LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ol ekitundu 8 lup. 25-28
  • Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima
  • Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weekutule ku Ddiini ez’Obulimba
  • Weggyeko Ebintu Ebikozesebwa mu Kusinza okw’Obulimba
  • Kolagana n’Abantu ba Yakuwa
  • Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Weereza Yakuwa, Si Setaani
    Emyoyo gy’Abafu Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Weesambe Eddiini ez’Obulimba!
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
See More
Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
ol ekitundu 8 lup. 25-28

EKITUNDU 8

Weesambe Eddiini ez’Obulimba; Beera mu Ddiini ey’Amazima

1. Ku bikwata ku kusinza, kusalawo ki abantu kwe boolekaganye nakwo?

YESU yagamba: “Omuntu atabeera nange mulabe wange.” (Matayo 12:30) Bwe tutaba ku ludda lwa Yakuwa tuba ku ludda lwa Setaani. Abantu bangi balowooza nti baweereza Katonda nga bw’ayagala, naye Baibuli egamba nti Setaani ‘abuzaabuzizza ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9, NW) Obukadde n’obukadde bw’abantu balowooza nti basinza Katonda, naye nga mazima ddala basinza Setaani Omulyolyomi! Abantu leero boolekaganye n’eky’okusalawo: Okuweereza Yakuwa, “Katonda ow’amazima,” oba okuweereza Setaani, “Kitaawe w’obulimba.”​—Zabbuli 31:5; Yokaana 8:44.

Weekutule ku Ddiini ez’Obulimba

2. Ngeri ki emu Setaani gy’akozesa okulemesa abantu okusinza Yakuwa?

2 Okusalawo okuweereza Yakuwa, kye kintu eky’amagezi okukola, era ekireetera omuntu okusiimibwa Katonda. Naye Setaani tasanyukira muntu yenna aweereza Katonda; abaleetera ebizibu. Engeri emu gy’akikolamu, kwe kubaleetera okuvumibwa era n’okuziyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Yesu yalabula: “Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.”​—Matayo 10:36.

3. Singa ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo bakuziyiza okusinza Katonda, kiki kye wandikoze?

3 Singa ekyo kikutuukako, kiki kye wandikoze? Abantu bangi bakimanyi nti ensinza yaabwe nkyamu, naye balonzalonza okugivaamu. Balowooza nti singa bakikola bandibadde bajeemera ab’eŋŋanda zaabwe. Naye ekyo kya magezi? Singa okimanya nti ab’eŋŋanda zo ab’oku lusegere bakozesa amalagala ag’akabi, tewandibalabudde? Ddala wandibeegasseeko mu kukozesa amalagala ago?

4. Kiki Yoswa kye yagamba Abaisiraeri ku bikwata ku kusinza mu kiseera kye?

4 Yoswa yakubiriza Abaisiraeri okulekera awo okwenyigira mu bikolwa ebikyamu eby’eddiini ebya bajjajjaabwe. Yabagamba: “Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w’Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.” (Yoswa 24:14) Yoswa yali mwesigwa eri Yakuwa era Yakuwa yamuwa emikisa. Bwe tubeera abeesigwa eri Yakuwa, naffe ajja kutuwa emikisa.​—2 Samwiri 22:26.

Enjigiriza z’Eddiini​—Entuufu n’Ez’Obulimba

  • Omujulirwa wa Yakuwa ayigiriza omukazi n’abaana be Bayibuli

    Tiriniti: Amadiini mangi gayigiriza nti Katonda Tiriniti. Bagamba nti “Kitaffe Katonda, Omwana [Yesu] Katonda era n’Omwoyo Omutukuvu Katonda, kyokka nga tebali Bakatonda basatu wabula omu.”

    Baibuli terina na w’ekozesezza kigambo “Tiriniti,” oba okuyigiriza nti Yakuwa ali basatu mu omu. Yakuwa yekka ye Katonda. Abakkolinso Ekisooka 8:6 wagamba: “Gye tuli waliwo Katonda omu.” Yakuwa y’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Yesu si Katonda, naye ‘Mwana wa Katonda.’ (1 Yokaana 4:15) Mu ngeri y’emu, omwoyo omutukuvu si Katonda. Ate era, omwoyo omutukuvu si muntu, wabula ge maanyi ga Katonda agakola.​—Ebikolwa 1:8; Abeefeso 5:18.

