojja kufa,” naye n’akyuka n’aleka ebibi bye, n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu,+ 15 n’azzaayo kye baamusingira,+ n’asasula bye yanyaga,+ era n’atambulira mu mateeka agawa obulamu nga taliiko kibi ky’akola, ajja kusigala nga mulamu.+ Tajja kufa. 16 Tewali kibi na kimu ku ebyo bye yakola kinaamuvunaanibwa.*+ Ajja kusigala nga mulamu olw’okuba yakola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu.’+
17 “Naye abantu bo bagamba nti, ‘Yakuwa by’akola si bya bwenkanya,’ so nga bo bye bakola bye bitali bya bwenkanya.
18 “Omuntu omutuukirivu bw’alekera awo okukola eby’obutuukirivu n’atandika okukola ebibi, ajja kufa olw’okukola ebibi ebyo.+ 19 Naye omubi bw’akyuka n’aleka ebikolwa bye ebibi n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu, ajja kusigala nga mulamu olw’okukola bw’atyo.+
20 “Kyokka mugamba nti, ‘Yakuwa by’akola si bya bwenkanya.’+ Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, buli omu nja kumusalira omusango okusinziira ku bikolwa bye.”
21 Ku lunaku olw’okutaano olw’omwezi ogw’ekkumi, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, omusajja eyali awonyeewo mu Yerusaalemi yajja gye ndi+ n’aŋŋamba nti: “Ekibuga kiwambiddwa!”+
22 Eggulolimu ng’oyo eyali awonyeewo tannajja, omukono gwa Yakuwa gwanzijako, era omusajja oyo we yajjira gye ndi enkeera ku makya, Katonda yali amaze okusumulula akamwa kange, era nga nsobola okwogera.+
23 Awo Yakuwa n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti: 24 “Omwana w’omuntu, abantu ababeera mu bifo bino ebyafuuka amatongo+ boogera bwe bati ku nsi ya Isirayiri, ‘Ibulayimu yali bw’omu bw’ati, kyokka yatwala ensi.+ Naye ffe tuli bangi; mazima ddala ensi etuweereddwa ebe yaffe.’
25 “N’olwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mulya emmere erimu omusaayi,+ musinza ebifaananyi ebyenyinyaza,* era muyiwa omusaayi.+ Kati olwo nga lwaki mutwala ensi ebe yammwe? 26 Mwesiga ebitala byammwe,+ mukola eby’omuzizo, era buli omu ayenda ku muka munne.+ Kale olwo muyinza mutya okutwala ensi ebe yammwe?”’+
27 “Kale bagambe nti, Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nga bwe ndi omulamu, abo abali mu bifo ebyafuuka amatongo bajja kuttibwa n’ekitala, n’abo abali ku ttale nja kubawaayo baliibwe ensolo ez’omu nsiko, n’abo abali mu bigo ne mu mpuku bajja kufa endwadde.+ 28 Ensi nja kugifuula matongo,+ era amaanyi ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo, n’ensozi za Isirayiri zijja kufuuka matongo,+ nga tewali aziyitamu. 29 Era bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaafuula ensi amatongo+ olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye bakoze.”’+
30 “Ggwe omwana w’omuntu, abantu bo bakwogerako nga bali ku mabbali g’ebisenge ne mu miryango gy’ennyumba.+ Buli omu agamba muganda we nti, ‘Jjangu tuwulire ekigambo ekiva eri Yakuwa.’ 31 Bajja kujja bangi batuule mu maaso go ng’abantu bange era bajja kuwulira by’obagamba naye tebajja kubikolerako.+ Bakuwaanawaana n’emimwa gyabwe, naye emitima gyabwe giyaayaanira kwefunira bintu mu makubo makyamu. 32 Laba! Gye bali olinga oluyimba olw’omukwano oluyimbibwa mu ddoboozi eddungi, era nga lukubirwako ekivuga eky’enkoba mu ngeri ey’obukugu. Bajja kuwulira ebigambo byo, naye tewali n’omu ajja kubikolerako. 33 Naye bwe binaatuukirira, ate nga tebiireme kutuukirira, olwo bajja kumanya nti mu bo mubaddemu nnabbi.”+
34 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu langirira ebinaatuuka ku basumba ba Isirayiri. Langirira era obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Zibasanze mmwe abasumba ba Isirayiri+ abeeriisa mmwekka! Abasumba tebagwanidde kuliisa kisibo?+ 3 Mulya amasavu, mwambala engoye ezaakolebwa mu byoya by’endiga, era mutta ensolo ezisingayo obusava,+ kyokka ne mutaliisa kisibo.+ 4 Ennafu temuzizzizzaamu maanyi, endwadde temuzijjanjabye ziwone, ezimenyese temuzisibye ziyunge, eziwabye temuzikomezzaawo,+ n’ezo ezibuze temuzinoonyezza, wabula muzifugisa maanyi na bukambwe.+ 5 Zaasaasaana olw’obutaba na musumba;+ zaasaasaana ne zifuuka kya kulya eri buli nsolo ey’omu nsiko. 6 Endiga zange zaawabiranga ku nsozi zonna ne ku busozi bwonna obuwanvu; endiga zange zaasaasaanira mu nsi yonna, ne wataba azinoonya wadde agezaako okumanya gye ziri.
7 “‘“Kale mmwe abasumba, muwulire Yakuwa ky’agamba: 8 ‘“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, “olw’okuba endiga zange zifuuse muyiggo era eky’okulya eri buli nsolo ey’omu nsiko olw’obutaba na musumba, era abasumba bange ne batazinoonya, wabula ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange,”’ 9 kale mmwe abasumba muwulire Yakuwa ky’agamba. 10 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kulwayisa abasumba, era nja kubavunaana olw’obutafa ku ndiga zange; nja kubaggyako omulimu gw’okuliisa* endiga zange+ era tebajja kuddamu kweriisa bokka. Nja kununula endiga zange mu kamwa kaabwe era tebajja kuddamu kuzirya.’”
11 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba, nze kennyini nja kunoonya endiga zange, era nja kuzirabirira.+ 12 Nja kulabirira endiga zange ng’omusumba azudde endiga ze ezibadde zisaasaanye n’aziriisa.+ Nja kuziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw’ebire n’ekizikiza ekikutte.+ 13 Nja kuziggya mu mawanga era nzikuŋŋaanye okuva mu nsi ez’enjawulo, nzikomyewo mu nsi yaazo, nziriisize ku nsozi za Isirayiri+ okumpi n’emigga era okumpi n’ebifo byonna eby’omu nsi eyo ebibeeramu abantu. 14 Nja kuziriisa omuddo omulungi era nja kuzirundira ku nsozi z’omu Isirayiri empanvu.+ Zijja kugalamira eyo mu malundiro amalungi,+ era zijja kulya omuddo omulungi ku nsozi z’omu Isirayiri.”
15 “‘“Nze kennyini nja kuliisa endiga zange+ era nze kennyini nja kuzigalamiza,”+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 16 “Ebuze nja kuginoonya,+ ewabye nja kugikomyawo, efunye ekisago nja kugisiba, era n’enafuye nja kugizzaamu amaanyi; naye ensava n’ey’amaanyi nja kuzizikiriza. Nja kuzisalira omusango nziwe ekibonerezo ekizigwanira.”
17 “‘Kale mmwe endiga zange, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kusala omusango wakati w’endiga n’endiga, wakati w’endiga ennume n’embuzi ennume.+ 18 Tekibamala okulya muddo ogusinga obulungi? Lwaki ate mulinnyirira omuddo ogusigaddewo? Bwe muba mumaze okunywa amazzi amalungi, lwaki ate mukyafuwaza agasigaddewo nga mugalinnyamu n’ebigere byammwe? 19 Endiga zange zisaanye okulya omuddo gwe mulinnyiridde n’okunywa amazzi ge mukyafuwazza nga mugalinnyamu n’ebigere byammwe?”
20 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba! Nze kennyini ŋŋenda kusala omusango wakati w’endiga engevvu n’enkovvu, 21 kubanga mwazisindisanga embiriizi zammwe n’ebibegaabega byammwe, era endwadde mwazitomezanga amayembe gammwe ne zisaasaana. 22 Nja kununula endiga zange era tezijja kuddamu kuliibwa;+ nja kusala omusango wakati w’endiga n’endiga. 23 Nja kuziteerawo omusumba omu,+ omuweereza wange Dawudi,+ era ajja kuziriisa. Ye kennyini ajja kuziriisa era ajja kuba musumba waazo.+ 24 Nze Yakuwa nja kuba Katonda waazo+ era omuweereza wange Dawudi y’ajja okuba omukulembeze waazo.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.
25 “‘“Nja kukola nazo endagaano ey’emirembe,+ era ensi nja kugimalamu ensolo enkambwe,+ endiga zange zisobolenga okubeera mu ddungu nga tewali kye zitya era zeebake mu bibira.+ 26 Endiga zange n’ekifo ekyetoolodde olusozi lwange nja kubifuula omukisa+ era nja kutonnyesanga enkuba mu kiseera ekituufu. Emikisa gijja kuyiika ng’enkuba.+ 27 Emiti egy’oku ttale gijja kubala ebibala byagyo, n’ettaka lijja kubaza emmere,+ era endiga zange zijja kubeera mu nsi nga tezirina kye zitya. Era zijja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaamenya ebikoligo byazo+ ne nzinunula mu mikono gy’abo abaazifuula abaddu. 28 Amawanga tegajja kuddamu kuziyigga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsi tezijja kuzirya, zijja kubeera mu mirembe, nga tewali azitiisa.+
29 “‘“Nja kuziteerawo ennimiro eyayatiikirira, era tezijja kuddamu kufa njala mu nsi,+ wadde okufeebezebwa amawanga.+ 30 ‘Awo bajja kumanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe, ndi wamu nabo, era nti bo ab’ennyumba ya Isirayiri, bantu bange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’
31 “‘Mmwe endiga zange ze ndabirira,+ muli bantu buntu, era nze Katonda wammwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
35 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu amaaso go goolekeze ekitundu kya Seyiri+ eky’ensozi olangirire ebinaakituukako.+ 3 Kigambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba ndi mulabe wo ggwe ekitundu kya Seyiri eky’ensozi, era nja kugolola omukono gwange nkulwanyise nkufuule matongo.+ 4 Ebibuga byo nja kubizikiriza, era ojja kufuuka matongo;+ era ojja kumanya nti nze Yakuwa, 5 kubanga walaga Abayisirayiri obukyayi obutakoma+ n’obawaayo okuttibwa n’ekitala bwe baali mu kiseera ekizibu, mu kiseera eky’okubonerezebwa kwabwe okusembayo.”’+
6 “‘Kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘Nkutegekedde kufa,* era tosobola kukusimattuka.+ Olw’okuba watta abo be wakyawa, kaakano tosobola kusimattuka kufa.+ 7 Ekitundu kya Seyiri eky’ensozi nja kukifuula matongo,+ era nja kukimalamu omuntu yenna akiyitamu n’oyo akomawo. 8 Ensozi zaakyo nja kuzijjuza abanattibwa; era abo abanattibwa n’ekitala bajja kugwa ku busozi bwo, mu biwonvu byo, ne mu migga gyo gyonna. 9 Nja kukufuula matongo ag’olubeerera, era ebibuga byo tebijja kubeeramu bantu;+ era ojja kumanya nti nze Yakuwa.’
10 “Olw’okuba wagamba nti, ‘Amawanga gano abiri n’ensi zino zombi bijja kufuuka byange, byombi tujja kubitwala,’+ wadde nga Yakuwa kennyini yali mu nsi ezo ne mu mawanga ago, 11 ‘kale nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘Nja kukusasula okusinziira ku busungu, n’obuggya, n’obukyayi by’obalaze;+ era nja kwemanyisa mu bo bwe nnaakusalira omusango. 12 Era ojja kumanya nti nze Yakuwa nnawulira ebigambo byonna eby’obunyoomi bye wayogera ku nsozi za Isirayiri, bwe wagamba nti, “Zifuuliddwa matongo, era zituweereddwa tuzizikirize.”* 13 Onduulidde era onjogeddeko ebigambo bingi.+ Byonna mbiwulidde.’
