AMOSI
1 Ebigambo bya Amosi,* eyali omu ku balunzi b’endiga ab’omu Tekowa,+ ebikwata ku Isirayiri ebyamutegeezebwa mu kwolesebwa, mu kiseera kya Uzziya+ kabaka wa Yuda ne mu kiseera kya Yerobowaamu+ mutabani wa Yowaasi,+ kabaka wa Isirayiri, ng’ebula emyaka ebiri wabeewo musisi.+ 2 Yagamba nti:
“Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,
Era aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi.
Amalundiro g’abasumba galikungubaga,
N’omuddo oguli ku ntikko ya Kalumeeri gulikala.”+
3 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olwa Ddamasiko okujeema emirundi esatu, n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawuula Gireyaadi n’ebiwuula eby’ekyuma.+
5 Ndimenya ebisiba enzigi za Ddamasiko;+
Ndizikiriza ababeera mu Bikasu-aveni
N’oyo afuga* mu Besu-edeni;
Abantu b’omu Busuuli baligenda mu buwaŋŋanguse e Kiri,”+ Yakuwa bw’agamba.’
6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olwa Gaaza okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawaayo eri Edomu abantu bonna be baawamba.+
7 Kyendiva nsindika omuliro ku bbugwe wa Gaaza,+
Era gulyokya eminaala gyakyo.
8 Ndizikiriza ababeera mu Asudodi,+
Era n’oyo afuga* mu Asukulooni;+
Omukono gwange gulibonereza Ekulooni,+
Era Abafirisuuti abasigaddewo balisaanawo,”+ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba.’
9 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Ttuulo okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa;
Kubanga baawaayo eri Edomu abantu bonna be baawamba,
Era tebajjukira ndagaano ya ba luganda.+
10 Kyendiva nsindika omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
Era gulyokya eminaala gyakyo.’+
11 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Edomu okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga yagoba muganda we n’ekitala,+
Era yagaana okumusaasira;
Mu busungu bwe abayuzaayuza obutaddirira,
Era asigala abasunguwalidde ebbanga lyonna.+
13 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olw’Abaamoni okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga baabaaga abakazi b’omu Gireyaadi abaali embuto, basobole okugaziya ensi yaabwe.+
14 Kyendiva nkoleeza omuliro ku bbugwe wa Labba,+
Era gulyokya eminaala gyakyo.
Walibaawo okulaya enduulu z’olutalo ku lunaku olw’olutalo,
Ne kibuyaga ow’amaanyi ku lunaku olw’omuyaga.
15 Kabaka waabwe aligenda mu buwaŋŋanguse awamu n’abaami be,”+ Yakuwa bw’agamba.’
2 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘“Olwa Mowaabu okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu okufunamu ennoni.
2 Kyendiva nsindika omuliro mu Mowaabu,
Era gulyokya eminaala gya Keriyoosi;+
Mowaabu alifiira mu luyoogaano,
Mu kulaya enduulu z’olutalo, ne mu kufuuwa eŋŋombe.+
4 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Yuda okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga baaleka amateeka ga* Yakuwa,
Era tebaakwata biragiro bye;+
Eby’obulimba bajjajjaabwe bye baagoberera nabo bibawabizza.+
6 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Olwa Isirayiri okujeema emirundi esatu,+ n’olw’okujeema emirundi ena, sirikikyusa,
Kubanga batunda omutuukirivu olwa ffeeza,
N’omwavu olw’omugogo gw’engatto.+
Omusajja ne kitaawe beegatta n’omuwala omu,
Ne bavumaganya erinnya lyange ettukuvu.
8 Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto+ ku ngoye ze baatwala ng’omusingo,+
Era omwenge gwe banywera mu nnyumba* za bakatonda baabwe baagufuna ku abo be baatanza.’
