Okitobba
Lwakusatu, Okitobba 1
Amagezi agava waggulu . . . mawulize.—Yak. 3:17.
Oluusi kikuzibuwalira okuba omuwulize? Kabaka Dawudi oluusi tekyamubeereranga kyangu kuba muwulize, era eyo ye nsonga lwaki yasaba Katonda nti: “Nzisaamu omwoyo ogwagala okukugondera.” (Zab. 51:12) Dawudi yali ayagala nnyo Yakuwa. Wadde kyali kityo, oluusi yazibuwalirwanga okuba omuwulize, era naffe oluusi tuzibuwalirwa okuba abawulize. Lwaki? Ensonga esooka eri nti, ekibi kye twasikira kituleetera okwagala okujeema. Ey’okubiri, buli kiseera Sitaani aba agezaako okutuleetera okuba abajeemu nga naye bw’ali omujeemu. (2 Kol. 11:3) Ey’okusatu, twetooloddwa abantu abooleka omwoyo gw’obujeemu, kwe kugamba, “omwoyo ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.” (Bef. 2:2) N’olwekyo, tulina okufuba ennyo okulwanyisa obutali butuukirivu bwaffe n’okwewala okutwalirizibwa Sitaani n’abantu abakola by’ayagala abagezaako okutuleetera okuba abajeemu. Kitwetaagisa okufuba ennyo okuba abawulize eri Yakuwa n’eri abo b’awadde obuyinza obw’ekigero. w23.10 6 ¶1
Lwakuna, Okitobba 2
Omwenge omulungi obadde okyaguterese okutuusa kati.—Yok. 2:10.
Kiki kye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola eky’okufuula amazzi omwenge? Tukiyigirako okuba abeetoowaze. Yesu teyeewaana ng’akoze ekyamagero ekyo. Mu butuufu, teyeewaananga olw’ebintu bye yakolanga. Ekitiibwa n’ettendo yabiwanga Kitaawe. (Yok. 5:19, 30; 8:28) Naffe bwe tukoppa Yesu ne tuba beetoowaze, tetujja kwewaana olw’ebyo bye tuba tukoze oba bye tuba tutuuseeko. Ka tulemenga okwewaana. Mu kifo ky’ekyo, bulijjo ka twenyumiririzenga mu Katonda waffe atuwa enkizo ey’ekitalo ey’okumuweereza. (Yer. 9:23, 24) Ka tumuwenga ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa. Mu butuufu, tewali kintu kyonna kye tusobola kutuukiriza mu buweereza bwaffe awatali buyambi bwa Yakuwa. (1 Kol. 1:26-31) Bwe tuba abeetoowaze, tetujja kwagala kutenderezebwa olw’ebintu ebirungi bye tuba tukoledde abalala. Tujja kuba bamativu okukimanya nti Yakuwa alaba bye tukola era abisiima. (Geraageranya Matayo 6:2-4; Beb. 13:16) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukoppa Yesu ne tuba beetoowaze.—1 Peet. 5:6. w23.04 4 ¶9; 5 ¶11-12
Lwakutaano, Okitobba 3
Temufaayo ku byammwe byokka naye [mufeeyo] ne ku by’abalala.—Baf. 2:4.
Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okufaayo ku by’abalala. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulira okwo nga tuli mu nkuŋŋaana? Nga tukijjukira nti n’abalala bandyagadde okubaako ne kye baddamu. Kirowoozeeko; bw’oba ng’onyumya ne mikwano gyo, wandyefuze emboozi n’otobawa kakisa kwogera? Kya lwatu nedda! Wandyagadde nabo babeeko kye boogera. Mu ngeri y’emu, bwe tuba mu nkuŋŋaana twagala abantu bangi nga bwe kisoboka babeeko ne kye baddamu. Mu butuufu engeri emu gye tuyinza okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, kwe kubawa akakisa okubaako ne kye baddamu. (1 Kol. 10:24) Bwe tuddamu mu bumpimpi, kiwa abalala akakisa okubaako ne kye baddamu. Ne bw’owa eky’okuddamu ekimpi, weewale okwogera ku nsonga eziwerako. Bw’oyogera ku buli nsonga eri mu katundu, abalala baba tebalina kye bagenda kwogerako. w23.04 22-23 ¶11-13
Lwamukaaga, Okitobba 4
Nkola ebintu byonna olw’amawulire amalungi nsobole okugabuulirako abalala.—1 Kol. 9:23.
