Olwokutaano
“Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okubagamba nti, Musanyuke!”—Abafiripi 4:4
KU MAKYA
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 111 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA KWA SSENTEBE: Ensonga Lwaki Yakuwa ‘Katonda Musanyufu’ (1 Timoseewo 1:11)
4:15 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Ebireeta Essanyu Erya Nnamaddala
• Obutaba na Bintu Bingi (Omubuulizi 5:12)
• Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omuyonjo (Zabbuli 19:8)
• Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Kukola (Omubuulizi 4:6; 1 Abakkolinso 15:58)
• Okuba n’Emikwano Egya Nnamaddala (Engero 18:24; 19:4, 6, 7)
5:05 Oluyimba 89 n’Ebirango
5:15 EBIRI MU BAYIBULI NGA BISOMEBWA NG’OMUZANNYO: ‘Yakuwa Yabaleetera Okusanyuka’ (Ezera 1:1–6:22; Kaggayi 1:2-11; 2:3-9; Zekkaliya 1:12-16; 2:7-9; 3:1, 2; 4:6, 7)
5:45 Sanyuka olw’Ebikolwa bya Yakuwa eby’Obulokozi (Zabbuli 9:14; 34:19; 67:1, 2; Isaaya 12:2)
6:15 Oluyimba 148 n’Okuwummulamu
OLWEGGULO
7:30 Vidiyo ey’Ennyimba
7:40 Oluyimba 131
7:45 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Mube n’Essanyu mu Maka
• Abaami, Bakyala Bammwe ka Babaleetere Essanyu (Engero 5:18, 19; 1 Peetero 3:7)
• Abakyala, Abaami Bammwe ka Babaleetere Essanyu (Engero 14:1)
• Abazadde, Abaana Bammwe ka Babaleetere Essanyu (Engero 23:24, 25)
• Abaana, Bazadde Bammwe ka Babaleetere Essanyu (Engero 23:22)
8:50 Oluyimba 135 n’Ebirango
9:00 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Ebitonde Biraga nti Yakuwa Ayagala Tube Basanyufu
• Ebimuli Ebirabika Obulungi (Zabbuli 111:2; Matayo 6:28-30)
• Emmere Ewooma (Omubuulizi 3:12, 13; Matayo 4:4)
• Langi Ezirabika Obulungi (Zabbuli 94:9)
• Emibiri Gyaffe Egyakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo (Ebikolwa 17:28; Abeefeso 4:16)
• Amaloboozi Amalungi (Engero 20:12; Isaaya 30:21)
• Ebisolo (Olubereberye 1:26)
10:00 Lwaki “Abo Abafuba Okuleetawo Emirembe Baba Basanyufu”? (Engero 12:20; Yakobo 3:13-18; 1 Peetero 3:10, 11)
10:20 Okuba n’Enkolagana Ennungi ne Yakuwa Kireeta Essanyu Lingi! (Zabbuli 25:14; Kaabakuuku 3:17, 18)
10:55 Oluyimba 28 n’Okusaba Okufundikira