14 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ensi yonna ejja kusanyuka bwe nnaakufuula amatongo. 15 Nga bwe wasanyuka ng’obusika bw’ennyumba ya Isirayiri bufuuse amatongo, nange bwe ntyo bwe nja okukukola.+ Nja kukufuula matongo ggwe ekitundu kya Seyiri eky’ensozi, kwe kugamba, Edomu yonna;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
36 “Ggwe omwana w’omuntu, langirira eri ensozi za Isirayiri ogambe nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri muwulire Yakuwa ky’agamba. 2 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Omulabe akwogeddeko nti, ‘Otyo! N’ebifo eby’edda ebigulumivu bifuuse byaffe!’”’+
3 “Kale langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Olw’okuba babafudde matongo era ne babalumba okuva ku njuyi zonna, musobole okutwalibwa ab’amawanga abaawonawo,* era olw’okuba abantu baboogerako era ne babawaayiriza,+ 4 kale mmwe ensozi za Isirayiri muwulire Yakuwa Mukama Afuga Byonna ky’agamba! Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensozi n’obusozi, emigga n’ebiwonvu, amatongo+ n’ebibuga ebyanyagululwa ne birekebwa awo era ne bisekererwa ab’amawanga abaawonawo ababyetoolodde;+ 5 ebyo Yakuwa Mukama Afuga Byonna abigamba nti: ‘Nga ndiko obusungu obubuubuuka+ nja kwogera eri ab’amawanga abaawonawo n’eri Edomu yonna, abo abatutte ensi yange nga bajaganya era nga bajjudde obunyoomi,+ basobole okuwamba amalundiro gaayo n’okuginyagulula.’”’+
6 “Kale langirira ebikwata ku nsi ya Isirayiri, otegeeze ensozi n’obusozi, emigga n’ebiwonvu nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba! Nja kwogera nga ndiko obusungu n’ekiruyi, kubanga amawanga gabafeebezza.”’+
7 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mpanika omukono gwange era ndayira nti amawanga agabeetoolodde gajja kuswala.+ 8 Naye mmwe, ensozi za Isirayiri, mujja kussaako amatabi era mubalire abantu bange Abayisirayiri ebibala byammwe,+ kubanga banaatera okudda. 9 Ndi wamu nammwe; nja kubassaako ebirowoozo, era mujja kulimibwa era musigibweko ensigo. 10 Nja kwaza abantu bammwe, ennyumba ya Isirayiri yonna—era ebibuga bijja kubaamu abantu,+ n’ebifo ebyali bifuuse amatongo bijja kuddamu bizimbibwe.+ 11 Nja kwaza abantu bammwe n’ensolo zammwe;+ bajja kweyongera obungi era bajja kuzaala abaana bangi. Mujja kuddamu okubeeramu abantu ng’edda,+ era mujja kuba bulungi n’okusinga bwe mwali mu biseera ebyayita;+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+ 12 Nja kuleka abantu bange Abayisirayiri babatambulireko, era bajja kubatwala mube baabwe.+ Mujja kuba busika bwabwe, era temujja kuddamu kubattira baana baabwe.’”+
13 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba babagamba nti, “Oli nsi erya abantu, era etta abaana b’amawanga go,”’ 14 ‘kale tojja kuddamu kulya bantu wadde okutta abaana b’amawanga go,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 15 ‘Sijja kukuleka kuvumibwa mawanga nate wadde okukuleka okukudaalirwa abantu,+ era tojja kuddamu kuleetera mawanga go kwesittala,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
16 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 17 “Omwana w’omuntu, ab’ennyumba ya Isirayiri bwe baabeeranga mu nsi yaabwe, baagifuula etali nnongoofu olw’enneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe.+ Gye ndi, ebikolwa byabwe byali ng’obutali bulongoofu bw’omukazi ali mu nsonga.+ 18 Kyennava mbafukako obusungu bwange, kubanga baali bayiye omusaayi ku nsi+ era nga bagifudde etali nnongoofu olw’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza.*+ 19 Nnabasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.+ Nnabasalira omusango okusinziira ku nneeyisa yaabwe n’ebikolwa byabwe. 20 Naye bwe baatuuka mu mawanga ago, abantu baavumaganya erinnya lyange ettukuvu+ nga baboogerako nti, ‘Bano be bantu ba Yakuwa, naye baalina okuva mu nsi ye.’ 21 N’olwekyo nja kulumirirwa erinnya lyange ettukuvu, ab’ennyumba ya Isirayiri lye bavumaganyizza mu mawanga gye baagenda.”+
22 “Kale gamba ab’ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, kino sikikola ku lwammwe, wabula ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye muvumaganyizza mu mawanga gye mwagenda.”’+ 23 ‘Nja kutukuza erinnya lyange ekkulu+ erivumaganyiziddwa mu mawanga, mmwe lye muvumaganyizza mu mawanga ago; era bwe nnaatukuzibwa mu mmwe mu maaso g’amawanga, amawanga gajja kumanya nti nze Yakuwa,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 24 Nja kubaggya mu mawanga era mbakuŋŋaanye okuva mu nsi zonna, mbakomyewo mu nsi yammwe.+ 25 Era nja kubamansirako amazzi amayonjo, mube balongoofu;+ nja kubatukuza mbaggyeko obutali bulongoofu bwammwe bwonna+ n’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.+ 26 Nja kubawa omutima omuggya+ era mbateekemu omwoyo omuggya.+ Nja kubaggyamu omutima ogukaluba ng’ejjinja,+ mbateekemu omutima omugonvu.* 27 Nja kubateekamu omwoyo gwange; nja kubaleetera okutambulira mu mateeka gange,+ era mujja kukwata ebiragiro byange era mubikolereko. 28 Olwo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe, era mujja kuba bantu bange, nange mbeere Katonda wammwe.’+
29 “‘Nja kubalokola okuva mu butali bulongoofu bwammwe bwonna, era nja kugamba emmere ey’empeke ebale, era sijja kubaleetera njala.+ 30 Nja kuleetera emiti okubala ebibala bingi, era nja kwaza emmere ey’omu nnimiro, muleme kuddamu kuswala mu mawanga olw’okulumwa enjala.+ 31 Olwo mujja kujjukira enneeyisa yammwe embi n’ebikolwa byammwe ebitaali birungi, era mujja kwekyawa olw’ebibi byammwe n’olw’ebikolwa byammwe eby’omuzizo.+ 32 Naye mumanye nti kino sikikola ku lwammwe,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Wabula, mukwatibwe ensonyi, era muswale olw’amakubo gammwe, mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri.’
33 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku lwe nnaabatukuza ne mbaggyako ebibi byammwe byonna, nja kuleetera ebibuga okubaamu abantu+ era n’ebifo ebyafuuka amatongo okuddamu okuzimbibwa.+ 34 Ensi buli eyayitangawo gye yalabanga ng’efuuse matongo, ejja kulimibwamu nate. 35 Era abantu bajja kugamba nti: “Ensi eyali efuuse amatongo kaakano efaanana ng’olusuku Edeni,+ n’ebibuga ebyali bizikiriziddwa ne bifuuka amatongo, kaakano biriko bbugwe era birimu abantu.”+ 36 Kale amawanga agabeetoolodde agasigaddewo gajja kumanya nti nze Yakuwa, nze nzimbye ebyamenyebwa era nti nze nsimbye emiti mu nsi eyali efuuse amatongo. Nze Yakuwa nze nkyogedde era ne nkituukiriza.’+
37 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Era ab’ennyumba ya Isirayiri nja kubaleka bansabe mbakolere na kino: Nja kwaza abantu baabwe babe bangi ng’ekisibo. 38 Ebibuga ebyali bifuuse amatongo bijja kujjula abantu,+ nga Yerusaalemi bwe kyajjulangamu abatukuvu,* nga bwe kyajjulangamu endiga mu kiseera eky’embaga zaakyo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
37 Omukono gwa Yakuwa gwandiko, era Yakuwa yakozesa omwoyo gwe n’antwala n’anteeka wakati mu lusenyi+ olwali lujjudde amagumba. 2 Yantambuza ng’anneetoolooza amagumba, ne ndaba nga mangi nnyo mu lusenyi era nga makalu nnyo.+ 3 N’ambuuza nti: “Omwana w’omuntu, amagumba gano gasobola okuddamu okuba amalamu?” Ne mmuddamu nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ggwe omanyi.”+ 4 N’aŋŋamba nti: “Langirira ebikwata ku magumba gano, era ogagambe nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire Yakuwa ky’agamba:
5 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba amagumba gano: “Nja kubateekamu omukka, era mujja kulamuka.+ 6 Nja kubateekako ebinywa n’ennyama, era nja kubabikkako olususu era mbateekemu omukka, era mujja kulamuka; mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’”
7 Awo ne nnangirira nga bwe nnali ndagiddwa, era bwe nnali nkyalangirira, ne mpulira ebintu ebikoonagana, amagumba ne gatandika okwegatta buli limu ku linnaalyo. 8 Ne ndaba nga gazzeeko ebinywa n’ennyama, era nga gabikkiddwako olususu, naye nga tegaliimu mukka.
9 Awo n’aŋŋamba nti: “Langirira eri empewo. Omwana w’omuntu, langirira era ogambe empewo nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ggwe empewo,* jjangu ng’ova eri empewo ennya okuntire ku bantu bano abattibwa, balamuke.”’”
10 Awo ne nnangirira nga bwe yandagira, omukka* ne gubayingiramu, ne balamuka ne bayimirira,+ ne baba eggye ddene nnyo.
11 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba ya Isirayiri yonna.+ Bagamba nti, ‘Amagumba gaffe makalu era essuubi lyaffe liggwereddewo ddala.+ Twawuddwa ku balala.’ 12 Kale langirira obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mmwe abantu bange, nja kwasamya amalaalo gammwe+ mbaggyeyo, mbatwale mu nsi ya Isirayiri.+ 13 Era mujja kumanya nti nze Yakuwa, mmwe abantu bange,+ bwe nnaayasamya amalaalo gammwe era bwe nnaabaggyayo mu malaalo gammwe.”’ 14 ‘Nja kubateekamu omwoyo gwange mulamuke,+ era mbateeke mu nsi yammwe; kale mujja kumanya nti nze Yakuwa nze nkyogedde era ne nkikola,’ bw’ayogera Yakuwa.”
15 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 16 “Omwana w’omuntu, ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Gwa Yuda n’abantu ba Isirayiri abali naye.’+ Era ddira omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, n’ab’ennyumba ya Isirayiri bonna abali naye.’+ 17 Oluvannyuma emiggo gyombi ogikwatire wamu, gibe ng’omuggo gumu mu mukono gwo.+ 18 Abantu bo* bwe banaakubuuza nti, ‘Tootubuulire bintu ebyo kye bitegeeza?’ 19 ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kuddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri ebiri naye, mbigatte n’omuggo gwa Yuda; gyombi nja kugifuula omuggo gumu,+ era bajja kufuuka omuggo gumu mu mukono gwange.”’ 20 Emiggo gy’owandiikako gisaanidde okuba mu mukono gwo abantu bagirabe.
21 “Oluvannyuma ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kuggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda, era nja kubakuŋŋaanya okuva ku buli luuyi, mbakomyewo mu nsi yaabwe.+ 22 Nja kubafuula eggwanga limu mu nsi eyo,+ ku nsozi za Isirayiri, era kabaka omu y’ajja okubafuga bonna,+ era tebajja kuddamu kuba mawanga abiri, wadde okwawulwamu okuba obwakabaka bubiri.+ 23 Tebajja kuddamu kwefuula batali balongoofu na bifaananyi byabwe ebyenyinyaza,* n’ebikolwa byabwe eby’omuzizo, era n’ebibi byabwe byonna.+ Nja kubalokola okuva mu butali bwesigwa bwabwe obwabaviirako okwonoona, era nja kubalongoosa. Bajja kuba bantu bange nange mbeere Katonda waabwe.+
24 “‘“Omuweereza wange Dawudi y’anaaba kabaka waabwe,+ era bonna bajja kuba n’omusumba omu.+ Bajja kutambulira mu mateeka gange era bakwate ebiragiro byange n’obwegendereza.+ 25 Bajja kubeera mu nsi gye nnawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga.+ Bajja kugibeeramu emirembe gyonna,+ bo n’abaana* baabwe ne bazzukulu baabwe;+ era omuweereza wange Dawudi y’anaaba omukulembeze waabwe emirembe n’emirembe.+
26 “‘“Nja kukola nabo endagaano ey’emirembe;+ ejja kuba ndagaano ya mirembe gyonna. Nja kubateeka mu nsi yaabwe mbaaze,+ era nja kuteeka ekifo kyange ekitukuvu wakati mu bo emirembe n’emirembe. 27 Weema yange* ejja kuba wamu nabo,* era nja kuba Katonda waabwe, era nabo bajja kuba bantu bange.+ 28 Ekifo kyange ekitukuvu bwe kinaabeera wakati mu bo emirembe n’emirembe, amawanga gajja kumanya nti nze Yakuwa nze ntukuza Isirayiri.”’”+
38 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, amaaso go goolekeze Googi ow’omu nsi y’e Magoogi,+ akulira abaami b’e Meseki ne Tubali,+ olangirire ebinaamutuukako.+ 3 Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ndi mulabe wo ggwe Googi, omwami akulira abaami b’e Meseki ne Tubali. 4 Ndikukyusa ne nteeka amalobo mu mba zo+ ne nkuggyayo ggwe n’eggye lyo lyonna eddene,+ n’embalaasi zo n’abasajja abazeebagala, nga bonna bambadde ebyambalo eby’ekitiibwa, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n’entono,* era nga bonna bakutte ebitala; 5 Abaperusi, Abeesiyopiya, n’Abaputi+ bali wamu nabo, era bonna balina engabo entono ne sseppeewo; 6 Gomeri n’abasirikale be bonna, ab’ennyumba ya Togaluma+ abava mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala, awamu n’abasirikale baabwe bonna—amawanga mangi gali naawe.+
7 “‘“Weeteeketeeke ggwe n’amagye go gonna agali naawe, era ggwe ojja okubaduumira.*
8 “‘“Nga wayiseewo ennaku nnyingi, olikeberebwa.* Mu myaka egisembayo olirumba ensi y’abantu abaawona ekitala ne bakomawo ewaboobwe, abaggibwa mu mawanga mangi ne bakuŋŋaanyizibwa ku nsozi za Isirayiri ezaali zaafuuka edda amatongo. Abantu ababeera mu nsi eyo baggibwa mu mawanga ne bakomezebwawo, era bonna bali mu mirembe.+ 9 Ggwe n’abasirikale bo bonna n’amawanga mangi agaliba naawe, mulibalumba ng’embuyaga, ne mubikka ensi yaabwe ng’ebire.”’
