LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 36 lup. 92-lup. 93 kat. 7
  • Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 36 lup. 92-lup. 93 kat. 7
Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale ng’atunuulidde omuddu we omulwadde ennyo; emabega, abakadde b’Abayudaaya nga batuukiridde Yesu

ESSUULA 36

Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi

MATAYO 8:5-13 LUKKA 7:1-10

  • OMUDDU W’OMUSIRIKALE AWONYEZEBWA

  • ABO ABALINA OKUKKIRIZA BAJJA KUWEEBWA EMIKISA

Abakadde b’Abayudaaya nga batuukiridde Yesu

Oluvannyuma lw’okuyigiriza ku Lusozi, Yesu agenda mu kibuga ky’e Kaperunawumu. Ng’ali eyo, abamu ku bakadde b’Abayudaaya bamutuukirira. Batumiddwa omusajja atali Muyudaaya, omusirikale Omuruumi, omukulu w’ekibinja ky’abasirikale.

Omusirikale oyo alina omuweereza we gw’ayagala ennyo omulwadde ennyo era ng’anaatera okufa. Wadde ng’omusirikale oyo Munnaggwanga, ayagala Yesu amuyambe. Abayudaaya bagamba Yesu nti omuddu w’omusajja oyo “ali mu nnyumba, yasannyalala, era abonaabona nnyo,” oboolyawo ng’ali mu bulumi bwa maanyi. (Matayo 8:6) Abakadde b’Abayudaaya bagamba Yesu nti omusirikale oyo ‘agwana okumukolera ekyo ky’asabye, kubanga ayagala eggwanga lyabwe era nti yabazimbira n’ekkuŋŋaaniro.’​—Lukka 7:4, 5.

Yesu ng’anaatera okutuuka ku nnyumba y’omukulu w’abasirikale, mikwano gy’omukulu w’abasirikale batuukirira Yesu

Amangu ago, Yesu asalawo okugenda n’abakadde ew’omusirikale oyo. Bwe baba banaatera okutuuka, omusirikale atuma mikwano gye okugamba Yesu nti: “Ssebo, totawaana kujja mu nnyumba yange, kubanga sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange. Eyo ye nsonga lwaki nnalabye nga sisaanira kujja gy’oli.” (Lukka 7:6, 7) Ng’omusajja oyo mwetoowaze nnyo naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti emirimu gye gizingiramu okuba nti alagira bulagizi abalala okukola ky’ayagala! Ate era omusajja oyo wa njawulo nnyo ku Baruumi abalala abayisa obubi abaddu baabwe.​—Matayo 8:9.

Kya lwatu nti omusirikale oyo akimanyi nti Abayudaaya tebakolagana na batali Bayudaaya. (Ebikolwa 10:28) Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki asindika mikwano gye okugamba Yesu nti: “Yogera bwogezi kigambo omuddu wange awone.”​—Lukka 7:7.

Yesu yeewuunya nnyo okuwulira ebigambo ebyo era n’agamba nti: “Mbagamba nti, ne mu Isirayiri sirabangako kukkiriza kwa maanyi nga kuno.” (Lukka 7:9) Mikwano gy’omusirikale bwe baddayo ew’omusirikale oyo, basanga omuddu we abadde omulwadde ennyo ng’awonye.

Oluvannyuma lw’okuwonya omuddu w’omusirikale, Yesu akozesa akakisa ako okukiraga nti abantu abatali Bayudaaya abalina okukkiriza bajja kuweebwa emikisa. Agamba nti: “Bangi baliva mu bitundu eby’ebuvanjuba n’eby’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo mu Bwakabaka obw’omu ggulu.” Ate Abayudaaya abatalina kukkiriza? Yesu agamba nti “balisuulibwa ebweru mu kizikiza. Eyo gye balikaabira era ne baluma obujiji.”​—Matayo 8:11, 12.

N’olwekyo, Abayudaaya abagaana okukkiriza enkizo ey’okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka, eyasooka okuweebwa bo, bajja kusuulibwa ebweru. Naye Ab’amawanga bajja kukkirizibwa okuyingira “mu Bwakabaka obw’omu ggulu.”

  • Lwaki Abayudaaya basaba Yesu okuyamba omusirikale Munnaggwanga?

  • Kiki ekiyinza okuba nga kye kireetedde omusirikale okusaba Yesu obutayingira mu nnyumba ye?

  • Nkizo ki Yesu gy’ayogerako Ab’amawanga gye bajja okufuna?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share