LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 3/1 lup. 15-20
  • Weewale Okulimbibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weewale Okulimbibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Obulimba Bucaase Nnyo Leero?
  • Weewale Okulimbibwa Bakyewaggula
  • Weewale Okwerimbalimba
  • Weewale Okulimbibwa Setaani
  • Weekuume Oleme Kulimbibwa
  • Onookolera ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Weewale Okulimbibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Beera Bulindaala—Sitaani Ayagala Kukulya!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Okwogera Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 3/1 lup. 15-20

Weewale Okulimbibwa

‘Mwekuume: wayinza okubaawo omuntu abanyaga ne mugoberera eby’obulimba.’​—ABAKKOLOSAAYI 2:8.

1-3. (a) Byakulabirako ki ebiraga nti obulimba busensedde kumpi mu buli mbeera yonna ey’obulamu? (b) Lwaki obulimba obuliwo mu nsi tebwanditwewuunyisizza?

“BAMEKA ku mmwe abatalimbibwangako abo be mwali muwolereza?” Emyaka mitono egiyise, profesa mu by’amateeka yakola okunoonyereza ng’abuuza ekibuuzo ekyo waggulu. Kiki kye yazuula? Agamba bw’ati: “Mu nkumi n’enkumi za bannamateeka be nnabuuza, omu yekka ye yali talimbibwangako oyo gw’awolereza.” Lwaki? “Munnamateeka oyo yali yakatandika okukola era nga tannafuna gw’awolereza.” Ekyokulabirako kino kyoleka embeera embi eriwo​—okulimba n’okulimbibwa ebicaase ennyo leero.

2 Obulimba bwa ngeri nnyingi era busensedde kumpi mu buli mbeera yonna ey’obulamu. Amawulire gabaamu ebintu nga bino​—bannabyabufuzi okwogera eby’obulimba, ababalirira ebitabo ne bannamateeka okulimba ku bikwata ku magoba ga kampuni, abalanga eby’amaguzi okulimba abaguzi, abawaaba emisango nga bagezaako okubba kampuni za insuwalensi, era n’ebirala. Ate waliwo obulimba mu by’eddiini. Abakulu b’eddiini balimba enkuyanja z’abantu nga babayigiriza ebintu ebitali bituufu gamba nga, obutafa bw’emmeeme, omuliro ogutazikira ne Tiriniti.​—2 Timoseewo 4:3, 4.

3 Kyanditwewuunyisizza nti waliwo obulimba bungi nnyo? N’akatono. Baibuli eyogera bw’eti ku nnaku “ez’oluvannyuma”: “Abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:1, 13) Ng’Abakristaayo, tusaanidde okwegendereza endowooza ez’obulimba eziyinza okutuleetera okuva mu mazima. N’olw’ensonga eyo ebibuuzo bibiri bijjawo: Lwaki obulimba bucaase nnyo leero, era tuyinza tutya okwewala okulimbibwa?

Lwaki Obulimba Bucaase Nnyo Leero?

4. Baibuli ewa nsonga ki eviiriddeko obulimba okucaaka ennyo mu nsi?

4 Baibuli ewa ensonga lwaki obulimba bucaase nnyo mu nsi eno. Omutume Yokaana yawandiika nti ‘ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) ‘Omubi’ ono ye Setaani Omulyolyomi. Yesu yamwogerako bw’ati: “Teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” N’olw’ensonga eyo, kyanditwewuunyisizza nti ensi eno eyoleka omwoyo n’obulimba bw’oyo agifuga?​—Yokaana 8:44; 14:30; Abaefeso 2:1-3.

5. Setaani ayongedde atya okulimba abantu mu kiseera kino eky’enkomerero, era okusingira ddala baani baataddeko olukongoolo?

5 Mu kiseera kino eky’enkomerero, Setaani ayongeddemu amaanyi mu kulimba abantu. Okuva bwe yasuulibwa ku nsi akimanyi nti akaseera ke kayimpawadde, era alina ‘obusungu bungi nnyo.’ Nga mumalirivu okusaanyawo abantu bangi nga bw’asobola, ‘alimba ensi zonna.’ (Okubikkulirwa 12:9, 12) Setaani talimba bwa lumu. Wabula buli kiseera alimba abantu.a Akozesa buli kakodyo k’alina​—nga muno mwe muli obukuusa n’okubuzaabuza​—asobole okuziba amaaso g’abatakkiriza baleme okuweereza Katonda. (2 Abakkolinso 4:4) Okusingira ddala, omulimba ono omukulu mumalirivu okusaanyawo abo abasinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24; 1 Peetero 5:8) Teweerabiranga nti Setaani yagamba: ‘Nsobola okuggya buli muntu ku Katonda.’ (Yobu 1:9-12) Ka twekenneenye obumu ku ‘bukoddyo obw’okulimba’ Setaani bw’akozesa n’engeri gye tuyinza okubwekuumamu.​—Abaefeso 6:11, Jewish New Testament.

