LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ie lup. 17-18
  • Aw’Okufuna eby’Okuddamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Aw’Okufuna eby’Okuddamu
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Sayansi n’Obufirosoofo
  • Ekitabo eky’Enjawulo Ekiwa eby’Okuddamu
  • Waliyo Obulamu Oluvannyuma lw’Okufa?
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Endowooza Eyingira mu Nzikiriza y’Ekiyudaaya, Kristendomu, n’Obusiraamu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Bayibuli ky’Eyogera ku Bulamu n’Okufa
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Endowooza Eyingira mu Madiini g’Ebuvanjuba
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
See More
Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
ie lup. 17-18

Aw’Okufuna eby’Okuddamu

“Endowooza y’okubonaabona emirembe n’emirembe tekwatagana na nzikiriza nti Katonda ayagala ebintu ebyatondebwa. . . . Okukkiririza mu kubonerezebwa kw’emmeeme emirembe n’emirembe olw’ensobi ze yakola emyaka mitono, nga teweereddwa mukisa kugolola nsobi ezo, tekiba kikolwa kya magezi.” ​—⁠NIKHILANANDA, OMUFIROSOOFO OMUHINDU.

1, 2. Olw’enjawulo mu nzikiriza ezikwata ku Bulamu Oluvannyuma lw’Okufa, bibuuzo ki ebijjawo?

OKUFAANANAKO Nikhilananda omufirosoofo Omuhindu, bangi leero batawaanyizibwa enjigiriza y’okubonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe. Mu ngeri y’emu, abalala kibazibuwalira okutegeera endowooza ng’okuyingira mu Nirvana era n’okubeera obumu ne Tao.

2 Kyokka, olw’endowooza nti emmeeme tefa, amadiini ag’Ebuvanjuba n’Ebugwanjuba gakulaakulanyizza enzikiriza ezibuzaabuza ezikwata ku Bulamu Oluvannyuma lw’Okufa. Kisoboka okumanya ekituufu ekikwata ku kitutuukako bwe tufa? Ddala emmeeme tefa? Wa wetuyinza okufuna eby’okuddamu?

Sayansi n’Obufirosoofo

3. Sayansi oba enkola ya sayansi ey’okunoonyereza bisobola okuddamu ebibuuzo ebikwata ku bulamu oluvannyuma lw’okufa?

3 Sayansi oba enkola ya sayansi ey’okunoonyereza biyinza okuddamu ebibuuzo ebikwata ku Bulamu Oluvannyuma lw’Okufa? Okusinziira ku byogerwa ku bawonera awatono okufa oba abazirika, abanoonyereza abamu bagezezzaako okwekenneenya obulamu oluvannyuma lw’okufa. Mu mboozi ye eyalina omutwe “Okufa Ekkubo Erituusa mu Kitangaala?,” Hans Küng Omukatuliki omukugu mu by’eddiini yagamba bw’ati ku ebyo ebyogerwa: “Ebyogera nga bino tebirina kye bikakasa ku bulamu oluvannyuma lw’okufa: ebyogerwa bino biba bikwata ku ddakiika etaano ezisembayo nga tonnaba kufa so si obulamu obutaggwaawo oluvannyuma lw’okufa.” Yagattako: “Ekibuuzo ekikwata ku bulamu oluvannyuma lw’okufa kikulu nnyo eri omuntu omulamu. Kyetaagisa okuddibwamu okuva mu kifo ekirala abakugu mu by’ekisawo bwe baba tebasobola kukiddamu.”

4. Obufirosoofo buyinza okutuyamba okuzuula eby’okuddamu mu bingi ebiweebwa amadiini agatali gamu ku bulamu oluvannyuma lw’okufa?