10 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku olwo ebirowoozo birijja mu mutima gwo, era olikola olukwe. 11 Oligamba nti: “Nja kulumba ensi erimu ebyalo ebitaliiko bbugwe.+ Nja kulumba abo abali mu mirembe abatalina kibatawaanya; bonna abali mu byalo ebitaliiko bbugwe wadde enzigi n’ebisiba.” 12 Oliba n’ekigendererwa eky’okufuna omunyago mungi, okulumba ebifo ebyafuuka amatongo kaakano ebirimu abantu,+ n’okulumba abantu abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga,+ abafunye eby’obugagga n’ebintu ebirala,+ abo ababeera wakati mu nsi.
13 “‘Seba+ ne Dedani,+ abasuubuzi b’e Talusiisi,+ n’abalwanyi baakyo bonna balikubuuza nti: “Olumba ofune omunyago mungi? Okuŋŋaanyizza eggye lyo otwale ffeeza ne zzaabu, otwale ebintu n’eby’obugagga, otwale omunyago mungi nnyo?”’
14 “Kale omwana w’omuntu, langirira era ogambe Googi nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ekiseera abantu bange Abayisirayiri lwe baliba nga bali mu mirembe, tolikimanya?+ 15 Oliva eyo gy’obeera, mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala,+ ggwe n’abantu bangi, nga bonna beebagadde embalaasi, ekibiina ekinene, eggye eddene.+ 16 Olirumba abantu bange Abayisirayiri ng’olinga ekire ekibisse ensi. Mu nnaku ezisembayo ndikuleeta n’olumba ensi yange,+ amawanga galyoke gammanye bwe ndyetukuza mu maaso gaabwe okuyitira mu ggwe Googi.”’+
17 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Si ggwe wuuyo gwe nnayogerako edda okuyitira mu baweereza bange, bannabbi ba Isirayiri, abaalangirira okumala emyaka mingi nti olireetebwa okubalumba?’
18 “‘Ku lunaku olwo, olunaku Googi lw’alirumba ensi ya Isirayiri,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘obusungu bwange obungi bulibuubuuka.+ 19 Mu busungu bwange, mu muliro ogw’ekiruyi kyange nja kwogera; era ku lunaku olwo walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri. 20 Ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n’ensolo ez’omu nsiko, n’ebintu byonna ebyewalulira wansi, n’abantu bonna abali ku nsi birikankana ku lwange, n’ensozi zirisuulibwa wansi,+ obukulungujjo buligwa, era na buli bbugwe alimenyeka n’agwa wansi ku ttaka.’
21 “‘Nditumya ekitala ne kimulwanyisa ku nsozi zange zonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Buli muntu alirwanyisa munne.+ 22 Ndimusalira omusango.* Ndimusindikira endwadde+ ye n’eggye lye. Omusaayi mungi guliyiibwa; ye n’eggye lye n’amawanga amangi agaliba naye+ ndibatonnyessaako nnamutikkwa w’enkuba, omuzira,+ omuliro,+ n’amayinja agookya.+ 23 Ndyegulumiza, ne nneetukuza, era ne nneemanyisa mu maaso g’amawanga mangi; era balimanya nti nze Yakuwa.’
39 “Omwana w’omuntu, langirira ebinaatuuka ku Googi,+ omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ndi mulabe wo ggwe Googi, omwami akulira abaami b’e Meseki ne Tubali.+ 2 Ndikukyusa ne nkukulembera ne nkuleetera okuva mu bitundu eby’ebukiikakkono ebisingayo okuba eby’ewala,+ ne nkutwala ku nsozi za Isirayiri. 3 Omutego oguli mu mukono gwo ogwa kkono ndigukuba ne gugwa, era ndikusuuza obusaale obuli mu mukono gwo ogwa ddyo. 4 Ggwe n’abasirikale bo bonna n’amawanga agaliba naawe, muligwa ku nsozi za Isirayiri.+ Ndibawaayo ne muliibwa ebinyonyi ebirya ennyama ebya buli ngeri n’ensolo ez’omu nsiko.”’+
5 “‘Muligwa ku ttale,+ kubanga nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
6 “‘Ndisindika omuliro ne gwokya Magoogi n’abo bonna abatudde entende mu bizinga,+ era balimanya nti nze Yakuwa. 7 Ndimanyisa abantu bange Abayisirayiri erinnya lyange ettukuvu, era siriddamu kuleka linnya lyange ttukuvu kuvumaganyizibwa; era amawanga galimanya nti nze Yakuwa,+ Omutukuvu mu Isirayiri.’+
8 “‘Laba! Kijja, era kirikolebwa,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. ‘Luno lwe lunaku lwe nnayogerako. 9 Abantu ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma, eby’okulwanyisa ne babikumisa omuliro: engabo entono* n’ennene, emitego n’obusaale, embuukuuli n’amafumu. Balibikumisa omuliro+ okumala emyaka musanvu. 10 Baliba tebeetaaga kutyaba nku ku ttale oba mu kibira, kubanga eby’okulwanyisa bye balikumisanga omuliro.’
“‘Era balinyaga abo abaabanyaganga, era baliggya ebintu ku abo abaabatwalangako ebyabwe,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
11 “‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi+ ekifo eky’okumuziikamu mu Isirayiri, mu kiwonvu ky’abo abagenda ebuvanjuba w’ennyanja, era kiriziba ekkubo ly’abo abayita mu kiwonvu. Eyo gye baliziika Googi n’eggye lye lyonna, era ekifo ekyo kiriyitibwa Ekiwonvu Kamoni-Googi.*+ 12 Ab’ennyumba ya Isirayiri balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okulongoosa ensi.+ 13 Abantu bonna mu nsi eyo balyetaba mu mulimu gw’okubaziika, era ekyo kiribaleetera ettutumu ku lunaku lwe ndyegulumiza,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
14 “‘Abantu baliweebwa omulimu ogw’okuyitaayita mu nsi buli kiseera okuziika emirambo egiriba gikyali kungulu, basobole okulongoosa ensi. Balyeyongera okunoonya okumala emyezi musanvu. 15 Abo abaliyitaayita mu nsi bwe baliraba awali eggumba ly’omuntu, balissaawo akabonero. Oluvannyuma abo abaaweebwa omulimu gw’okuziika, baliziika eggumba eryo mu Kiwonvu Kamoni-Googi.+ 16 Era eyo eribaayo ekibuga ekiyitibwa Kamona.* Era balirongoosa ensi.’+
17 “Kale omwana w’omuntu, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Gamba ebinyonyi ebya buli ngeri n’ensolo zonna ez’omu nsiko nti: “Mukuŋŋaane mujje. Mukuŋŋaanire awali ssaddaaka yange gye mbategekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri.+ Mujja kulya ennyama era munywe omusaayi.+ 18 Mujja kulya ennyama y’ab’amaanyi, era munywe omusaayi gw’abaami b’ensi—endiga ennume, endiga ento, embuzi, n’ente ennume—ensolo zonna eza ssava ez’omu Basani. 19 Mujja kulya amasavu era munywe omusaayi okutuusa lwe munaatamiira ssaddaaka gye mbategekedde.”’
20 “‘Mujja kuliira ku mmeeza yange mukkute embalaasi n’abavuzi b’amagaali, ab’amaanyi n’abalwanyi aba buli ngeri,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
21 “‘Ndyolesa ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba omusango gwe nsaze, n’amaanyi ge* njolesezza mu go.+ 22 Okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo, ab’ennyumba ya Isirayiri balimanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe. 23 Amawanga galimanya nti ab’ennyumba ya Isirayiri baatwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ensobi zaabwe n’olw’obutaba beesigwa gye ndi.+ Kyennava mbeekweka+ ne mbawaayo eri abalabe baabwe,+ bonna ne battibwa n’ekitala. 24 Nnababonereza okusinziira ku butali bulongoofu bwabwe n’ebibi byabwe, era nnabeekweka.’
25 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ndikomyawo aba Yakobo+ abaawambibwa era ndisaasira ab’ennyumba ya Isirayiri yonna;+ era erinnya lyange ettukuvu ndirirwanirira n’obunyiikivu.+ 26 Bwe balimala okufeebezebwa olw’obutaba beesigwa gye ndi,+ balitebenkera mu nsi yaabwe, nga tewali n’omu abatiisa.+ 27 Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi z’abalabe baabwe,+ ndyetukuza mu bo ng’amawanga mangi galaba.’+
28 “‘Kale balimanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe, bwe ndibawaŋŋangusiza mu mawanga, ate oluvannyuma ne mbakuŋŋaanya ne mbakomyawo mu nsi yaabwe, awatali kulekayo n’omu.+ 29 Siriddamu kubeekweka,+ kubanga ndifuka omwoyo gwange ku nnyumba ya Isirayiri,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
40 Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse,+ ku ntandikwa y’omwaka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena bukya ekibuga kiwambibwa,+ ku lunaku olwo lwennyini omukono gwa Yakuwa gwandiko, era yantwala mu kibuga.+ 2 Mu kwolesebwa okwava eri Katonda, Katonda yantwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo+ olwaliko ekifaanana ng’ekibuga ku ludda olw’ebukiikaddyo.
3 Bwe yantuusaayo, ne ndaba omusajja eyali afaanana ng’ekikomo.+ Yali akutte mu mukono gwe omuguwa ogw’obugoogwa n’olumuli olupima,*+ era ng’ayimiridde mu mulyango. 4 Omusajja oyo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, weetegereze, owulirize n’obwegendereza, era osseeyo omwoyo* ku byonna bye nnaakulaga, kubanga eyo ye nsonga lwaki oleeteddwa wano. Byonna by’olaba bitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”+
5 Awo ne ndaba ekisenge eky’ebweru ekyetoolodde yeekaalu.* Omusajja yali akutte olumuli olupima nga lwa mikono mukaaga obuwanvu (buli mukono gwayongerwangako ekibatu kimu).* Yapima ekisenge, era obunene bw’omubiri gwakyo bwali olumuli lumu, n’obugulumivu bwakyo bwali olumuli lumu.
6 Awo n’ajja ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba,+ n’alinnya amadaala gaagwo, n’apima awayingirirwa. Obugazi bwawo bwali olumuli lumu era n’obugazi bw’awayingirirwa awalala bwali olumuli lumu. 7 Buli kamu ku busenge bw’abakuumi kaali olumuli lumu obuwanvu n’olumuli lumu obugazi, era waaliwo emikono etaano okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kalala.+ N’awayingirirwa okumpi n’ekisasi eky’oku mulyango ekitunudde mu yeekaalu, waali olumuli lumu.
8 Yapima ekisasi eky’oku mulyango ekitunudde mu luggya, era kyali olumuli lumu. 9 Awo n’apima ekisasi eky’oku mulyango, era kyali emikono munaana; n’apima n’empagi zaakyo, era zaali emikono ebiri; ekisasi eky’oku mulyango kyali ku ludda olutunudde mu yeekaalu.
10 Waaliwo obusenge bw’abakuumi busatu ku ludda olumu olw’omulyango ogw’ebuvanjuba ne ku ludda olulala. Obusenge bwonna obusatu bwali bwenkanankana, era n’empagi ezaali ku njuyi zombi ez’omulyango zaali zenkanankana.
11 Awo n’apima obugazi bw’awayingirirwa, era bwali emikono 10; n’obuwanvu bw’omulyango bwali emikono 13.
12 Mu maaso g’obusenge bw’abakuumi waaliwo ebbanga lya mukono gumu ku buli luuyi. Obusenge bw’abakuumi obwali ku njuyi zombi buli kamu kaali emikono mukaaga.
13 Awo n’apima omulyango okuva ku kasolya k’akasenge k’abakuumi* akamu okutuuka ku kasolya k’akasenge akalala, era obugazi bwawo bwali emikono 25; emiryango gy’obusenge obwo gyali gitunuuliganye.+ 14 Awo n’apima empagi, era zaali emikono 60 obuwanvu; n’apima n’empagi ezaali ku miryango gyonna egy’oluggya. 15 Okuva mu maaso g’awayingirirwa okutuuka mu maaso g’ekisasi ku luuyi olw’omunda olw’omulyango waaliwo emikono 50.
16 Obusenge bw’abakuumi n’empagi zaabwo ezaali ku njuyi zombi ez’omulyango ogw’omunda byalina amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda.*+ Munda mu kisasi nayo waaliyo amadirisa ku buli luuyi, era ku mpagi kwaliko ebifaananyi by’enkindu.+
17 Awo n’antwala mu luggya olw’ebweru, ne ndaba ebisenge ebiriirwamu*+ n’akabalaza k’amayinja amaaliire okwetooloola oluggya. Ku kabalaza ako kwaliko ebisenge ebiriirwamu 30. 18 Obugazi bw’akabalaza k’amayinja amaaliire akaali ku mabbali g’emiryango, bwali bwenkana n’obuwanvu bw’emiryango. Kano ke kaali akabalaza k’amayinja amaaliire aka wansi.