Weewale Okulimbibwa Bakyewaggula

6, 7. (a) Bakyewaggula bayinza kugamba ki? (b) Ebyawandiikibwa byoleka bitya ekyo bakyewaggula kye baagala?

6 Okumala ekiseera kiwanvu Setaani abadde akozesa bakyewaggula okusendasenda abaweereza ba Katonda. (Matayo 13:36-39) Bakyewaggula bayinza okugamba nti basinza Yakuwa era nti bakkiririza mu Baibuli, naye ne beesamba ekibiina kye ekiriwo ku nsi. Abamu baddamu n’okugoberera enzikiriza ezitasanyusa Katonda eza “Babulooni Ekinene,” eddiini ez’obulimba mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 17:5; 2 Peetero 2:19-22) Nga baluŋŋamiziddwa Katonda, abawandiisi ba Baibuli baakozesa ebigambo eby’amaanyi okwanika ebiruubirirwa bya bakyewaggula n’obukodyo bwabwe.

7 Bakyewaggula balina kiruubirirwa ki? Abasinga obungi tebaba bamativu na kuva buvi mu ddiini gye baali batwala okuba entuufu. Emirundi egisinga, baagala n’abalala babeegatteko. Mu kifo ky’okwenoonyeza abayigirizwa abaabwe ku bwabwe, bakyewaggula abasinga obungi baagala ‘okusendasenda abayigirizwa ba Kristo babagoberere.’ (Ebikolwa 20:29, 30) Omutume Pawulo yalabula bw’ati ku bayigiriza ab’obulimba: ‘Mwekuume: wayinza okubaawo omuntu abanyaga ne mugoberera eby’obulimba.’ (Abakkolosaayi 2:8) Ekyo tekyoleka bulungi bakyewaggula abasinga obungi kye baagala okukola? Okufaananako asendasenda omuntu n’amuwamba okuva ku b’omu maka ge, ne bakyewaggula basendasenda ab’omu kibiina nga baagala okubaggya mu kisibo.

8. Bukoddyo ki bakyewaggula bwe beeyambisa okusobola okutuuka ku biruubirirwa byabwe?

8 Bukoddyo ki bakyewaggula bwe beeyambisa okusobola okutuuka ku biruubirirwa byabwe? Emirundi egisinga banyoolanyoola ebigambo, oba boogera ebigambo ebiyinza okulabika ng’ebituufu, oba n’okwogera obulimba bwennyini. Yesu yali akimanyi nti abagoberezi be bandiyisiddwa bubi abo ‘abandibawaayidde buli kigambo ekibi.’ (Matayo 5:11) Abaziyiza ng’abo boogera ebitali bituufu nga balina ekigendererwa eky’okulimba abalala. Omutume Peetero yalabula ku bakyewaggula abandikozesezza ‘ebigambo ebigunjegunje’ okusaasaanya ‘enjigiriza ez’obulimba,’ ate era ne ‘banyoolanyoola Ebyawandiikibwa,’ basobole okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. (2 Peetero 2:3, 13; 3:16) Kya nnaku nti bakyewaggula basobodde ‘okusaanyawo okukkiriza kw’abamu.’​—2 Timoseewo 2:18.

9, 10. (a) Tuyinza tutya okwewala okulimbibwa bakyewaggula? (b) Lwaki tetwandyabulidde kibiina singa bye tumanyi ku bigendererwa bya Katonda birongoosebwamu?

9 Tuyinza tutya okwewala okulimbibwa bakyewaggula? Nga tussaayo omwoyo ku kubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda, okugamba nti: ‘Mwerindenga abo abaleeta ebyawukanya n’ebyesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga; mubakubenga amabega abo.’ (Abaruumi 16:17) ‘Tubakuba amabega,’ nga twesamba ebyo bye boogera, ka kibeere nti batutuukiridde bo bennyini, oba okuyitira mu bitabo byabwe, oba ku Internet. Lwaki twandikoze bwe tutyo? Ensonga esooka, olw’okuba Ekigambo kya Katonda kitulagira okukola ekyo, era tuli bakakafu nti bulijjo Yakuwa afaayo nnyo ku ekyo ekinaasinga okutuganyula.​—Isaaya 48:17, 18.

