Weewale Okuba n’Amalala
“Katonda alwana n’ab’amalala.”—YAKOBO 4:6.
1. Biki ebiyinza okuviirako omuntu okwenyumiriza.
WALI ofunyeko ekintu kyonna ne kikuleetera okwenyumiriza? Abasinga obungi kyali kitutuuseeko. Si kikyamu omuntu okwenyumiriza. Ng’ekyokulabirako, abazadde bwe basoma alipoota y’omwana waabwe evudde ku ssomero, ng’eraga nti wa mpisa nnungi era nti akola bulungi nnyo, beenyumiriza olw’ebyo omwana waabwe by’aba akoze. Omutume Pawulo ne banne nabo beenyumiriza kubanga baganda baabwe mu kibiina ekippya kye baali batandiseewo baali bagumiikirizza okuyigganyizibwa era nga bakyali beesigwa.—1 Abasessaloniika 1:1, 6; 2:19, 20; 2 Abasessaloniika 1:1, 4.
2. Lwaki tekiba kirungi kwenyumiriza kisukkiridde?
2 Okusinziira ku byokulabirako bye tulabye, okwenyumiriza kiyinza okutegeeza okusanyuka olw’ekintu ekiba kikoleddwa oba olw’ekyo omuntu ky’aba afunye. Kyokka, emirundi mingi omuntu bwe yeenyumiriza ekisukkiridde olw’ekyo ky’akoze, olw’endabika ye, olw’obugagga bwe oba olw’ekitiibwa ky’alina, aba alaga nti asukkulumye ku balala. By’ayogera ne by’akola biba biraga nti anyooma abalala. Ng’Abakristaayo, tusaanidde okwewala okwenyumiriza okw’engeri eyo. Lwaki? Olw’okuba twasikira omwoyo gw’okwefaako okuva ku jjajjaffe Adamu, emitima gyaffe gyanguwa okutulowoozesa nti tusinga abalala olw’ebintu ebimu bye tuba nabyo. (Olubereberye 8:21) Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo bateekwa okwewala okwenyumiriza olwa langi, eby’obugagga, obuyigirize oba okwegeraageranya ku balala. Tekiba kirungi kwenyumiriza lwa bintu ng’ebyo era Yakuwa takisanyukira.—Yeremiya 9:23; Ebikolwa 10:34, 35; 1 Abakkolinso 4:7; Abaggalatiya 5:26; 6:3, 4.
3. Kitegeeza ki okuba n’amalala era kiki Yesu kye yagoogerako?
3 Waliwo n’ensonga endala lwaki tuteekwa okwewala okwenyumiriza ekisukkiridde. Bwe twenyumiriza ekisukkiridde kiyinza okutuviirako okufuna amalala. Naye, kitegeeza ki okuba n’amalala? Omuntu ow’amalala takoma ku kulowooza nti asukkulumye ku balala wabula atuuka n’okunyooma abo b’atwala nga ba wansi. (Lukka 18:9; Yokaana 7:47-49) Ng’ayogera ku bintu ebikyamu ebisibuka “mu mutima” ne “byonoona omuntu,” Yesu yazingiramu ‘n’amalala.’ (Makko 7:20-23) N’olw’ensonga eyo, Abakristaayo basaanidde okwewala okuba n’amalala.
4. Muganyulo ki oguli mu kwekenneenya ebyokulabirako ebiri mu Baibuli eby’abantu abaali ab’amalala?
4 Ekintu ekiyinza okukuyamba okwewala amalala kwe kwekenneenya ebyokulabirako by’abo aboogerwako mu Baibuli abaali ab’amalala. Ojja kusobola okumanya endowooza enkyamu eziyinza okukuviirako okufuna amalala. Kino kijja kukuyamba okwewala endowooza ng’ezo. N’ekinaavaamu, tojja kutuukibwako kabi konna nga Katonda atuukiriza ekyo kye yayogera bwe yagamba nti: “Ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n’amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu.”—Zeffaniya 3:11.
Katonda Abonereza ab’Amalala
5, 6. Falaawo yeeraga atya okuba ow’amalala, era biki ebyavaamu?
