LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • rq essomo 15 lup. 30
  • Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala
  • Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Similar Material
  • Oyinza Otya Okubuulira Amawulire Amalungi?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Amawulire Amalungi Gabuulirwa Gatya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Osobola Okuyambako mu Mulimu gw’Okufuula Abantu Abayigirizwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Katonda Atwetaagisa Ki?
rq essomo 15 lup. 30

Essomo 15

Okuyamba Abalala Okukola Katonda by’Ayagala

Lwaki obuulira abalala ebintu by’oyiga? (1)

Ani gw’oyinza okubuulira ku mawulire amalungi? (2)

Kiki enneeyisa yo ky’eyinza okukola ku balala? (2)

Ddi lw’osobola okubuulirira awamu n’ekibiina? (3)

1. W’otuukidde wano oyize ebintu bingi ebirungi okuva mu Baibuli. Okumanya kuno kwandikuleetedde okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. (Abaefeso 4:​22-24) Okumanya ng’okwo kwetaagisa okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:⁠3) Kyokka n’abalala beetaaga okuwulira amawulire amalungi basobole okulokolebwa. Abakristaayo ab’amazima bonna bateekwa okubuulira abalala. Kiragiro kya Katonda.​—⁠Abaruumi 10:10; 1 Abakkolinso 9:16; 1 Timoseewo 4:⁠16.

2. Oyinza okutandika ng’obuulira abo abakuli okumpi ku bintu ebirungi by’oyiga. Bibuulire ab’omu maka go, mikwano gyo, b’osoma nabo, ne b’okola nabo. Ba wa kisa era mugumiikiriza ng’obabuulira. (2 Timoseewo 2:​24, 25) Kijjukire nti abantu batunuulira nnyo empisa z’omuntu okusinga bwe bawuliriza by’ayogera. N’olwekyo empisa zo ennungi ziyinza okusikiriza abalala okuwuliriza obubaka bw’obabuulira.​—⁠Matayo 5:16; 1 Peetero 3:1, 2, 16.

3. Ekiseera kiyinza okutuuka n’oba ng’otuukiriza ebisaanyizo by’okutandika okubuulirira awamu n’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kitundu ky’olimu. Lino ddaala kkulu mu kukulaakulana kwo. (Matayo 24:14) Nga kyandibadde kya ssanyu bwe wandisobodde okuyamba omuntu omulala okufuuka omuweereza wa Yakuwa n’afuna obulamu obutaggwaawo!​—⁠1 Abasessalonika 2:​19, 20.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share