EBBALUWA YA PAWULO ERI ABAFIRIPI
1 Nze Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, mpandiikira abatukuvu bonna abali obumu ne Kristo Yesu ab’omu Firipi,+ awamu n’abalabirizi era n’abaweereza:+
2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.
3 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 buli lwe nneegayirira ku lwammwe mmwenna. Nneegayirira n’essanyu,+ 5 olw’ebyo bye mukoze ku lw’amawulire amalungi okuviira ddala ku lunaku olwasooka okutuusa kati. 6 Ndi mukakafu nti, oyo eyatandika omulimu guno omulungi mu mmwe ajja kugukola agumalirize+ okutuuka ku lunaku lwa Kristo Yesu.+ 7 Kituufu nze okubalowoozaako bwe ntyo mmwenna, kubanga mundi ku mutima, era mmwenna mugabana nange ekisa eky’ensusso, mu kusibibwa kwange+ ne mu kulwanirira amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.+
8 Katonda y’anjulira nti njagala nnyo okubeera nammwe mmwenna mu kwagala okulinga okwa Kristo Yesu. 9 Era kino kye nneeyongera okusaba, nti okwagala kwammwe kweyongere+ awamu n’okumanya okutuufu+ era n’okutegeera mu bujjuvu+ Katonda by’ayagala; 10 musobole okumanya ebintu ebisinga obukulu,+ muleme kubaako kya kunenyezebwa era nga temwesittaza balala+ okutuusa ku lunaku lwa Kristo; 11 era mubale ebibala bingi eby’obutuukirivu okuyitira mu Yesu Kristo,+ Katonda alyoke aweebwe ekitiibwa era atenderezebwe.
12 Ab’oluganda, kaakano njagala mumanye nti ebintu ebintuuseeko biviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa mu kifo ky’okuziyizibwa, 13 ne kiba nti kimanyiddwa+ mu Bakuumi ba Kabaka bonna n’eri abalala bonna nti nnasibibwa+ olw’okukkiririza mu Kristo. 14 Ab’oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe bafunye obugumu olw’okusibibwa kwange, era booleka obuvumu nga babuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.
15 Kyo kituufu nti abamu babuulira ebikwata ku Kristo olw’obuggya n’olw’okuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 Abo abakikola mu mwoyo omulungi babuulira ebikwata ku Kristo mu kwagala, kubanga bamanyi nti nnateekebwa wano okulwanirira amawulire amalungi;+ 17 naye bali bakikola lwa kuvuganya, nga tebalina kiruubirirwa kirungi kubanga baagala kundeetera nnaku mu busibe bwange. 18 Kiki ekivaamu? Mu buli ngeri yonna, ka kibe mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa, era kino kinsanyusa. Mu butuufu, nja kweyongera okusanyuka, 19 kubanga mmanyi nti kino kijja kunviiramu obulokozi okuyitira mu kwegayirira kwammwe+ n’olw’obuyambi bw’omwoyo gwa Yesu Kristo.+ 20 Kino kikwatagana n’okwesunga okungi kwe nnina awamu n’essuubi nti sijja kuswala mu ngeri yonna, wabula nti okuyitira mu kubuulira n’obuvumu, Kristo ajja kugulumizibwa nga bwe kibadde bulijjo, okuyitira mu mubiri gwange, ka kibe mu bulamu oba mu kufa.+
21 Gye ndi, okuba omulamu kwe kugoberera Kristo,+ era okufa ge magoba.+ 22 Bwe mba nga ndi wa kweyongera okuba omulamu mu mubiri, kino kye kiba ekibala ky’omulimu gwange; naye eky’okulondako sikimanyisa. 23 Nsobeddwa olw’ebintu bino ebibiri, naye kye njagala kwe kusumululwa mbeere ne Kristo,+ mu butuufu kino kye kisinga.+ 24 Naye okusigala nga ndi mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe. 25 N’olwekyo, olw’okuba ndi mukakafu ku kino, mmanyi nti nja kusigala nga ndi mu mubiri era nja kubeera nammwe mmwenna olw’okukulaakulana kwammwe n’olw’essanyu ery’okukkiriza kwammwe, 26 musobole okusanyuka ennyo mu Kristo Yesu olw’okuba nja kuba nzizeemu okuba nammwe.