  • Emmeeme: Amadiini mangi gayigiriza nti emmeeme kintu ekiri mu muntu ekitafa. Naye Baibuli eyigiriza nti emmeeme ye muntu kennyini, era nga ddala omuntu asobola okufa.​—Olubereberye 2:7; Ezeekyeri 18:4.

  • Omuliro Ogutazikira: Amadiini ag’obulimba gayigiriza nti emmeeme z’abantu ababi zibonyaabonyezebwa emirembe gyonna mu muliro ogutazikira. Baibuli egamba nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Baibuli era eyigiriza nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Yakuwa, Katonda ow’okwagala, tasobola kubonyaabonya bantu mu muliro emirembe gyonna.

Akasanduuko: Baibuli eyigiriza ki ku bikwata ku Tiriniti, emmeeme, n’omuliro ogutazikira?

Weggyeko Ebintu Ebikozesebwa mu Kusinza okw’Obulimba

Omukazi ayokya ebikozesebwa mu bulogo

5. Lwaki twandyeggyeko ebintu byonna eby’obusamize?

5 Okwekutula ku ddiini ez’obulimba era kitegeeza nti tuteekwa okuzikiriza ebintu byonna ebikozesebwa mu busamize bye tuyinza okuba nabyo, gamba ng’ensiriba, yirizi n’ebintu ebirala ebiringa ebyo. Ekyo kikulu kubanga kiraga nti tussizza obwesige bwaffe bwonna mu Yakuwa.

6. Kiki Abakristaayo abaasooka kye baakola ebitabo byabwe eby’obufumu?

6 Lowooza ku ebyo Abakristaayo abaasooka bye baakola bwe baasalawo okubeera mu ddiini ey’amazima. Baibuli egamba: “Bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna.”​—Ebikolwa 19:19.

7. Kiki kye tuyinza okukola singa balubaale batutawaanya?

7 Abamu ku abo abatandika okuweereza Yakuwa ng’ate emabega baali beenyigidde mu bulogo n’ebikolwa eby’obusamize bayinza okutawaanyizibwa balubaale. Singa ekyo kikutuukako, saba Yakuwa ng’okoowoola erinnya lye mu ddoboozi ery’omwanguka. Ajja kukuyamba.​—Engero 18:10; Yakobo 4:7.

8. Abakristaayo batwala batya ebifaananyi ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba?

8 Abo abaagala okuweereza Yakuwa, tebateekwa kubeera na bifaananyi ebikozesebwa mu kusinza okw’obulimba. Abakristaayo ab’amazima ‘batambula lwa kukkiriza so si lwa kulaba.’ (2 Abakkolinso 5:7) Bassa ekitiibwa mu tteeka lya Katonda erigaana okukozesa ebifaananyi mu kusinza.​—Okuva 20:4, 5.

Kolagana n’Abantu ba Yakuwa

Maama ne muwala we bateekateeka eby’okulya

9. Baibuli eyogera ki ku bikwata ku kubeera ow’amagezi?

9 Baibuli egamba: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi.” (Engero 13:20) Bwe tuba nga twagala okuba ab’amagezi, tulina okutambula oba okukolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa. Be bantu abatambulira mu kkubo erituusa mu bulamu.​—Matayo 7:14.

10. Abajulirwa ba Yakuwa bayinza batya okukuyamba okuweereza Katonda?

10 Mazima ddala, Abajulirwa bafaayo ku bantu. Omulimu gwabwe kwe kuyamba abantu ab’emitima emyesigwa okutegeera amazima g’omu Baibuli agatuusa mu bulamu obutaggwaawo. Bayinza okukuyamba nga bakuyigiriza Baibuli awatali kusasula. Bajja kuddamu ebibuuzo byo era bajja kukulaga engeri gy’oyinza okukozesamu okumanya kw’omu Baibuli mu bulamu bwo.​—Yokaana 17:3.

11. Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zinaakuyamba zitya?

11 Ojja kuyiga bingi ebikwata ku makubo ga Yakuwa mu nkuŋŋaana zaabwe ezitera okubeera mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Obumalirivu bw’olina okugoberera eddiini ey’amazima bujja kunywezebwa. Era ojja kutendekebwa mu ngeri naawe gy’oyinza okuyambamu abalala okuyiga amazima ag’omu Baibuli.​—Abebbulaniya 10:24, 25.

Olukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka

12. Okusaba kuyinza kutya okukuyamba okuweereza Katonda?

12 Bw’oneeyongera okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa by’ayagala era n’ebigendererwa bye, ojja kweyongera okutegeera engeri ze ennungi. Era ojja kweyongera okwagala okukola by’ayagala n’okwewala ebimunyiiza. Jjukira nti osobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba akuyambe okukola ebituufu era n’okwewala ebitali bituufu.​—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abafiripi 4:6.

