LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 12/1 lup. 3-4
  • Baibuli Yayagalibwa era n’Ekugirwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baibuli Yayagalibwa era n’Ekugirwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Endowooza y’Omu Nsi Ekyukakyuka
  • Desiderius Erasmus
    Zuukuka!—2016
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2016
  • Goberera Enkola Eyaweebwa Bakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okusoma Baibuli—Kuganyula era Kuleeta Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 12/1 lup. 3-4

Baibuli Yayagalibwa era n’Ekugirwa

“Nandyagadde ebitabo ebitukuvu okuvvuunulwa mu nnimi zonna,” bw’atyo Desiderius Erasmus, omwekenneenya Omudaaki ow’omu kyasa 16 bwe yawandiika.

ERASMUS yali ayagala nnyo abantu bonna okusoma n’okutegeera Ebyawandiikibwa. Kyokka, abalabe ba Baibuli baawakanya nnyo endowooza eyo. Mu butuufu, mu kiseera ekyo Bulaaya yali ya bulabe eri omuntu yenna eyagezangako okumanya ebiri mu Baibuli. Mu Bungereza, etteeka eryayisibwa paaliyamenti era nga liragira nti “bonna abasoma Ebyawandiikibwa mu Lungereza basaanidde okufiirwa ettaka, ebizimbe, ebintu byabwe, n’obulamu . . . era singa beeyongera okubeera abakakanyavu, oba okuddamu okugisoma oluvannyuma lw’okusonyiyibwa, basaanidde okuwanikibwa ku kalabba olw’okulyamu kabaka olukwe, era oluvannyuma bookebwe olw’okuwakanya Katonda.”

Mu Bulaaya, Okutulugunya Okuva eri Abakatuliki kwaviirako okuyigganya obubiina bw’eddiini ‘obw’endowooza ez’enjawulo ku ddiini yaabwe,’ gamba ng’ako akaali kayitibwa French Waldenses, ke baayigganya ennyo olw’empisa yaako ey’okubuulira “okuva mu njiri n’ebyawandiikibwa ebirala ebitukuvu, . . . okuva okubuulira n’okunnyonnyola ebyawandiikibwa ebitukuvu bwe byali biwereddwa eri abo abataali bakulu ba ddiini.” Abasajja n’abakazi bangi nnyo baatulugunyizibwa era ne battibwa olw’okwagala Baibuli. Baateeka obulamu bwabwe mu kabi ak’amaanyi ennyo olw’okudiŋŋana Essaala ya Mukama waffe oba Amateeka Ekkumi era n’okubiyigiriza abaana baabwe.

Okwagala ng’okwo eri Ekigambo kya Katonda kweyongera okunywera mu mitima gy’abafuzi b’amatwale abaasaabala emmeeri okugenda okufuga Amereka ow’omu Bukiika Kkono. Mu Amereka ey’edda, “okusoma n’eddiini byagenderanga wamu, ne kyawulawo abantu abaafangayo okumanya ebiri mu Baibuli,” bwe kityo ekitabo A History of Private Life​—Passions of the Renaissance, bwe kigamba. Mu butuufu, emboozi eyafulumizibwa mu Boston mu 1767 yakubiriza bw’eti: “Nyiikirira okusoma ebyawandiikibwa ebitukuvu. Buli ku makya n’akawungeezi oteekwa okusoma essuula okuva mu Baibuli yo.”

Okusinziira ku Kibinja kya Barna Ekinoonyereza eky’omu Ventura, California, Abaamereka abasukka mu 90 ku buli kikumi balina Baibuli satu. Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo, kulaga nti wadde Baibuli ekyatwalibwa ng’eyomuwendo mu kifo ekyo, “okuwaayo ebiseera okugisoma, okugiyiga n’okugigoberera . . . kintu ekyabangawo mu biseera eby’edda.” Abasinga obungi bamanyi bitono nnyo ku ebyo ebigirimu. Omuwandiisi omu mu mpapula z’amawulire yagamba: “Endowooza nti [Baibuli] ekyalina ky’eyinza okuyamba mu bizibu ebiriwo leero tetera kubaawo.”

Endowooza y’Omu Nsi Ekyukakyuka

Endowooza eŋŋanzi eri nti tusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu okuyitira mu magezi gaffe n’okukolaganira awamu ng’abantu. Baibuli etwalibwa ng’emu ku bitabo ebingi ebirimu endowooza z’eddiini n’ebyo ebyatuuka ku bantu abamu, so si ng’ekitabo ekirimu ebintu ebituufu era eby’amazima.

Kati olwo, abantu abasinga obungi baŋŋanga batya ensonga ezeeyongera okubeera enzibu ennyo mu bulamu? Tebeesigama ku nsonga z’eby’omwoyo, tebalina bulagirizi bunywevu mu mpisa ne mu by’eddiini. Bafuuse ng’emmeeri etalina nkasi, “abazzibwa eno n’eri buli njigiriza y’abantu, . . . obukuusa n’obulimba bw’abantu.”​—Abaefeso 4:14, The Twentieth Century New Testament.

Kati tuteekwa okubuuza, Baibuli kitabo butabo ekirala eky’eddiini? Oba mazima ddala Kigambo kya Katonda, ekirimu obubaka obuganyula era obwetaagisa? (2 Timoseewo 3:16, 17) Tugwanidde okwekenneenya Baibuli? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo bino.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Desiderius Erasmus

Ensibuko y’ekifaananyi

Okuva mu kitabo Deutsche Kulturgeschichte

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Ba “Waldenses” baayigganyizibwa olw’okubuulira okuva mu Byawandiikibwa

Ensibuko y’ekifaananyi

Stichting Atlas van Stolk, Rotterdam

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share