LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 29
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Tuliddamu Okulaba Abaafa?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Bwe Tufa Tulaga Wa?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 29
Essomo 29. Omwami ne mukyala we nga basabira mu maaso g’amalaalo.

ESSOMO 29

Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Wali ofiiriddwako omuntu wo? Mu kiseera ekyo eky’ennaku, oyinza okwebuuza nti: ‘Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde? Waliwo essuubi lyonna nti tuliddamu okulaba abantu baffe abaafa?’ Mu ssomo lino n’eriddako, tugenda kufuna eby’okuddamu okuva mu Bayibuli ebizzaamu amaanyi.

1. Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka otulo. Omuntu ali mu tulo otungi aba tamanyi bigenda mu maaso. Lwaki okufa kugeraageranyizibwa ku kwebaka? Omuntu bw’afa, aba tasobola kuwulira bulumi. Aba tawulira kiwuubaalo k’abe nga yali ayagala nnyo mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze. Bayibuli egamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Soma Omubuulizi 9:5.

2. Tuganyulwa tutya bwe tumanya ekituuka ku muntu ng’afudde?

Abantu bangi batya okufa era batya n’abafu! Naye ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kufa kisobola okukuzzaamu amaanyi. Yesu yagamba nti: “Amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Okwawukana ku ebyo amadiini agamu bye gayigiriza, Bayibuli teyigiriza nti omuntu bw’afa waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu. N’olwekyo, abafu tebali mu bulumi. Ate era, okuva bwe kiri nti abafu tebaliiko kye bamanyi, tebasobola kutukolako bulabe. N’olwekyo tekyetaagisa kubasinza, kubasabira, oba okubaako ebintu bye tukola tusobole okubasanyusa.

Abantu abamu bagamba nti basobola okwogera n’abafu. Naye ekyo tekisoboka. Nga bwe tulabye, “abafu tebaliiko kye bamanyi.” Abo abalowooza nti boogera n’abantu baabwe abaafa oluusi baba boogera na badayimooni abeefuula okuba abantu abaafa. Bwe tumanya amazima agakwata ku kufa kituyamba obutakolagana na badayimooni. Yakuwa atugaana okugezaako okwogera n’abafu kubanga akimanyi nti badayimooni basobola okututuusaako obulabe.​—Soma Ekyamateeka 18:10-12.

YIGA EBISINGAWO

Laba ebisingawo ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku kufa, era weeyongere okwagala Katonda akwagala ennyo era atabonyaabonya bantu abaafa.

Omwami n’abaana be abato nga batudde ku ntebe nga banakuwavu olw’okufiirwa mukyala we era maama w’abaana be. Mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze bazze okumubudaabuda.

3. Manya embeera omuntu gy’abeeramu ng’afudde

Okwetooloola ensi, abantu bangi balina endowooza za njawulo ku ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde. Naye endowooza ezo zonna si ntuufu.

  • Mu kitundu gy’obeera abantu balina ndowooza ki ku kituuka ku muntu ng’afudde?

Okusobola okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza, laba VIDIYO.

VIDIYO: Yaggibwa mu vidiyo, Abafu Bali mu Mbeera Ki? (1:19)

Ebifaananyi:  Kiggiddwa mu vidiyo ‘Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?’ 1. Omulambo nga guli ku katanda mu ddwaliro. 2. Omusajja yeebase ng’atudde wakati w’omwami n’omukyala nga bali mu ggaali y’omukka.

Soma Omubuulizi 3:20, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

  • Omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu?

Bayibuli eyogera ku kufa kwa Laazaalo eyali mukwano gwa Yesu. Bw’oba osoma Yokaana 11:11-14, weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku mbeera Laazaalo gye yalimu ng’afudde. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Okufa Yesu yakugeraageranya ku ki?

  • Ekyo Yesu kye yayogera kitulaga ki ku mbeera omuntu gy’abaamu ng’afudde?

  • Olowooza ebyo Bayibuli by’eyogera ku kufa bikola amakulu?

4. Okumanya amazima agakwata ku kufa kituganyula

Bwe tumanya amazima agakwata ku kufa kituyamba obutatya bafu. Soma Omubuulizi 9:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Abafu basobola okututuusaako obulabe?

Ate era, okumanya amazima agakwata ku kufa kituyamba obutasinza bafu oba okubaako bye tukola nga tulowooza nti bijja kubasanyusa. Soma Isaaya 8:19 ne Okubikkulirwa 4:11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Olowooza Yakuwa atwala atya omuntu asinza abafu oba agezaako okufuna obuyambi okuva gye bali?

Ebifaananyi: Ebintu ebikolebwa okuwa abafu ekitiibwa. 1. Omusajja ng’afukamidde mu maaso g’amalaalo ng’asaba era ng’aleese n’ebiweebwayo. 2. Abasajja basatu nga bakola akalombolombo k’okuzina. 3. Ekibinja ky’abantu nga bambadde obukookolo obulinga obuwanga era nga basitudde ebifaananyi ebiringa eŋŋumbagumba z’abafu, ku Lunaku lw’Abafu.

Okumanya amazima agakwata ku kufa kituyamba okwewala obulombolombo obutasanyusa Yakuwa

5. Okumanya amazima agakwata ku kufa kituzzaamu amaanyi

Abantu bangi bayigirizibwa nti omuntu bw’afa, abonyaabonyezebwa olw’ebintu ebibi by’aba yakola. Naye kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti tewali n’omu abonyaabonyezebwa ng’afudde, k’abe oyo eyakola ebibi eby’amaanyi ennyo. Soma Abaruumi 6:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Bwe kiba nti oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi, nga Bayibuli bw’eraga, olowooza waliwo omuntu yenna eyafa abonyaabonyezebwa olw’ebibi bye yakola?

Gye tukoma okumanya ebikwata ku Yakuwa, gye tukoma okukiraba nti tasobola kubonyaabonya bantu baafa. Soma Ekyamateeka 32:4 ne 1 Yokaana 4:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Katonda alina engeri ezoogeddwako mu nnyiriri ezo ddala asobola okubonyaabonya abafu?

  • Okumanya amazima agakwata ku kufa naawe kikuzzaamu amaanyi? Lwaki ogamba bw’otyo?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Nneeraliikirira ekyo ekinaantuukako nga nfudde.”

  • Byawandiikibwa ki ebizzaamu amaanyi by’osobola okukozesa okubayamba?

MU BUFUNZE

Omuntu bw’afa, obulamu bwe buba bukomye. Abafu tebali mu kubonaabona era tebasobola kulumya bantu abakyali abalamu.

Okwejjukanya

  • Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

  • Okumanya amazima agakwata ku kufa kituganyula kitya?

  • Okumanya amazima agakwata ku kufa kituzzaamu kitya amaanyi?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba amakulu g’ekigambo “omwoyo,” nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli.

“Omwoyo Kye Ki?” (Kiri ku mukutu)

Laba obanga Katonda abonereza abantu ababi mu muliro ogutazikira.

Ddala Katonda Ayokya Abantu mu Muliro Ogutazikira? (3:07)

Twanditidde abafu?

Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? (katabo)

Laba engeri omusajja omu gye yabudaabudibwamu bwe yamanya ekyo ekibaawo ng’omuntu afudde.

“Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi” (Omunaala gw’Omukuumi, Febwali 1, 2015)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share