27 Naye mweyise* mu ngeri egwanira amawulire amalungi agakwata ku Kristo,+ kibe nti, ne bwe mba nzize okubalaba oba nga sizze, nsobole okuwulira ebibakwatako nti muli banywevu mu mwoyo gumu,+ nga muli omuntu omu mu kulwanirira okukkiriza okwesigamiziddwa ku mawulire amalungi, 28 era nga temutiisibwatiisibwa balabe bammwe. Ekintu kino kyennyini bukakafu obulaga nti bajja kuzikirizibwa+ naye nti mmwe mujja kulokolebwa;+ era kino kiva eri Katonda. 29 Kubanga mwaweebwa enkizo, si ey’okukkiririza mu Kristo yokka, naye era n’ey’okubonaabona ku lulwe.+ 30 Kubanga muli mu lutalo lwe lumu ng’olwo lwe mwalaba nga nnwana,+ era lwe muwulira nti nkyalwana.
2 Kale bwe wabaawo okuzzibwamu amaanyi kwonna mu Kristo, okubudaabudibwa mu kwagala, okufaayo ku balala,* okwagala, n’obusaasizi, 2 essanyu lyange mulifuule lijjuvu nga mubeera n’endowooza emu, okwagala kumu, nga muli bumu, era nga mulowooza bumu.+ 3 Temukola kintu kyonna mu kuyomba,+ oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo,+ wabula mu bwetoowaze mukitwale+ nti abalala babasinga, 4 era nga temufaayo ku byammwe byokka+ naye nga mufaayo ne ku by’abalala.+
5 Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina,+ 6 wadde yali mu kifaananyi kya Katonda,+ teyagezaako na kulowooza ku kya kwenkanankana ne Katonda.+ 7 Wabula yeggyako buli kye yalina n’aba ng’omuddu,+ era n’afuuka omuntu.*+ 8 N’ekisinga ku ekyo, bwe yajja ng’omuntu,* yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa,+ yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona.*+ 9 Olw’ensonga eyo, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo,+ era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna,+ 10 buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu,+ 11 era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe,+ Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.
12 N’olwekyo abaagalwa, nga bulijjo bwe mubadde abawulize, si olwo lwokka nga ndi nammwe, naye kaakano n’okusingawo nga siri nammwe, mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana. 13 Kubanga Katonda y’abawa amaanyi okukola ebimusanyusa, abaagazise okukola era mukole. 14 Mukolenga ebintu byonna awatali kwemulugunya+ wadde okuyomba,+ 15 mulyoke mube nga temuliiko kya kunenyezebwa oba omusango, nga muli baana ba Katonda+ abataliiko kamogo mu mulembe guno ogwakyama,+ gwe mwakiramu ng’ettaala mu nsi,+ 16 nga munywerera ku kigambo eky’obulamu,+ nsobole okuba ne kye nneenyumiririzaamu mu lunaku lwa Kristo, nti saddukira bwereere era saafubira bwereere. 17 Wadde nga nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa+ ekifukibwa ku ssaddaaka+ ne ku buweereza obutukuvu* okukkiriza kwammwe bye kubakubirizza okukola, ndi musanyufu era njaganyiza wamu nammwe. 18 Kale nammwe musanyuke era mujaganyize wamu nange.