5 Yakuwa bwe yabonereza abafuzi ab’amalala nga Falaawo, kyalaga engeri gy’atunuuliramu abantu ab’amalala. Tewali kubuusabuusa kwonna nti Falaawo yali wa malala. Olw’okuba yali yeetwala okuba katonda era ng’ayagala okusinzibwa, yanyoomanga Abaisiraeri be yali akozesa ng’abaddu. Weetegereze kye yayogera ng’asabiddwa okuleka Abaisiraeri bagende mu ddungu ‘bakolere Yakuwa embaga.’ Mu ngeri ey’amalala Falaawo yagamba nti: “[Yakuwa] ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri?”—Okuva 5:1, 2.
6 Nga Falaawo amaze okufuna ebibonoobono mukaaga, Yakuwa yagamba Musa amubuuze nti: “Okutuusa kaakano weegulumizizza ku bantu bange, obutabaleka?” (Okuva 9:17) Oluvannyuma Musa yategeeza Falaawo nti, waali wagenda kubaawo ekibonoobono eky’omusanvu—omuzira ogw’amaanyi gwali gugenda kugwa. Ng’amaze okutuukibwako ekibonoobono eky’ekkumi, Falaawo yakkiriza Abaisiraeri okugenda. Kyokka, waayita akaseera katono n’akyusa endowooza ye, n’abawondera. Ku nkomerero ya byonna, Falaawo n’eggye lye baafiira mu Nnyanja Emmyufu. Fumiitiriza ku ekyo kye baalowooza ng’amazzi gabasaanyawo! Olw’okuba Falaawo yali wa malala, biki ebyavaamu? Amagye ge amalwanyi gaagamba nti: “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.”—Okuva 14:25.
7. Bakabaka b’e Babulooni beeraga batya okuba ab’amalala?
7 Ate era waliwo n’abafuzi abalala abaali ab’amalala Yakuwa be yafeebya. Omu ku bo yali Sennakeribu, kabaka w’e Bwasuli. (Isaaya 36:1-4, 20; 37:36-38) Wadde Abababulooni baawamba Bwasuli, ne bakabaka b’e Babulooni ababiri abaali ab’amalala nabo baafeebezebwa. Jjukira embaga Kabaka Berusazza gye yakola. Ye n’abagenyi be baanywera omwenge mu bikompe ebyaggibwa mu yeekaalu ya Yakuwa nga bwe batendereza bakatonda baabwe ab’obulimba. Baagenda okulaba nga waliwo omukono oguwandiika ku kisenge. Bwe baasaba nnabbi Danyeri abannyonnyole amakulu g’ebigambo ebyo, yajjukiza kabaka Berusazza nti: “Katonda ali waggulu ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka . . . Naye omutima gwe bwe gwegulumiza . . . , n’alyoka agobebwa mu ntebe ye ey’obwakabaka, ne bamuggyako ekitiibwa kye. . . . Naawe omwana we, ai Berusazza, tonnatoowaza mutima gwo, newakubadde nga wamanya ebyo byonna.” (Danyeri 5:3, 18, 20, 22) Mu kiro ekyo kyennyini, amagye ga Bumeedi ne Buperusi gaawamba Babulooni era Berusazza n’attibwa.—Danyeri 5:30, 31.
8. Kiki Yakuwa kye yakola abantu abaali ab’amalala?
8 Ate lowooza ku basajja abalala abaali ab’amalala abaanyooma abantu ba Yakuwa, nga Goliyaasi Omufirisuuti eyali omuwagguufu, Kamani omukungu w’e Buperusi, ne Kabaka Kerode Agulipa eyali afuga mu Buyudaaya. Olw’okuba abasajja abo abasatu baali ba malala, Katonda yabafeebya. (1 Samwiri 17:42-51; Eseza 3:5, 6; 7:10; Ebikolwa 12:1-3, 21-23) Yakuwa bwe yababonereza kyalaga nti: “Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.” (Engero 16:18) Mazima ddala, tewali kubuusabuusa kwonna nti “Katonda alwana n’ab’amalala.”—Yakobo 4:6.
