Ennyanjula
Ffenna oluusi n’oluusi tukosebwa ebizibu gamba ng’obulwadde, obubenje, obutyabaga, oba ebikolwa eby’obukambwe.
Abantu banoonya eby’okuddamu.
Abamu balowooza nti okubonaabona okututuukako kwatugerekerwa dda, ate abalala balowooza nti tetulina kye tuyinza kukolawo kwewala kubonaabona.
Abamu bagamba nti tubonaabona olw’ebintu ebibi bye tuba twakola emabega oba bye twakola nga tuli mu bulamu obulala.
Ebizibu ebigwawo bitera okuleetera abantu ebibuuzo bingi.