19 Nsuubira mu Mukama waffe Yesu okubatumira amangu Timoseewo,+ ndyoke nziremu amaanyi olw’okumanya ebibafaako. 20 Kubanga sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. 21 Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo. 22 Naye mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana+ ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi. 23 N’olwekyo, oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga mmaze okumanya bwe nnaabeera. 24 Ndi mukakafu mu Mukama waffe nti nange nja kujja mangu ddala.+
25 Kyokka, nkiraba nga kyetaagisa okubatumira Epafulodito muganda wange, mukozi munnange, era mulwanyi munnange, ate nga mutume wammwe era omuweereza wange mu bye nneetaaga.+ 26 Ayagala nnyo okubalaba mmwenna era mwennyamivu olw’okuba mwawulira nti yalwala. 27 Mazima ddala yalwala n’abulako katono okufa; naye Katonda yamusaasira, mu butuufu, teyasaasira ye yekka naye era nange, ku nnaku gye nnina nneme kwongerako ndala. 28 N’olwekyo, mmutuma mu bwangu gye muli, mulyoke musanyuke nate nga mumulabye era nneme kweraliikirira nnyo. 29 Kale mumwanirize n’essanyu nga bwe mwaniriza bulijjo abagoberezi ba Mukama waffe, era abantu abalinga abo mubatwale nga ba muwendo nnyo,+ 30 kubanga ku lw’omulimu gwa Kristo,* yabulako katono okufa ng’ateeka obulamu bwe mu kabi, asobole okubakiikirira ng’ampeereza.+
3 Eky’enkomerero baganda bange, mweyongere okusanyuka mu Mukama waffe.+ Sikaluubirirwa kuddamu kubawandiikira bintu bye nnabawandiikira edda, era bya bukuumi gye muli.
2 Mwekuume abo abalinga embwa; mwekuume abo abakola eby’akabi; mwekuume abo abakomola omubiri.+ 3 Kubanga ffe abaakomolebwa mu ngeri entuufu,+ abeenyigidde mu buweereza obutukuvu okuyitira mu mwoyo gwa Katonda, twenyumiririza mu Kristo Yesu,+ era tetwesiga mubiri, 4 naye bwe wabaawo omuntu yenna alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, ye nze.
Bwe wabaawo omuntu omulala yenna alowooza nti alina ky’asinziirako okwesiga omubiri, nze mmusinga: 5 nnakomolebwa ku lunaku olw’omunaana,+ ndi wa ggwanga lya Isirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya eyazaalibwa abazadde Abebbulaniya;+ Omufalisaayo ku bikwata ku mateeka;+ 6 bwe kituuka ku kuba omunyiikivu, nnayigganya ekibiina;+ bwe kituuka ku butuukirivu obufunibwa okuyitira mu mateeka, saaliko kya kunenyezebwa. 7 Naye ebintu ebyali amagoba gye ndi nnabyefiiriza* olwa Kristo.+ 8 Okugatta ku ekyo, ebintu byonna mbitwala ng’ebitagasa olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo, 9 ndyoke nsangibwe nga ndi bumu naye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula obwo obuva mu kukkiririza+ mu Kristo+ era obuva eri Katonda nga bwesigamiziddwa ku kukkiriza.+ 10 Ekiruubirirwa kyange kwe kumumanya n’okumanya amaanyi g’okuzuukira+ kwe era n’okugabana ku kubonaabona kwe,+ nga nzikiriza okufa nga bwe yafa,+ 11 ndabe obanga nnaabeera mu kuzuukira okusooka.+
12 Sigamba nti mmaze okufuna empeera, oba nti mmaze okufuulibwa atuukiridde, naye nfuba+ okulaba nti nfuna ekyo Kristo Yesu kye yannondera okufuna.+ 13 Ab’oluganda, seetwala ng’amaze okufuna empeera; naye waliwo ekintu kimu kye nkola: Nneerabira ebintu eby’emabega+ ne nduubirira eby’omu maaso,+ 14 nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera+ ey’okuyitibwa okw’omu ggulu,+ Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu. 15 N’olwekyo, ffenna abakuze+ ka tubeere n’endowooza eno, era bwe muba nga mulina endowooza eyawukana ku eno, Katonda ajja kubabikkulira endowooza entuufu. 16 Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.