9 ‘Kyokka nze nnazikiriza Abaamoli mu maaso gaabwe,+
Abantu abaali abawanvu ng’emiti gy’entolokyo, era abaali ab’amaanyi ng’emiyovu;
Nnazikiriza ebibala byabwe waggulu, era ne nzikiriza emirandira gyabwe wansi.+
10 Nnabaggya mu nsi ya Misiri,+
Ne mbatambuza mu ddungu okumala emyaka 40,+
Musobole okutwala ensi y’Abaamoli.
11 Abamu ku batabani bammwe nnabalonda okuba bannabbi,+
Ate abamu ku bavubuka bammwe ne mbalonda okuba Abanaziri.+
Si bwe kyali, mmwe abantu ba Isirayiri?’ Yakuwa bw’agamba.
12 ‘Naye Abanaziri mwabawanga omwenge okunywa,+
Era ne bannabbi ne mubalagira nti: “Temwogera bunnabbi.”+
13 Kyendiva mbabetentera mu kifo kyammwe,
Ng’ekigaali ekijjudde emmere ey’empeke eyaakakungulwa bwe kibetenta ebyo ebiba wansi waakyo.
14 Ow’embiro alibulwa ekifo ky’addukiramu,+
Ow’amaanyi amaanyi galimuggwaamu,
Era tewali mulwanyi aliwonawo.
15 Omukwasi w’omutego gw’obusaale alidduka,
Oyo adduka ennyo talisobola kudduka kwetaasa,
Era omwebagazi w’embalaasi talisobola kutaasa bulamu bwe.
3 “Muwulire ekigambo kino Yakuwa ky’aboogeddeko mmwe abantu ba Isirayiri, ekikwata ku ggwanga lye yaggya mu nsi ya Misiri. Agamba nti:
2 ‘Mmwe mmwekka be nnamanya mu mawanga gonna ag’oku nsi.+
Kyendiva mbabonereza olw’ensobi zammwe zonna.+
3 Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kulagaana kusisinkana?
4 Empologoma eyinza okuwulugumira mu kibira nga terina ky’eyizze?
Empologoma envubuka eyinza okufugulira mu kifo kye yeekwekamu nga terina ky’ekutte?
5 Ekinyonyi kiyinza okugwa mu mutego wansi ku ttaka nga tewali kye bakiteze?
Omutego guyinza okumasuka nga tewali kye gukutte?
6 Eŋŋombe bw’efuuyibwa mu kibuga, abantu tebakankana?
Akabi bwe kagwa mu kibuga, Yakuwa si y’aba akaleese?
7 Yakuwa Mukama Afuga Byonna talikola kintu kyonna
Nga tasoose kubuulira baweereza be bannabbi ekyama kye.+
8 Empologoma ewulugumye,+ ani ataatye?
Yakuwa Mukama Afuga Byonna ayogedde! Ani ataalangirire bunnabbi?’+
9 ‘Mukirangirire ku minaala gy’omu Asudodi
Ne ku minaala gy’omu nsi ya Misiri.
Mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya;+
Mulabe emivuyo egikirimu
N’obukumpanya obuli munda mu kyo.+
10 Tebamanyi kukola kituufu,” Yakuwa bw’agamba,
“Abo abatereka mu bigo byabwe ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza.”’
11 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,
‘Omulabe alyetooloola ensi;+
Alikuggyako amaanyi go,
Era ebigo byo birinyagibwa.’+
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
‘Ng’omusumba bw’asika mu kamwa k’empologoma amagulu abiri ag’endiga oba ekitundu ky’okutu,
N’abaana ba Isirayiri bwe batyo bwe balisikibwa,
Abo abatuula mu Samaliya ku bitanda ebirabika obulungi ne ku ntebe* ennungi.’+
13 ‘Muwulire era mulabule* ennyumba ya Yakobo,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna, Katonda ow’eggye bw’agamba.
