Amakanisa Gasobola Okuyambibwa?
“ABANTU mu Bungereza bakyakkiririza mu Katonda kyokka tebaagala kwekwasa Kristo,” bw’atyo munnaddiini omu Munnayuganda ayitibwa Stephen Tirwomwe bw’agamba. Emyaka nga 20 emabega, yasimattuka ettemu eryatuuka ku bamu ku b’omu kkanisa ye mu Uganda. Leero abuulira mu bifo abasajja gye bakuŋŋaanira okwesanyusaamu mu Leeds eky’omu Bungereza, ng’abaako by’ayogera gye bali okumala eddakiika kkumi nga tebannawugulibwa mizannyo gya zzaala egibaayo.
Emitala w’ennyanja Atalantika, mu Amerika, ekibiina ky’abaminsani ab’enzikiriza y’Ekipolotesitanti ekyakatandikibwawo nakyo kyolekaganye n’obuzibu bwe bumu mu by’omwoyo. “Mu mawanga gonna agoogera Olungereza, Amerika kati y’ensi esinga okubaamu abantu abatagenda mu kkanisa yonna era abatafaayo ku bya mwoyo,” bwe kityo ekibiina ekyo bwe kigamba okuyitira mu mukutu gwakyo ogw’oku Internet. ‘Kati Amerika egenda efuuka ekitundu ekyetaaga abaminsani.’ Olw’okulemererwa okuleetawo enkyukakyuka mu makanisa gaabwe, ab’omu kibiina ekyo bavudde ku nkola yaabwe eya bulijjo ne beegatta ku bakulembeze b’eddiini ab’omu Asiya ne Afirika okusobola okutandikawo ‘omulimu gw’obuminsani mu Amerika.’
Naye lwaki abaminsani okuva mu Afirika, Asiya ne Latin-Amerika babuulira abantu mu Bulaaya ne Amerika ensi ezitwalibwa okuba ez’Abakristaayo?
Ddala Ani Ayamba Munne?
Okumala emyaka egisukka mu bikumi bina, abaminsani bangi okuva mu Bulaaya beekuluumulira mu nsi za Afirika, Asiya, Pasifiki, ne South Amerika, ezaali zifuuliddwa amatwale g’ensi ez’omu Bulaaya. Ekigendererwa kyabwe kyali okuyigiriza eddiini abo be baayita abakaafiiri mu nsi ezo. Oluvannyuma lw’ekiseera, amatwale ga Amerika agatwalibwa okuba nga gaatandikibwawo ku misingi egy’Ekikristaayo, nago geenyigira mu kaweefube ono era ne gayitimuka nnyo okusinga Bulaaya mu mirimu gyago egy’obuminsani okwetooloola ensi. Kati ebintu bikyuse.
“Kati [amadiini ageeyita Amakristaayo] gasimbye amakanda mu bifo birala nnyo,” bw’atyo Andrew Walls, eyatandikawo era addukanya Ekibiina Ekyekenneenya Obukristaayo mu Nsi Ezitali za Bazungu bw’agamba. Mu 1900, abantu 80 ku buli kikumi abaali beetwala okuba Abakristaayo baali nzaalwa za Bulaaya oba za Amerika. Kyokka, leero abantu 60 ku buli kikumi abeetwala okuba Abakristaayo basangibwa mu Afirika, Asiya ne Latini Amerika. Alipoota emu eyafulumira mu mawulire gye buvuddeko awo egamba: “Amakanisa g’Abakatoliki mu Bulaaya geesigamye ku bafaaza abava mu Philippines ne Buyindi.” Ate era, “faaza omu ku buli bafaaza 6 abaweereza mu bigo by’Abakatuliki mu Amerika aggibwa mu nsi z’ebweru.” Ababuulizi b’enjiri Abafirika abali mu Netherlands, ng’okusingira ddala nzaalwa z’e Ghana, beetwala nga ‘abaminsani mu nsi eyo etettanira bya ddiini.’ Ate era, ababuulizi b’enjiri okuva mu Brazil kati bakuba enkuŋŋaana ennene mu bitundu ebitali bimu mu Bungereza. Omuwandiisi omu agamba: ‘Ensi ezaagendangamu abaminsani kati ze zivaamu abaminsani.’
Obutakkaanya Bweyongera
Kirabika nga ddala abaminsani beetaagibwa mu Bulaaya ne Amerika abantu gye beeyongera obutettanira bya ddiini. “Mu Scotland Abakristaayo abagenda mu kkanisa obutayosa tebawera 10 ku buli kikumi,” bw’etyo magazini emu bw’egamba. Ate mu Bufalansa ne Bugirimaani, batono nnyo n’okusingawo. “Abantu nga 40 ku buli kikumi mu Amerika, ate mu Canada 20 ku buli kikumi be bagamba nti bagenda mu kkanisa obutayosa,” bw’etyo alipoota endala bw’egamba. Okwawukana ku ekyo, kigambibwa nti mu Philippines abantu nga 70 ku buli kikumi be bagenda mu kkanisa obutayosa, era bwe kityo bwe kiri ne mu nsi endala ezikyakula.
N’ekirala, abantu abagenda mu kkanisa mu bitundu by’ensi eby’Ebukiika Ddyo balabika nga bagoberera enkola yaayo enkadde okusinga abo ab’omu bitundu eby’Ebukiika Kkono. Ng’eky’okulabirako, Abakatuliki mu Amerika ne Bulaaya bwe babuuzibwa, batera okulaga nti tebakyesiga bakulembeze b’eddiini yaabwe era baagala omuntu wa bulijjo aweebwe enkizo ezisingako era n’abakazi bafune omwenkanonkano. Ku luuyi olulala, bo Abakatuliki mu bitundu by’ensi eby’Ebukiika Ddyo bawagira ekkanisa ky’egamba ku nsonga ezo. Kati ng’Ekkanisa obuwagizi esinga kubuggya mu bitundu by’ensi eby’Ebukiika Ddyo, kyeyoleka kaati nti wajja kubaawo enjawukana ey’amaanyi mu biseera eby’omu maaso. Philip Jenkins omukugu mu byafaayo n’ebikwata ku ddiini agamba: “Mu myaka nga kkumi oba abiri, Abakristaayo abali mu bitundu bino byombi bajja kuba nga buli omu abuusabuusa munne.”
Okusinziira ku ebyo ebiriwo kati, Walls agamba nti kalumanywera ali ku “ngeri Abakristaayo ab’omu Afirika, Asiya, Latini Amerika, Amerika ne Bulaaya gye basobola okubeera mu kkanisa y’emu, nga balina enzikiriza y’emu.” Ggwe olowooza otya? Amakanisa gasobola okusigala nga gali bumu mu nsi eno ejjudde enjawukana? Obumu mu Bakristaayo ab’amazima businziira ku ki? Ekitundu ekiddako kijja kutuwa eky’okuddamu ekyesigamye ku Byawandiikibwa era n’obukakafu obulaga nti waliwo ekibiina ky’Abakristaayo ekiri obumu era ekiri mu mbeera nnungi mu nsi yonna.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Eno eyali ekkanisa kati kifo omukubirwa endongo
[Ensibuko y’ekifaananyi]
AP Photo/Nancy Palmieri