10 Ensonga ey’okubiri eri nti twagala nnyo ekibiina ekitusobozesezza okuyiga amazima agatwawulawo okuva ku Babulooni Ekinene. Ate era, byonna ebikwata ku bigendererwa bya Katonda tetubimanyi bulungi; emyaka bwe gizze giyitawo bye tukkiriza bigenze birongoosebwamu. Abakristaayo abeesigwa balindirira Yakuwa okulongoosa mu kutegeera kwabwe. (Engero 4:18) Wadde ng’ekyo tekinnabaawo, tetujja kwabulira kibiina Katonda ky’akozesa, olw’okuba tulabira ddala nti akiwagira.​—Ebikolwa 6:7; 1 Abakkolinso 3:6.

Weewale Okwerimbalimba

11. Lwaki abantu abatatuukiridde balina engeri ey’okwerimbalimba?

11 Abantu abatatuukiridde balina engeri Setaani gye yeeyambisa ennyo, kwe kugamba, okwerimbalimba. Yeremiya 17:9 wagamba: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” Ate ye Yakobo yawandiika bw’ati: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa.” (Yakobo 1:14) Singa omutima gwaffe gukemebwa, guyinza okutusendasenda ne tutwalirizibwa okwegomba okubi, okuyinza okulabika ng’okusikiriza era okutayinza kuvaamu mutawaana. Endowooza ng’eyo ya bulimba, kubanga okukola ekibi kivaamu okuzikirira.​—Abaruumi 8:6.

12. Tuyinza tutya okwerimbalimba?

12 Kyangu nnyo okugwa mu kyambika eky’okwerimbalimba. Omutima gwaffe omulimba gusobola okubikirira ku mize emibi gye tulina oba okutuleetera okwekwasa kano na kali nga tukoze ekibi eky’amaanyi. (1 Samwiri 15:13-15, 20, 21) Ate era omutima gwaffe omulimba guyinza okutulowoozesa nti si kibi okwenyigira mu mpisa ezitali nnungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku by’okwesanyusaamu. Okwesanyusaamu kwonna si kubi era okumu kusanyusa. Kyokka, ebintu bingi ebiragibwa mu firimu, programu za ttivi ne ku Internet, bya bugwenyufu. Kyangu nnyo okwerimbalimba nti tusobola okulaba ebintu ng’ebyo ne watabaawo kabi konna. Abamu batuuka n’okugamba, “Ate oba omuntu wange ow’omunda tannumiriza, n’olwekyo kikyamu ki ekikirimu?” Naye abantu ng’abo baba ‘beerimbalimba.’​—Yakobo 1:22.

13, 14. (a) Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebiraga nti omuntu waffe ow’omunda tasobola kutuwa bulagirizi obwesigika buli kiseera? (b) Tuyinza tutya okwewala okwerimbalimba?

13 Tuyinza tutya okwewala okwerimbalimba? Okusooka byonna, tulina okujjukira nti omuntu ow’omunda teyeesigika buli kiseera. Lowooza ku mutume Pawulo. Nga tannafuuka Mukristaayo, yayigganya nnyo abagoberezi ba Kristo. (Ebikolwa 9:1, 2) Omuntu we ow’omunda ayinza okuba nga teyamulumiriza mu kiseera ekyo. Kya lwatu nti, omuntu we ow’omunda yali tatendekeddwa bulungi. Pawulo yagamba: “Nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza.” (1 Timoseewo 1:13) N’olwekyo, omuntu waffe ow’omunda bw’atatulumiriza nga twenyigidde mu bya masanyu ebimu, kiba tekitegeeza nti eby’amasanyu ebyo biba bisaanira. Omuntu ow’omunda atendekeddwa obulungi Ekigambo kya Katonda y’asobola okutuwa obulagirizi obwesigika.