19 Awo n’apima obugazi okuva ku mulyango ogwa wansi okutuuka ku mulyango oguyingira mu luggya olw’omunda. Bwali emikono 100 ku luuyi olw’ebuvanjuba n’emikono 100 ku luuyi olw’ebukiikakkono.
20 Oluggya olw’ebweru lwalina omulyango ogutunudde ebukiikakkono, era yapima obuwanvu bwagwo n’obugazi bwagwo. 21 Ku buli luuyi olw’omulyango ogwo waaliwo obusenge bw’abakuumi busatu. Empagi zaagwo n’ekisasi byalina ebipimo bye bimu n’ebyo eby’omulyango ogusooka. Gwali emikono 50 obuwanvu n’emikono 25 obugazi. 22 Amadirisa gaagwo, ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi byagwo eby’enkindu+ byali byenkanankana n’ebyo eby’omulyango ogw’ebuvanjuba. Abantu baalinnyanga amadaala musanvu okugutuukako, era ekisasi kyagwo kyali mu maaso g’amadaala ago.
23 Waaliwo omulyango mu luggya olw’omunda ogwali gutunudde mu mulyango ogw’ebukiikakkono, n’omulala ogwali gutunudde mu mulyango ogw’ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogumu okutuuka ku mulala, era waaliwo emikono 100.
24 Awo n’antwala ebukiikaddyo, era ne ndabayo omulyango ku luuyi olw’ebukiikaddyo.+ N’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, era byali byenkanankana n’ebyo eby’emiryango emirala. 25 Ku njuyi zombi ez’omulyango n’ekisasi kyagwo kwaliko amadirisa, nga gafaanana amalala. Gwali emikono 50 obuwanvu n’emikono 25 obugazi. 26 Waaliwo amadaala musanvu okugutuukako,+ era ekisasi kyagwo kyali mu maaso g’amadaala ago. Empagi ezaali ku buli luuyi olw’omulyango ogwo zaaliko ebifaananyi by’enkindu.
27 Oluggya olw’omunda lwaliko omulyango ogutunudde ebukiikaddyo; n’apima okuva ku mulyango ogumu okutuuka ku mulala okwolekera ebukiikaddyo, era waaliwo emikono 100. 28 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda ng’ampisa mu mulyango ogw’ebukiikaddyo; era bwe yapima omulyango ogwo ogw’ebukiikaddyo, gwali gwenkana emiryango emirala. 29 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, empagi zaagwo, n’ekisasi kyagwo byali byenkanankana n’eby’emiryango emirala. Ku njuyi zombi ez’omulyango ogwo n’ekisasi kyagwo kwaliko amadirisa. Gwali emikono 50 obuwanvu n’emikono 25 obugazi.+ 30 Emiryango gyonna egiyingira mu luggya olw’omunda gyalina ebisasi; ebisasi ebyo byali emikono 25 obuwanvu n’emikono 5 obugazi. 31 Ekisasi kyagwo kyali kitunudde mu luggya olw’ebweru, empagi zaagwo zaaliko ebifaananyi by’enkindu,+ era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.+
32 Bwe yantwala mu luggya olw’omunda okuva ebuvanjuba, n’apima omulyango, gwali gwenkana emiryango emirala. 33 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, empagi zaagwo, n’ekisasi kyagwo byali byenkanankana n’eby’emiryango emirala, era ku njuyi zombi ez’omulyango n’ekisasi kyagwo kwaliko amadirisa. Gwali emikono 50 obuwanvu n’emikono 25 obugazi. 34 Ekisasi kyagwo kyali kitunudde mu luggya olw’ebweru, empagi zaagwo zombi zaaliko ebifaananyi by’enkindu, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
35 Awo n’antwala ku mulyango ogw’ebukiikakkono,+ n’agupima; era gwali gwenkana emiryango emirala. 36 Obusenge bwagwo obw’abakuumi, empagi zaagwo, n’ekisasi kyagwo byali byenkanankana n’eby’emiryango emirala. Gwali emikono 50 obuwanvu n’emikono 25 obugazi. 37 Empagi zaagwo zaali zitunudde mu luggya olw’ebweru era empagi ezo zombi zaaliko ebifaananyi by’enkindu; waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
38 Okumpi n’empagi z’omulyango waaliwo ekisenge ekiriirwamu ekyaliko omulyango, we baanaalizanga ebiweebwayo ebyokebwa.+
39 Ku buli luuyi olw’ekisasi ky’oku mulyango waaliwo emmeeza bbiri kwe battiranga ensolo ez’ebiweebwayo ebyokebwa,+ ez’ebiweebwayo olw’ekibi,+ n’ez’ebiweebwayo olw’omusango.+ 40 Ebweru awambukirwa okutuuka ku mulyango ogw’ebukiikakkono waaliwo emmeeza bbiri. Era waaliwo n’emmeeza endala bbiri ku luuyi olulala olw’ekisasi ky’oku mulyango. 41 Waaliwo emmeeza nnya ku buli luuyi olw’omulyango—zonna awamu emmeeza munaana—kwe battiranga ensolo za ssaddaaka. 42 Emmeeza ennya ez’ebiweebwayo ebyokebwa zaali za mayinja amateme. Zaali omukono gumu n’ekitundu obuwanvu, omukono gumu n’ekitundu obugazi, n’omukono gumu obugulumivu. Ku mmeeza ezo kwe baateekanga ebintu ebyakozesebwanga okutta ensolo ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’eza ssaddaaka. 43 Amasa agaali genkana ekibatu obugazi gaali ku bisenge byonna munda; era ennyama y’ebiweebwayo baagiteekanga ku mmeeza.
44 Ebweru w’omulyango ogw’omunda waaliwo ebisenge ebiriirwamu eby’abayimbi;+ byali mu luggya olw’omunda okumpi n’omulyango ogw’ebukiikakkono, nga bitunudde ebukiikaddyo. Ekisenge ekirala ekiriirwamu kyali kumpi n’omulyango ogw’ebuvanjuba, nga kitunudde ebukiikakkono.
45 N’aŋŋamba nti: “Ekisenge kino ekiriirwamu ekitunudde ebukiikaddyo kya bakabona abalina obuvunaanyizibwa ku mirimu gy’omu yeekaalu.+ 46 Ekisenge ekiriirwamu ekitunudde ebukiikakkono kya bakabona abalina obuvunaanyizibwa ku mirimu egikolebwa ku kyoto.+ Be baana ba Zadooki.+ Be Baleevi abaalondebwa okugenda mu maaso ga Yakuwa okumuweereza.”+
47 Awo n’apima oluggya olw’omunda. Lwali emikono 100 obuwanvu n’emikono 100 obugazi, era lwali lwenkanankana ku njuyi zaalwo zonna ennya. Ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.
48 Awo n’antwala mu kisasi kya yeekaalu,+ n’apima empagi zaakyo, era zaali emikono etaano ku luuyi olumu n’emikono etaano ku luuyi olulala. Oluuyi olumu olw’omulyango lwali emikono esatu obugazi n’oluuyi olulala lwali emikono esatu obugazi.
49 Ekisasi kyali emikono 20 obuwanvu n’emikono 11* obugazi. Abantu baalinnyanga madaala okutuuka ku kisasi ekyo. Era okumpi n’empagi ez’oku mabbali waaliwo empagi emu ku luuyi olumu, n’empagi endala ku luuyi olulala.+
41 Awo n’antwala awatukuvu,* n’apima empagi; obugazi bwazo bwali emikono mukaaga* ku ludda olumu, n’emikono mukaaga ku ludda olulala. 2 Omulyango gwali emikono kkumi obugazi, era ekisenge eky’oludda olumu olw’omulyango kyali emikono ettaano n’eky’oludda olulala emikono etaano. N’apima awatukuvu, era waali emikono 40 obuwanvu n’emikono 20 obugazi.
3 Awo n’ayingira munda,* n’apima empagi ey’oku mulyango oguyingira, era obunene bw’omubiri gwayo bwali emikono ebiri, ate omulyango oguyingira gwali emikono mukaaga obugazi. Ebisenge by’omulyango oguyingira byali* emikono musanvu. 4 Bwe yamala, n’apima ekisenge ekyali kitunudde mu watukuvu, era kyali emikono 20 obuwanvu n’emikono 20 obugazi.+ Awo n’aŋŋamba nti: “Kino kye kifo ekiyitibwa Awasinga Obutukuvu.”+
5 Awo n’apima ekisenge kya yeekaalu, era obunene bw’omubiri gwakyo bwali emikono mukaaga. Ebisenge eby’oku bbali ebyali byetoolodde yeekaalu byali emikono ena obugazi.+ 6 Ebisenge ebyo byali bya myaliiro esatu, nga buli mwaliiro gutudde ku gunnaagwo, era buli mwaliiro gwaliko ebisenge 30. Waaliwo ebyali biwaniridde ekizimbe ekyo naye nga tebyazimbibwa mu kisenge kya yeekaalu.+ 7 Ku njuyi zombi eza yeekaalu waaliwo amadaala* agaagendanga gagaziwa ng’oyambuka okugenda ku bisenge ebya waggulu.+ Obusenge bw’ennyumba bwagendanga bugaziwa omuntu bwe yalinnyanga okuva ku mwaliiro ogwa wansi okutuuka ku gwa waggulu, ng’ayita mu mwaliiro ogwa wakati.
8 Nnalaba nga yeekaalu yali ezimbiddwa ku kituuti, era omusingi ogw’ebisenge eby’oku bbali gwali olumuli lumu olw’emikono mukaaga okutuuka ku nsonda. 9 Ekisenge eky’ebweru eky’ebisenge eby’oku bbali kyali emikono ettaano obugazi. Waaliwo ebbanga* wakati w’ebisenge eby’oku bbali ne yeekaalu.
10 Wakati wa yeekaalu n’ebisenge ebiriirwamu,+ waaliwo ekibangirizi kya mikono 20 ku buli luuyi. 11 Wakati w’ebisenge eby’oku bbali n’ebbanga ku luuyi olw’ebukiikakkono waaliwo omulyango, era waaliwo n’omulyango omulala ku luuyi olw’ebukiikaddyo. Ebbanga eryali lyetoolodde yeekaalu lyali emikono etaano obugazi.
12 Ekizimbe ekyali ku luuyi olw’ebugwanjuba ekyali kitunudde mu kibangirizi kyali emikono 70 obugazi n’emikono 90 obuwanvu; obunene bw’omubiri gw’ekisenge ky’ekizimbe ekyo bwali emikono etaano.
13 Yapima yeekaalu, era yali emikono 100 obuwanvu. Ekibangirizi, ekizimbe,* n’ekisenge kyakyo byali emikono 100. 14 Obugazi bwa yeekaalu mu maaso ku luuyi olutunudde ebuvanjuba n’ekibangirizi bwali emikono 100.
15 N’apima ekizimbe ekyali kitunudde mu kibangirizi ekyali emabega wa yeekaalu awamu n’embalaza zaakyo ku njuyi zombi, era byonna byali emikono 100.
Era n’apima Awatukuvu, n’Awasinga Obutukuvu,+ n’ebisasi eby’omu luggya, 16 n’emiryango egiyingira, n’amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda,+ n’embalaza ezaali mu bifo ebyo ebisatu. Ebisenge ebiriraanye omulyango byali bikubiddwako embaawo+ okuva wansi okutuuka ku madirisa; amadirisa nago gaali gabikkiddwako embaawo. 17 Waggulu w’omulyango oguyingira waapimibwa, awamu ne munda mu yeekaalu ne wabweru waayo, n’ekisenge kyayo kyonna okwetooloola. 18 Kyali kyoleddwako ebifaananyi bya bakerubi+ n’eby’enkindu,+ nga buli lukindu luli wakati wa bakerubi babiri, era buli kerubi yalina obwenyi bubiri. 19 Obwenyi obw’omuntu bwali butunuulidde olukindu ku ludda olumu, ate obwenyi bw’empologoma nga butunuulidde olukindu ku ludda olulala.+ Bwe bityo bwe byali byoleddwa ku bisenge bya yeekaalu yonna. 20 Ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu byali byoleddwa ku kisenge kya yeekaalu okuva wansi okutuuka waggulu w’omulyango oguyingira.
21 Emyango* gya yeekaalu gyali gyenkanankana ku njuyi zaagyo zonna ennya.+ Mu maaso g’ekifo ekitukuvu* waaliwo ekintu ekyali 22 ng’ekyoto eky’embaawo+ nga kya mikono esatu obugulumivu n’emikono ebiri obuwanvu. Enkondo zaakyo ez’oku nsonda, n’entobo* yaakyo, n’amabbali gaakyo byali bya mbaawo. Awo n’aŋŋamba nti: “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Yakuwa.”+
23 Awatukuvu n’ekifo ekitukuvu, wombi waaliwo enzigi bbiri bbiri.+ 24 Enzigi zaalina ebiwayi bibiri ebyewuubanga nga zeggula; buli luggi lwalina ebiwayi bibiri. 25 Ku nzigi za yeekaalu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu, ng’ebyo ebyali byoleddwa ku bisenge.+ Era ebweru mu maaso g’ekisasi waggulu, waaliwo akasolya ak’embaawo. 26 Ku njuyi zombi ez’ekisasi, ne ku bisenge eby’oku bbali ebyali byetoolodde yeekaalu, ne ku busolya obw’embaawo, kwaliko amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda+ n’ebifaananyi by’enkindu.