Ab’omu maka basomera wamu Bayibuli

Osobola otya okubeera mu ddiini ey’amazima?

13. Oyinza otya okusanyusa omutima gwa Yakuwa?

13 Awatali kubuusabuusa, bw’onoogenda ng’okulaakulana mu by’omwoyo, ojja kulaba obwetaavu bw’okwewaayo eri Yakuwa era obeere omu ku Bajulirwa be ababatize. Bw’oneegatta ku bantu ba Yakuwa, ojja kusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Ojja kubeera omu ku bantu abasanyufu Katonda b’ayogerako bw’ati: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe; nabo banaabeeranga bantu bange.”​—2 Abakkolinso 6:16.

Nneekutula ku Balubaale

Josephine Ikezu n’abamu ku baana be

Lumu ekiro bwe twali nga twebase n’omwami wange, nnawulira eddoboozi nga liyita erinnya lyange emirundi esatu. Oluvannyuma, nnalaba siiringi nga yeeyabuluzaamu, era ekintu ekyekulungirivu ekyakaayakana ne kigwa ku lubuto lwange. Ye omwami wange teyalaba bintu ebyo. Kyokka, okuva mu kiseera ekyo, nnatandika okuwulira ebbugumu lya maanyi nnyo okumalira ddala emyezi egiwera.

Nga wayiseewo emyezi mukaaga, eddoboozi lyaddamu ne limpita. Mangu ddala, ennyumba yonna yali ng’eyali mu mazzi amangi ennyo. Ttimba omunene ennyo yava mu mazzi ago ne yeezingirira ku mukono gwange. Nnagezaako okumweggyako, naye ne nnemwa. Nnatya nnyo. Oluvannyuma, amazzi n’omusota ogwo byagenda, era nnasuulibwa wansi mu ngeri ey’obukambwe ennyo. Nnazirika okumala essaawa nnyingi. Awo eddoboozi ne liryoka liŋŋamba okugenda mu ssabo eryali mu kyalo. Bwe nnabuuza lubaale oyo erinnya lye, yantegeeza erinnya eririna amakulu nti “omugagga atalina mwana.” Yansuubiza nti ajja kungaggawaza okuyitira mu maanyi ag’okuwonya.

“Abalwadde okuva ebule n’ebweya bajjanga gye ndi. Bwe baalinga tebannatuuka mu maka gange, nnasobolanga okubalabira mu ndabirwamu yange etali ya bulijjo. Kati omuntu bwe yatuukanga, nnakubanga mu kibatu kye, era amangu ago obulwadde bwe n’engeri ey’okumuwonyaamu ne biryoka binjolesebwa. Era lubaale oyo yantegeezanga ssente mmeka abantu ze baalinanga okusasula.

Nnafunanga ssente nnyingi nnyo n’ebirabo kubanga nnabawonyanga bulungi. Nnafuuka ‘mugagga nnyo,’ naye era nnategeera amakulu g’ebigambo biri nti “atalina mwana.” Buli bwe nnazaalanga omwana, mukulu we ng’afa. Kya nakuwaza nnyo. Mu myaka 12 gye nnamala nga mpeereza lubaale oyo, nnafiirwa abaana mukaaga.

Nnatandika okusaba Katonda annyambe. Nnasaba nnyo. Lumu, Abajulirwa ba Yakuwa baakonkona ku luggi lwange. Wadde nga nnateranga okubagoba, ku olwo nnasalawo okubawuliriza. Mu kukubaganya ebirowoozo nabo, nnakitegeera nti nnali mpeereza lubaale! Nnasalawo okulekera awo eby’obusamize.

Ebyo bwe nnabitegeeza lubaale oyo, yandabula ku bikwata ku ekyo kye nnali nsazeewo okukola. Kyokka, nnamugamba nti: “Ndekedde awo okukolagana naawe.”

Nnayokya ebintu byonna bye nnakozesanga mu by’obusamize. Nnatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa, nnafuuka omuweereza wa Yakuwa, era ne mbatizibwa mu 1973. Kati nnina abaana bataano abalamu obulungi. Omwami wange naye yafuuka Omujulirwa omubatize.​—Bino byayogerwa Josephine Ikezu.

Akasanduuko: Omukyala omu yeekutula atya ku balubaale?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share