14 Bwe tuba ab’okwewala okwerimbalimba, waliwo amagezi amalungi ge tusaanidde okulowoozaako. Saba era weekebere mu bwesimbu. (Zabbuli 26:2; 2 Abakkolinso 13:5) Singa weekebera mu bwesimbu oyinza okukizuula nti waliwo enkyukakyuka ze weetaaga okukola mu ndowooza yo oba mu nneeyisa yo. Wuliriza abalala. (Yakobo 1:19) Okuva bwe twekebera nga tusinziira ku ndaba yaffe, kyandibadde kya muganyulo okuwuliriza Bakristaayo banaffe abakuze mu by’omwoyo kye bagamba. Singa osalawo oba ne weeyisa mu ngeri ebuusibwabuusibwa Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, oyinza okwebuuza, ‘Kyandiba nti omuntu wange ow’omunda tatendekeddwa bulungi oba nti omutima gwange gunimba?’ Toyosa kwesomesa Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako. (Zabbuli 1:2) Bw’onookola bw’otyo kijja kukuyamba okukuuma ebirowoozo byo, endowooza yo n’enneewulira nga bituukana n’emisingi gya Katonda.

Weewale Okulimbibwa Setaani

15, 16. (a) Ng’agezaako okutubuzaabuza, Setaani yeeyambisa bulimba ki? (b) Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa obulimba ng’obwo?

15 Ng’agezaako okutulimba, Setaani yeeyambisa obukoddyo obutali bumu. Agezaako okutumatiza nti eby’obugagga biyinza okutuleetera essanyu erya nnamaddala n’okumatira, kyokka ng’ate ekyo si bwe kiri. (Omubuulizi 5:10-12) Ayagala tukkirize nti ensi eno embi ejja kubeerawo emirembe gyonna, wadde nga waliwo obukakafu obw’enkukunala obulaga nti tuli “mu nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5) Setaani atumbula endowooza egamba nti tewali kabi mu kwenyigira mu bukaba, wadde ng’abo ababwenyigiramu bakungula bibi byereere. (Abaggalatiya 6:7) Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa obulimba ng’obwo?

16 Ganyulwa mu byokulabirako eby’omu Baibuli. Baibuli erimu ebyokulabirako eby’abantu abaalimbibwa Setaani. Baayagala nnyo eby’obugagga, tebaafaayo ku biseera bye baalimu, oba beenyigira mu bwenzi​—era bano bonna baakungula bibi byereere. (Matayo 19:16-22; 24:36-42; Lukka 16:14; 1 Abakkolinso 10:8-11) Yigira ku byokulabirako eby’omu kiseera kyaffe. Kya nnaku nti, emirundi egimu Abakristaayo abamu beerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu era ne bakitwala nti mu kuweereza Katonda baba balina ebirungi bye bafiirwa. Bayinza okuva mu mazima mbu bafune obulamu obw’essanyu. Kyokka, abantu ng’abo ‘bali mu bifo eby’obuseerezi,’ kubanga oluvannyuma enneeyisa yaabwe ebaviiramu ebizibu. (Zabbuli 73:18, 19) Kiba kya magezi okuyigira ku nsobi z’abalala.​—Engero 22:3.

17. Lwaki Setaani atumbula obulimba nti Yakuwa tatwagala era nti tatutwala ng’ab’omugaso?

17 Ate era waliwo obulimba obulala Setaani bwe yeeyambisizza ennyo​—obulimba obugamba nti Yakuwa tatwagala era nti tatutwala ng’ab’omugaso. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka Setaani abadde yeekenneenya abantu. Akimanyi bulungi nti okumalibwamu amaanyi kisobola okutunafuya mu by’omwoyo. (Engero 24:10) N’olwekyo, atumbula obulimba nti tetulina mugaso mu maaso ga Katonda. Singa “tumegebwa” era ne tukitwala nti Yakuwa tatufaako, tuyinza okwagala okulekulira. (2 Abakkolinso 4:9) Era ky’ekyo kyennyini Omulimba ono omukulu ky’ayagala! Kati olwo tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa obulimba obwo?

18. Baibuli etukakasa etya ku ngeri Yakuwa gy’atwagalamu?

18 Fumiitiriza ku ebyo Baibuli by’eyogera ku ngeri Katonda gy’atwagalamu. Ekigambo kya Katonda kikozesa ebyokulabirako okutukakasa nti asiima bye tukola era nti atwagala kinnoomu. Yakuwa ateeka amaziga go mu ‘kasumbi ke,’ ekitegeeza nti alaba era n’ajjukira amaziga g’okaaba ng’ofuba okusigala ng’oli mwesigwa. (Zabbuli 56:8) Amanyi lw’obeera ‘ng’olina omutima ogumenyese’ era abeera kumpi naawe mu kiseera ekyo. (Zabbuli 34:18) Amanyi buli kimu ekikukwatako, nga mw’otwalidde ‘n’enviiri ez’oku mutwe gwo.’ (Matayo 10:29-31) N’ekisinga byonna, Katonda ‘yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka’ ku lulwo. (Yokaana 3:16; Abaggalatiya 2:20) Emirundi egimu, kiyinza okukubeerera ekizibu okukkiriza nti ebyawandiikibwa ebyo bikukwatako kinnoomu. Kyokka, tusaanidde okukkiriza ekyo Yakuwa ky’ayogera. Ayagala tukkirize nti takoma ku kutwagala ng’abantu ffenna awamu naye nti atwagala kinnoomu.