17 Ab’oluganda, mmwenna munkoppe,+ era mutunuulire abo abeeyisa mu ngeri etuukagana n’ekyokulabirako kye twabateerawo. 18 Kubanga waliwo bangi be nnateranga okwogerako naye kati mboogerako nga nkaaba, kubanga beeyisa ng’abalabe b’omuti gwa Kristo ogw’okubonaabona.* 19 Enkomerero yaabwe kuliba kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto lwabwe, beenyumiririza mu bintu ebyandibadde bibakwasa ensonyi, era balowooza bintu bya nsi.+ 20 Naye ffe obutuuze bwaffe+ buli mu ggulu,+ era tulindirira omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo ali mu ggulu.+ 21 Era emibiri gyaffe egyatoowazibwa ajja kugifuula gya kitiibwa ng’ogugwe*+ ng’akozesa amaanyi ge amangi, agamusobozesa okussa ebintu byonna wansi we.+
4 N’olwekyo, baganda bange abaagalwa, be nnumirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era engule yange,+ munywerenga+ bwe mutyo mu Mukama waffe.
2 Nkubiriza Ewudiya ne Suntuke okuba n’endowooza emu mu Mukama waffe.+ 3 Naawe mukozi munnange omwesigwa, nkusaba oyambenga abakazi abo abafubye okukolera awamu nange ku lw’amawulire amalungi awamu ne Kulementi ne bakozi bannange abalala bonna; amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.+
4 Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okubagamba nti, Musanyuke!+ 5 Obutali bukakanyavu bwammwe+ bweyoleke eri abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi. 6 Temweraliikiriranga kintu kyonna,+ naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga;+ 7 era emirembe+ gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe+ n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.
8 Eky’enkomerero baganda bange, ebintu byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa, mweyongere okubirowoozangako.*+ 9 Ebintu bye mwayiga, bye mwakkiriza, bye mwawulira era bye mwalaba mu nze, mubikolenga,+ era Katonda ow’emirembe anaabeeranga nammwe.
10 Nsanyuka nnyo mu Mukama waffe nti kaakano muzzeemu okundowoozaako.+ Wadde nga mwali mundowoozaako, mwabulwa akakisa okukiraga. 11 Kino sikyogera lwa kuba nti ndi mu bwetaavu, kubanga njize okubeera omumativu mu buli mbeera.+ 12 Mazima ddala mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebitono,+ era mmanyi kye kitegeeza okuba n’ebintu ebingi. Mu buli kintu kyonna na mu buli mbeera yonna njize ekyama eky’okuba omukkufu n’eky’okulumwa enjala, eky’okuba n’ebintu ebingi n’eky’obutaba na bintu. 13 Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.+
14 Naye mwakola bulungi okunnyamba mu kubonaabona kwange. 15 Mu butuufu mmwe Abafiripi mukimanyi nti bwe nnatandika okubuulira amawulire amalungi, era bwe nnava e Masedoniya, tewali kibiina na kimu ekyassa ekimu nange mu kugaba ne mu kufuna, okuggyako mmwe mmwekka;+ 16 kubanga bwe nnali mu Ssessalonika, mwampeereza obuyambi, si mulundi gumu gwokka wabula ebiri. 17 Tekiri nti njagala ekirabo, wabula njagala ebibala ebyongera ku bugagga bwammwe. 18 Kyokka, nnina byonna bye nneetaaga; mbirina mu bungi era sirina kye njula, okuva Epafulodito+ bwe yampa ebintu bye mwampeereza, evvumbe eriwunya obulungi,+ ssaddaaka ekkirizibwa era esanyusa Katonda. 19 Katonda wange alina eby’obugagga eby’ekitiibwa ajja kubawa byonna bye mwetaaga+ okuyitira mu Kristo Yesu. 20 Katonda era Kitaffe aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
21 Munnamusize buli mutukuvu ali obumu ne Kristo Yesu. Ab’oluganda abali nange babalamusizza. 22 Abatukuvu bonna, naye okusingira ddala abo ab’omu nnyumba ya Kayisaali,+ babalamusizza.
23 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.
Oba, “mweyise ng’abatuuze.”
Obut., “okugabana omwoyo.”
Obut., “n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.”
Obut., “bwe yeesanga mu kifaananyi eky’abantu.”
Laba Awanny.
Oba, “obuweereza obw’omu lujjudde.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku lw’omulimu gwa Mukama waffe.”
Oba, “nnabireka kyeyagalire.”
Laba Awanny.
Obut., “kugituukanya n’ogugwe ogw’ekitiibwa.”
Oba, “okubifumiitirizangako.”