Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku Kulya Ebisiyaga?
ENSONGA ekwata ku kugattibwa kw’abantu abafaanaganya ekikula ekyakubaganyizibwako ebirowoozo mu nsi nnyingi. Kyokka mu 2015, kooti y’omu Amerika ey’oku ntikko yatongoza obufumbo obw’engeri eyo. Oluvannyuma lw’ekyo, abantu bangi baatandika okugenda ku Intaneeti okunoonyereza ku nsonga eyo. Abasinga obungi beebuuza nti: “Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku bufumbo bw’abantu abafaanaganya ekikula?”
Bayibuli teyogera ku ddembe abantu abafaanaganya ekikula abafumbiriganwa lye balina okuweebwa. Naye ekibuuzo ekikulu kiri nti, Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kulya ebisiyaga?
Abantu bangi balowooza nti bamanyi eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo wadde nga tebafangayo kunoonyereza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo. Kyokka ebyo bye boogera bikontana. Abamu bagamba nti Bayibuli evumirira butereevu okulya ebisiyaga. Ate abalala bagamba nti olw’okuba Bayibuli egamba nti tulina okwagala bantu bannaffe, ewa buli muntu ebbeetu okwesalirawo gw’ayagala okwegatta naye, k’abe ng’afaanaganya naye ekikula oba nedda.—Abaruumi 13:9.
KIKI BAYIBULI KY’EGAMBA?
Ku bino wammanga kiruwa ekituufu?
Bayibuli evumirira okulya ebisiyaga.
Bayibuli ewagira okulya ebisiyaga.
Bayibuli ekubiriza abantu okukyawa oba okusosola abalyi b’ebisiyaga.
EBY’OKUDDAMU:
KITUUFU. Bayibuli egamba nti: “Abasajja . . . abalya ebisiyaga . . . tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Ekyo kikwata ne ku bakazi.—Abaruumi 1:26.
KIKYAMU. Bayibuli egamba nti okwegatta kulina kubaawo wakati wa musajja na mukazi bokka ate nga bafumbo.—Olubereberye 1:27, 28; Engero 5:18, 19.
KIKYAMU. Wadde nga Bayibuli evumirira okulya ebisiyaga, tekubiriza bantu kusosola balyi ba bisiyaga, oba okubakyawa, oba okubakolako ebikolwa eby’obukambwe.—Abaruumi 12:18.[1]
Kiki Abajulirwa ba Yakuwa Kye Bakkiriza?
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gye gisingayo obulungi, era gye bagoberera. (Isaaya 48:17)[2] N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa beewalira ddala ebikolwa byonna eby’obugwenyufu nga mw’otwalidde okulya ebisiyaga. (1 Abakkolinso 6:18)[3] Ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye baasalawo, era balina eddembe okusalawo batyo.
Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuyisa abalala nga nabo bwe bandyagadde okuyisibwa
Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa bafuba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Abebbulaniya 12:14) Wadde nga ng’Abajulirwa ba Yakuwa beewalira ddala ebikolwa eby’okulya ebisiyaga tebakakaatika ndowooza yaabwe ku balala, era tebakola bikolwa bya bukambwe ku balyi b’ebisiyaga oba okusanyuka ng’abalyi b’ebisiyaga batuusiddwaako obulabe. Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuyisa abalala nga nabo bwe bandyagadde okuyisibwa.—Matayo 7:12.
Bayibuli Ekubiriza Okusosola Abalyi b’Ebisiyaga?
Abantu abamu bagamba nti Bayibuli ekubiriza abantu okusosola abalyi b’ebisiyaga, era nti abo abakolera ku ebyo Bayibuli by’egamba basosoze. Abantu ng’abo bagamba nti: ‘Mu kiseera Bayibuli we yawandiikirwa, abantu bangi baali tefaayo ku ndowooza z’abalala. Naye leero abantu bafaayo ku ndowooza z’abantu ab’amawanga gonna, langi zonna, nga mw’otwalidde n’abalyi b’ebisiyaga.’ Abantu ng’abo bakitwala nti omuntu akyawa ekikolwa eky’okulya ebisiyaga aba tayawukana ku oyo akyawa abantu aba langi endala. Naye ekyo ddala kituufu? Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo?
Waliwo enjawulo wakati w’okukyawa ekikolwa eky’okulya ebisiyaga n’okukyawa abantu abalya ebisiyaga. Bayibuli egamba Abakristaayo okuwa abantu aba buli ngeri ekitiibwa. (1 Peetero 2:17)[4] Naye ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo balina okukkiriza ebikolwa byonna abantu bye bakola.
Lowooza ku kino: Ka tugambe nti okunywa ssigala okitwala nga kya kabi eri obulamu bwo era ng’okyayira ddala ssigala. Watya singa olina mukozi munno omunywi wa ssigala? Kyandibadde kituufu abalala okugamba nti tofaayo ku ndowooza z’abalala olw’okuba endowooza gy’olina ku kunywa ssigala eyawukana ku ya mukozi munno oyo? Okuba nti mukozi munno oyo ye anywa ssigala ate nga ggwe tomunywa kitegeeza nti omusosola? Singa mukozi munno oyo agezaako okukupikiriza okukyusa endowooza gy’olina ku kunywa ssigala, ekyo kiba tekiraga nti mukakanyavu era nti tassa kitiibwa mu ndowooza z’abalala?
Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli. Beewala ebikolwa Bayibuli by’evumirira. Naye tebanyooma bantu abeeyisa mu ngeri eyawukana ku yaabwe era tebabayisa bubi.