14 ‘Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isirayiri olw’obujeemu bwe bwonna,*+
Ndizikiriza n’ebyoto eby’omu Beseri;+
Amayembe g’ekyoto galitemebwako ne gagwa wansi.+
15 Ndizikiriza amayumba ge babeeramu mu kiseera eky’obutiti n’amayumba ge babeeramu mu kiseera eky’omusana.’
4 “Muwulire ekigambo kino mmwe ente z’e Basani,
Eziri ku lusozi lw’e Samaliya,+
Mmwe abakazi abakumpanya abanaku+ era abanyigiriza abaavu,
Abagamba babbammwe* nti ‘Mutuleetere eky’okunywa!’
2 Yakuwa Mukama Afuga Byonna alayidde mu butukuvu bwe nti,
‘“Laba! Ennaku zijja lw’alibaggyawo ng’akozesa amalobo kwe bawanika ennyama
Era abalisigalawo ku mmwe alibaggyawo n’amalobo agavuba.
3 Buli omu ku mmwe aliyita mu kituli ekirimubeera mu maaso,
Era mulisuulibwa mu Kalumooni,” Yakuwa bw’agamba.’
5 Mwokye ssaddaaka ey’okwebaza ey’omugaati oguzimbulukusiddwa;+
Mulangirire ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire!
Kubanga ekyo kye mwagala okukola mmwe abantu ba Isirayiri,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba.
6 ‘Nnabaleetera enjala* mu bibuga byammwe byonna
N’ebbula ly’emmere mu nnyumba zammwe zonna;+
Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
7 ‘Nnaziyiza n’enkuba okutonnya ng’ebula emyezi esatu amakungula gatuuke;+
Nnatonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ate mu kibuga ekirala ne sigitonnyesaayo.
Enkuba yatonnya mu kibanja ekimu,
Naye ekibanja ekirala mw’etaatonnya kyakala.
8 Abantu b’omu bibuga bibiri oba bisatu baatambulanga nga batagala ne bagenda mu kibuga kimu okunywa amazzi,+
Kyokka ne batafuna mazzi gamala okubamalako ennyonta;
Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
9 ‘Nnaleetera ebirime byammwe okubabuka n’okugengewala.+
Mwayaza ennimiro ez’emmere n’ez’emizabbibu,
Kyokka enzige zaalyanga emitiini gyammwe n’emizeyituuni gyammwe;+
Naye era temwakomawo gye ndi,’ Yakuwa bw’agamba.+
10 ‘Nnabasindikira obulwadde obw’amaanyi obulinga obw’e Misiri.+
Nnatta abavubuka bammwe+ n’ekitala era ne mpamba embalaasi zammwe.+
Empewo yajjula ekivundu ky’emirambo+ egyali mu nsiisira zammwe;
Naye temwakomawo gye ndi,’ Yakuwa bw’agamba.
11 ‘Nnazikiriza ensi yammwe
Nga bwe nnazikiriza Sodomu ne Ggomola.+
Mwali ng’ekisiki kye basise mu muliro;
Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
12 Kale ekyo kye nja okukukola ggwe Isirayiri.
Era olw’okuba ekyo kye nja okukukola,
Weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.
13 Kubanga laba! ye yakola ensozi+ era n’atonda n’embuyaga;+
By’alowooza abibuulira omuntu,
Obudde obw’oku makya abufuula ekizikiza,+
Era alinnyirira ebifo by’ensi ebigulumivu,+
Yakuwa Katonda ow’eggye lye linnya lye.”
5 “Muwulire ekigambo kino kye njogera nga mbakungubagira* mmwe ennyumba ya Isirayiri:
2 ‘Isirayiri, omuwala embeerera, agudde;
Tasobola kusituka nate.
Ayabuliddwa mu nsi ye;
Tewali amuyimusa.’
3 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
‘Ekibuga ekigenda mu lutalo nga kirina abantu lukumi kirisigalamu abantu kikumi;
Ate ekyo ekigenda nga kirina abantu kikumi kirisigalamu abantu kkumi. Ekyo kye kirituuka ku nnyumba ya Isirayiri.’+
4 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba ennyumba ya Isirayiri:
‘Munnoonye musobole okusigala nga muli balamu.+
Temugenda Girugaali+ wadde okusala ensalo okugenda e Beeru-seba,+
Kubanga Girugaali kirigenda mu buwaŋŋanguse,+
Ate Beseri kirisaanawo.