9. Bakabaka b’e Ttuulo baafuuka batya ab’enkwe?
9 Okwawukana ku bakabaka b’e Misiri, Bwasuli ne Babulooni abaali ab’amalala, waliwo ekiseera kabaka w’e Tuulo we yayambira ennyo abantu ba Katonda. Ekiseera Kabaka Dawudi ne Sulemaani we baafugira Isiraeri, yabaweereza abasajja abakugu mu by’okuzimba n’ebintu ebyakozesebwa mu kuzimba ennyumba ya kabaka ne yeekaalu ya Katonda. (2 Samwiri 5:11; 2 Ebyomumirembe 2:11-16) Eky’ennaku, ekiseera kyatuuka bakabaka b’e Ttuulo ne beefuulira abantu ba Yakuwa. Kiki ekyabaleetera okukola bwe batyo?—Zabbuli 83:3-7; Yoweeri 3:4-6; Amosi 1:9, 10.
“Omutima Gwo Gwagulumizibwa”
10, 11. (a) Bakabaka b’e Ttuulo bayinza kugeraageranyizibwa ku ani? (b) Kiki ekyaviirako bakabaka b’e Ttuulo okwefuulira Isiraeri?
10 Yakuwa yakozesa nnabbi Ezeekyeri okwatuukiriza bakabaka b’e Ttuulo, n’okubalaga omusango gwe yali abasalidde. Obubaka bwa Ezeekyeri eri “kabaka w’e Ttuulo” bwali bukwata ku bakabaka b’e Ttuulo ne ku kalinkwe Setaani, kubanga “teyanywerera mu mazima.” (Ezeekyeri 28:12; Yokaana 8:44) Mu kusooka, Setaani yali omu ku bamalayika ba Yakuwa abeesigwa abali mu ggulu. Ng’ayitira mu nnabbi we Ezeekyeri, Yakuwa Katonda yalaga ensonga eyaviirako bakabaka b’e Ttuulo ne Setaani okwonoona.
11 Yagamba: “Wali mu Adeni olusuku lwa Katonda; buli jjinja ery’omuwendo omungi lyabanga lya kukubikkako. . . . Wali kerubi eyafukibwako amafuta abikkako . . . Wali ng’otuukiridde mu makubo go okuva ku lunaku kwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu lwe bwalabika mu ggwe. Baakujuza wakati [obukambwe] olw’olufulube olw’okusuubula kwo, n’oyonoona . . . era [nja kukuzikiriza] ai kerubi abikkako. . . Omutima gwo gwagulumizibwa olw’obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw’okumasamasa kwo.” (Ezeekyeri 28:13-17) Yee, amalala ge gaaleetera bakabaka b’e Ttuulo okwefuulira abantu ba Yakuwa. Ttuulo kyagaggawala nnyo era ne kifuuka ekibuga ekikulu eky’eby’obusuubuzi, nga y’esibuka ebyamaguzi ebirungi. (Isaaya 23:8, 9) Kino kyaviirako bakabaka b’e Ttuulo okulowooza nti basukkulumye ku balala era ne batandika okuyisa obubi abantu ba Katonda.
12. Kiki ekyaviirako Setaani okwonooneka era yeeyongedde okukola ki?
12 Okufaananako bakabaka abo, ne malayika eyafuuka Setaani okusooka yalina amagezi agandimusobozesezza okukola buli mulimu ogwandimuweereddwa. Mu kifo ky’okusiima amagezi ago ‘yeekulumbaza era n’afuna amalala’ n’atandika okubuusabuusa enfuga ya Katonda. (1 Timoseewo 3:6) Yeerowoozaako ekiyitiridde n’atuuka n’okwegomba Adamu ne Kaawa bamusinze. Okwegomba okwo kwagenda kukula ne kuvaamu okwonoona. (Yakobo 1:14, 15) Setaani yasendasenda Kaawa okulya ku muti Katonda gwe yali abagaanye. Oluvannyuma yamukozesa okusendasenda Adamu era naye n’alya ku kibala ekyali kibagaaniddwa. (Olubereberye 3:1-6) Bwe kityo, abantu ababiri abaasooka beesamba obufuzi bwa Katonda era okuva olwo ne bafuuka basinza ba Setaani. Olw’okuba Setaani alina amalala mangi agezezzaako okusendasenda ebitonde byonna eby’omu ggulu n’eby’oku nsi nga mw’otwalidde ne Yesu Kristo bimusinze, era bijeemere obufuzi bwa Yakuwa.—Matayo 4:8-10; Okubikkulirwa 12:3, 4, 9.