Tusaanidde okukijjukira nti kikulu okweyongera okuyamba abalala naddala nga tubabuulira amawulire amalungi. Nga tukola omulimu gw’okubuulira, tusaanidde okuba abeetegefu okukyusakyusaamu. Abantu be tubuulira balina endowooza za njawulo ku Katonda, bava mu bitundu bya njawulo, era ba buwangwa bwa njawulo. Omutume Pawulo yali akyusakyusaamu okusobola okutuukagana n’abantu be yali abuulira, era tusobola okumukoppa. Yesu yalonda Pawulo okuba “omutume eri amawanga.” (Bar. 11:13) Ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, Pawulo yabuulira Abayudaaya, Abayonaani, abayivu, abantu aba bulijjo, abakungu, ne bakabaka. Okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu abo ab’ebiti eby’enjawulo, Pawulo yafuuka “byonna eri abantu aba buli ngeri.” (1 Kol. 9:19-22) Yalowoozanga ku buwangwa bw’abantu, embeera gye baakuliramu, n’ebyo bye baali bakkiririzaamu, n’asobola okukyusakyusa mu ngeri gye yababuulirangamu. Naffe tusobola okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu bwe tuba abeetegefu okukyusakyusaamu era ne tulowooza ku ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okuyambamu buli muntu. w23.07 23 ¶11-12
Ssande, Okitobba 5
Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.—2 Tim. 2:24.
Omuntu omukkakkamu aba wa maanyi. Kyetaagisa okuba ow’amaanyi okusigala ng’oli mukkakkamu ng’oyolekagana n’embeera enzibu. Obukkakkamu kye kimu ku ebyo “ebiri mu kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:22, 23) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obukkakkamu” oluusi kikozesebwa okutegeeza embalaasi ebadde ey’omu nsiko n’etendekebwa n’eba ng’esobola okufugibwa abantu. Lowooza ku mbalaasi eyo. Eba nzikakkamu kyokka ng’erina amaanyi. Tuyinza tutya okuyiga okuba abakkakkamu ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tuli ba maanyi? Ekyo tetuyinza kukikola mu busobozi bwaffe. Tusaanidde okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukulaakulanya engeri eyo ennungi. Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga nti ekyo kisoboka. Abajulirwa ba Yakuwa bangi baddamu mu ngeri ey’obukkakkamu abo ababawakanya, era ekyo kiyambye abantu abamu okuba n’endowooza ennungi ku Bajulirwa ba Yakuwa.—2 Tim. 2:24, 25. w23.09 15 ¶3
Bbalaza, Okitobba 6
Nnasaba, era Yakuwa yaddamu okusaba kwange.—1 Sam. 1:27.
Mu kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna, yalaba abakadde 24 mu ggulu nga basinza Yakuwa. Baamutendereza nga bagamba nti agwanidde “okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo.” (Kub. 4:10, 11) Bamalayika abeesigwa nabo balina ensonga nnyingi kwe basinziira okutendereza Yakuwa n’okumuwa ekitiibwa. Babeera naye mu ggulu era bamumanyi bulungi. Balaba engeri ze ezeeyolekera mu ebyo by’akola. Bwe bamulaba ng’akola ebintu ebitali bimu, kibaleetera okumutendereza. (Yob. 38:4-7) Naffe bwe tuba tusaba, tusobola okutendereza Yakuwa nga twogera ku ebyo ebituleetera okumwagala n’okumusiima. Bw’oba osoma Bayibuli, fuba okwetegereza engeri za Yakuwa ezisinga okukukwatako ennyo. (Yob. 37:23; Bar. 11:33) Oluvannyuma tegeeza Yakuwa engeri gy’okwatibwako olw’engeri ze ezo. Ate era tusobola okutendereza Yakuwa olw’ebyo by’atukolera n’ebyo by’akolera bakkiriza bannaffe bonna.—1 Sam. 2:1, 2. w23.05 3-4 ¶6-7
Lwakubiri, Okitobba 7
[Mutambule] nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa.—Bak. 1:10.
Okuva mu 1919, Babulooni Ekinene kyali tekikyalina buyinza ku bantu ba Katonda. Mu mwaka ogwo, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yatandika okukola, n’ayamba abantu ab’emitima emirungi okutandika okutambulira mu ‘Kkubo ery’Obutukuvu.’ (Mat. 24:45-47; Is. 35:8) Omulimu gw’okuteekateeka ekkubo eryo abalala gwe baakola mu biseera eby’emabega gwasobozesa abantu okutandika okulitambuliramu ne bayiga ebisingawo ku Yakuwa n’ebigendererwa bye. (Nge. 4:18) Ekyo kyabasobozesa okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Yakuwa. Yakuwa tasuubira baweereza be kukola nkyukakyuka mulundi gumu. Mu kifo ky’ekyo, azze alongoosa abantu be mpolampola. Nga tujja kuba basanyufu nnyo ekiseera bwe kinaatuuka ne tuba nga tusobola okusanyusa Katonda waffe mu buli kimu kye tukola. Ekkubo lyonna okusobola okusigala nga liri mu mbeera nnungi, lirina okulabirirwa. Okuviira ddala mu 1919, omulimu gw’okulabirira “Ekkubo ery’Obutukuvu” gubaddenga gukolebwa, kisobozese abantu abalala bangi okuva mu Babulooni Ekinene. w23.05 17 ¶15; 19 ¶16
Lwakusatu, Okitobba 8
Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.—Beb. 13:5.
Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi babadde batendeka butereevu ab’oluganda abakola ng’abayambi ku bukiiko obw’enjawulo obw’Akakiiko Akafuzi. Ab’oluganda bano abakola ng’abayambi mu kiseera kino balina obuvunaanyizibwa bungi bwe batuukiriza. Beetegefu okweyongera okutwala mu maaso omulimu gw’okulabirira endiga za Kristo. Abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo bwe banaatwalibwa mu ggulu ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okukoma, okusinza okulongoofu kujja kweyongera okubeerawo wano ku nsi. Olw’okuba Yesu Kristo ye mukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo, tujja kweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wano ku nsi. Kyo kituufu nti mu kiseera ekyo tujja kulumbibwa Googi ow’e Magoogi, kwe kugamba, amawanga agajja okwegatta awamu okutulumba. (Ezk. 38:18-20) Naye obulumbaganyi obwo tebujja kutulemesa kweyongera kuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Yakuwa ajja kutununula! Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba ‘ab’ekibiina ekinene,’ nga be bagoberezi ba Kristo ab’endiga endala. Yagambibwa nti abo “be baayita mu kibonyoobonyo ekinene.” (Kub. 7:9, 14) Ekyo kiraga nti Yakuwa ajja kununula abantu be! w24.02 5-6 ¶13-14
Lwakuna, Okitobba 9
Temuzikiza muliro ogw’omwoyo omutukuvu.—1 Bas. 5:19.
Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna omwoyo omutukuvu? Tulina okusaba Yakuwa, okusoma Ekigambo kye, n’okukuŋŋaana awamu n’abantu be. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okukulaakulanya “ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:22, 23) Yakuwa omwoyo gwe omutukuvu aguwa abo bokka abasigala nga bayonjo mu birowoozo ne mpisa. Ajja kutuggyako omwoyo gwe omutukuvu singa tweyongera okulowooza n’okukola ebintu ebibi. (1 Bas. 4:7, 8) Ate era okusobola okweyongera okufuna omwoyo omutukuvu, tusaanidde okwewala ‘okunyooma obunnabbi.’ (1 Bas. 5:20) ‘Obunnabbi’ obwogerwako wano butegeeza obubaka bwe tufuna okuva eri Yakuwa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Obubaka obwo buzingiramu ebyo ebikwata ku lunaku lwa Yakuwa n’obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Tetusaanidde kulowooza nti olunaku lwa Yakuwa terujja kujja mu kiseera kyaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okulukuumira mu birowoozo nga tweyisa bulungi era nga tuba banyiikivu mu kukola “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.”—2 Peet. 3:11, 12. w23.06 12 ¶13-14
Lwakutaano, Okitobba 10
Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi.—Nge. 9:10.
Kiki kye tulina okukola singa ebifaananyi eby’obuseegu bijja ku masimu gaffe oba ku kompyuta? Amangu ddala tusaanidde okubiggyako amaaso gaffe. Ekyo kijja kutwanguyira okukola singa enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga ya muwendo. Mu butuufu, waliwo n’ebifaananyi ebitali bya buseegu ebiyinza okuleetera omuntu okwagala okwegatta. Lwaki tusaanidde okubyewala? Kubanga tetwandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okutuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Mat. 5:28, 29) Ow’oluganda ayitibwa David aweereza ng’omukadde mu Thailand agamba nti: “Nneebuuza nti: ‘Ebifaananyi ne bwe bitaba bya buseegu, Yakuwa anaasanyuka singa nsigala nga mbitunuulidde?’ Okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo, kinnyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi.” Okutya okunyiiza Yakuwa kijja kutuyamba okwewala okukola ekintu kyonna ky’atayagala n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi. Okutya Katonda “ye ntandikwa y’amagezi.” w23.06 23 ¶12-13
Lwamukaaga, Okitobba 11
Mmwe abantu bange, muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda.—Is. 26:20.
‘Ebisenge eby’omunda’ biyinza okuba nga bitegeeza ebibiina mwe tukuŋŋaanira. Yakuwa atusuubizza nti ajja kutukuuma bwe tuneeyongera okusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe. N’olwekyo kati tulina okufuba okulaba nti bakkiriza bannaffe tetubagumiikiriza bugumiikiriza, wabula tubaagala. Ekyo kiyinza okuba nga kye kijja okutuyamba okuwonawo! “Olunaku lwa Yakuwa olukulu” lujja kuleeta ennaku ey’amaanyi ku bantu bonna. (Zef. 1:14, 15) Ekiseera ekyo kijja kuba kizibu nnyo n’eri abantu ba Yakuwa. Naye bwe tweteekateeka kati, tujja kusobola okusigala nga tuli bakkakkamu, era n’okuyamba abalala. Tujja kusobola okugumira ekizibu kyonna kye tunaafuna. Bakkiriza bannaffe bwe banaaba babonaabona, tujja kufuba okubayamba nga tubalaga obusaasizi, era nga tubawa bye beetaaga. Ate era bwe tuyiga okwagala bakkiriza bannaffe kati, kijja kutwanguyira okubaagala ne mu kiseera eky’omu maaso. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa empeera ey’obulamu obutaggwaawo mu nsi etajja kubaamu butyabaga wadde okubonaabona kwonna.—Is. 65:17. w23.07 7 ¶16-17
Ssande, Okitobba 12
[Yakuwa] ajja kubanyweza, ajja kubafuula ba maanyi, era ajja kubateeka ku musingi omugumu.—1 Peet. 5:10.