19, 20. (a) Lwaki kikulu okutegeera era ne weesamba obulimba bwa Setaani nti Yakuwa takwagala? (b) Omulabirizi w’ekitundu ayamba atya abo ababa baweddemu amaanyi?

19 Tegeera obulimba era obwesambe. Singa omanya nti waliwo omuntu omulimba, osobola okwekuuma oleme okulimbibwa. Mu ngeri y’emu, bw’omanya nti Setaani ayagala okkirize nti Yakuwa takwagala kisobola okukuyamba okumwekuuma. Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekimu mu Omunaala gw’Omukuumi ekyali kyogera ku bukoddyo bwa Setaani, Omukristaayo omu yagamba: “Nnali simanyi nti Setaani agezaako okweyambisa enneewulira yange okummalamu amaanyi. Okumanya kino kinkubiriza okulwanyisa enneewulira zino.”

20 Lowooza ku kyokulabirako ky’omulabirizi w’ekitundu mu nsi emu ey’omu South America. Buli lw’akyalira bakkiriza banne abaweddemu amaanyi, atera okubabuuza, ‘Okkiririza mu Tiriniti?’ Emirundi egisinga oyo aweddemu amaanyi addamu nti, ‘Kya lwatu nedda,’ ng’akimanyi nti ako kamu ku bulimba bwa Setaani. Omulabirizi w’ekitundu ayongera n’amubuuza, ‘Okkiriza nti waliyo omuliro ogutazikira?’ Era addibwamu nti, ‘Nedda!’ Awo omulabirizi n’alyoka agamba aweddemu amaanyi nti waliwo obulimba obulala Setaani bw’akozesa obutayinza kutegeerwa mangu. Ajuliza ku lupapula 249, akatundu 21, mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa,b awalaga obulungi nti buba bulimba okugamba nti Yakuwa tatwagala kinnoomu. Omulabirizi ono agamba nti ebivaamu biba birungi era abo ababa baweddemu amaanyi bayambibwa okutegeera obulimba bwa Setaani obwo era ne babwesamba.

Weekuume Oleme Kulimbibwa

21, 22. Tusobodde tutya okumanya obukoddyo Setaani bw’akozesa okulimba, era twandimaliridde kukola ki?

21 Mu kiseera kino ekikomekkereza ennaku ez’oluvannyuma, tekitwewuunyisa nti Setaani ajja kwongera okutumbula obulimba bungi nnyo. Kyokka, ekirungi kiri nti Yakuwa atutegeezezza obukoddyo Setaani bw’akozesa okulimba. Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ byanikira ddala obukoddyo bwa Setaani. (Matayo 24:45) Olw’okuba tulabuddwa nga bukyali, tuli beetegefu okwaŋŋanga ekizibu kyonna ekibalukawo, anti ekijja omanyi kinyaga bitono.​—2 Abakkolinso 2:11.

22 N’olwekyo, ka twesambe endowooza za bakyewaggula. Ka tubeere bamalirivu obutagwa mu kyambika eky’okwerimbalimba. Ate era ka tutegeere obulimba Setaani bw’akozesa era tubwesambe. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kukuuma enkolagana yaffe ennungi ne ‘Katonda ow’amazima,’ oyo akyawa obulimba.​—Zabbuli 31:5; Engero 3:32.

[Obugambo obuli wansi]

a Nga kyogera ku kigambo ‘alimba’ ekikozesebwa mu Okubikkulirwa 12:9, ekitabo ekimu kigamba nti kitegeeza “ekintu ekyeyongera mu maaso.”

b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Lwaki leero waliwo obulimba bungi mu nsi?

• Tuyinza tutya okwewala okulimbibwa bakyewaggula?

• Tuyinza tutya okwewala okwerimbalimba mu ngeri yonna?

• Tusobola tutya okwewala okulimbibwa Setaani?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Teweerimbalimba ku bikwata ku by’okwesanyusaamu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Okusobola okwewala okwerimbalimba, weekebere nga bw’osaba, wuliriza abalala, era weeyigirize Ekigambo kya Katonda obutayosa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share