13. Mitawaana ki egisibuka ku malala?
13 Okusinziira ku ebyo bye tulabye kyeyoleka bulungi nti Setaani ye nsibuko y’amalala; agaavaako ekibi, okubonaabona, n’obubi obuli mu nsi leero. Olw’okuba ye “katonda ow’emirembe gino,” Setaani yeeyongera okukubiriza abantu okuba n’amalala. (2 Abakkolinso 4:4) Amanyi nti asigazza akaseera katono ye nsonga lwaki alumba Abakristaayo ab’amazima. Ekiruubirirwa kye kwe kubaggya ku Katonda batandike okwerowoozaako bokka, beegulumize era bafune amalala. Baibuli yalaga nti ebintu ng’ebyo byandibaddewo mu “nnaku ez’oluvannyuma.”—2 Timoseewo 3:1, 2; Okubikkulirwa 12:12, 17.
14. Musingi ki Yakuwa kw’asinziira okukolagana n’ebitonde ebirina amagezi?
14 Yesu Kristo yalaga obubi obuvudde mu malala ga Setaani. Emirundi esatu mirambirira yalaga abo abaali beetwala okuba abatuukirivu omusingi Yakuwa kw’asinziira okukolagana n’abantu. Yagamba: “Buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”—Lukka 14:11; 18:14; Matayo 23:12.
Weewale Okuba n’Amalala
15, 16. Kiki ekyaviirako Agali okufuna amalala?
15 Oyinza okuba okyetegerezza nti abantu ab’amalala bonna aboogeddwako waggulu baali basajja batutumufu nnyo. Naye, ekyo kitegeeza nti abantu aba bulijjo tebasobola kuba na malala? N’akatono. Weetegereze ekyaliwo mu maka ga Ibulayimu. Ibulayimu yali tazaddeyo mwana anaamusikira ate nga ne mukyala we Saala asussizza emyaka egy’okuzaalirako. Okusinziira ku mpisa y’omu kitundu, omusajja eyalina ekizibu ng’ekya Ibulayimu yali akkirizibwa okufunayo omukyala omulala asobole okuzaalayo abaana. Katonda yakkiriza obufumbo obw’ekika ekyo kubanga yali tannaddamu kunyweza mutindo gwe ku bufumbo bwe yali ayagala abasinza be babeeremu.—Matayo 19:3-9.
16 Ng’akolera ku ekyo mukyala we ye yali amugambye, Ibulayimu yakkiriza okwegatta n’omuzaana wa Saala Omumisiri, Agali, asobole okufuna omusika. Bwe kityo, Agali mukyala wa Ibulaamu ow’okubiri yafuna olubuto. Mu kifo ky’okusiima enkizo eyali emuweereddwa, Agali yafuna amalala. Baibuli egamba nti: ‘Bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma mukama we.’ Ekyo kye yakola kyaleetawo akakyankalano mu maka ga Ibulayimu era Saala yagoba Agali awaka. Kyokka, waliwo ekyakolebwa okusobola okuzza embeera mu nteeko. Malayika wa Katonda yagamba Agali nti: “Ddayo eri mukama wo era obe mwetoowaze gyali.” (Olubereberye 16:4, 9, NW) Agali bwe yagoberera okubuulirira okwo yalekera awo okunyooma Saala, era yafuuka jjajja w’abantu bangi.
17, 18. Lwaki ffenna tulina okwewala okuba n’amalala?
17 Ekyo Agali kye yakola kiraga nti, omuntu bw’ava mu mbeera embi kisobola okumuviirako okufuna amalala. Kye tuyigamu kiri nti, n’Omukristaayo aweereza Katonda mu bwesimbu asobola okufuna amalala singa agaggawala oba singa afuna obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Ate era asobola okufuna amalala singa abalala bamutendereza olw’ekyo ky’atuuseeko, olw’amagezi ge oba olw’ebyo by’aba akoze. Yee, Omukristaayo asaanidde okwewala amalala. Kino asaanidde okukikola naddala ng’alina ky’atuuseeko oba ng’afunye obuvunaanyizibwa obw’enjawulo.
