LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 2 lup. 6-7
  • 1. Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1. Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?
  • Zuukuka!—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu
  • Eky’Okulowoozaako
  • Bayibuli ky’Egamba
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2020
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ddala Katonda y’Atuleetera Okubonaabona?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
See More
Zuukuka!—2020
g20 Na. 2 lup. 6-7
Omukulu w’eddiini ng’akutte Bayibuli ng’ayogera eri abakungubazi abali mu ssinzizo.

1. Katonda Y’atuleetera Okubonaabona?

Lwaki Kikulu

Abantu bangi tebaagala kuweereza Katonda olw’okuba balowooza nti y’aleeta okubonaabona.

Eky’Okulowoozaako

Mu ngeri emu oba endala, abakulu b’amadiini bangi bayigiriza nti Katonda y’atuleetera okubonaabona. Ng’ekyokulabirako, abamu bagamba nti:

  • Obutyabaga obugwawo Katonda y’abuleeta okubonereza abantu.

  • Abaana bafa olw’okuba Katonda yeetaaga bamalayika abalala mu ggulu.

  • Katonda abaako oludda lw’awagira mu ntalo, eziviiriddeko abantu okubonaabona ennyo.

Naye kyandiba nti abakulu b’amadiini bye bayigiriza ku Katonda si bituufu? Watya singa Katonda yabeesamba?

MANYA EBISINGAWO

Laba vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Katonda si y’atuleetera okubonaabona.

Singa y’akuleeta, ekyo kiba tekikwatagana na ngeri ze ezoogerwako mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako:

“Amakubo [ga Katonda] gonna ga bwenkanya. . . . Mutuukirivu era mwenkanya.”​—EKYAMATEEKA 32:4.

“Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!”​—YOBU 34:10.

“Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.”​—YOBU 34:12.

Katonda akyawa amadiini agamwogerako eby’obulimba.

Omwo mwe muli amadiini agayigiriza nti Katonda y’atuleetera okubonaabona n’ago ageenyigira mu ntalo n’ebikolwa eby’obukambwe.

“Bannabbi balagula bya bulimba mu linnya lyange. Sibatumye wadde okubalagira wadde okwogera nabo. Okwolesebwa okw’obulimba . . . n’obulimba obuli mu mitima gyabwe bye bababuulira.”​—YEREMIYA 14:14.

Yesu yavumirira obunnanfuusi obuli mu madiini.

“Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala. Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, era ne tukola ebyamagero bingi mu linnya lyo?’ Naye ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abajeemu!’”​—MATAYO 7:21-23.

Katonda y’atuleetera okubonaabona?

Watya singa taata akuza bulungi abaana be era ng’afuba okubawa bye beetaaga, naye oluvannyuma omu ne yeewaggula n’ava awaka n’atandika okwenyigira mu mize emibi. Taata y’aba aleetedde omwana we oyo okweyisa bw’atyo? Omwana oyo asobola okunenya taata we olw’ebintu ebibi ebiva mu bikolwa bye? Mu ngeri y’emu, tetusobola kunenya Katonda olw’okubonaabona kwe twolekagana nakwo.

Naye ekyo kitegeeza nti ffe tunenyezebwa olw’okubonaabona okuliwo?

Laba ekibuuzo 2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share