LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 1/1 lup. 3-5
  • Enkomerero y’Entalo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkomerero y’Entalo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Baayiga Okutta
  • Okuyiga Okubeera mu Mirembe mu Kifo ky’Olutalo
  • Ekitukakasa nti Wajja Kubaawo Emirembe mu Nsi
  • Ensi Eneesobola Etya Okubaamu Emirembe Egya Nnamaddala?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Entalo
    Zuukuka!—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 1/1 lup. 3-5

Enkomerero y’Entalo

‘Tulina emyaka 12 gyokka. Tetulina kye tusobola kukola ku bikwata ku by’obufuzi oba entalo, wabula twagala okuba abalamu! Tulindirira okufuna emirembe. Naye emirembe ginaatuuka nga tukyali balamu?’​—Abaana ab’ekibiina eky’okutaano

‘Twagala okusoma, okukyalira mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe nga tetutya nti tunaawambibwa. Nsuubira nti gavumenti eneewuliriza. Twagala obulamu obusingako obulungi. Twagala mirembe.’​—Alhaji, ow’emyaka 14

EBIGAMBO bino ebinakuwaza byoleka essuubi ly’abaana ababonyeebonye okumala emyaka olw’entalo. Kye baagala kwe kuba mu bulamu obwa bulijjo. Kyokka si kyangu okutuukiriza ebintu bye basuubira. Ddala tuliraba ensi omutali ntalo?

Mu myaka egyakayita, amawanga gakoze kaweefube ow’okukomya entalo ez’omunda ng’enjuyi ezirwanagana ziwalirizibwa okuteeka emikono ku ndagaano ey’emirembe. Ensi ezimu ziweerezza amagye amakuumi g’eddembe okulaba nti endagaano ng’ezo ziteekebwa mu nkola. Naye ensi ntono ezirina ssente oba ezaagala okuyamba ensi ez’ewala omuli obukyayi obw’amaanyi obutasobozesa kutuukiriza ndagaano ezikolebwa wakati w’enjuyi ezirwanagana. Emirundi mingi, entalo ziddamu nga waakayitawo wiiki ntono nnyo, oba emyezi mitono nnyo ng’endagaano ez’okussa eby’okulwanyisa wansi zikoleddwa. Ekitongole ekiyitibwa Stockholm International Peace Research Institute kigamba, “kizibu okufuna emirembe abalwanagana bwe baba nga bakyayagala era nga balina obusobozi bw’okweyongera okulwana.”

Mu kiseera kye kimu, obukuubagano obwo obutasobola kugonjoolebwa obuli mu bitundu bingi eby’ensi, bujjukiza Abakristaayo obunnabbi bwa Baibuli. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku biseera ebizibu mu byafaayo, omusajja ow’embalaasi lwe ‘yandiggyewo emirembe ku nsi.’ (Okubikkulirwa 6:4) Entalo zino ez’omuddiriŋŋanwa ze zimu ku kabonero akalaga nti tuli mu biseera Baibuli by’eyogerako nga ‘ennaku ez’oluvannyuma.’a (2 Timoseewo 3:1) Kyokka, Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti ennaku zino ez’oluvannyuma ze zisookawo emirembe ne giryoka gijja.

Baibuli ennyonnyola mu Zabbuli 46:9 nti okusobola okufuna emirembe egya nnamaddala kyetaagisa entalo okukoma mu nsi yonna, so si mu kitundu kimu kyokka. Ate era, Zabbuli eno y’emu eyogera ku kusaanyaawo eby’okulwanyisa ebyakozesebwanga mu kiseera Baibuli we yawandiikibwa, kwe kugamba, obusaale, n’amafumu. Mu ngeri y’emu, abantu okusobola okubeera mu mirembe, eby’okulwanyisa ebikolebwa ennaku zino birina okusaanyizibwawo.

Kyokka, eby’okulwanyisa si bye biviirako entalo okweyongera wabula obukyayi n’omulugube. Omulugube kye kintu ekikulu ekiviirako entalo, ng’ate bwo obukyayi emirundi mingi buviirako ebikolwa eby’obukambwe. Okusobola okumalawo engeri ezo embi, abantu beetaaga okukyusa endowooza zaabwe. Beetaaga okuyigirizibwa okubeera mu mirembe. N’olwekyo, nga kituukirawo, nnabbi Isaaya yagamba nti entalo zijja kuggwaawo abantu lwe ‘bataliyiga kulwana nate.’​—Isaaya 2:4.