Emirundi egiwerako Bayibuli eraga nti abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baalinga ba maanyi. Kyokka oluusi baawuliranga nti tebalina maanyi. Ng’ekyokulabirako, oluusi Kabaka Dawudi yawuliranga nga “munywevu ng’olusozi,” kyokka ebiseera ebimu yawuliranga ‘ng’atidde.’ (Zab. 30:7) Wadde nga Samusooni yabanga n’amaanyi mangi nnyo ng’aliko omwoyo omutukuvu, yagamba nti awatali mwoyo gwa Katonda ‘amaanyi gandimuweddemu n’anafuwa ng’abantu abalala bonna.’ (Balam. 14:5, 6; 16:17) Ekyo kiraga nti Yakuwa ye yasobozesanga abaweereza be abo abeesigwa okuba ab’amaanyi. Omutume Pawulo naye yakiraga nti yali yeetaaga okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa. (2 Kol. 12:9, 10) Pawulo yali atawaanyizibwa obulwadde. (Bag. 4:13, 14) Oluusi naye yakaluubirirwanga okukola ekituufu. (Bar. 7:18, 19) Ate ebiseera ebimu yawuliranga nga yeeraliikiridde era nga tamanyi kiyinza kumutuukako. (2 Kol. 1:8, 9) Wadde kyali kityo, Pawulo bwe yabanga omunafu, yabanga wa maanyi. Mu ngeri ki? Yakuwa yamuwanga amaanyi ge yabanga yeetaaga okusobola okugumira ebizibu. Yamufuula wa maanyi. w23.10 12 ¶1-2
Bbalaza, Okitobba 13
Yakuwa alaba ekiri mu mutima.—1 Sam. 16:7.
Oluusi bwe tuwulira nti tetuli ba mugaso, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yatusembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Alina ebirungi by’atulabamu ffe bye tuyinza okuba nga tetwerabamu, era amanyi ekiri mu mitima gyaffe. (2 Byom. 6:30) N’olwekyo, bw’agamba nti tuli ba muwendo gy’ali tusaanidde okumwesiga. (1 Yok. 3:19, 20) Abamu ku ffe bwe twali tetunnayiga mazima, twakolanga ebintu ebiyinza okuba nga kati bituleetera okulumirizibwa omutima. (1 Peet. 4:3) Abakristaayo abeesigwa nabo baba n’obunafu bwe balwanyisa. Omutima gwo gukulumiriza? Bwe kiba kityo, kijjukire nti toli wekka. Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa abaayolekagana n’enneewulira eyo. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yawuliranga bubi nnyo bwe yafumiitirizanga ku butali butuukirivu bwe. (Bar. 7:24) Kya lwatu nti Pawulo yali yeenenya ebibi bye era nga yabatizibwa. Wadde kiri kityo, bwe yali yeeyogerako yagamba nti: “Nze nsembayo mu batume.” Ate era yagamba nti: “Mu boonoonyi . . . nze nsingayo.”—1 Kol. 15:9; 1 Tim. 1:15. w24.03 27 ¶5-6
Lwakubiri, Okitobba 14
Baaleka ennyumba ya Yakuwa.—2 Byom. 24:18.
Ekimu ku ebyo bye tuyigira ku kusalawo kwa Kabaka Yekowaasi okubi kiri nti, kikulu okulonda emikwano egituzimba, kwe kugamba, emikwano egyagala Yakuwa era egyagala okumusanyusa. Tetusaanidde kulonda mikwano mu abo bokka ab’emyaka gyaffe. Kijjukire nti Yekowaasi yali muto nnyo ku mukwano gwe Yekoyaada. Ku bikwata ku mikwano gy’olonda, weebuuze: ‘Bannyamba okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa? Bankubiriza okutambulira ku mitindo gye? Boogera ku Yakuwa n’amazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kye? Bassa ekitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’empisa? Bwe mba mpabye, bampabula, oba baŋŋamba ebyo bye njagala okuwulira?’ (Nge. 27:5, 6, 17) Ekituufu kiri nti, mikwano gyo bwe giba tegyagala Yakuwa, oba togyetaaga. Naye bw’oba olina emikwano egyagala Yakuwa, ginywerereko, gijja kukuyamba.—Nge. 13:20. w23.09 9-10 ¶6-7
Lwakusatu, Okitobba 15
Nze Alufa era nze Omega.—Kub. 1:8.