42 Awo n’antwala mu luggya olw’ebweru okwolekera ebukiikakkono,+ n’annyingiza mu kizimbe ekyalimu ebisenge ebiriirwamu ekyali okumpi n’ekibangirizi,+ ebukiikakkono w’ekizimbe ekyali kiriraanyeewo.+ 2 Ekizimbe ekyo kyali emikono* 100 obuwanvu ku ludda olwaliko omulyango ogw’ebukiikakkono, ate obugazi kyali emikono 50. 3 Oluggya olw’omunda lwali emikono 20 obugazi,+ n’ebisenge ebiriirwamu byali wakati w’oluggya olw’omunda n’akabalaza ak’amayinja amaaliire ak’oluggya olw’ebweru. Ebisenge ebiriirwamu byali bya myaliiro essatu era embalaza zaabyo zaali zitunuuliganye. 4 Mu maaso g’ebisenge ebiriirwamu waaliwo olukuubo+ lwa mikono kkumi obugazi n’emikono 100 obuwanvu.* Emiryango gy’ebisenge ebyo gyali ku ludda olw’ebukiikakkono. 5 Ebisenge ebiriirwamu eby’omwaliiro ogwa waggulu byali bifunda okusinga eby’omwaliiro ogwa wakati n’ogwa wansi, olw’okuba embalaza zaabyo zaali nnene. 6 Ekizimbe kyali kya myaliiro esatu, kyokka nga tekirina mpagi ng’ezo ezaali mu mpya. Omwaliiro ogwa waggulu kyegwava guba omutono okusinga ogwa wakati n’ogwa wansi.
7 Ekisenge ky’amayinja eky’ebweru ekyali kiriraanye ebisenge ebiriirwamu okwolekera oluggya olw’ebweru, nga kitunudde mu bisenge ebirala ebiriirwamu, kyali emikono 50 obuwanvu. 8 Ebisenge ebiriirwamu ebyali ku ludda olwaliko oluggya olw’ebweru byali emikono 50 obuwanvu, naye ebyo ebyali bitunudde mu yeekaalu byali emikono 100 obuwanvu. 9 Ekizimbe ekyalimu ebisenge ebiriirwamu kyalina omulyango oguyingira ku ludda olw’ebuvanjuba, mwe baayitiranga okubiyingiramu nga bava mu luggya olw’ebweru.
10 Emabega w’ekisenge eky’amayinja eky’oluggya ekyali ku ludda olw’ebuvanjuba okuliraana ekibangirizi n’ennyumba, nawo waaliwo ebisenge ebiriirwamu.+ 11 Mu maaso gaabyo, waaliwo olukuubo ng’olwo olwali mu maaso g’ebisenge ebiriirwamu eby’oku ludda olw’ebukiikakkono.+ Ebisenge ebyo byali byenkana obuwanvu n’obugazi. Byonna byalina emiryango egifuluma egifaanagana era nga ne pulaani yaabyo y’emu. Emiryango gyabyo 12 gyali ng’egyo egy’ebisenge ebiriirwamu eby’oku ludda olw’ebukiikaddyo. Olukuubo we lutandikira okumpi n’ekisenge eky’amayinja okwolekera ebuvanjuba waaliwo omulyango oguyingira, abantu we baayingiriranga.+
13 Awo n’aŋŋamba nti: “Ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikakkono n’ebisenge ebiriirwamu eby’ebukiikaddyo ebiriraanye ekibangirizi,+ bye bisenge ebiriirwamu ebitukuvu bakabona abagenda mu maaso ga Yakuwa mwe baliira ebiweebwayo ebisinga obutukuvu.+ Omwo mwe bateeka ebiweebwayo ebisinga obutukuvu, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga kifo kitukuvu.+ 14 Bakabona bwe bayingira mu kifo ekitukuvu, tebalina kufuluma kugenda mu luggya olw’ebweru nga tebamaze kwambulamu byambalo bye baweererezaamu,+ kubanga bitukuvu. Balina okwambala engoye endala ne balyoka bagenda mu bifo ebikkirizibwamu abantu abalala.”
15 Bwe yamala okupima munda mu yeekaalu,* n’anfulumya ng’ampisa mu mulyango ogutunudde ebuvanjuba,+ n’apima ekifo kyonna.
16 N’apima oludda olw’ebuvanjuba ng’akozesa olumuli olupima.* Era okusinziira ku lumuli olupima, obuwanvu bwawo bwali emmuli 500 okuva ku ludda olumu okutuuka ku lulala.
17 N’apima oludda olw’ebukiikakkono, era okusinziira ku lumuli olupima, lwali emmuli 500 obuwanvu.
18 N’apima oludda olw’ebukiikaddyo, era okusinziira ku lumuli olupima, lwali emmuli 500 obuwanvu.
19 Ne yeetooloola n’agenda ku ludda olw’ebugwanjuba, n’alupima n’olumuli, era lwali emmuli 500 obuwanvu.
20 N’apima ekifo ekyo kyonna ku njuyi zaakyo ennya. Kyali kyetooloddwa ekisenge+ kya mmuli 500 obuwanvu n’emmuli 500 obugazi,+ okwawula ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo.+
43 Awo n’antwala ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba.+ 2 Eyo ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva ebuvanjuba.+ Eddoboozi lye lyali ng’okuyira kw’amazzi;+ era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye.+ 3 Bye nnalaba byali ng’ebyo bye nnalaba mu kwolesebwa kwe nnafuna bwe nnagenda* okuzikiriza ekibuga, era byali ng’ebyo bye nnalaba bwe nnali okumpi n’Omugga Kebali;+ awo ne nzika ku maviivi ne nvunnama.
4 Awo ekitiibwa kya Yakuwa ne kiyingira mu yeekaalu* nga kiyita mu mulyango ogutunudde ebuvanjuba.+ 5 Omwoyo ne gunsitula ne guntwala mu luggya olw’omunda, ne ndaba nga yeekaalu ejjudde ekitiibwa kya Yakuwa.+ 6 Awo ne mpulira omuntu ayogera nange ng’ayima mu yeekaalu, era omusajja n’ajja n’ayimirira we nnali.+ 7 N’aŋŋamba nti:
“Omwana w’omuntu, kino kye kifo ky’entebe yange ey’obwakabaka+ era kye kifo ky’ebigere byange,+ we nnaabeeranga mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna.+ Ab’ennyumba ya Isirayiri ne bakabaka baabwe tebaliddamu kuvvoola linnya lyange ettukuvu+ olw’okwenda mu by’omwoyo n’olw’emirambo gya bakabaka baabwe nga bafudde. 8 Baateeka omulyango gwabwe okumpi n’omulyango gwange n’omwango gwabwe okumpi n’omwango gwange, nga kisenge kyokka kye kyawula nze nabo,+ ne bavvoola erinnya lyange ettukuvu nga bakola ebintu eby’omuzizo, kyennava mbazikiriza mu busungu bwange.+ 9 Kale ka baggyewo obwenzi bwabwe obw’eby’omwoyo n’emirambo gya bakabaka baabwe, babiteeke wala okuva we ndi, olwo nnaabeeranga mu bo emirembe gyonna.+
10 “Naye ggwe omwana w’omuntu, tegeeza ab’ennyumba ya Isirayiri kalonda yenna akwata ku yeekaalu,+ balyoke bakwatibwe ensonyi olw’ensobi zaabwe.+ Basaanidde okwekkaanya pulaani ya yeekaalu. 11 Bwe banaakwatibwa ensonyi olw’ebyo byonna bye bakoze, ojja kubategeeza pulaani ya yeekaalu, bw’efaanana, awafulumirwa, n’awayingirirwa.+ Ojja kubalaga pulaani ya yeekaalu yonna, n’amateeka gaayo n’ebiragiro byayo, era ojja kubiwandiika nga balaba, basobole okwetegereza pulaani yaayo yonna n’okukwata ebiragiro byayo.+ 12 Lino lye tteeka lya yeekaalu. Ekitundu kyonna ekyetoolodde entikko y’olusozi kitukuvu nnyo.+ Laba! Lino lye teeka lya yeekaalu.
13 “Bino bye bipimo by’ekyoto+ (buli mukono gwayongerwako ekibatu kimu).* Obugulumivu bw’entobo yaakyo buli omukono gumu, n’obugazi bwayo buli omukono gumu. Entobo yakyo eriko omugo gwa luta lw’engalo* lumu obugazi. Eyo ye ntobo y’ekyoto. 14 Okuva ku ntobo okutuuka ekitundu eky’okubiri we kitandikira waliwo obugulumivu bwa mikono ebiri n’omugo gwa mukono gumu obugazi. Okuva ku kitundu eky’okubiri okutuuka ekitundu eky’okusatu we kitandikira waliwo obugulumivu bwa mikono ena n’omugo gwa mukono gumu obugazi. 15 Ekitundu ky’ekyoto ekya waggulu ekibaako omuliro kya mikono ena obugulumivu, era kiriko amayembe ana.+ 16 Ekitundu ekyo enjuyi zaakyo ennya zenkanankana; kiri emikono 12 obuwanvu n’emikono 12 obugazi.+ 17 Ekitundu ky’ekyoto eky’okusatu kya mikono 14 obuwanvu n’emikono 14 obugazi, ku njuyi zaakyo ennya; n’omugo gwakyo guli ekitundu kimu kya kubiri eky’omukono, era n’entobo yaakyo ya mukono gumu ku njuyi zonna.
“Amadaala gaakyo gatunudde ebuvanjuba.”
18 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Bino bye binaagobererwa nga bakola ekyoto, ebiweebwayo ebyokebwa bisobole okuweebwayo ku kyo, n’omusaayi gusobole okumansirwa ku kyo.’+
19 “‘Bakabona Abaleevi ab’omu zadde lya Zadooki+ abajja mu maaso gange okumpeereza ojja kubawa ente ento ennume ebe ekiweebwayo olw’ekibi,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 20 ‘Ojja kutoola ku musaayi gwayo oguteeke ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’ekitundu ky’ekyoto eky’okusatu, ne ku mugo gwakyo gwonna, okusobola okukitukuza kiggweeko ekibi era n’okukitangirira.+ 21 Oluvannyuma ojja kutwala ente eyo ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ogyokere ebweru w’ekifo ekitukuvu, mu kifo ekyalagirwa ekya yeekaalu.+ 22 Ku lunaku olw’okubiri ojja kuwaayo embuzi ennume ennamu obulungi okuba ekiweebwayo olw’ekibi; era bajja kutukuza ekyoto kiggweeko ekibi, nga bwe baakitukuza n’omusaayi gw’ente ento ennume.’
23 “‘Bw’onoomala okutukuza ekyoto, ojja kuwaayo ente ento ennume ennamu obulungi, n’endiga ennume ennamu obulungi. 24 Ojja kuzireeta eri Yakuwa, era bakabona bajja kuzimansirako omunnyo+ baziweeyo eri Yakuwa okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 25 Okumala ennaku musanvu onoowangayo buli lunaku embuzi ennume ey’ekiweebyayo olw’ekibi,+ awamu n’ente ento ennume n’endiga ennume; ojja kuwangayo ebisolo ebiramu obulungi.* 26 Bajja kumala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto, era balina okukitukuza basobole okukitongoza. 27 Ennaku ezo bwe zinaggwaako, okuva ku lunaku olw’omunaana+ n’okweyongerayo, bakabona bajja kuwangayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe* ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe ez’emirembe; era nange nja kubasanyukira,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
44 Awo n’anzizaayo ku mulyango gwa yeekaalu ogw’ebweru, ogutunudde ebuvanjuba,+ naye gwali muggale.+ 2 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Omulyango guno gunaabanga muggale. Teguggulwengawo, era tewali muntu yenna anaaguyitangamu; Yakuwa Katonda wa Isirayiri aguyiseemu,+ n’olwekyo gulina okusigala nga muggale. 3 Naye omwami anaagutuulangamu n’aliira emmere mu maaso ga Yakuwa,+ kubanga mwami. Anaayingiriranga mu kisasi ky’oku mulyango, era omwo mw’anaafulumiranga.”+
4 Awo n’ampisa mu mulyango ogw’ebukiikakkono n’antuusa mu maaso ga yeekaalu. Bwe nnatunula, ne ndaba ng’ekitiibwa kya Yakuwa kijjudde yeekaalu ya Yakuwa,+ ne nzika ku maviivi ne nvunnama.+ 5 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu ssaayo omwoyo, weetegereze, era wuliriza bulungi ebyo byonna bye nkugamba ebikwata ku mateeka n’ebiragiro bya yeekaalu ya Yakuwa. Weetegereze nnyo omulyango oguyingira mu yeekaalu n’emiryango gyonna egifuluma mu kifo ekitukuvu.+ 6 Gamba ab’ennyumba ya Isirayiri abajeemu nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, muyitirizza okukola ebintu eby’omuzizo. 7 Muleeta mu kifo kyange ekitukuvu abagwira abatali bakomole mu mutima ne mu mubiri ne boonoona yeekaalu yange. Muwaayo omugaati gwange, amasavu, n’omusaayi, ng’eno endagaano yange bw’emenyebwa olw’ebikolwa byammwe byonna eby’omuzizo. 8 Temufuddeeyo ku bintu byange ebitukuvu,+ era abalala be muwadde okukola emirimu egy’omu kifo kyange ekitukuvu.”’