Kyokka, mu kiseera kino tuli mu nsi etayigiriza bato n’abakulu kutwala mirembe ng’ekintu ekikulu, wabula ebayigiriza okugulumiza entalo. Eky’ennaku, n’abaana nabo batendekebwa okutta.

Baayiga Okutta

Ng’aweza emyaka 14, Alhaji yawummula eby’ekijaasi. Yali aweza emyaka 10 gyokka abayeekera we baamuwambira ne bamutendeka okulwanyisa emmundu ey’ekika kya AK-47. Oluvannyuma lw’okuwalirizibwa okufuuka omuserikale, yagendanga okubba emmere n’okwokya amayumba. N’okutta yattanga era n’asalangako abantu ebitundu eby’omubiri. Leero, Alhaji akisanga nga kizibu okuggya entalo mu birowoozo bye n’okweyisa ng’omuntu owa bulijjo. Omwana omulala omuserikale Abraham naye yayiga okutta era yali tayagala kussa wansi bya kulwanyisa. Yagamba: “Bwe baŋŋaana okugenda n’emmundu yange, mba simanyi kya kukola, simanyi ngeri gye mba ŋŋenda kweyimirizaawo.”

Abaana abalenzi n’abawala abassuka mu 300,000 bakyalwana era bakyafiira mu bukuubagano obutakoma obujjudde mu nsi yaffe. Omukulembeze omu ow’abayeekera yagamba: “Bakadogo bagondera biragiro; tebeeraliikirira nti balina okudda eka okusanga bakyala baabwe, oba ab’omu maka gaabwe, era tebamanyi kintu kiyitibwa kutya.” Kyokka, abaana bano baagala era bagwanira obulamu obulungi.

Mu nsi ezikyakula, embeera embi ennyo ey’abaana abaserikale, erabika nga nzibu nnyo okuteebereza. Wadde kiri kityo, abaana bangi mu nsi ezaakula edda, bayiga okuwakula entalo nga bali mu maka gaabwe. Mu ngeri ki?

Twala ekyokulabirako kya José abeera mu bukiika ddyo bwa Spain. Yali muvubuka wa myaka 16 eyali anyumirwa emizannyo gya ttayikondo. Ekintu kye yali asinga okwagala kyali ekitala ekiwanvu eky’Abajapaani taata we kye yamugulira ng’ekirabo kya Ssekukkulu. Era yayagalanga nnyo emizannyo gy’oku vidiyo naddala egyabeerangamu ebikolwa eby’obukambwe. Nga Apuli 1, 2000, yakoppa omusajja we omuzira gwe yalabanga ku vidiyo. Mu busungu obungi, yatta taata we, maama we ne mwannyina ng’akozesa ekitala kyennyini kitaawe kye yamuwa. “Nayagala mbeere nzekka mu nsi, ssaayagala bazadde bange kunnoonyanga,” bw’atyo bwe yannyonnyola poliisi.

Ng’ayogera ku biva mu by’okwesanyusaamu okulimu ebikolwa eby’obukambwe, Dave Grossman omuwandiisi w’ebitabo era omukulu mu magye, yagamba: “We tutuuse kati, okulumya n’okubonyaabonya abalala bye bintu ebitusanyusa: tusanyuka okubiraba mu kifo ky’okutwesisiwaza. Tuyiga okutta, era tuyiga okwenyumiriza mu kutta.”

Bombi Alhaji ne José baayiga okutta. Tebaagenderera kuba bassi naye okutendekebwa mu ngeri emu oba endala kwayonoona endowooza yaabwe. Okutendekebwa ng’okwo ka kube eri abaana oba abantu abakulu ye ntandikwa y’okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe n’entalo.