4 Ate bwo obufirosoofo? Buyinza okutuyamba okuzuula eby’okuddamu mu bingi ebyogerwa amadiini agatali gamu ku bulamu oluvannyuma lw’okufa? Okunoonyereza kw’ekifirosoofo kutwaliramu “okuteebereza,” bw’atyo bw’ayogera Bertrand Russell omufirosoofo Omungereza ow’omu kyasa 20. Obufirosoofo, okusinziira ku The World Book Encyclopedia, “ngeri ey’okubuuliriza​—⁠enkola ey’okwekenneenya, okwekebejja, okutaputa, n’okuteebereza.” Ku bikwata ku Bulamu Oluvannyuma lw’Okufa, okuteebereza kw’ekifirosoofo kwogedde ku butafa ng’okuteebereza obuteebereza oba ekintu buli muntu kyalina.

Ekitabo eky’Enjawulo Ekiwa eby’Okuddamu

5. Kitabo ki ekisingayo obukadde ekyali kiwandiikiddwa?

5 Kyokka, waliyo ekitabo ekiwa eby’okuddamu eby’amazima mu bibuuzo ebikulu ebikwata ku bulamu n’okufa. Kye kitabo ekisingayo obukadde ekyali kiwandiikiddwa, nga ebitundu byakyo ebimu byawandiikibwa emyaka nga 3,500 egiyise. Ekitundu ekisooka eky’ekitabo kino kyawandiikibwa ng’ebulayo ebyasa bitono ennyimba ezaasooka ez’ebyawandiikibwa by’Abahindu ebiyitibwa Veda ziyiiyizibwe era emyaka nga lukumi nga Buddha, Mahāvīra, ne Confucius tebannabaawo ku nsi. Ekitabo kino kyamalirizibwa mu 98 C.E., emyaka egisukka mu 500 nga Muhammad tannatandika Busiraamu. Ekitabo kino eky’enjawulo eky’amagezi aga waggulu ye Baibuli.a

6. Lwaki twandisuubidde Baibuli okutubuulira emmeeme ky’eri?

6 Baibuli kye kitabo ekirimu ebyafaayo eby’edda ebisingayo okuba ebituufu. Ebyafaayo ebiri mu Baibuli byogera ne ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu era binnyonnyola engeri gye twajja okuba wano ku nsi. Era byogera ku kiseera ng’abantu tebannatondebwa. Ekitabo ng’ekyo mazima ddala kiyinza okututegeeza engeri omuntu gye yakolebwamu era n’emmeeme ky’eri.

7, 8. Lwaki twandyesize Baibuli okutuwa eby’okuddamu eby’amazima era ebimatiza ku kibaawo nga tufudde?

7 Era, Baibuli kitabo kya bunnabbi obutuukiriziddwa. Ng’ekyokulabirako, kyalagula okuyimuka n’okuggwa kw’obufuzi bw’Abameedi n’Abaperusi era n’obw’Abayonaani. Obunnabbi buno bwali butuufu nnyo ne kiba nti abakolokosi abamu bagezaako okulumiriza nti bwawandiikibwa luvannyuma lwa bintu ebyo kubaawo. (Danyeri 8:​1-7, 20-22) Obunnabbi obumu obuli mu Baibuli butuukirizibwa mu bujjuvu mu kiseera kyaffe kyennyini.b​—⁠Matayo, essuula 24; Makko, essuula 13; Lukka, essuula 21; 2 Timoseewo 3:​1-5, 13.

8 Tewali muntu n’omu, k’abe mugezi atya, ayinza okulagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso ate ne bituukirira byonna. Omutonzi w’obutonde bwonna, ow’amaanyi ennyo era ow’amagezi amangi ye yekka asobola. (2 Timoseewo 3:​16, 17; 2 Peetero 1:​20, 21) Mazima ddala Baibuli kitabo ekyava eri Katonda. Ddala ddala ekitabo ng’ekyo kiyinza okutuwa eby’okuddamu eby’amazima era ebimatiza ebikwata ku kitutuukako nga tufudde. Ka tusooke tulabe kye kyogera ku mmeeme.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ka brocuwa A Book for All People, akaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

b Laba The Bible​—⁠God’s Word or Man’s?, akaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Ekitabo ekisingayo obukadde ekyali kiwandiikiddwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Ekitabo ekiwa eby’okuddamu ebyesigika era ebimatiza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share