DDALA ENSI ENEESAANAWO?
EMPEWO
NG’OGGYEEKO okuba nti twetaaga empewo okussa, tugyetaaga ne mu bintu ebirala. Empewo ekuuma ensi n’etetuukibwako amayengo ag’obulabe agasinga obungi agava ku njuba. Ate era singa ensi teyaliiko mpewo yalibaddeko obunyogovu bwa maanyi nnyo.
Ebyonoona Empewo
Okwonoonebwa kw’empewo kuyinza okuviirako ebiramu ebiri ku nsi okufa. Okusinziira ku Kitongole ky’Eby’Obulamu eky’Ensi Yonna, omuntu omu ku buli bantu kikumi y’assa empewo ennungi.
Okwonoonebwa kw’empewo kuviirako endwadde ezirina akakwate n’okussa, kookolo w’amawuggwe, n’endwadde z’omutima. Buli mwaka abantu 7,000,000 be bafa olw’okwonoonebwa kw’empewo.
Ensi Yatondebwa nga ya Kubeerawo
Ensi yatondebwa ng’esobozesa abantu n’ebiramu byonna okufuna empewo ennungi emala. Naye ekyo okusobola okukikola, abantu balina okuba nga beegendereza obutoonoona butonde. Lowooza ku by’okulabirako bino:
Kimanyiddwa bulungi nti ebibira biggya mu mpewo omukka omubi oguyitibwa carbon dioxide. Naye bangi tebakimanyi nti entobazi ezirimu emiti egiyitibwa mangrove ziggya omukka gwa carbon dioxide mungi mu mpewo n’okusingawo. Carbon dioxide emiti gya mangrove gwe ziggya mu mpewo akubisaamu emirundi etaano oyo ebibira gwe biggya mu mpewo.
Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti ebika ebimu eby’enkonge, gamba ng’eyo eyitibwa kelp tebikoma ku kuggya carbon dioxide mu mpewo, naye era bimuziika n’okumuziika. Obukoola bwa kelp buliko obuntu obusirikitu obulinga obusawo obuba bujjudde empewo obusobozesa enkonge eyo okuseeyeeya ku mazzi n’egenda wala nnyo. Ng’eri eyo ewala okuva ku lukalu, obusawo bwabika, enkonge eba ejjudde carbon dioxide n’ekka wansi ku ntobo y’ennyanja. Ebeera eyo ku ntobo y’ennyanja ng’eziikiddwa okumala ebyasa bingi.
Okuba nti empewo eyonooneddwa esobola okwerongoosa kyeyoleka bulungi mu kiseera ky’omuggalo gwa COVID-19. Mu 2020, amakolero agasinga obungi mu nsi n’ebidduka bwe byalekera awo okufulumya omukka omubi, empewo yalongooka mu kiseera kitono. Okusinziira ku lipooti emu eyafulumizibwa mu 2020 eyogera ku mutindo gw’empewo, ensi ezisukka mu 80 ku buli kikumi ezaakolebwako okunoonyereza zaalaga nti empewo yalongooka mu kiseera kitono ng’omuggalo gutandise.
Abantu Kye Bakolawo Okugonjoola Ekizibu
Okuvuga eggaali nga tuliko gye tugenda kisobola okukendeeza ku kwonoonebwa kw’empewo
Gavumenti zeeyongera okukubiriza amakolero okukendeeza okukola ebintu oba okukozesa ebintu ebyonoona empewo. Ate era, bannasayansi bazuddeyo enkola ezitali zimu ezisobola okukendeeza ku bulabe obuva ku bintu abantu bye bakola ebyonoona empewo. Ng’ekyokulabirako, mu emu ku nkola gye bazudde bakozesa obuwuka obusirikitu okukutulakutula ebintu eby’obulabe ne bifuuka ebitali bya bulabe. Ate era, abakugu bakubiriza abantu okutambula oba okuvuga eggaali nga baliko gye bagenda mu kifo ky’okuvuga emmotoka, era n’okukekkereza ebintu gamba ng’amafuta n’enku bye bakozesa awaka.
Gavumenti ezimu ziwa abantu baazo ssigiri ennungi ezitoonoona nnyo mpewo, naye era abantu bangi tebannasobola kuzifuna
Naye era waliwo ebirala ebyetaagibwa okukolebwa nga bwe kyalagibwa mu lipooti eyafuluma mu 2022 ey’ebitongole ebitali bimu, gamba nga Ekitongole ky’Ensi Yonna eky’Eby’Obulamu ne Bbanka y’Ensi Yonna.
Lipooti eyo egamba nti mu 2020, abantu nga kimu kya kusatu ababeera ku nsi ebintu bye bakozesa okufumba byonoona empewo. Mu bitundu bingi, bantu batono abasobola okukozesa essigiri ezitali za bulabe ku mukka gwe tussa oba abasobola okukozesa engeri endala ezitali za bulabe ku mpewo.
Ebituwa Essuubi—Bayibuli ky’Egamba
“Bw’ati Katonda ow’amazima, Yakuwa, bw’agamba, Oyo eyatonda eggulu era . . . eyayanjuluza ensi era eyakola byonna ebigiriko. Awa abantu abagiriko omukka gwe bassa.”—Isaaya 42:5.
Katonda ye yatonda empewo gye tussa era n’enkola ezitali zimu eziyonja empewo eyo, ate era alina amaanyi mangi nnyo era ayagala abantu. N’olwekyo, kikola amakulu okugamba nti ajja kuggyawo ebintu byonna ebyonoona empewo. Laba ekitundu “Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo.”