Okuyiga Okubeera mu Mirembe mu Kifo ky’Olutalo

Emirembe egy’olubeerera tegisobola kufunibwa ng’abantu bayiga okulwana. Emyaka egisukka mu 2,700 emabega, nnabbi Isaaya yawandiika: “Singa wawulira amateeka [ga Katonda] kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga.” (Isaaya 48:17, 18) Abantu bwe bayiga amazima agakwata ku Kigambo kya Katonda era ne bayiga okwagala amateeka ge, bakyayira ddala ebikolwa eby’obukambwe n’entalo. Ne mu kiseera kino, abazadde basobola okukakasa nti emizannyo abaana baabwe gye bazannya tegikubiriza bikolwa bya bukambwe. Abakulu nabo basobola okuyiga okuvvuunuka obukyayi n’omulugube. Abajulirwa ba Yakuwa bakizudde enfunda n’enfunda nti Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi agakyusa omuntu.​—Abaebbulaniya 4:12.

Twala eky’okulabirako kya Hortêncio. Yali aweza emyaka 23 bwe yawalirizibwa okuyingira amagye. Agamba: Okutendekebwa mu by’ekijaasi kwagendererwa “okutuyigiriza okutta abalala era n’obutatya kutta.” Yalwana olutalo olw’ekiyeekera olwamala ebbanga eggwanvu mu Africa. Ayongera n’agamba: “Olutalo lulina kye lwakola ku engeri zange. Ne leero nkyajjukira buli kimu kye nnakola. Mpulira bubi nnyo olw’ebyo bye nnawalirizibwa okukola.”

Musirikale munne bwe yamubuulira ebikwata ku Baibuli, byamutuuka ku mutima. Ekisuubizo kya Katonda ekiri mu Zabbuli 46:6 eky’okumalawo entalo ez’engeri yonna kyamwewuunyisa nnyo. Gye yakoma okusoma Baibuli, gye yakoma okukyawa okulwana. Mu bbanga ttono, ye ne banne abalala babiri baagobwa mu magye era oluvannyuma ne bawaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa Katonda. Hortêncio agamba: “Amazima ag’omu Baibuli gannyamba okwagala abalabe bange. Nnakiraba nti okwenyigira mu lutalo nnali nnyonoona eri Katonda kubanga Katonda agamba nti tulina okwagala baliraanwa baffe. Okusobola okulaga okwagala kuno, nnalina okukyusa endowooza yange era n’obutatunuulira bantu ng’abalabe bange.”

Ebyokulabirako ng’ebyo ebyaliwo ddala biraga nti okuyigirizibwa Baibuli kutumbula emirembe. Kino tekyewuunyisa. Nnabbi Isaaya yagamba nti waliwo akakwate wakati w’okuyigirizibwa okuva eri Katonda n’emirembe. Yalagula: ‘N’abaana bo baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.’ (Isaaya 54:13) Nnabbi oyo y’omu yalagula nti wajja kubaawo ekiseera abantu okuva mu mawanga gonna bwe bajja okwekuluumulira eri okusinza okulongoofu okwa Yakuwa Katonda basobole okuyiga amakubo ge. Kiki ekirivaamu? ‘Bajja kuweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.’​—Isaaya 2:2-4.

Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo, Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu ogw’okuyigiriza mu ensi yonna oguyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okuvvuunuka obukyayi obusibukako entalo.

Ekitukakasa nti Wajja Kubaawo Emirembe mu Nsi

Ng’oggyeko okuyigiriza okwo, Katonda ataddewo gavumenti oba “obwakabaka,” obusobola okuleetawo emirembe mu nsi yonna. Baibuli eyogera ku Mufuzi Katonda gw’alonze nga ‘Omulangira ow’Emirembe.’ Eyongera n’etukakasa nti “okufuga kwe n’emirembe tebirikoma.”​—Isaaya 9:6, 7.

Bukakafu ki bwe tulina nti obufuzi bwa Kristo bujja kumalirawo ddala entalo ez’engeri yonna? Isaaya ayongera n’agamba: “Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.” (Isaaya 9:7) Katonda ayagala era alina obusobozi okuteekawo emirembe egitakoma. Yesu mukakafu ddala nti ekisuubizo kino kijja kutuukirizibwa. Eyo y’ensonga lwaki yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje ne by’ayagala bikolebwe ku nsi. (Matayo 6:9, 10) Ekisuubizo ekyo ekyesigika bwe kirituukirizibwa, entalo teziriddamu kwonoona nsi.

[Obugambo obuli wansi]

a Bw’oba oyagala okumanya obukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, laba akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Okuyigirizibwa Baibuli kutumbula emirembe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share