6 Munoonye Yakuwa musobole okusigala nga muli balamu,+
Aleme kubuubuukira nnyumba ya Yusufu ng’omuliro,
Ne gwokya Beseri, ne wataba aguzikiza.
7 Obwenkanya mubufudde ekintu ekikaawa ennyo.
Obutuukirivu mubusudde ku ttaka.+
8 Oyo eyakola ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kima n’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kesiri,*+
Oyo afuula ekizikiza eky’amaanyi okuba obudde obw’oku makya,
Oyo aleetera obudde obw’emisana okukwata ekizikiza ng’obw’ekiro,+
Oyo ayita amazzi g’ennyanja
Agayiwe ku lukalu+
—Yakuwa lye linnya lye.
9 Ajja kuleeta okuzikiriza okw’amangu ku muntu ow’amaanyi,
Bw’atyo azikirize ebigo.
10 Bakyawa abo abanenyeza abantu ku mulyango gw’ekibuga,
Era tebaagalira ddala abo aboogera eby’amazima.+
11 Olw’okuba musasuza omwavu w’alimira,
Era ne mumuggyako emmere ye ey’empeke ng’empooza,+
Temujja kweyongera kubeera mu nnyumba ez’amayinja amateme ze mwazimba,+
Era temujja kunywa mwenge oguva mu nnimiro ennungi ez’emizabbibu ze mwasimba.+
12 Mmanyi obujeemu* bwammwe bwe bwenkana obungi
Era mmanyi ebibi byammwe bwe biri eby’amaanyi ennyo
—Mubonyaabonya omutuukirivu,
Mulya enguzi,
Era musaliriza abaavu ku mulyango gw’ekibuga.+
13 Kale mu kiseera ekyo ab’amagezi balisirika,
Kubanga kiriba kiseera kizibu nnyo.+
Olwo Yakuwa Katonda ow’eggye alyoke abeere nammwe,
Nga bwe mugamba nti ali nammwe.+
Osanga Yakuwa Katonda ow’eggye
Anaasaasira aba Yusufu abasigaddewo.’+
16 “Kale bw’ati Yakuwa, Yakuwa Katonda ow’eggye, bw’agamba:
‘Mu bibangirizi byonna ebya lukale mulibaamu okukuba ebiwoobe,
Ne mu nguudo zonna baligamba nti, “Woowe, woowe!”
Baliyita abalimi bajje bakungubage,
N’abakugu mu kukungubaga bajje bakube ebiwoobe.’
17 ‘Mu buli nnimiro ya mizabbibu mulibaamu okukuba ebiwoobe;+
Kubanga ndiyita wakati mu ggwe,’ Yakuwa bw’agamba.
18 ‘Zibasanze abo abeesunga olunaku lwa Yakuwa!+
Olunaku lwa Yakuwa lulibabeerera lutya?+
Luliba kizikiza so si kitangaala.+
19 Kiriba ng’omuntu bw’adduka empologoma ate n’asisinkana eddubu,
Ate bw’ayingira mu nnyumba ye n’akwata ku kisenge omusota ne gumubojja.
20 Olunaku lwa Yakuwa teruliba kizikiza ekitaliimu kitangaala kyonna?
Teruliba kizikiza ekikutte omutali butangaavu?
21 Saagalira ddala mbaga zammwe era nzinyooma;+
Era sisanyukira vvumbe lya ssaddaaka ez’oku nkuŋŋaana zammwe entukuvu.
22 Ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo ebyokebwa n’ebirabo ebiweebwayo,
Sijja kubisanyukira;+
Era sijja kusiima ssaddaaka zammwe ez’emirembe ez’ensolo eza ssava.+
23 Munzigyeeko oluyoogaano lw’ennyimba zammwe;
Era saagala kuwuliriza maloboozi ga bivuga byammwe eby’enkoba.+
24 Obwenkanya ka bukulukute ng’amazzi,+
N’obutuukirivu bukulukute ng’omugga ogutakalira.