9 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Omugwira yenna abeera mu Isirayiri, atali mukomole mu mutima ne mu mubiri tayingiranga mu kifo kyange ekitukuvu.”’
10 “‘Naye Abaleevi abaawaba ne bagenda ewala okuva we ndi+ ng’Abayisirayiri banvuddeko ne bagoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza,* bajja kwolekagana n’ebyo ebinaava mu nsobi zaabwe. 11 Bajja kuweereza mu yeekaalu yange nga be balabirira emiryango gya yeekaalu+ n’okuweereza ku yeekaalu. Be banattiranga abantu ensolo ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’eza ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso g’abantu okubaweereza. 12 Olw’okuba baaweerezanga abantu mu maaso g’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza ne bafuuka enkonge eyaviirako ab’ennyumba ya Isirayiri okwonoona,+ eyo ye nsonga lwaki ngolodde omukono gwange ne ndayira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘era bajja kwolekagana n’ebyo ebinaava mu nsobi zaabwe. 13 Tebajja kujja mu maaso gange kuweereza nga bakabona bange era tebajja kusemberera kintu kyange kyonna ekitukuvu oba ekisinga obutukuvu, era bajja kuswala olw’ebintu eby’omuzizo bye baakola. 14 Naye nja kubawa obuvunaanyizibwa mu yeekaalu, bakole emirimu gyamu n’ebintu ebirala ebirina okukolebwamu.’+
15 “‘Naye bakabona Abaleevi abaana ba Zadooki,+ abaakolanga emirimu egy’omu yeekaalu yange ng’Abayisirayiri banvuddeko,+ banajjanga mu maaso gange ne bampeereza, era banaayimiriranga mu maaso gange ne bawaayo gye ndi amasavu+ n’omusaayi,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 16 ‘Abo be banaayingiranga mu kifo kyange ekitukuvu, era be banaasemberanga awali emmeeza yange okumpeereza;+ banaatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe nnabawa.+
17 “‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya kitaani.+ Tebambalanga byambalo bya byoya by’endiga nga baweereza mu miryango gy’oluggya olw’omunda oba munda mu luggya. 18 Banaasibanga ebiremba ebya kitaani ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga empale ennyimpi eza kitaani.+ Tebambalanga kintu kyonna ekibatuuyanya. 19 Bwe banaabanga tebannafuluma kugenda mu luggya olw’ebweru awali abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu+ ne babiteeka mu bisenge ebitukuvu ebiriirwamu.+ Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ebyambalo byabwe bireme okuleeta obutukuvu ku bantu.* 20 Bakabona tebamwangako nviiri zaabwe ku mutwe+ era tebakuzanga nviiri zaabwe ne ziwanvuwa. Naye banaazikendeezangako ne balekako ensaamusaamu. 21 Tebanywanga mwenge nga bayingidde mu luggya olw’omunda.+ 22 Kabona tawasanga nnamwandu oba omukazi eyagattululwa ne bba,+ wabula awasanga omuwala Omuyisirayiri embeerera oba nnamwandu eyali muka kabona.’+
23 “‘Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo eriwo wakati w’ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo, n’enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.+ 24 Banaabanga balamuzi,+ era banaasalanga emisango nga bagoberera amateeka gange.+ Banaakwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange ebikwata ku mbaga zange zonna,+ era banaatukuzanga ssabbiiti zange. 25 Kabona tasembereranga mufu yenna, aleme kufuuka atali mulongoofu. Naye asobola okufuuka atali mulongoofu olwa kitaawe, nnyina, mutabani we, muwala we, muganda we, oba mwannyina atali mufumbo.+ 26 Kabona bw’anaamalanga okutukuzibwa, banaamubaliranga ennaku musanvu n’alyoka addamu okuweereza. 27 Ku lunaku lw’anaayingiranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya olw’omunda, okuweereza mu kifo ekitukuvu, anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
28 “‘Buno bwe bunaaba obusika bwabwe: nze busika bwabwe.+ Temubawanga mugabo gwonna mu Isirayiri, kubanga nze mugabo gwabwe. 29 Be banaalyanga ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ebiweebwayo olw’ekibi,+ n’ebiweebwayo olw’omusango,+ era ebintu byonna ebinaayawulibwangawo okuba ebitukuvu mu Isirayiri binaabanga byabwe.+ 30 Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka okwengera ne ku bintu byonna bye muwaayo gye ndi, binaabanga bya bakabona.+ Era bakabona munaabawanga ku buwunga obulimu empulunguse bwe munaasookanga okusekula.+ Ekyo kijja kuweesa amaka gammwe emikisa.+ 31 Bakabona tebalyanga kinyonyi oba ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa.’+
45 “‘Bwe munaagabanyaamu ensi okuba obusika,+ munaawaayo eri Yakuwa ekitundu ku nsi yammwe okuba ekitundu ekitukuvu.+ Ekitundu ekyo kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu, n’emikono* 10,000 obugazi.+ Kyonna kijja kuba kitundu kitukuvu. 2 Mu kyo mujja kubaamu ekitundu ekyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya ekinaabaamu ekifo ekitukuvu; kijja kuba emikono 500 obuwanvu n’emikono 500 obugazi;+ era kijja kuba kyetooloddwa ettaka ery’okulundirako, nga lya mikono 50.+ 3 Ku kitundu ekyo ojja kupimako ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi, era omwo mwe mujja okuba yeekaalu, ekintu ekisingayo obutukuvu. 4 Kijja kuba kitundu kitukuvu nga kya bakabona+ abaweereza mu kifo ekitukuvu, abajja mu maaso ga Yakuwa okumuweereza.+ Omwo mwe mujja okuba ennyumba zaabwe n’ekifo ekitukuvu ekya yeekaalu.
5 “‘Abaleevi, abaweereza b’omu yeekaalu, bajja kuweebwa ettaka lya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi,+ era bajja kuba n’ebisenge ebiriirwamu 20.+
6 “‘Ekibuga mujja kukirekerawo ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu, (ng’obuwanvu bwakyo bwenkana n’obw’ekitundu ekitukuvu) n’emikono 5,000 obugazi.+ Kijja kuba kya nnyumba ya Isirayiri yonna.
7 “‘Omwami ajja kuba n’ettaka ku njuyi zombi ez’ekitundu ekitukuvu era ne ku njuyi zombi ez’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba liriraanye ekitundu ekitukuvu n’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba ku luuyi olw’ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba. Obuwanvu bwalyo okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba, bujja kuba bwenkana n’obuwanvu bw’erimu ku ttaka ly’ebika bya Isirayiri.+ 8 Ettaka eryo lijja kuba lirye mu Isirayiri. Abaami bange tebajja kuddamu kunyigiriza bantu bange,+ era ensi bajja kugigabanyizaamu ab’ennyumba ya Isirayiri ng’ebika byabwe bwe biri.’+
9 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mmwe abaami ba Isirayiri muyitirizza!’
“‘Mukomye ebikolwa byammwe eby’obukambwe n’okunyigiriza abantu, mukole eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu.+ Mulekere awo okunyaga ebintu by’abantu bange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 10 ‘Mukozese minzaani entuufu, n’ebipimo bya efa* ne basi* ebituufu.+ 11 Walina okubaawo ekipimo eky’enkalakkalira ekya efa n’ekya basi. Ekipimo kya basi kirina kuba kimu kya kkumi ekya komeri,* ate efa erina kuba kimu kya kkumi ekya komeri. Komeri y’ejja okuba ekipimo ekinaasinziirwangako okupima. 12 Sekeri*+ ejja kuba yenkana gera* 20. Sekeri 20 gattako sekeri 25 gattako sekeri 15 zijja kuba zenkana maane* emu.’
13 “‘Bino bye munaawangayo: kimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri y’eŋŋaano, n’ekimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri ya ssayiri. 14 Omugabo gw’amafuta g’ezzeyituuni gujja kupimibwanga mu kipimo kya basi. Basi yenkana kimu kya kkumi ekya koro,* era basi kkumi zenkana komeri emu, kubanga komeri emu yenkana basi kkumi. 15 Okuva mu ndiga za Isirayiri mujja kuwangayo endiga emu ku buli ndiga 200. Ezo zijja kuba za kiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa,+ ne ssaddaaka ez’emirembe,+ okusobola okutangirira ebibi by’abantu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
16 “‘Abantu bonna mu Isirayiri bajja kuwanga omwami wa Isirayiri ebintu ebyo.+ 17 Omwami oyo y’anaavunaanyizibwanga ku biweebwayo ebyokebwa,+ ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,+ n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa mu kiseera ky’embaga,+ ne ku kuboneka kw’omwezi, ne ku Ssabbiiti,+ ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri.+ Y’anaategekanga ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekiweebwayo ekyokebwa, ne ssaddaaka ez’emirembe, okusobola okutangirira ebibi by’ab’ennyumba ya Isirayiri.’
18 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku olusooka, mu mwezi ogusooka, oddiranga ente ento ennume ennamu obulungi, n’otukuza yeekaalu n’evaako ekibi.+ 19 Kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agussa ku mwango gwa yeekaalu+ ne ku nsonda ennya ez’ekitundu ky’ekyoto ekyokusatu, ne ku mwango gw’omulyango ogw’oluggya olw’omunda. 20 Ekyo ky’onookolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lwa buli muntu anaakolanga ekibi mu butamanya oba nga tagenderedde;+ era mujja kutangirira yeekaalu.+
21 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogusooka, munaakwatanga embaga ey’Okuyitako.+ Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.+ 22 Ku lunaku olwo, omwami anaategekanga ente ento ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu Isirayiri.+ 23 Mu nnaku omusanvu ez’embaga, buli lunaku anaategekanga ente ento ennume musanvu n’endiga ennume musanvu ennamu obulungi okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa,+ era buli lunaku anaategekanga embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw’ekibi. 24 Era anaategekanga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, efa emu ku buli nte ento ennume, ne efa emu ku buli ndiga ennume, ne yini* emu ey’amafuta g’ezzeyituuni ku buli efa.
25 “‘Ne ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano, mu mwezi ogw’omusanvu, mu nnaku omusanvu ez’embaga,+ anaategekanga ekiweebwayo kye kimu olw’ekibi, ekiweebwayo kye kimu ekyokebwa, ekiweebwayo kye kimu eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ge gamu ag’ezzeyituuni.’”
46 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Omulyango gw’oluggya olw’omunda ogutunudde ebuvanjuba+ gunaabanga muggale+ mu nnaku omukaaga+ ezikolerwamu emirimu, naye gunaggulwanga ku Ssabbiiti ne ku lunaku olw’okuboneka kw’omwezi. 2 Omwami anaayingiriranga mu kisasi ky’oku mulyango,+ n’ayimirira okumpi n’omwango gw’omulyango. Bakabona banaawangayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ne ssaddaaka ze ez’emirembe, era anaavunnamanga ku mulyango, olwo n’alyoka afuluma. Naye omulyango gunaasigalanga muggale okutuusa akawungeezi. 3 Ku Ssabbiiti ne ku kuboneka kw’omwezi+ abantu b’omu nsi nabo banaavunnamanga ku mulyango ogwo mu maaso ga Yakuwa.
4 “‘Ekiweebwayo ekyokebwa omwami ky’anaaleetanga eri Yakuwa ku Ssabbiiti kinaabanga endiga ento ennume mukaaga, ennamu obulungi, n’endiga emu ennume ennamu obulungi.+ 5 Ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’oku ndiga ennume kinaabanga efa* emu, ate ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo. Ku buli efa+ anaaleeterangako yini* y’amafuta g’ezzeyituuni. 6 Ku lunaku olw’okuboneka kw’omwezi, ekiweebwayo kinaabanga ente ento ennume ennamu obulungi, endiga ento ennume mukaaga, n’endiga ennume emu, nga zonna nnamu bulungi.+ 7 Ku nte ento ennume anaaleeterangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ne ku ndiga ennume anaaleeterangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo. Era ku buli efa anaaleeterangako yini y’amafuta g’ezzeyituuni.
8 “‘Omwami bw’anaayingiranga, anaayingiriranga mu kisasi eky’oku mulyango, era omwo mw’anaafulumiranga.+ 9 Abantu bwe banajjanga mu maaso ga Yakuwa mu kiseera eky’embaga,+ abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw’ebukiikakkono okusinza+ banaafulumiranga mu mulyango ogw’ebukiikaddyo,+ n’abo abanaayingiriranga mu mulyango ogw’ebukiikaddyo banaafulumiranga mu mulyango ogw’ebukiikakkono. Tewabangawo n’omu afulumira mu mulyango gwe yayingiriddemu, wabula banaafulumiranga mu mulyango ogutunuuliganye n’ogwo mwe baayingiridde. 10 Omwami ali mu bo anaayingiranga nga bayingira era anaafulumanga nga bafuluma. 11 Mu kiseera eky’embaga n’eky’enkuŋŋaana entukuvu, ku nte ento ennume kunaagenderangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ne ku ndiga ennume kunaagenderangako efa emu ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke. Ku ndiga ento ennume anaaleeterangako kyonna ky’anaasobolanga okuwaayo, era ku buli efa+ anaaleeterangako yini y’amafuta g’ezzeyituuni.
