LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • hf essomo 9 1-2
  • Musinzize Wamu ng’Amaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Musinzize Wamu ng’Amaka
  • Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1 MUNYWEZE ENKOLAGANA YAMMWE NE YAKUWA
  • 2 MUSINZIZE WAMU KATONDA NG’AMAKA
  • Enteekateeka Eganyula Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okusinza kw’Amaka Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Okusinza kw’Amaka—Kusobola Okuba Okunyuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Musemberere Katonda Naye Anaabasemberera”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu
hf essomo 9 1-2
Abafumbo basomera wamu Bayibuli

ESSOMO 9

Musinzize Wamu Yakuwa

“Musinze oyo eyakola eggulu, n’ensi.”​—Okubikkulirwa 14:7

Akatabo kano kalaze nti Bayibuli erimu amagezi agasobola okuyamba amaka okubaamu essanyu. Yakuwa ayagala mubeere basanyufu. Asuubiza nti singa mukulembeza by’ayagala, ‘ebintu ebirala byonna bijja kubongerwako.’ (Matayo 6:33) Mu butuufu ayagala mubeere mikwano gye. Mufube okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kubanga ekyo kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu.​—Matayo 22:37, 38.

1 MUNYWEZE ENKOLAGANA YAMMWE NE YAKUWA

Omwami ne mukyala we nga bali bonna mu mulimu gw’okubuulira

BAYIBULI KY’EGAMBA: Yakuwa agamba nti: “Nnaabeera kitammwe, era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala.” (2 Abakkolinso 6:18) Ekimu ku bye muyinza okukola okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda kwe kumusaba. Yakuwa ayagala ‘mumusabenga bulijjo.’ (1 Abassessalonika 5:17) Mwetegefu okuwuliriza essaala zammwe. (Abafiripi 4:6) Bw’osabira awamu n’ab’omu maka go, bajja kukiraba nti weesiga Katonda.

Ng’oggyeeko okusaba Katonda, mwetaaga okuwuliriza by’abagamba nga musoma Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola. (Zabbuli 1:1, 2) Mufumiitirize ku ebyo bye muba musomye. (Zabbuli 77:11, 12) Okuwuliriza Katonda kizingiramu n’okugenda mu nkuŋŋaana okumusinza.​—Zabbuli 122:1-4.

Okubuulirako abalala ebikwata ku Yakuwa nakyo kijja kunyweza enkolagana yammwe naye. Gye munaakoma okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa, gye mujja okukoma okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.​—Matayo 28:19, 20.

BYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Buli lunaku mufuneeyo akadde okusoma Bayibuli n’okusaba

  • Wadde nga kirungi okwesanyusaamu, mukulembeze ebyo Katonda by’ayagala

2 MUSINZIZE WAMU KATONDA NG’AMAKA

Taata yeeteekerateekera okusinza kw’amaka era oluvannyuma bayigira wamu ng’amaka

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Musaanidde okubeera n’enteekateeka ey’okusinza kw’amaka obutayosa. (Olubereberye 18:19) Okugatta ku ekyo, musaanidde okukulembeza Katonda mu buli kye mukola. Mufube okunyweza enkolagana yammwe ne Katonda nga muyiga ebimukwatako buli kiseera. Katonda agamba nti: “Ebigambo bino bye nkulagira leero . . . onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” (Ekyamateeka 6:6, 7) Mubeere nga Yoswa eyagamba nti: “Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”​—Yoswa 24:15.

KYE MUYINZA OKUKOLA:

  • Mubeere n’enteekateeka ey’okuyiga ebikwata ku Katonda esobola okuganyula buli omu mu maka

Maama asomera mutabani we ekitabo; Amaka nga gazannya akazannyo k’omu Bayibuli; Taata ng’ayigiriza muwala we

ABAWEEREZA BA YAKUWA BASANYUFU

Okuweereza Yakuwa Katonda ye nkizo esingayo. Kimusanyusa nnyo bw’alaba nga ggwe n’ab’omu maka go mumuweereza. Gye munaakoma okuweereza Yakuwa, gye mujja okukoma okumwagala n’okumukoppa. (Makko 12:30; Abeefeso 5:1) Mwembi bwe munaaweereza Katonda obufumbo bwammwe bujja kweyongera okunywera. (Omubuulizi 4:12; Isaaya 48:17) Ggwe n’ab’omu maka go musobola okuba abasanyufu emirembe gyonna, kubanga ‘Yakuwa Katonda wammwe abawadde omukisa.’​—Ekyamateeka 12:7, NW.

MWEBUUZE . . .

  • Ddi lwe twasembayo okusabirako awamu?

  • Ng’amaka, biki bye tuyinza okukubaganyaako ebirowoozo ebisobola okunyweza okukkiriza kwaffe?

ERI EMITWE GY’AMAKA

  • Tokkiriza kintu kyonna kutaataaganya nteekateeka yammwe ey’okusinza kw’amaka

  • Ab’omu maka go bategeeze nga bukyali bye munaayigako mu kusinza kw’amaka basobole okweteekateeka

  • Fuba okulaba nti buli omu mu maka abeerawo mu kusinza kw’amaka

  • Kakasa nti buli omu aganyulwa mu kusinza kw’amaka, era nti bonna banyumirwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share