18 Ensonga esingira ddala obukulu lwaki tuteekwa okwewala okuba n’amalala eri nti, Katonda akyawa ab’amalala. Ekigambo kye kigamba nti: “Amaaso ageegulumiza n’omutima ogw’amalala, ye ttabaaza ey’ababi, kwe kwonoona.” (Engero 21:4) Baibuli okusingira ddala ekuutira Abakristaayo ‘abagaggawadde mu mirembe egya kaakano’ “obuteegulumizanga.” (1 Timoseewo 6:17; Ekyamateeka 8:11-17) Wadde kiri kityo, n’Abakristaayo abatali bagagga nabo balina okwewala okuba ‘n’eriiso ebbi,’ era balina okukijjukira nti omuntu yenna asobola okufuna amalala—k’abe mugagga oba mwavu.—Makko 7:21-23; Yakobo 4:5.
19. Uzziya yayonoona atya enkolagana ye ne Yakuwa?
19 Amalala awamu n’empisa endala enkyamu bisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gy’obufuzi bwe egyasooka, Kabaka Uzziya ‘yakola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ne yeewaayo okunoonya Katonda era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.’ (2 Ebyomumirembe 26:4, 5) Eky’ennaku, Kabaka Uzziya yayonoona enkolagana ye ne Yakuwa kubanga ‘yeegulumiza n’atuuka n’okukola ebikyamu.’ Yeerowoozaako nnyo n’atuuka n’okuyingira mu Yeekaalu okuwaayo ssaddaaka. Bakabona bwe baamunenya olw’okwetulinkiriza, ‘Uzziya yasunguwala.’ N’ekyavaamu, Yakuwa yamukuba ebigenge n’afa nga takyasiimibwa mu maaso ge.—2 Ebyomumirembe 26:16-21.
20. (a) Erinnya lya Kabaka Keezeekiya eddungi lyali ligenda kwonooneka litya? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
20 Ate lowooza ku ngeri ey’enjawulo Kabaka Keezeekiya gye yeeyisaamu. Lumu erinnya lye eddungi lyali ligenda kwonooneka ‘olw’okuba omutima gwe gwegulumiza.’ Eky’omukisa omulungi, ‘Keezeekiya yeetoowaza olw’amalala ag’omutima gwe’ n’addamu okusiimibwa Katonda. (2 Ebyomumirembe 32:25, 26) Weetegereze nti ekyayamba Keezeekiya okweggyamu amalala kwali kwetoowaza. Yee, obwetoowaze buyinza okuyamba omuntu okweggyamu amalala. N’olw’ensonga eyo, mu kitundu ekiddako tujja kwekenneenya engeri Abakristaayo gye bayinza okukulaakulanyamu obwetoowaze.
21. Kiki Abakristaayo abeetoowaze kye beesunga?
21 Kyokka, tetusaanidde kwerabira ebyo ebiyinza okuva mu kuba n’amalala. Okuva bwe kiri nti “Katonda alwana n’ab’amalala,” ka tube bamalirivu okugeeawala. Bwe tufuba okuba Abakristaayo abeetoowaze, tujja kuwonawo ku lunaku lwa Katonda olukulu bw’aliba azikiriza ab’amalala era ng’amalawo ebikolwa byabwe byonna ku nsi. Okuva olwo “okugulumizibwa kw’abantu kulikutamizibwa. N’amalala g’abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.”—Isaaya 2:17.
Bye Tulina Okulowoozaako
• Oyinza kunnyonnyola otya omuntu ow’amalala?
• Ani nsibuko y’amalala?
• Kiki ekiviirako omuntu okufuna amalala?
• Lwaki twandyewaze okuba n’amalala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Olw’okuba Falaawo yali wa malala yafeebezebwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Keezeekiya yeetoowaza era n’addamu okusiimibwa Katonda