LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 17 lup. 139-lup. 142 kat. 1
  • Okukozesa Akazindaalo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukozesa Akazindaalo
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Eddoboozi Erisaanira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okuvvuunula Emboozi z’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2020 Olulina Omutwe, ‘Musanyukenga’!
    Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
  • Okutunuulira Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Engeri Gye Tusaanidde Okweyisaamu nga Tutuuse ku Mulyango Gw’omuntu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 17 lup. 139-lup. 142 kat. 1

ESSOMO 17

Okukozesa Akazindaalo

Kiki ky’osaanidde okukola?

Bwe muba mukozesa akazindaalo mu nkuŋŋaana zammwe okutumbula amaloboozi, kakozese mu ngeri entuufu.

Lwaki Kikulu?

Abalala okusobola okuganyulwa mu ebyo by’oyogera balina okubiwulira obulungi.

BAGANDA baffe ne bannyinaffe Abakristaayo bawaayo ebiseera bingi era ne bafuba okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Bwe baba ab’okuganyulwa mu ebyo ebyogerwa, balina okubiwulira obulungi.

Mu Isiraeri ey’edda, tewaaliwo byuma bitumbula maloboozi. Musa bwe yali ayogera eri eggwanga lya Isiraeri mu Nsenyi za Mowaabu nga tebannayingira mu Nsi Ensuubize, abantu abo bonna abassuka mu kakadde, baasobola batya okuwulira by’ayogera? Kirabika Musa yateeka abasajja mu bifo ebitali bimu mu lusiisira ne basobola okuddiramu abalala by’ayogedde. (Ma. 1:1; 31:1) Ng’Abaisiraeri batandise okuwamba ebitundu ebyali ebugwanjuba bwa Yoludaani, Yoswa yakuŋŋaanya eggwanga lyonna mu maaso g’Olusozi Gerizimu ne Ebali, era kirabika Abaleevi bo baali mu kiwonvu ekyali kyawula ensozi ezo. Nga bali mu kifo ekyo, abantu bonna baawulira emikisa n’ebikolimo Katonda bye yali ayinza okubatuusaako era ne basuubiza okubaako kye bakolawo. (Yos. 8:33-35) Kyandiba nti ne ku mulundi ogwo abantu baakozesebwa okuddiramu bannaabwe bye baali bagambiddwa, era nga kirabika n’ekifo we baali kyali kisobozesa amaloboozi okuwulikika obulungi.

Nga wayiseewo emyaka nga 1,500, ‘ekibiina ekinene ennyo bwe kyakuŋŋaanira’ ku Nnyanja y’e Ggaliraaya okuwuliriza Yesu, yalinnya eryato, n’asaabalako katono okuva ku lukalu era n’atandika okwogera eri ekibiina. (Mak. 4:1, 2) Lwaki Yesu yayogerera mu lyato? Kirabika lwa kuba eddoboozi ly’omuntu liwulikika bulungi bw’ayogerera ku nnyanja eteese obulungi.

Okutuusiza ddala ku ntandikwa y’ekyasa eky’amakumi abiri, obunene bw’eddoboozi ly’omuntu bwe bwasalangawo obungi bw’abantu abayinza okuwulira by’aba ayogera. Kyokka, okutandikira mu myaka gya 1920, abaweereza ba Yakuwa baatandika okukozesa ebyuma ebitumbula amaloboozi nga bali mu nkuŋŋaana zaabwe ennene.

Ebyuma by’Amaloboozi. Ebyuma ebyo bisobola okutumbulira ddala eddoboozi ly’omwogezi kyokka ne lisigala nga ddungi. Omwogezi kiba tekimwetaagisa kuleekaana. Abawuliriza baba bawulira bulungi ebyogerwa.

Enteekateeka ennungi zikolebwa okukakasa nti wabaawo ebyuma by’amaloboozi ebirungi mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Okugatta ku ekyo, mu Bizimbe by’Obwakabaka bingi ebyuma by’amaloboozi byeyambisibwa okutumbula amaloboozi g’abo abawa emboozi, abakubiriza enkuŋŋaana, oba abasoma ku pulatifoomu. Ate mu bibiina ebimu, obuzindaalo bukozesebwa ng’abawuliriza baddamu ebibuuzo. Singa ekibiina kyo kiba n’obuzindaalo ng’obwo, yiga okubukozesa obulungi.

