Etteeka ery’Omuwendo lya Muganyulo
Wadde ng’abantu abasinga obungi batwala Etteeka Ery’Omuwendo okuba enjigiriza ekwata ku mpisa eyatandikibwawo Yesu, ye kennyini yagamba: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma.”— Yokaana 7:16.
YEE, Eyasibukako ebyo Yesu bye yayigiriza, nga mw’otwalidde n’ekyo ekyamanyibwa ng’Etteeka Ery’Omuwendo, y’oyo eyatuma Yesu, Omutonzi, Yakuwa Katonda.
Mu ntandikwa, Katonda yayagala abantu bonna bayise bannaabwe nga nabo bwe bandyagadde bayisibwe. Okusinziira ku ngeri gye yatondamu abantu, yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kufaayo ku bulungi bw’abalala: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n’omukazi bwe yabatonda.” (Olubereberye 1:27) Kino kitegeeza nti mu ngeri ey’okwagala Katonda yatonda abantu nga balina engeri ng’ezize basobole okunyumirwa obulamu nga bali mu mirembe, mu ssanyu n’obumu emirembe gyonna. Omuntu ow’omunda Katonda gwe yabawa, bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, yandibawadde obulagirizi mu kuyisa abalala nga nabo bwe bandyagadde bayisibwe.
Baatwalirizibwa Okwerowoozaako Bokka
Okuva bwe kiri nti abantu baalina entandikwa ennungi, kiki ekyabaawo? Eky’okuddamu ekyangu kiri nti beerowoozaako bokka. Abantu bangi bamanyi ekyo Baibuli ky’eyogera ku bafumbo ababiri abaasooka kye baakola nga bwe kiri mu Olubereberye essuula 3. Nga basendebwasendebwa Setaani awakanya emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, Adamu ne Kaawa beesamba obufuzi bwa Katonda ne balondawo okwefuga n’okwesalirawo eky’okukola. Ekikolwa kyabwe eky’okwerowoozaako era eky’obwewagguzi tekyafiiriza bo bokka, naye era kyandireetedde emitawaana abaana be bandizadde mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kyayoleka lwatu obubi obuva mu kwesamba enjigiriza eyamanyibwa ng’Etteeka Ery’Omuwendo. N’olwekyo, “ku bw’omuntu omu ekibi . . . kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”—Abaruumi 5:12.
Wadde ng’abantu beesamba amakubo ga Yakuwa Katonda ag’okwagala, ye teyabaabulira. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yawa eggwanga lya Isiraeri Amateeka ge okubaluŋŋamya. Gaabayigiriza okuyisa abalala nga nabo bwe bandyagadde bayisibwe. Amateeka gaawa obulagirizi ku ngeri y’okuyisaamu abaddu, abatalina bakitaabwe, ne bannamwandu. Gaalaga engeri y’okukola ku batuntuza abalala, abawamba abantu, n’ababbi. Amateeka agakwata ku buyonjo gaalaga okufaayo ku bulamu bw’abalala. Era waaliwo n’amateeka agakwata ku kwetaba. Yakuwa yawumbawumbako Amateeka ge ng’agamba abantu: “Onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka,” ebigambo Yesu bye yajuliza oluvannyuma. (Eby’Abaleevi 19:18; Matayo 22:39, 40) Era, Amateeka gaayogera ku ngeri y’okuyisaamu bannaggwanga abaatuulanga mu Baisiraeri. Amateeka gaalagira: “Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw’omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey’e Misiri.” Mu ngeri endala, Abaisiraeri baali ba kulaga ekisa abo abataalina mwasirizi.—Okuva 23:9; Eby’Abaleevi 19:34; Ekyamateeka 10:19.
Abaisiraeri bwe baagobereranga Amateeka, Yakuwa yabawa omukisa. Mu bufuzi bwa Dawudi ne Sulemaani, eggwanga lyakulaakulana era abantu baali basanyufu era nga bamativu. Ebyawandiikibwa bitugamba: “Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka. Yuda ne Isiraeri yenna ne batuula mirembe, buli muntu wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe.”—1 Bassekabaka 4:20, 25.
Eky’ennaku, emirembe n’obukuumi eggwanga lye byalina tebyawangaala. Wadde nga baalina Amateeka ga Katonda, Abaisiraeri tebaagagoberera. Olw’okwerowoozaako bokka, baalekera awo okufaayo ku balala. Okwerowoozaako mu ngeri eyo, awamu n’obwewagguzi, byabaviiramu ebizibu kinnoomu era n’awamu ng’eggwanga. Mu nkomerero, mu mwaka 607 B.C.E., Yakuwa yaleka Abababulooni okuzikiriza obwakabaka bwa Yuda, ekibuga kya Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo eyali etemagana. Lwa nsonga ki? “Kubanga temuwulidde bigambo byange, laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby’obukiika obwa kkono, bw’ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n’abo abali omwo n’amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n’okusoozebwanga n’amatongo ag’olubeerera.” (Yeremiya 25:8, 9) Ng’okwesamba okusinza kwa Yakuwa okuyonjo kyabaviiramu akabi k’amaanyi!