12 “‘Omwami bw’anaategekanga ekiweebwayo ekyokebwa+ oba ssaddaaka ez’emirembe ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire eri Yakuwa, banaamuggulirangawo omulyango ogutunudde ebuvanjuba, n’ategeka ekiweebwayo kye ekyokebwa ne ssaddaaka ze ez’emirembe nga bw’akola ku lunaku olwa Ssabbiiti.+ Ng’amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.+
13 “‘Buli lunaku onootegekanga endiga ento ennume ey’omwaka ogumu ennamu obulungi okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa.+ Onookolanga bw’otyo buli ku makya. 14 Era buli ku makya onoogitegekerangako kimu kya mukaaga ekya efa ey’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ekimu kya kusatu ekya yini ey’amafuta g’ezzeyituuni ag’okumansira ku buwunga obutaliimu mpulunguse okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaaweebwangayo eri Yakuwa buli lunaku. Lino tteeka lya lubeerera. 15 Buli ku makya banaategekanga endiga ento ennume, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’amafuta g’ezzeyituuni okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku.’
16 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Omwami bw’awanga buli omu ku baana be ekirabo ng’obusika, obusika obwo bunaabanga bwa baana be. Bunaabanga busika bwabwe. 17 Naye ku busika bwe bw’anaggyangako ekirabo n’akiwa omu ku baweereza be, kinaabanga kikye okutuuka mu mwaka ogw’eddembe,+ olwo ne kiryoka kiddira omwami. Naye ekyo ky’anaabanga awadde abaana be kinaabanga kyabwe lubeerera. 18 Omwami tagobanga bantu bange ku ttaka lyabwe n’atwala obusika bwabwe. Abaana be anaabawanga obusika okuva ku ttaka lye, waleme kubaawo n’omu ku bantu bange agobebwa ku ttaka lye.’”
19 Awo n’annyingiza ng’ampisa mu mulyango+ ogwali guliraanye omulyango oguyingira mu bisenge ebitukuvu ebiriirwamu ebya bakabona, ebyali bitunudde ebukiikakkono,+ era ne ndaba ekifo emabega okwolekera ebugwanjuba. 20 Awo n’aŋŋamba nti: “Ekyo kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw’omusango n’ekiweebwayo olw’ekibi, era we banaafumbiranga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ baleme okutwala ekintu kyonna mu luggya olw’ebweru ne baleeta obutukuvu ku bantu.”*+
21 Awo n’anfulumya n’antwala mu luggya olw’ebweru, n’ampisa ku nsonda ennya ez’oluggya olwo, ne ndaba nga ku buli nsonda waliwo oluggya. 22 Ku buli emu ku nsonda ennya ez’oluggya waaliwo oluggya olutonotono, nga lwa mikono* 40 obuwanvu n’emikono 30 obugazi. Empya ezo zonna zaali zenkanankana. 23 Zonna ennya zaalina embu z’amayinja wonna okwetooloola, era wansi waago baali bazimbyewo aw’okufumbiranga ebiweebwayo. 24 Awo n’aŋŋamba nti: “Bino bye biyungu abo abaweereza mu yeekaalu mwe banaafumbiranga ssaddaaka abantu ze bawaayo.”+
47 Awo n’anzizaayo ku mulyango oguyingira mu yeekaalu,+ ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu,+ nga gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, kubanga yeekaalu yali etunudde buvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku ludda olwa ddyo olwa yeekaalu, ebukiikaddyo w’ekyoto.
2 Awo n’anfulumya ng’ampisa mu mulyango ogw’ebukiikakkono,+ n’antwala ebweru n’anneetoolooza okutuuka ku mulyango gw’ebweru ogutunudde ebuvanjuba,+ ne ndaba amazzi agakulukuta okuva ku luuyi olwa ddyo.
3 Omusajja n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba, ng’akutte omuguwa ogupima,+ n’apima emikono* 1,000, n’ampisa mu mazzi; amazzi gaali gankoma mu bukongovvule.
4 N’apima nate emikono emirala 1,000, n’ampisa mu mazzi, era gaali gankoma mu maviivi.
N’apima emikono emirala 1,000, n’ampisa mu mazzi, era gaali gankoma mu kiwato.
5 Bwe yapima nate emikono emirala 1,000, amazzi gaali ng’omugga, nga siyinza kugusomoka; olw’okuba amazzi gaali mawanvu nnyo, ng’omuntu alina kuwuga buwuzi, nga tasobola kugayitamu ku bigere.
6 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ekyo okirabye?”
Awo n’aŋŋamba ntambule nzireyo ku lubalama lw’omugga. 7 Bwe nnaddayo, ne ndaba nga ku lubalama lw’omugga kuliko emiti mingi ku njuyi zaagwo zombi.+ 8 Awo n’aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, ne gaserengeta ne gayita mu Alaba,*+ ne gayiika mu nnyanja.* Bwe gatuuka mu nnyanja,+ amazzi gaayo ne galongooka. 9 Mu buli kifo amazzi ago gye ganaakulukutira* ebibinja by’ebiramu bijja kusobola okuba ebiramu. Ejja kubaayo ebyennyanja bingi nnyo olw’okuba amazzi ago gajja kukulukutirayo. Amazzi g’ennyanja gajja kulongooka, era ebintu byonna bijja kuba biramu yonna omugga guno gye gunaatuuka.
10 “Abavubi bajja kuyimirira ku mabbali g’ennyanja okuva Eni-gedi+ okutuuka Enegulayimu, awajja okuba ekifo eky’okwanikamu obutimba. Wajja kubaayo ebika by’ebyennyanja bingi, ng’ebyennyanja ebiri mu Nnyanja Ennene.*+
11 “Ennyanja eyo ejja kuba n’ebisenyi n’entobazi, era ebyo tebijja kulongooka. Bijja kufuuka bya lunnyo.+
12 “Emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebiriibwa gijja kumera eruuyi n’eruuyi ku lubalama lw’omugga ogwo. Ebikoola byagyo tebijja kuwotoka era tegiireme kussaako bibala. Buli mwezi gijja kubala ebibala ebiggya, kubanga gifuna amazzi agakulukuta okuva mu kifo ekitukuvu.+ Ebibala byagyo binaabanga mmere, ate ebikoola byagyo binaabanga ddagala eriwonya.”+
13 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Kino kye kitundu kye mujja okugabanyizaamu ebika 12 ebya Isirayiri okuba obusika bwabwe, era Yusufu ajja kufuna emigabo ebiri.+ 14 Mujja kukisikira era mufune emigabo egyenkanankana.* Nnalayira ensi eno okugiwa bajjajjammwe+ era kaakano ebaweereddwa okuba obusika bwammwe.
15 “Eno ye nsalo y’ensi ku luuyi olw’ebukiikakkono: Eva ku Nnyanja Ennene n’eyita ku kkubo erigenda e Kesulooni+ okwolekera e Zedada,+ 16 e Kamasi,+ e Berosa,+ n’e Sibulayimu, ekiri wakati w’ensalo ya Ddamasiko ne Kamasi, n’etuuka e Kazeru-kattikoni ekiri ku nsalo ya Kawulaani.+ 17 Kale ensalo ejja kuva ku nnyanja etuuke e Kazalu-enaani,+ ekiri ku nsalo ya Ddamasiko ku luuyi olw’ebukiikakkono, n’ensalo y’e Kamasi.+ Eno ye nsalo ey’ebukiikakkono.
18 “Ensalo ey’ebuvanjuba ejja kuva wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko eyite ku Yoludaani wakati wa Gireyaadi+ n’ensi ya Isirayiri. Mujja kupima okuva ku nsalo okutuuka ku nnyanja ey’ebuvanjuba.* Eyo ye nsalo ey’ebuvanjuba.
19 “Ensalo ey’ebukiikaddyo ejja kuva e Tamali etuuke ku mazzi g’e Meribasu-kadesi,+ awo egende mu Kiwonvu* yeeyongereyo ku Nnyanja Ennene.+ Eyo ye nsalo ey’ebukiikaddyo.
20 “Ku ludda olw’ebugwanjuba eriyo Ennyanja Ennene, okuva ku nsalo okutuuka mu kifo ekitunuuliganye ne Lebo-kamasi.*+ Eyo ye nsalo ey’ebugwanjuba.”
21 “Mujja kugabana ensi eno, mujja kugigabana okusinziira ku bika 12 ebya Isirayiri. 22 Mujja kugigabanyaamu ebe obusika gye muli n’eri abagwira ababeera mu mmwe, abazaalidde mu mmwe abaana, era mujja kubatwala ng’enzaalwa za Isirayiri. Bajja kuweebwa obusika mu bika bya Isirayiri awamu nammwe. 23 Omugwira mujja kumuwa obusika mu kitundu ky’ekika mwe yasenga,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
48 “Gano ge mannya g’ebika okuva ku nsalo ey’ebukiikakkono: Ekitundu kya Ddaani+ kiyita ku kkubo ly’e Kesulooni ne kigenda e Lebo-kamasi,*+ n’e Kazalu-enaani, okuyita ku nsalo ya Ddamasiko ku ludda olw’ebukiikakkono, emabbali ga Kamasi;+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 2 Ekitundu kya Aseri+ kiriraanye ensalo ya Ddaani, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 3 Ekitundu kya Nafutaali+ kiriraanye ensalo ya Aseri, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 4 Ekitundu kya Manase+ kiriraanye ensalo ya Nafutaali, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 5 Ekitundu kya Efulayimu kiriraanye ensalo ya Manase,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 6 Ekitundu kya Lewubeeni kiriraanye ensalo ya Efulayimu,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 7 Ekitundu kya Yuda kiriraanye ensalo ya Lewubeeni,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 8 Ku nsalo ya Yuda, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba, mujja kulekawo ekitundu kya mikono* 25,000 obugazi,+ era obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana obw’ebitundu by’ebika ebirala okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. Ekifo ekitukuvu kijja kuba wakati mu kitundu ekyo.
9 “Ekitundu kye munaayawulawo okuba ekya Yakuwa kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi. 10 Ekitundu kino ekitukuvu kijja kuba kya bakabona.+ Kijja kuba emikono 25,000 ku luuyi olw’ebukiikakkono, emikono 10,000 ku luuyi olw’ebugwanjuba, emikono 10,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 25,000 ku luuyi olw’ebukiikaddyo. Yeekaalu ya Yakuwa ejja kuba wakati mu kyo. 11 Kijja kuba kya bakabona abatukuziddwa ab’omu zzadde lya Zadooki,+ abaatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe gye ndi, era abataawaba, Abayisirayiri n’Abaleevi bwe baawaba.+ 12 Bajja kuweebwa ekitundu okuva ku kitundu ekyawuliddwawo ng’ekisingayo okuba ekitukuvu, ekiri ku nsalo y’Abaleevi.
13 “Abaleevi bajja kuba n’ekitundu nga kiriraanye ekya bakabona. Kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi. (Ekitundu kyonna awamu kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi.) 14 Ekitundu kino kye kisingayo obulungi mu nsi; tebakitundangako, era tebakiwaanyisangamu ekirala, wadde okukigabira abalala, kubanga kintu kitukuvu eri Yakuwa.
15 “Ekitundu ekisigaddewo eky’emikono 5,000 obugazi n’emikono 25,000 obuwanvu, kijja kukozesebwa abantu b’omu kibuga.+ Kijja kuba kya kuzimbamu n’okulundiramu, era ekibuga kijja kuba wakati mu kitundu ekyo.+ 16 Bino bye bipimo by’ekibuga: ensalo ey’ebukiikakkono emikono 4,500, ensalo ey’ebukiikaddyo emikono 4,500, ensalo ey’ebuvanjuba emikono 4,500, n’ensalo ey’ebugwanjuba emikono 4,500. 17 Ettaka ly’ekibuga ery’okulundirako lijja kuba emikono 250 ku luuyi olw’ebukiikakkono, emikono 250 ku luuyi olw’ebukiikaddyo, emikono 250 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 250 ku luuyi olw’ebugwanjuba.
18 “Ekitundu ekisigaddewo kijja kuba nga kyenkana n’ekitundu ekitukuvu obuwanvu.+ Kijja kuba emikono 10,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 10,000 ku luuyi olw’ebugwanjuba. Obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana n’obw’ekitundu ekitukuvu. Emmere eneerimwangamu ejja kuba y’abo abakola emirimu gy’ekibuga. 19 Abo abakola emirimu gy’ekibuga, abava mu bika byonna ebya Isirayiri, be banaakirimirangamu.+
20 “Ekitundu kyonna ekitukuvu kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, era buli luuyi lwa mikono 25,000. Ekitundu ekyo ojja kukyawulawo ng’ekitundu ekitukuvu awamu n’ettaka ly’ekibuga.