Ennukuta alufa y’esooka mu walifu y’Oluyonaani, ate omega y’esembayo. Yakuwa bwe yagamba nti ye ‘Alufa era nti ye Omega,’ yali ategeeza nti bw’atandika ekintu aba alina okukimaliriza. Oluvannyuma lwa Yakuwa okutonda Adamu ne Kaawa, yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.” (Lub. 1:28) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yali ng’agamba nti “Alufa.” Yayoleka bulungi ekigendererwa kye kino: Ekiseera kyandituuse bazzukulu ba Adamu ne Kaawa, abatuukiridde era abawulize, ne bajjuza ensi era ne bagifuula Olusuku lwa Katonda. Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kuba ng’agamba nti “Omega.” Yakuwa bwe yamala okutonda “eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebibirimu,” yawa obukakafu obulaga nti ekigendererwa kye yalina mu kutonda ensi n’abantu kijja kutuukirira ddala mu bujjuvu ku nkomerero y’olunaku olw’omusanvu.—Lub. 2:1-3. w23.11 5 ¶13-14
Lwakuna, Okitobba 16
Mwerule ekkubo lya Yakuwa! Mukolere Katonda waffe oluguudo olutereevu oluyita mu ddungu.—Is. 40:3.
Abayisirayiri kyandibatwalidde emyezi ng’ena okutambula okuva e Babulooni okutuuka mu Isirayiri. Era olugendo olwo terwandibadde lwangu. Kyokka Yakuwa yasuubiza nti yandiggyeewo emisanvu gyonna egyandibadde gibalemesa okuddayo. Abayudaaya abeesigwa baali bakimanyi nti emiganyulo gye bandifunye nga bazzeeyo mu Isirayiri gyandisingidde wala ekintu kyonna kye bandyefiirizza. Omuganyulo ogusinga gyonna gwali gukwata ku kusinza. Mu Babulooni tewaaliyo yeekaalu ya Yakuwa. Tewaaliyo kyoto Abayisirayiri kwe baali basobola okuweerayo ssaddaaka nga bwe baali balagiddwa mu Mateeka ga Musa, era tewaaliyo na bakabona abaali bateekeddwateekeddwa okuwaayo ssaddaaka ezo. Ate era abantu ba Yakuwa mu kibuga ekyo baali batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu abaali basinza bakatonda ab’obulimba era abaali batassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. N’olwekyo, Abayudaaya bangi abaali baagala Yakuwa baali beesunga nnyo okuddayo mu nsi yaabwe bazzeewo okusinza okulongoofu. w23.05 14-15 ¶3-4
Lwakutaano, Okitobba 17
Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala.—Bef. 5:8.
Twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tusobole okweyongera okweyisa “ng’abaana b’ekitangaala.” Lwaki? Kubanga kizibu nnyo okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Bas. 4:3-5, 7, 8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwewala endowooza y’ensi ezingiramu obufirosoofo n’ebintu ebikyamu ebikontana n’endowooza ya Katonda. Ate era gusobola okutuyamba okukulaakulanya “obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5:9) Engeri emu gye tuyinza okufunamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Ate era bwe tutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne bannaffe mu nkuŋŋaana, tufuna omwoyo omutukuvu. (Bef. 5:19, 20) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. w24.03 23-24 ¶13-15
Lwamukaaga, Okitobba 18
Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.—Luk. 11:9.
Weetaaga okweyongera okuba omugumiikiriza? Bwe kiba kityo, saba Yakuwa akuyambe. Obugumiikiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Tusobola okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu kituyambe okukulaakulanya ekibala kyagwo. Bwe twolekagana n’embeera etwetaagisa okuba abagumiikiriza, tusaanidde ‘okusabanga’ Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abagumiikiriza. (Luk. 11:13) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Oluvannyuma lw’okusaba, tulina okufuba ennyo okuba abagumiikiriza buli lunaku. Gye tukoma okusaba Yakuwa atuyambe okuba abagumiikiriza, era ne tufuba okwoleka obugumiikiriza, ajja kutuyamba okubwoleka wadde nga mu kusooka tetwali bantu bagumiikiriza. Okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli nakyo kijja kukuyamba. Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaayoleka obugumiikiriza. Bwe tufumiitiriza ku ebyo by’eboogerako, tuyinza okuyiga okwoleka obugumiikiriza. w23.08 22 ¶10-11
Ssande, Okitobba 19
Musuule obutimba bwammwe muvube.—Luk. 5:4.
Yesu yayamba omutume Peetero okukimanya nti Yakuwa yandimulabiridde. Oluvannyuma lw’okuzuukira, yaddamu n’asobozesa Peetero n’abatume abalala okuvuba ebyennyanja mu ngeri ey’ekyamagero. (Yok. 21:4-6) Ekyamagero ekyo kiteekwa okuba nga kyayamba Peetero okukiraba nti Yakuwa yandibadde akola ku byetaago bye eby’omubiri. Oboolyawo Peetero yajjukira ekyo Yesu kye yayogera nti Yakuwa yandirabiridde abo ‘abasooka okunoonya Obwakabaka.’ (Mat. 6:33) Ebyo byonna byayamba Peetero okukulembeza omulimu gw’okubuulira, so si bizineesi y’okuvuba n’okutunda ebyennyanja. Yawa obujulirwa n’obuvumu ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka 33 E.E., n’ayamba abantu abangi nnyo okukkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Bik. 2:14, 37-41) Oluvannyuma yayamba Abasamaliya n’ab’amawanga okukkiriza Kristo. (Bik. 8:14-17; 10:44-48) Mazima ddala Yakuwa yakozesa nnyo Peetero okuleeta abantu aba buli ngeri mu kibiina Ekikristaayo. w23.09 20 ¶1; 23 ¶11
Bbalaza, Okitobba 20
Bwe mutambuulire kirooto kyange n’amakulu gaakyo, mujja kutemebwatemebwa.—Dan. 2:5.