Ekyokulabirako eky’Okukoppa
Ku luuyi olulala, Yesu Kristo teyayigiriza buyigiriza Tteeka Ery’Omuwendo kyokka, naye era yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’alikolerako. Mu bwesimbu yafaayo ku bulungi bw’abalala. (Matayo 9:36; 14:14; Lukka 5:12, 13) Lumu, okumpi n’ekibuga ky’e Nayini, Yesu yalaba nnamwandu nga mwennyamivu nnyo mu baali bagenda okuziika olw’omwana we gwe yalina yekka. Baibuli egamba: “Awo Mukama waffe bwe yamulaba n’amusaasira.” (Lukka 7:11-15) Ekigambo wano ekikyusiddwa “n’amusaasira,” okusinziira ku Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words, kirina amakulu “g’okukubirizibwa okuva munda.” Yategeera engeri nnamwandu gye yali alumwa, era ekyo ne kimukubiriza okubaako ky’akolawo okuwewula ku bulumi obwo. Nga nnamwandu oyo yasanyuka nnyo Yesu bwe yazuukiza omwana we oyo ‘n’amumuwa’!
Mu nkomerero, nga kituukagana n’ekigendererwa kya Katonda, Yesu yabonaabona era n’awaayo n’obulamu bwe okuba ekinunulo, abantu basobole okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa. Kino kye kyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’okukolera ku Tteeka Ery’Omuwendo.—Matayo 20:28; Yokaana 15:13; Abaebbulaniya 4:15.
Abantu Abakolera ku Tteeka ery’Omuwendo
Ddala waliwo abantu mu kiseera kyaffe abakolera ku Tteeka Ery’Omuwendo? Mazima ddala weebali, era balikolerako wadde nga kiyinza obutaba kyangu. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II nga Bugirimaani efugibwa Abanazi, Abajulirwa ba Yakuwa tebaddirira mu kukkiriza kwe baalina mu Katonda n’okwagala baliraanwa baabwe, era tebekkiriranya Tteeka Ery’Omuwendo. Wadde nga gavumenti yakubiriza okukyawa n’okuyisa obubi Abayudaaya bonna, Abajulirwa beeyongera okugoberera Etteeka Ery’Omuwendo. Ne mu nkambi z’abasibe, beeyongera okulabirira bantu bannaabwe, nga bagabana emmere n’Abayudaaya era n’abatali Bayudaaya abaali balumwa enjala, wadde ng’emmere yali ya kkekwa. N’ekirala, wadde nga baali balagiddwa gavumenti okutta abalala, baagaana okukikola, kuba nabo baali tebaagala kuttibwa. Bandisobodde batya okutta abo be baalina okwagala nga bo bwe beeyagala? Olw’okugaana okukikola, bangi ku bo baasindikibwa mu nkambi era n’abalala ne battibwa.—Matayo 5:43-48.
Ng’osoma ekitundu kino, oganyulwa mu kyokulabirako ekirala eky’Etteeka Ery’Omuwendo. Abajulirwa ba Yakuwa bakitegeera nti leero abantu bangi babonaabona nga tebalina ssuubi lyonna wadde obuyambi. N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa beewaayo kyeyagalire okuyamba abalala okuyiga ku ssuubi era n’obulagirizi obw’omuganyulo obuli mu Baibuli. Ebyo byonna kitundu ky’omulimu ogw’okuyigiriza ogukolebwa kati ku kigero ekitabangawo. Kiki ekivuddemu? Nga bwe kyalagulwa mu Isaaya 2:2-4, ‘abantu bangi,’ mu butuufu basukka mu bukadde mukaaga okwetooloola ensi,’ bayigiriziddwa amakubo ga Yakuwa n’okugatambuliramu.’ Mu ngeri ey’akabonero, bayize ‘okuweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo.’ Bafunye emirembe n’obukuumi mu biseera bino ebizibu.
Ate Kiri Kitya gy’Oli?
Lowooza ku nnaku n’okubonaabona ebireeteddwa ku lulyo lw’omuntu olw’okwesamba Etteeka Ery’Omuwendo, okuviira ddala ku bujeemu obwaliwo mu Adeni, obwakubirizibwa Setaani Omulyolyomi. Yakuwa ateekateeka okulongoosa embeera mangu nnyo. Mu ngeri ki? “Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.” (1 Yokaana 3:8) Kino kijja kubaawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, nga Yesu Kristo ye Kabaka, oyo eyayigiriza era n’akolera ku Tteeka Ery’Omuwendo.—Zabbuli 37:9-11; Danyeri 2:44.
Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yagamba: “N[n]ali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere. Obudde okuziba akola eby’ekisa, n’awola; n’ezzadde lye liweebwa omukisa.” (Zabbuli 37:25, 26) Tokkiriziganya na kino nti, leero abantu bangi bafuna bufunyi bintu era ne banyaga mu kifo ‘ky’okulaga ekisa n’okuwola’? Kya lwatu, okukolera ku Tteeka Ery’Omuwendo kiyinza okutuusa ku mirembe n’obukuumi ebya nnamaddala kubanga kisobozesa omuntu okufuna emikisa kati era ne mu biseera eby’omu maaso wansi w’Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalirawo ddala okwerowoozaako kwonna n’obubi mu nsi, era buggyewo omulembe guno omubi ogw’obufuzi bw’abantu, busseewo enteekateeka empya eya Katonda. Olwo nno, abantu bonna bajja kunyumirwa okukolera ku Tteeka Ery’Omuwendo.—Zabbuli 29:11; 2 Peetero 3:13.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4, 5]
Yesu teyayigiriza buyigiriza Tteeka Ery’Omuwendo kyokka, naye era yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okulikolerako
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Okukolera ku Tteeka Ery’Omuwendo kiyinza okuleetawo emirembe n’obukuumi ebya nnamaddala