25 Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo
Mu myaka 40 gye mwamala mu ddungu, mmwe ennyumba ya Isirayiri?+
26 Mulitwala Sakusi kabaka wammwe ne Kayiwaani,*
Ebifaananyi by’emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera,
27 Era ndibasindika mu buwaŋŋanguse okuyisa e Ddamasiko,’+ oyo ayitibwa Yakuwa Katonda ow’eggye bw’agamba.”+
6 “Zibasanze abo abeekakasa ennyo* abali mu Sayuuni,
Abo abatalina kye beeraliikirira ku lusozi lw’e Samaliya!+
Abatutumufu mu ggwanga ekkulu mu mawanga gonna,
Abo ennyumba ya Isirayiri gy’egenda.
2 Mugende e Kalune mulabe.
Muve eyo mugende mu Kamasi Ekikulu,+
Muserengete e Gaasi eky’Abafirisuuti.
Bisinga obwakabaka buno bwombi* obulungi,
Oba bisinga ensi yammwe obugazi?
4 Bagalamira ku bitanda eby’amasanga+ era beegololera mu ntebe ennungi,+
Nga balya endiga ennume ez’omu bisibo, n’ente ento ensava;*+
5 Bayiiya ennyimba ezigendera ku ntongooli,*+
Era okufaananako Dawudi, bayiiya ebivuga;+
6 Banywera omwenge mu bbakuli+
Era beesiiga amafuta agasingayo obulungi.
Naye tebafaayo* wadde nga balaba embeera embi Yusufu gy’alimu.+
7 Kale be balisooka mu abo abaligenda mu buwaŋŋanguse,+
Era ebinyumu by’abo abeegololera ku bitanda birikoma.
8 ‘Yakuwa Mukama Afuga Byonna alayidde mu linnya lye,’+ Yakuwa Katonda w’eggye bw’agamba,
‘“Nneetamiddwa amalala ga Yakobo,+
Saagalira ddala minaala gye,+
Era ndiwaayo ekibuga n’ebikirimu eri abalabe baakyo.+
9 “‘“Era abantu kkumi bwe baliba nga be basigadde mu nnyumba emu, nabo balifa. 10 Ow’oluganda w’omu ku bo* alijja n’abafulumya n’abookya omu ku omu. Aliggya amagumba gaabwe mu nnyumba; oluvannyuma aligamba oyo aliba mu bisenge eby’omunda mu nnyumba nti, ‘Wakyaliyo ali naawe?’ Era alimuddamu nti, ‘Teri n’omu.’ Awo aligamba nti, ‘Sirika! Kubanga kino si kiseera kya kwogera ku linnya lya Yakuwa.’”
11 Kubanga Yakuwa y’alagidde,+
Era ajja kukuba ennyumba ennene efuuke bifunfugu,
Era ajja kukuba n’ennyumba entono efuuke bifunfugu.+
12 Embalaasi zisobola okuddukira ku kagulungujjo k’olusozi,
Oba omuntu asobola okulimisizaako ente?
Obwenkanya mubufudde ekimera eky’obutwa,
N’ekibala eky’obutuukirivu mukifudde ekintu ekikaawa ennyo.+
14 N’olwekyo, ndibaleetera eggwanga mmwe ennyumba ya Isirayiri,’+ Yakuwa Katonda ow’eggye bw’agamba,
‘Era balibabonyaabonya okuviira ddala e Lebo-kamasi*+ okutuukira ddala ku Kiwonvu* eky’omu Alaba.’”