Nga waakayita emyaka ng’ebiri bukya Bababulooni bazikiriza Yerusaalemi, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yafuna ekirooto ekyamutiisa ennyo ekyali kikwata ku kibumbe ekinene. Yalagira nti abasajja be abagezi bonna battibwe nga mw’otwalidde ne Danyeri, singa balemererwa okumubuulira ekirooto kye yali aloose n’amakulu g’akyo. (Dan. 2:3-5) Danyeri yalina okubaako ky’akolawo mu bwangu kubanga abantu bangi baali bagenda kuttibwa. Yagenda “eri kabaka n’amusaba amuweemu ekiseera asobole okumubuulira amakulu g’ekirooto.” (Dan. 2:16) Ekyo kyali kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu. Lwaki? Tewaaliwo kiraga nti ng’embeera eyo tennabaawo Danyeri yali annyonnyoddeko amakulu g’ebirooto. Yagamba banne “basabe Katonda w’eggulu abakwatirwe ekisa ababikkulire ekyama ekyo.” (Dan. 2:18) Yakuwa yaddamu essaala zaabwe. Yasobozesa Danyeri okubuulira Nebukadduneeza amakulu g’ekirooto kye yaloota. Bwe kityo, Danyeri ne banne baawona okuttibwa. w23.08 3 ¶4
Lwakubiri, Okitobba 21
Oyo agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.—Mat. 24:13.
Lowooza ku miganyulo egiva mu kuba abagumiikiriza. Bwe tuba abagumiikiriza tuba basanyufu era tuba bakkakkamu. Ekyo kisobola okutuyamba okuba abalamu obulungi mu mubiri ne mu birowoozo. Bwe tugumiikiriza abalala, tuba n’enkolagana ennungi nabo. Ekibiina kyaffe kyeyongera okuba obumu. Omuntu bw’akola ebitunyiiza ne tulwawo okusunguwala, kituyamba obutasajjula mbeera. (Zab. 37:8, obugambo obuli wansi; Nge. 14:29) N’ekisinga obukulu, tuba tukoppa Kitaffe ow’omu ggulu, era tweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Mazima ddala obugumiikiriza ngeri nnungi nnyo era ya muganyulo nnyo! Wadde ng’oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kuba bagumiikiriza, Yakuwa asobola okutuyamba ne tweyongera okukulaakulanya engeri eyo. Era nga bwe tulindirira okujja kwe nsi empya, tusobola okuba abakakafu nti “eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya, abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka.” (Zab. 33:18) Ka ffenna tweyongere okuba abamalirivu okwambala obugumiikiriza. w23.08 22 ¶7; 25 ¶16-17
Lwakusatu, Okitobba 22
Okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.—Yak. 2:17.
Yakobo yagamba nti omuntu ayinza okugamba nti alina okukkiriza naye nga by’akola byoleka nti talina kukkiriza. (Yak. 2:1-5, 9) Yakobo era yayogera ku muntu alaba ‘muganda waffe oba mwannyinaffe atalina kya kwambala oba emmere emumala’ naye n’atabaako ky’akolawo kumuyamba. Omuntu ng’oyo ne bw’agamba nti alina okukkiriza, okukkiriza okwo tekuliiko bikolwa. N’olwekyo, engeri gye yeeyisaamu eraga nti talina kukkiriza. (Yak. 2:14-16) Yakobo yayogera ku kyokulabirako kya Lakabu eyayoleka okukkiriza okuyitira mu ebyo bye yakola. (Yak. 2:25, 26) Lakabu yawulira ebikwata ku Yakuwa era n’akiraba nti Yakuwa yali ayamba Abayisirayiri. (Yos. 2:9-11) Ebikolwa bye byalaga nti yalina okukkiriza kubanga yakweka abakessi ba Isirayiri ababiri obulamu bwabwe bwe bwali mu kabi. N’olw’ensonga eyo, omukyala oyo eyali tatuukiridde era ataali Muyisirayiri yayitibwa mutuukirivu nga Ibulayimu bwe yali. Ekyokulabirako kye yassaawo kiraga obukulu bw’okwoleka okukkiriza mu bikolwa. w23.12 5-6 ¶12-13
Lwakuna, Okitobba 23
Musimbe emirandira era munywerere ku musingi.—Bef. 3:17.
