Ssande
‘MWEKUUMIRE MU KWAGALA KWA KATONDA’—YUDA 21
KU MAKYA
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 106 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Jjukira Engeri Okwagala Gye Kweyisaamu
Kugumiikiriza era Kwa Kisa (1 Abakkolinso 13:4)
Tekukwatibwa Buggya era Tekwewaana (1 Abakkolinso 13:4)
Tekwegulumiza era Tekweyisa mu Ngeri Etesaana (1 Abakkolinso 13:4, 5)
Tekwenoonyeza Byakwo era Tekunyiiga (1 Abakkolinso 13:5)
Tekusiba Kiruyi era Tekusanyukira Bitali bya Butuukirivu (1 Abakkolinso 13:5, 6)
Kusanyukira Wamu n’Amazima era Kugumira Ebintu Byonna (1 Abakkolinso 13:6, 7)
Kukkiriza Ebintu Byonna era Kusuubira Ebintu Byonna (1 Abakkolinso 13:7)
Kugumiikiriza Ebintu Byonna era Okwagala Tekulemererwa (1 Abakkolinso 13:7, 8)
5:10 Oluyimba 150 n’Ebirango
5:20 OKWOGERA KWA BONNA: Wa w’Oyinza Okusanga Okwagala Okwa Nnamaddala mu Nsi Ejjudde Obukyayi? (Yokaana 13:34, 35)
5:50 Okuwumbawumbako Omunaala gw’Omukuumi
6:20 Oluyimba 1 n’Okuwummulamu
OLWEGGULO
7:35 Vidiyo ey’Ennyimba
7:45 Oluyimba 124
7:50 OMUZANNYO: Ebikwata ku Yosiya: Yagala Yakuwa; Kyawa Ekibi—Ekitundu 2 (2 Bassekabaka 22:3-20; 23:1-25; 2 Ebyomumirembe 34:3-33; 35:1-19)
8:20 Oluyimba “Mpa Obuvumu” n’Ebirango
8:30 ‘Fumiitiriza ku Bikolwa bya Yakuwa Ebiraga Okwagala kwe Okutajjulukuka’ (Zabbuli 107:43; Abeefeso 5:1, 2)
9:30 Oluyimba Olupya n’Okusaba Okufundikira