Ebinaakuyamba Okukozesa Obulungi Akazindaalo. Okusobola okukozesa obulungi akazindaalo, jjukira ebintu bino wammanga: (1) Akazindaalo kalina okuba inci eziri wakati w’ennya n’omukaaga okuva ku kamwa ko. Singa kabeera kumpi nnyo n’akamwa ko, eddoboozi lyo liyinza okuvumbeera. Ate singa kabeera walako, eddoboozi lyo terijja kuvaayo bulungi. (2) Akazindaalo kalina okuba nga kasonze mu kamwa ko, so si ku bbali. Singa oba okyusizzaako katono ku mutwe gwo, toyogera okutuusa ng’akamwa kateebye mu kazindaalo. (3) Yongeza ku ddoboozi lyo lisinge ku eryo ly’okozesa ng’onyumya n’omuntu. Naye tekikwetaagisa kuleekaana. Ebyuma by’amaloboozi bijja kutumbula eddoboozi lyo lisobole okuwulikika eri abakuwuliriza bonna. (4) Bw’oba oyagala okugogola obulago oba okukolola oba okwasimula, kyusaako ku mutwe.

Ng’Owa Emboozi. Bw’otuuka ku pulatifoomu, ow’oluganda ajja kukutereereza akazindaalo. Ng’ow’oluganda akatereeza, yimirira bulungi ng’otunuulidde abakuwuliriza. Empapula okuli bye wawandiise zisse ku kameeza akakozesebwa omwogezi, era kakasa nti akazindaalo tekakuziyiza kuziraba.

Bw’otandika okwogera, wuliriza engeri eddoboozi lyo gye liwulikikamu mu mizindaalo. Eddoboozi liri waggulu nnyo, oba ebigambo ebimu bidoodooma? Bwe kiba bwe kityo, kiyinza okukwetaagisa okusemberako emabega katono inci ng’emu oba bbiri. Bw’oba otunula ku mpapula okuli bye wawandiise, jjukira nti olina kwogera n’okusoma ng’akamwa kateebye mu kazindaalo oba ng’akazindaalo kakali wagguluko, naye toyogera ng’akazindaalo kali wansi w’akamwa.

Ng’Osoma ku Pulatifoomu. Kiba kirungi okukwata mu ngalo Baibuli yo oba ekitabo ekirala kyonna ky’osoma kikusobozese okutunuulira abakuwuliriza. Okuva akazindaalo bwe kajja okukubeera mu maaso, kiyinza okukwetaagisa okukwatira ky’osoma ku luuyi olumu. Ekyo nno kijja kukwetaagisa okukyusaako katono ku mutwe gwo gutunule ku luuyi lwa kazindaalo. Awo bw’onooba osoma, eddoboozi lyo lijja kugenda butereevu mu kazindaalo.

Ab’oluganda abasinga obungi abasoma Omunaala gw’Omukuumi bayimirira era ne boogera butereevu mu kazindaalo. Ekyo kibasobozesa okussa obulungi era n’okusoma mu ngeri esingako obulungi. Kijjukire nti ekitundu ekisinga obunene eky’olukuŋŋaana luno kiba kya kusoma butundu. Abawuliriza okusobola okuganyulwa obulungi, balina okuwulira obulungi ebisomebwa.

Ng’Olina ky’Oddamu mu Lukuŋŋaana. Bwe kiba nti mu kibiina kyammwe mukozesa obuzindaalo mu kuddamu ebibuuzo, kijjukire nti era kikwetaagisa okubwogereramu obulungi mu ddoboozi erimala. Bw’obaako ne ky’oyogera, kwatira wagguluko akatabo ko oba Baibuli yo. Kino kijja kukusobozesa okulaba obulungi ebiri mu kitabo ng’oyogerera mu kazindaalo.