Tetwagala kukoma ku kumanya njigiriza za Bayibuli ezisookerwako zokka. Twagala omwoyo gwa Katonda gutuyambe okutegeera ebintu “bya Katonda eby’ebuziba.” (1 Kol. 2:9, 10) Osobola okunoonyereza ku ebyo by’osoma ng’olina ekigendererwa eky’okweyongera okusemberera Katonda. Ng’ekyokulabirako, osobola okunoonyereza ku ngeri gye yalagamu abaweereza be ab’omu biseera eby’edda okwagala, era n’engeri ekyo gye kiragamu nti naawe akwagala. Oyinza okusoma ku ngeri Yakuwa gye yali ayagala Abayisirayiri bamusinzeemu, n’ogigeraageranya n’engeri gy’ayagala tumusinzeemu leero. Oba oyinza okwekenneenya obunnabbi obwatuukirira ku Yesu mu bulamu bwe ne mu buweereza bwe ku nsi. Bw’osoma ku bintu ebyo ng’okozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, osobola okufuna essanyu lingi. Okusoma ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli kisobola okunyweza okukkiriza kwo n’okukuyamba ‘okuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’—Nge. 2:4, 5. w23.10 18-19 ¶3-5
Lwakutaano, Okitobba 24
Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.—1 Peet. 4:8.
Ekigambo “nnyo” Peetero kye yakozesa, obutereevu kitegeeza “okunaanuuka.” Ekitundu ekyokubiri eky’olunyiriri olwo kiraga ekyo kye tukola bwe tuba nga tulina okwagala ng’okwo. Bwe tuba nga twagala nnyo abalala, kituyamba okubikka ku bibi byabwe. Okwagala okwo tuyinza okukugeraageranya ku lugoye lwe tukutte n’emikono gyaffe ebiri ne tulunaanuula ne luba nga lusobola okubikka, si ku kibi kimu kyokka oba bibiri, wabula ku “bibi bingi.” Ekigambo okubikka kikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza okusonyiwa. Ng’olugoye bwe lusobola okubikka amabala agali ku kintu, okwagala kusobola okubikka ku bunafu ne ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannaffe. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kulina okuba okw’amaanyi ennyo nga kutusobozesa okubasonyiwa ensobi zaabwe, ka kibe nti ekyo oluusi kyetaagisa okufuba ennyo. (Bak. 3:13) Bwe tusonyiwa abalala kiba kiraga nti okwagala kwe tulina kwa maanyi era kiraga nti twagala okusanyusa Yakuwa. w23.11 11-12 ¶13-15
Lwamukaaga, Okitobba 25
Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.—2 Byom. 34:18.
Kabaka Yosiya bwe yaweza emyaka 26, yatandika omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu. Yeekaalu bwe yali eddaabirizibwa, baazuula “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.” Yosiya bwe yawulira nga kisomebwa, yakwatibwako nnyo era n’atandikirawo okukolera ku ebyo ebyakirimu. (2 Byom. 34:14, 19-21) Wandyagadde okusoma Bayibuli obutayosa? Oboolyawo ogezezzaako okugisoma buli lunaku. Naye onyumirwa by’osoma? Ofuba okukwata ennyiriri ezisobola okukuyamba mu mbeera ezitali zimu? Yosiya bwe yali wa myaka nga 39, alina ensobi ey’amaanyi gye yakola eyamuviirako kufiirwa obulamu bwe. Lumu yeesigamu ku kutegeera kwe mu kifo ky’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa. (2 Byom. 35:20-25) Kino kituwa eky’okuyiga. Ka tube nga tulina emyaka emeka oba ka tube nga tumaze bbanga ki nga tusoma Bayibuli, bulijjo tulina okunoonyanga Yakuwa. Kino kizingiramu okumusabanga atuwe obulagirizi, okusoma Ekigambo kye, wamu n’okuwuliriza amagezi agatuweebwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwewala okukola ensobi ez’amaanyi era tuba basanyufu.—Yak. 1:25. w23.09 12 ¶15-16
Ssande, Okitobba 26
Katonda aziyiza ab’amalala, naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.—Yak. 4:6.
Bayibuli eyogera ku bakazi bangi abaali baagala ennyo Yakuwa era abaamuweereza n’obwesigwa. Abakazi abo ‘baalina empisa ezisaana’ era baali “beesigwa mu bintu byonna.” (1 Tim. 3:11) Ne mu bibiina byaffe mulimu bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo, bannyinaffe abato be basobola okukoppa. Bannyinaffe abato, mulinayo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo be mumanyi be musobola okukoppa? Mwetegereze engeri ennungi ze booleka. Oluvannyuma mulowooze ku ngeri nammwe gye muyinza okwoleka engeri ezo. Okusobola okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kyetaagisa okuba omwetoowaze. Omukazi bw’aba omwetoowaze aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayagala Yakuwa awagira enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. (1 Kol. 11:3) Enteekateeka eyo ekola mu kibiina ne mu maka. w23.12 18-19 ¶3-5
Bbalaza, Okitobba 27
Abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.—Bef. 5:28.
