OLUYIMBA 127
Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?
Printed Edition
1. Kirabo ki kye mba nkuwa Yakuwa
Okukwebaza ggwe, ’kumpa obulamu?
Kati nneeraba kye ndi lwa Kigambo kyo.
Nnyamba nneeyongere okwekebera nze.
(EBIYUNGA)
Obulamu bwange nnabukukwasa;
Byonna bye nkola, si kutuusa luwalo.
N’omutima gwange gwonna mpeereza;
Ka mbe mw’abo abakusanyusa.
Nnyamba okulaba n’okutegeera
Muntu wa ngeri ki gw’oyagala mbeere.
Ba muwendo nnyo abakunywererako.
Ka mbeerenga mw’abo abakusanyusa.
(Laba ne Zab. 18:25; 116:12; Nge. 11:20.)