7 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Yasindika ekibinja ky’enzige ng’ebirime ebisigibwa oluvannyuma* bitandika okumera. Byali birime ebisigibwa oluvannyuma, ng’ebisubi bya kabaka bimaze okusalibwa. 2 Ekibinja ky’enzige bwe kyamala okulya ebimera eby’omu nsi, ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde sonyiwa!+ Yakobo anaayinza atya okuwonawo?* Kubanga munafu!”+
3 Awo Yakuwa n’akyusa mu ekyo kye yali asazeewo,*+ era Yakuwa n’agamba nti: “Tekijja kubaawo.”
4 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Yakuwa Mukama Afuga Byonna yalagira wabeewo okubonereza nga kwa muliro. Gwasaanyaawo obuziba era n’ekitundu ky’ensi eyo. 5 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde tokikola.+ Yakobo anaayinza atya okuwonawo?* Kubanga munafu!”+
6 Awo Yakuwa n’akyusa mu ekyo kye yali asazeewo,*+ era Yakuwa Mukama Afuga Byonna n’agamba nti: “Ekyo nakyo tekijja kubaawo.”
7 Ate era yandaga na kino: Laba! Yakuwa yali ayimiridde ku kisenge kye baazimba nga bakozesa bbirigi, era yali akutte bbirigi mu ngalo ze. 8 Awo Yakuwa n’ambuuza nti: “Amosi, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Bbirigi.” Yakuwa n’agamba nti: “Laba, nteeka bbirigi mu bantu bange, Isirayiri. Siribasonyiwa nate.+ 9 Ebifo bya Isaaka ebigulumivu+ birifuuka matongo, era ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birizikirizibwa;+ era ndirumba ennyumba ya Yerobowaamu n’ekitala.”+
10 Awo Amaziya kabona w’e Beseri+ n’aweereza Yerobowaamu+ kabaka wa Isirayiri obubaka buno: “Amosi akwekobedde munda mu nnyumba ya Isirayiri.+ Abantu b’omu nsi tebasobola kugumiikiriza bigambo bye byonna.+ 11 Kubanga bw’ati Amosi bw’agamba, ‘Yerobowaamu ajja kuttibwa n’ekitala, era Isirayiri ejja kuggibwa mu nsi yaayo etwalibwe mu buwaŋŋanguse.’”+
12 Awo Amaziya n’agamba Amosi nti: “Ggwe omulabi, genda, dduka ogende mu nsi ya Yuda, eyo gy’oba ofuna emmere,* era eyo gy’oba olangiririra obunnabbi.+ 13 Naye toddamu kulangirira bunnabbi mu Beseri,+ kubanga kye kifo kya kabaka ekitukuvu,+ era ye nnyumba y’obwakabaka.”
14 Awo Amosi n’agamba Amaziya nti: “Saali nnabbi era saali mwana wa nnabbi; nnali musumba+ era nga ndabirira n’emiti gy’emisukamooli.* 15 Naye Yakuwa yanzigya ku gw’okulunda endiga, era Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Genda olangirire obunnabbi eri abantu bange Isirayiri.’+ 16 Kale kaakano wulira ekigambo kya Yakuwa, ‘Ogamba nti: “Tolangirira bintu bibi ku Isirayiri,+ era toyogera+ bibi ku nnyumba ya Isaaka.” 17 Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti: “Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga, era batabani bo ne bawala bo balittibwa n’ekitala. Ettaka lyo baliripima n’omuguwa ogupima ne baligabana, era olifiira mu nsi etali nnoongoofu; ne Isirayiri eriggibwa mu nsi yaayo n’etwalibwa mu buwaŋŋanguse.”’”+
8 Kino Yakuwa Mukama Afuga Byonna kye yandaga: Laba! Waaliwo ekisero ky’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana. 2 Awo n’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba, Amosi?” Ne nziramu nti, “Ekisero ky’ebibala eby’omu kiseera eky’omusana.” Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Enkomerero y’abantu bange Isirayiri etuuse. Sijja kubasonyiwa nate.+ 3 ‘Ku lunaku olwo ennyimba z’omu yeekaalu zirifuuka biwoobe,’+ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba. ‘Walibaawo emirambo mingi egiriba gisuuliddwa buli wamu,+ era tewalibaawo kanyego konna!’