Yakuwa asuubira omwami okwagala mukyala we n’okufaayo ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira ye. Okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okussa ekitiibwa mu bakazi, n’okuba omuntu eyeesigika bijja kukuymaba okuba omwami omulungi. Oluvannyuma lw’okuwasa, oyinza okufuuka taata. Kiki ky’oyigira ku Yakuwa ku kuba taata omulungi? (Bef. 6:4) Yakuwa yagamba Omwana we, Yesu, mu lujjudde nti amwagala era nti amusiima. (Mat. 3:17) Bw’onoofuuka taata, fuba okulaba nti ogambanga abaana bo nti obaagala. Basiimenga olw’ebirungi bye banaabanga bakoze. Bataata abakoppa Yakuwa, bayamba abaana baabwe okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo. Osobola okweteekateeka okuba taata omulungi ng’olaga okwagala abo b’obeera nabo awamu ne bakkiriza banno mu kibiina, era ng’obagambanga nti obaagala era nti osiima bye bakola.—Yok. 15:9. w23.12 28-29 ¶17-18
Lwakubiri, Okitobba 28
[Yakuwa] y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe.—Is. 33:6.
Wadde nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo. Ate era abantu abataagala baweereza ba Yakuwa bayinza okutuziyiza oba okutuyigganya. Wadde nga Yakuwa aleka ebizibu ng’ebyo okututuukako, atusuubiza okutuyamba. (Is. 41:10) Olw’obuyambi bw’atuwa, tusobola okusigala nga tuli basanyufu, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Yakuwa atusuubiza okutuwa ekyo Bayibuli ky’eyita “emirembe gya Katonda.” (Baf. 4:6, 7) Emirembe egyo gitegeeza obuteefu n’obukkakkamu bwe tuwulira ku mutima olw’okukimanya nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. “Gisingira ewala okutegeera kwonna”; misuffu nnyo era kizibu okugiteebereza. Wali owuliddeko ng’okkakkanye oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa? Egyo gye ‘mirembe gya Katonda!’ w24.01 20 ¶2; 21 ¶4
Lwakusatu, Okitobba 29
Ka ntendereze Yakuwa; ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.—Zab. 103:1.
Okwagala abantu abeesigwa kwe balina eri Katonda kubaleetera okutendereza erinnya lye n’omutima gwabwe gwonna. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti okutendereza erinnya lya Yakuwa kye kimu n’okutendereza Yakuwa kennyini. Erinnya lya Yakuwa likiikirira ekyo ky’ali. Bwe tuwulira nga lyogerwa kituyamba okulowooza ku ngeri ze zonna ennungi ne ku bintu eby’ekitalo by’akola. Dawudi yali ayagala okutwala erinnya lya Kitaawe nga ttukuvu n’okulitendereza. Ekyo yali ayagala okukikola n’omutima gwe gwonna. Mu ngeri y’emu, Abaleevi abaakulemberangamu abantu mu kutendereza Yakuwa, baagamba nti tebaalina bigambo bye baali bayinza kukozesa okuggirayo ddala mu bujjuvu ettendo erigwanidde okuweebwa erinnya lya Katonda ettukuvu. (Nek. 9:5) Kya lwatu nti okutendereza Yakuwa mu ngeri eyo ey’obwetoowaze, kyamusanyusa nnyo. w24.02 9 ¶6
Lwakuna, Okitobba 30
Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.—Baf. 3:16.
Yakuwa tajja kukitwala nti tosobola kutuuka ku biruubirirwa byo. (2 Kol. 8:12) Baako by’oyigira ku ebyo ebikulemesa. Teweerabira by’osobodde okutuukako. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.” (Beb. 6:10) Naawe tosaanidde kwerabira. Fumiitiriza ku ebyo by’otuuseeko. Kuyinza okuba okubuulira, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, oba okubatizibwa. Nga bwe wasobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, osobola n’okutuuka ku kiruubirirwa kye weeteereddewo. Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. (2 Kol. 4:7) Bw’onoofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa.—Bag. 6:9. w23.05 31 ¶16-18
Lwakutaano, Okitobba 31
Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.—Yok. 16:27.
Yakuwa ayagala nnyo okukiraga nti asiima abo b’ayagala. Bayibuli eyogera ku mirundi ebiri Yakuwa lwe yagamba Yesu nti yali amwagala nnyo era nti yali amusiima. (Mat. 3:17; 17:5) Wandyagadde okuwulira Yakuwa ng’akugamba nti akusiima? Yakuwa tayogera naffe butereevu, wabula ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Bwe tusoma ebigambo ebyoleka okwagala Yesu bye yagamba abayigirizwa be, tuba ng’abawulira Yakuwa ng’atugamba ebigambo ebyo. Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Bwe tusoma ku bigambo Yesu bye yayogera ng’asiima abagoberezi be abaali batatuukiridde, tusobola okukuba akafaananyi nga Yakuwa y’alinga atugamba ebigambo ebyo. (Yok. 15:9, 15) Bwe tufuna ebizibu kiba tekitegeeza nti Yakuwa takyatusiima. Mu kifo ky’ekyo, ebizibu bituwa akakisa okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa era nti tumwesiga.—Yak. 1:12. w24.03 28 ¶10-11