Mu bibiina ebimu ab’oluganda baweebwa obuvunaanyizibwa obw’okutwala akazindaalo eri abo abalondeddwa okubaako kye baddamu. Singa enteekateeka eyo ebaawo mu kibiina kyammwe, bwe bakulonda okubaako ky’oddamu, omukono gwo guleke waggulu ow’oluganda atambuza akazindaalo asobole okukulaba era akutuukeko mangu. Bwe kiba nti awa eky’okuddamu y’alina okukeekwatira, ba mwetegefu okukakwata. Totandika kwogera okutuusa ng’omaze okukateeka okumpi n’akamwa. Bw’omala okwogera, akazindaalo kaddizze ow’oluganda akatambuza.

Nga Mulaga Ekyokulabirako. Okusobola okukozesa obulungi akazindaalo mu kulaga ekyokulabirako, kyetaagisa okwegezaamu nga bukyali. Singa akazindaalo kaba kalina kwe kayimiriziddwa, emikono gyo gyombi oba osobola okugikozesa okukwata Baibuli yo n’empapula okuli bye wawandiise. Singa akazindaalo kaba ka kukwata mu ngalo oba osobola okukoogererako ng’okakyusakyusa nga bw’oba oyagadde, naye n’oyo gw’oyogera naye ayinza okukuyamba n’akakukwatira. Awo ojja kuba osobola okukozesa emikono gyo okukwata Baibuli yo. Weegezeemu n’oyo agenda okukuyamba okulaga ekyokulabirako musobole okumanya engeri y’okukakozesaamu obulungi. Ate era, kijjukire nti bw’oba ng’oli ku pulatifoomu, abakuwuliriza tosaanidde kubakuba mabega, naddala ng’oyogera.

Pulatifoomu eyinza okubaako abantu abawerako mu byokulabirako ebiragibwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. N’olwekyo, obuzindaalo obuwerako buyinza okwetaagisa. Obuzindaalo obwo busaanidde okuteekebwa ku pulatifoomu nga bukyali oba okuweebwa abo abagenda okubukozesa nga bagenda ku pulatifoomu. Ekyo okukikola kyetaagisa enteekateeka ennungi. Okwegezaamu ng’ebyokulabirako tebinnalagibwa ku pulatifoomu kisobozesa okuwa obulagirizi abo abanaabyetabamu ku ngeri y’okukozesaamu obuzindaalo. Bwe kiba tekisoboka kwegerezaamu ku pulatifoomu, kyandibadde kirungi abo abanaalaga ebyokulabirako okukwata ebintu ebyefaanaanyirizaako obuzindaalo kibasobozese okumanya engeri gye banaabukozesaamu. Nga bamaze okulaga ekyokulabirako, obuzindaalo basaanidde okubuzza mu bifo byabwo n’obwegendereza, era balina n’okwegendereza waya ez’obuzindaalo obulala zireme kubatega nga bava ku pulatifoomu.

Bwe tufuba okukozesa obulungi obuzindaalo kijja kutusobozesa okutuukiriza ebiruubirirwa by’enkuŋŋaana zaffe, kwe kugamba, buli omu okuganyula munne nga tukubaganya ebirowoozo ku Kigambo kya Katonda. (Beb. 10:24, 25) Bwe tuyiga okubukozesa obulungi, tujja kubaako kye tukola mu kutuukiriza ekiruubirirwa ekyo ekikulu ennyo.

ENGERI Y’OKUKAKOZESAAMU

  • Akazindaalo kalina kuba inci eziri wakati w’ennya n’omukaaga okuva ku kamwa ko.

  • Kakasa nti oyogera ng’akamwa ko kateebye mu kazindaalo.

  • Kozesa eddoboozi erisingako ku eryo ly’okozesa ng’onyumya.

  • Bw’oyagala okugogola obulago, omutwe gwo guggye awali akazindaalo.

EKY’OKUKOLA: Obuzindaalo bwe buba bukozesebwa mu Kizimbe kyammwe eky’Obwakabaka, weetegereze engeri aboogezi abalina obumanyirivu gye babukozesaamu. Londamu engeri ze wandyagadde okukozesa oba okwewala era n’ensonga lwaki osalawo bw’otyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share