4 Muwulire kino mmwe abalinnyirira omwavu,
Era abasaanyaawo omuwombeefu ow’omu nsi,+
5 Abagamba nti, ‘Embaga ey’okuboneka kw’omwezi enaggwaako ddi+ tutere tutunde emmere yaffe ey’empeke,
Era ne ssabbiiti+ enaggwaako ddi tutunde emmere ey’empeke?
Tukendeeze efa,*
Ate twongere ku buzito bwa sekeri*
Tukumpanye omuguzi nga tukozesa minzaani etapima bituufu;+
6 Tugule abanaku olwa ffeeza
N’omwavu tumugule olw’omugogo gw’engatto,+
Era tutunde emmere etalina mugaso.’
8 Olw’ensonga eno ensi erikankana,
Era buli agibeeramu alikungubaga.+
Yonna teribimba ng’Omugga Kiyira,
N’etumbiira era n’ekka ng’Omugga Kiyira ogw’e Misiri?’+
9 ‘Ku lunaku olwo,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,
‘Ndireetera enjuba okugwa mu budde obw’ettuntu,
Era ndireeta ekizikiza ku nsi ku lunaku olw’omusana.+
10 Embaga zammwe ndizifuula kukungubaga,+
N’ennyimba zammwe zonna ndizifuula nnyimba za kukungubaga.
Ebiwato byonna ndibyambaza ebibukutu era emitwe gyonna girimwebwa.
Ndirufuula ng’olunaku olw’okukungubagira omwana eyazaalibwa omu yekka.
Enkomerero y’olunaku olwo ng’eriba mbi nnyo!’
11 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Laba! Ennaku zijja,
‘Lwe ndisindika enjala mu nsi,
Enjala etali ya mmere era n’ennyonta etali ya mazzi,
Wabula ey’okuwulira ebigambo bya Yakuwa.+
12 Balitambula nga batagala okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
N’okuva ebukiikakkono okutuuka ebuvanjuba.
Balibungeeta nga banoonya ekigambo kya Yakuwa naye tebalikifuna.
13 Ku lunaku olwo abawala abalabika obulungi era n’abalenzi,
Balizirika olw’ennyonta;
14 Abo abalayirira mu kibi kya Samaliya,+ era abagamba nti,
“Nga katonda wo bw’ali omulamu, ggwe Ddaani!”+
Era nti, “Ng’ekkubo erigenda e Beeru-seba+ bwe liri eddamu!”
Baligwa era tebaliddamu kusituka.’”+
9 Nnalaba Yakuwa+ ng’ayimiridde waggulu w’ekyoto, era n’agamba nti: “Kuba omutwe gw’empagi ennyumba ekankane. Zitemeko emitwe, era abantu abalisigalawo ndibatta n’ekitala. Tewali n’omu alisobola kudduka wadde okuwonawo.+
2 Ne bwe balisima okutuuka emagombe,*
Omukono gwange gulibaggyayo;
Ne bwe balirinnya okutuuka mu ggulu,
Ndibawanulayo.
3 Ne bwe balyekweka waggulu ku Kalumeeri,
Ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.+
Ne bwe balyekweka amaaso gange ne bagenda ku ntobo y’ennyanja,
Ndiragira omusota ne gubabojjerayo.
4 Abalabe baabwe ne bwe balibatwala mu buwambe,
Ndiragira ekitala ne kibattira eyo;+
Ndibassaako amaaso gange okubatuusaako akabi mu kifo ky’okubawa emikisa.+
5 Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, y’akwata ku nsi
N’esaanuuka;+ era abantu baamu bonna balikungubaga;+
Yonna eribimba ng’Omugga Kiyira,
Era erikka ng’Omugga Kiyira ogw’e Misiri.+
6 ‘Oyo azimba amadaala ge mu ggulu,
N’ekizimbe kye waggulu w’ensi;
Oyo ayita amazzi g’ennyanja
Agayiwe ku lukalu+
—Yakuwa lye linnya lye.’+
7 ‘Mmwe abantu ba Isirayiri, temuli ng’abaana b’Abakuusi gye ndi?’ Yakuwa bw’agamba.
