LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 5
  • Yogera mu Ngeri ey’Amagezi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yogera mu Ngeri ey’Amagezi
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Pawulo Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?
  • Koppa Pawulo
  • “Basobole Okunoonya Katonda, . . . era Bamuzuule”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Beera Mwetoowaze
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Otunuulira Otya Ennimiro?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • ‘Nyiikiriranga Okuyigiriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 5

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Omutume Pawulo ng’ayogera n’abantu b’omu Asene.

Bik. 17:22, 23

ESSOMO 5

Yogera mu Ngeri ey’Amagezi

Omusingi: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa.”​—Bak. 4:6.

Ekyo Pawulo Kye Yakola

Omutume Pawulo ng’ayogera n’abantu b’omu Asene.

VIDIYO: Pawulo Abuulira Abantu b’Omu Asene

1. Laba VIDIYO, oba soma Ebikolwa 17:22, 23, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Pawulo yakwatibwako atya bwe yalaba ebifaananyi abantu b’omu Asene bye baali bakozesa mu kusinza?​—Laba Ebikolwa 17:16.

  2. Mu kifo ky’okusalira abantu b’omu Asene omusango, mu ngeri ey’amagezi, Pawulo yakozesa atya ebyo bye baali bakkiririzaamu okutandika okubabuulira amawulire amalungi?

Kiki Kye Tuyigira ku Pawulo?

2. Bwe twegendereza ebigambo bye twogera, engeri gye tubyogeramu, na ddi lwe tubyogera, abantu bayinza okwagala okutuwuliriza.

Koppa Pawulo

3. Londa ebigambo ebisikiriza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oyogera n’omuntu atakkiririza mu Yesu, kiyinza okukwetaagisa okukyusa mu ngeri gy’oyanjulamu obubaka obuli mu Bayibuli, oba engeri gy’oyogeramu ebikwata ku Yesu.

4. Toyanguwa kutereeza ndowooza ya muntu. Muleke ayogere ekimuli ku mutima. Bw’ayogera ekintu ekikontana n’ebyo ebiri mu Bayibuli, weewale okuwakana naye. (Yak. 1:19) Bw’omuwuliriza obulungi, kijja kukuyamba okumanya by’akkiririzaamu n’ensonga lwaki abikkiririzaamu.​—Nge. 20:5.

5. Kkiriziganya naye era mwebaze we kiba kyetaagisiza. Ayinza okuba nga mu bwesimbu alowooza nti ebyo by’akkiririzaamu bituufu. Sooka ozimbire ku ekyo ky’okkiriziganyaako naye, oluvannyuma mpolampola omuyambe okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.

LABA NE

Nge. 25:15; 2 Tim. 2:​23-26; 1 Peet. 3:15

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share