21 “Ekitundu ekinaaba kisigaddewo ku njuyi zombi ez’ekitundu ekitukuvu n’ettaka ly’ekibuga, kijja kuba kya mwami.+ Kijja kuba kiriraanye ensalo ez’emikono 25,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba n’olw’ebugwanjuba w’ekitundu ekitukuvu. Obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana n’obw’ebitundu ebikiriraanye era kijja kuba kya mwami. Ekitundu ekitukuvu n’ekifo ekitukuvu ekya yeekaalu bijja kuba mu kitundu ekyo wakati.
22 “Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga bijja kuba wakati w’ekitundu ky’omwami. Ekitundu ky’omwami kijja kuba wakati w’ensalo ya Yuda+ n’eya Benyamini.
23 “Bino bye bijja okuba ebitundu by’ebika ebirala ebisigaddewo: Ekitundu kya Benyamini kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.+ 24 Ekitundu kya Simiyoni kiriraanye ensalo ya Benyamini,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 25 Ekitundu kya Isakaali+ kiriraanye ensalo ya Simiyoni, kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 26 Ekitundu kya Zebbulooni kiriraanye ensalo ya Isakaali,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.+ 27 Ekitundu kya Gaadi kiriraanye ensalo ya Zebbulooni,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. 28 Ensalo ey’ebukiikaddyo eriraanye ensalo ya Gaadi eva e Tamali+ n’etuuka ku mazzi g’e Meribasu-kadesi,+ ne ku Kiwonvu,*+ ne yeeyongerayo ku Nnyanja Ennene.*
29 “Eno ye nsi gye munaagabanyizaamu ebika bya Isirayiri+ okuba obusika bwabwe, era egyo gye ginaaba emigabo gyabwe,”+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
30 “Gino gye ginaaba emiryango egifuluma mu kibuga: Oludda olw’ebukiikakkono lujja kuba emikono 4,500.+
31 “Emiryango gy’ekibuga gijja kutuumibwa amannya okusinziira ku mannya g’ebika bya Isirayiri. Emiryango esatu egy’oku luuyi olw’ebukiikakkono, ogumu gujja kuba gwa Lewubeeni, omulala gwa Yuda, n’omulala nga gwa Leevi.
32 “Oluuyi olw’ebuvanjuba lujja kuba emikono 4,500 obuwanvu, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Yusufu, omulala gwa Benyamini, n’omulala nga gwa Ddaani.
33 “Oluuyi olw’ebukiikaddyo lujja kuba emikono 4,500, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Simiyoni, omulala gwa Isakaali, n’omulala nga gwa Zebbulooni.
34 “Oluuyi olw’ebugwanjuba lujja kuba emikono 4,500 obuwanvu, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Gaadi, omulala gwa Aseri, n’omulala nga gwa Nafutaali.
35 “Bbugwe ajja kuba emikono 18,000. Era okuva ku olwo erinnya ly’ekibuga ekyo linaabanga, Yakuwa Ali Omwo.”+
Litegeeza, “Katonda Agumya.”
Oba, “n’okumyansa kw’eggulu.”
Ekyuma ekimasamasa ekyakolebwa mu zzaabu ne ffeeza.
Obut., “omwoyo gw’ekiramu.”
Ebigambo “omwana w’omuntu” bikozesebwa emirundi 93 mu kitabo kya Ezeekyeri, era nga guno gwe mulundi ogusooka.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “wadde ng’abantu bakakanyavu era nga balinga ebintu ebikufumita.”
Oba, “omuzingo gw’ekitabo.”
Obut., “lya ky’osanga.”
Obut., “eri abaana b’abantu bo.”
Oba, “ebitali bya bwenkanya.”
Obut., “oluteekeko,” kwe kugamba, oludda lwa Ezeekyeri olwa kkono.
Laba obugambo obuli wansi ku Is 28:25.
Gramu nga 230. Laba Ebyong. B14.
Lita nga 0.6. Laba Ebyong. B14.
Obut., “kumenya emiti gy’emigaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.
Obut., “eri buli mpewo.”
Obut., “eri buli mpewo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 4:16.
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Oba, “emigwenyufu.”
Oba, “agayenda ku.”
Kwe kugamba, abo abatunda ebintu n’abo ababigula tebajja kuganyulwa kubanga bonna bajja kuzikirizibwa.
Kwe kugamba, omusulo gujja kubayitamu olw’okutya.
Obut., “babikkiddwa okukankana.”
Kwe kugamba, emitwe gyabwe gijja kumwebwako enviiri olw’okukungubaga.
Kirabika kitegeeza awo awasingayo okuba munda mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu.
Kwe kugamba, enjegere ez’obuwambe.
Oba, “ajja kunakuwala.”
Ekyuma ekimasamasa ekyakolebwa mu zzaabu ne ffeeza.
Obut., “wakati w’ensi n’eggulu.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Oboolyawo lino lyali ttabi lye baakozesanga mu kusinza okw’obulimba.
Obut., “ekyo kye kiramu kye.”
Obut., “omwoyo gw’ekiramu.”
Obut., “ekyo kye kiramu kye.”
Kwe kugamba, ekibuga Yerusaalemi Abayudaaya mwe baali basuubira nti mwe bandifunidde obukuumi.
Oba, “entamu ey’omumwa omugazi.”
Oba, “ebiri mu mwoyo gwammwe.”
Obut., “omutima gumu.”
Kwe kugamba, omutima ogukolera ku bulagirizi bwa Katonda.
Obut., “ennyumba ya.”
Oba, “abalagula ebyo ebiri mu mitima gyabwe.”
Kwe kugamba, ensiriba ezaasibibwanga ku mikono.
Oba, “saaleetera bulumi.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Obut., “Nja kukwasa ab’ennyumba ya Isirayiri mu mitima gyabwe.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 4:16.
Oba, “ne zigimalamu abaana.”
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 25:5.
Obut., “Erinnya.”
Kwe kugamba, ebifaananyi ebisajja ebisinzibwa.
Obut., “ng’obayisa.”
Obut., “ng’oyanjuluza amagulu go eri.”
Obut., “baliraanwa bo ab’omubiri omunene.”
Obut., “nsi ya Kanani.”
Oba, “munafu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nga nkusunguwalidde nnyo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Obut., “ali ku luuyi lwo olwa kkono.”
Oboolyawo kitegeeza obubuga obukyetoolodde.
Obut., “ali ku luuyi lwo olwa ddyo.”
Obut., “Bwe nnaatangirira ebibi byo.”
Obut., “mu nsi ya Kanani.”
Kwe kugamba, Nebukadduneeza.
Kwe kugamba, Zeddeekiya.
Obut., “yawaayo omukono gwe.”
Obut., “eri buli mpewo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Obut., “ayiwa omusaayi.”
Obut., “kujjukirwa.”
Oba, “ebitali bya bwenkanya.”
Obut., “mwekolere.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’omuzabbibu mu nnimiro yo y’emizabbibu.”
Obut., “nnayimusa omukono gwange eri.”
Oba, “gye nnabakettera.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Kwe kugamba, eri Abayisirayiri.
Kwe kugamba, Abayisirayiri.
Obut., “eriiso lyange lyabakwatirwa.”
Kwe kugamba, Abayisirayiri.
Obut., “amaaso gaabwe gaagoberera.”
Obut., “baayisanga.”
Obut., “nga muyisa.”
Obut., “abaweereza.”
Kwe kugamba, omusulo gujja kubayitamu olw’okutya.
Kwe kugamba, ekitala kya Yakuwa.
Oba, “Ddamula tejja.”
Obut., “omukono gulina.”
Obut., “baterafi.”
Kwe kugamba, abantu b’omu Yerusaalemi.
Obut., “n’omukono.”
Obut., “ku nsingo z’abo abanattibwa.”
Obut., “onoosala omusango, onoosala omusango.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Oba, “ne bamulekwa.”
Obut., “babikkula obwereere bwa kitaabwe.”
Litegeeza, “Weema Ye.”
Litegeeza, “Weema Yange Eri mu Ye.”
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Obut., “n’onsuula emabega wo.”
Kwe kugamba, okwenda mu by’omwoyo.
Obut., “bayisa.”
Obut., “erinnya ly’olunaku.”
Oba, “entamu ey’omumwa omugazi.”
Oba, “tobikubira kalulu.”
Oba, “okukuba ekifuba kyo.”
Oba, “masulubu go.”
Obut., “omugaati gw’abantu.”
Obut., “Ne bawala be.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Obut., “amawanga amangi.”
Oba, “ebitala.”
Obut., “kw’abo abattiddwa.”
Obut., “bajja kwambala okukankana.”
Oba, “ebizibaawo byabwe ebitaliiko mikono.”
Oba, “ntaana.”
Oba, “ntoneetone.”
Obut., “era abakadde.”
Mu Lungereza, ruby.
Oba, “n’ebyoya by’endiga ebimyukirivu.”
Omuti oguli mu kika kye kimu n’omudalasiini.
Ekimera kino kyali kiwunya akawoowo.
Obut., “ekibiina kyonna.”
Oba, “mu ntaana.”
Obut., “agambye.”
Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
Oba, “nja kuwa ab’ennyumba ya Isirayiri amaanyi.”
Oboolyawo wano boogera ku Bayisirayiri abaali mu mukago ne Misiri.
Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
Obut., “nja kugitunda.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Oba, “Menfisi.”
Kwe kugamba, Tebesi
Oba, Menfisi.
Kwe kugamba, Keriyopolisi.
Oba, “Nja kwongera kabaka wa Babulooni amaanyi.”
Oba, “mu ntaana.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Oba, “mu ntaana.”
Laba Awanny.
Obut., “awamu n’omukono gwe.”
Obut., “emigga gyabwe.”
Oba, “mu ntaana.”
Laba Awanny.
Oba, “mu ntaana.”
Oba, “mu ntaana.”
Oba, “mu ntaana.”
Obut,. “ge.,”
Laba Awanny.
Oboolyawo kitegeeza abalwanyi okuziikibwa n’ebitala byabwe, mu ngeri y’okubawa ebitiibwa eby’amagye.
Oba, “mu ntaana.”
Oba, “mu ntaana.”
Obut., “ne kimutwala.”
Oba, “ebitali bya bwenkanya.”
Obut., “kinajjukirwa.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Oba, “gw’okulabirira.”
Obut., “ntegese omusaayi gwo okuyiibwa.”
Obut., “okuba emmere.”
Obut., “ensigalira; abaasigalawo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Kwe kugamba, omutima ogugondera amateeka ga Katonda.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’ebisibo by’endiga ez’okusaddaaka mu Yerusaalemi.”
Oba, “omukka; omwoyo.”
Oba, “omwoyo.”
Obut., “abaana b’abantu bo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Obut., “ne batabani.”
Oba, “Ekifo we mbeera; Amaka gange.”
Oba, “ku bo.”
Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Obut., “ggwe ojja okuba omukuumi waabwe.”
Oba, “oliyitibwa.”
Oba, “ndiwoza naye.”
Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Oba, “Ekiwonvu ky’Eggye lya Googi.”
Litegeeza, “Ebibinja.”
Obut., “omukono.”
Laba Ebyong. B14.
Obut., “osse omutima gwo.”
Obut., “ennyumba.” Ekigambo “ennyumba” mu ssuula 40-48 kitegeeza ebizimbe ebirala ebyali byetoolodde yeekaalu oba yeekaalu yennyini.
Obut., “olumuli olupima olw’emikono mukaaga, omukono gumu, n’ekibatu.” Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Kiyinza okuba kitegeeza waggulu ku kasenge k’abakuumi.
Oba, “ezigenda zigaziwa.”
Oba, “ne ndaba ebisenge.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “emikono 12.”
Obut., “mu yeekaalu.” Mu ssuula 41 ne 42, ekigambo kino kitegeeza Awatukuvu oba yeekaalu yonna nga mw’otwalidde Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu.
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Kwe kugamba, Awasinga Obutukuvu.
Obut., “obugazi bw’omulyango oguyingira bwali.”
Kirabika amadaala gaali meetooloovu.
Lulabika lwali lukuubo olufunda olwali lwetooloola yeekaalu.
Kwe kugamba, ekizimbe ekyali ebugwanjuba wa yeekaalu.
Obut., “omwango.” Kirabika gwali mulyango oguyingira Awatukuvu.
Kirabika kitegeeza Awasinga Obutukuvu.
Obut., “obuwanvu.”
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Okusinziira ku Septuagint ey’Oluyonaani, “emikono 100 obuwanvu.” Ekiwandiiko ky’Olwebbulaniya kisoma nti: “ekkubo lya mukono gumu.” Laba Ebyong. B14.
Obut., “ennyumba ey’omunda.”
Laba Ebyong. B14.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “bwe yagenda.”
Obut., “nnyumba.”
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Sentimita nga 22.2 (inci 8.75). Laba Ebyong. B14.
Oba, “ebitaliiko kamogo.”
Kwe kugamba, eby’abantu.
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Obut., “okutukuza abantu.”
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Oba, “mina.” Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Obut., “ne batukuza abantu.”
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Oba, “mu ddungu.”
Ennyanja Enfu.
Obut., “emigga ebiri we ginaakulukutira.”
Ennyanja Meditereniyani.
Obut., “kukisikira, buli omu nga muganda we.”
Ennyanja Enfu.
Kwe kugamba, Ekiwonvu ky’e Misiri.
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Kwe kugamba, Ekiwonvu ky’e Misiri.
Ennyanja Meditereniyani.