8 ‘Laba! Amaaso ga Yakuwa Mukama Afuga Byonna gali ku bwakabaka obukola ebibi,
Era alibusaanyaawo okuva ku nsi.+
Kyokka sirisaanyizaawo ddala nnyumba ya Yakobo,’+ Yakuwa bw’agamba.
9 ‘Kubanga laba! ndagidde,
Era ndikuŋŋunta ennyumba ya Isirayiri mu mawanga gonna+
Ng’omuntu bw’akuŋŋunta n’akakuŋŋunta
Ne wataba jjinja na limu ligwa wansi.
10 Aboonoonyi bonna mu bantu bange balifa n’ekitala,
Abo abagamba nti, “Akabi tekalisembera we tuli era tekalitutuukako.”’
11 ‘Ku lunaku olwo ndiyimusa ensiisira ya Dawudi+ eyagwa,
Ndiddaabiriza ebituli byayo,
Ndizzaawo ebyayo ebyamenyekamenyeka;
Ndiddamu okugizimba n’eba nga bwe yali mu biseera eby’edda,+
12 Balyoke batwale ebya Edomu ebyasigalawo,+
Era n’eby’amawanga gonna agayitibwa erinnya lyange,’ Yakuwa akola bino bw’agamba.
13 ‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa bw’agamba,
‘Akabala lw’aliyisa akungula;
N’asogola ezzabbibu lw’aliyisa omusizi;+
Ensozi ziritonnya omwenge omusu,+
14 Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwambe;+
Baliddamu okuzimba ebibuga ebyafuulibwa amatongo ne babibeeramu,+
Balisimba ennimiro z’emizabbibu ne banywa omwenge gwamu+
Era balisimba emiti egy’ebibala ne balya ebibala byagyo.’+
15 ‘Ndibasimba mu nsi yaabwe,
Era tebaliddamu kusimbulwa
Mu nsi yaabwe gye nnabawa,’+ Yakuwa Katonda wammwe bw’agamba.”
Litegeeza, “Okuba Omugugu” oba “Okusitula Omugugu.”
Obut., “akutte ddamula.”
Obut., “akutte ddamula.”
Obut., “omulamuzi.”
Oba, “obulagirizi bwa.”
Oba, “yeekaalu.”
Oba, “N’abo abalina emitima emigumu.”
Oba, “ku ntebe z’e Ddamasiko.”
Oba, “muwe obujulirwa ku.”
Oba, “olw’ebikolwa bye byonna eby’obumenyi bw’amateeka.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “amayumba amangi.”
Oba, “bakama bammwe.”
Oba, “mujeeme.”
Oba, “Saabawa mmere ya kulya.” Obut., “Nnabawa obuyonjo bw’amannyo.”
Oba, “mu luyimba olw’okukungubaga.”
Kiyinza okuba nga kye kibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Oliyoni.
Oba, “ebikolwa byammwe eby’obumenyi bw’amateeka.”
Bakatonda bano bayinza okuba nga ye mmunyeenye eyitibwa Saturn, eyasinzibwanga nga katonda.
Oba, “abateefiirayo.”
Kirabika wano boogera ku bwakabaka bwa Yuda n’obwa Isirayiri.
Oba, “ente ento ennume.”
Oba, “ku bivuga eby’enkoba.”
Obut., “tebaalwala.”
Obut., “Muganda wa kitaawe.”
Obut., “Tetwefunidde mayembe.”
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Laba Awanny.
Kwe kugamba, mu Jjanwali ne Febwali.
Obut., “okuyimuka?”
Oba, “ne yejjusa.”
Obut., “okuyimuka?”
Oba, “ne yejjusa.”
Obut., “eyo gy’oba oliira omugaati.”
Oba, “nnali musalizi w’emiti gy’emisukamooli.”
Laba Ebyong. B14.
Laba Ebyong. B14.
Laba Awanny.
Obut., “bulisaanuuka.”