Ekyo Bayibuli ky’Egamba Kinyigiriza Abantu?
Kati ate abantu abeegomba okwegatta n’abantu be bafaanaganya nabo ekikula? Kyandiba nti baazaalibwa batyo? Bwe kiba kityo, ddala kiba kyoleka okwagala okugamba nti kikyamu abantu abo okukola ekyo omubiri gwabwe kye gwegomba?
Bayibuli terina ky’eyogera ku ekyo ekigambibwa nti abantu abamu bazaalibwa nga beegomba okwegatta n’abo be bafaanaganya nabo ekikula. Kyokka eraga nti emize egimu giba gyasimba amakanda mu bantu. Wadde kiri kityo, Bayibuli eraga nti bwe tuba ab’okusanyusa Katonda waliwo ebintu bye tulina okwewala, nga muno mwe muli n’okulya ebisiyaga.—2 Abakkolinso 10:4, 5.
Abamu bagamba nti ekyo Bayibuli ky’egamba kinyigiriza nnyo. Bagamba batyo kubanga balowooza nti abantu balina okukolera ku ekyo omubiri gwabwe kye gwegomba era nti okwegomba kw’okwegatta kuba kwa maanyi nnyo ne kiba nti omuntu tasobola kukufuga. Naye Bayibuli eraga nti abantu basobola okufuga okwegomba kwe baba nakwo. Obutafaananako nsolo, abantu basobola okusalawo okukolera ku kwegomba kw’emibiri gyabwe oba obutakukolerako.—Abakkolosaayi 3:5.[5]
Lowooza ku kino: Abayivu abamu bagamba nti enneeyisa y’abantu abamu, gamba ng’abo ab’obusungu, eva ku kuba nti bwe batyo bwe baazaalibwa. Bayibuli teyogera butereevu ku ekyo ekigambibwa nti abantu abamu bazaalibwa nga ba busungu, kyokka egamba nti abantu abamu ‘ba busungu’ oba ‘ba kiruyi.’ (Engero 22:24; 29:22) Wadde kiri kityo, Bayibuli era egamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiranga.”—Zabbuli 37:8; Abeefeso 4:31.
Bantu batono nnyo abayinza okugamba nti amagezi ago si malungi oba abayinza okugamba nti okukolera ku magezi ago kinyigiriza abantu ab’obusungu. Mu butuufu, n’abayivu abagamba nti abantu abamu bazaalibwa nga ba busungu bafuba nnyo okuyamba abantu ng’abo okuyiga okufuga obusungu.
Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti abantu abakola ebintu ebivumirirwa mu Bayibuli basobola okuyambibwa ne bakyusa enneeyisa yaabwe, nga muno mwe muli n’abo abeegatta n’abantu abatali bannaabwe mu bufumbo. Mu mbeera ezo zonna, amagezi Bayibuli g’ewa gasobola okuyamba omuntu. Egamba nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okumanya engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa, nga temululunkanira bikolwa bya kwegatta.”—1 Abassessalonika 4:4, 5.
“Abamu ku Mmwe Mwali ng’Abo”
Abantu abaafuuka Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baava mu mbeera za njawulo era mu kusooka baalina emize egitali gimu. Okusobola okufuuka Abakristaayo, abantu abo baalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku bantu “abagwenyufu, abasinza ebifaananyi, abenzi, abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga,” era n’egamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.”—1 Abakkolinso 6:9-11.
Bayibuli bw’egamba nti “abamu ku mmwe mwali ng’abo,” eba etegeeza nti abantu abo abaalekayo omuze ogw’okulya ebisiyaga tebalina mulundi na gumu lwe baddamu kufuna kwegomba okwo okubi? Ekyo si bwe kiri, kubanga Bayibuli era egamba nti: “Mutambulirenga mu mwoyo, era temujja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.”—Abaggalatiya 5:16.
Weetegereze nti Bayibuli tegamba nti Omukristaayo tasobola kufuna kwegomba kubi. Wabula egamba nti Omukristaayo asalawo obutakola ekyo omubiri kye gwegomba. Abakristaayo bayiga okufuga okwegomba okubi, ne batakumalirako birowoozo, ekyo ne kibayamba obutakukolerako.—Yakobo 1:14, 15.[6]
Bayibuli eraga nti waliwo enjawulo wakati w’okwegomba ekintu n’okukikola. (Abaruumi 7:16-25) Omuntu afuna okwegomba okw’okulya ebisiyaga asobola okufuga ebirowoozo ebyo ebibi, nga bw’asobola okufuga ebintu ebirala ebibi, gamba ng’obusungu, n’omululu.—1 Abakkolinso 9:27; 2 Peetero 2:14, 15.
Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku mitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli, tebakakaatika ndowooza yaabwe ku balala, era tebagezaako kulwanyisa mateeka agateekebwawo okukuuma eddembe ly’abo abeeyisa mu ngeri eyawukana ku yaabwe. Obubaka Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira bwa mirembe era baagala nnyo okububuulirako abo bonna abaagala okubuwulira.—Ebikolwa 20:20.
^ 1. Abaruumi 12:18: ‘Mube mu mirembe n’abantu bonna.’
^ 2. Isaaya 48:17: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa.”
^ 3. 1 Abakkolinso 6:18: “Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu!”
^ 4. 1 Peetero 2:17: “Muwenga abantu aba buli ngeri ekitiibwa.”
^ 5. Abakkolosaayi 3:5: “Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta.”
^ 6. Yakobo 1:14, 15: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.”