Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Tumanya tutya nti amagezi agoogerwako mu Engero 8:22-31 ye Yesu Kristo nga tannajja ku nsi ng’omuntu?
Ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebyogera ku magezi ebiri mu kitabo kya Engero bigamba: “Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, okusooka emirimu gye egy’edda [“Mukama ng’atonda, yasookera ku nze, ndi mulimu gwe ogwedda, ogw’olubereberye,” Baibuli ey’Oluganda eya 2003]. . . Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, nnasooka obusozi okuzaalibwa. . . Bwe yanyweza eggulu, nze nnaliyo. . . . Kale nze nga ndi awo gyali ng’omukoza: era bulijjo yansanyukiranga nga njaguliza bulijjo mu maaso ge . . . n’essanyu lyange lyali n’abaana b’abantu.”
Ebyawandiikibwa bino tebiyinza kuba nga byogera bwogezi ku magezi ga Katonda. Lwaki? Kubanga amagezi agoogerwako wano “gaatondebwa” ng’olubereberye lw’ekkubo lya Yakuwa. Yakuwa Katonda abaddewo ekiseera kyonna era abadde mugezi ekiseera kyonna. (Zabbuli 90:1, 2) Amagezi ge tegalina ntandiikwa; era tegaatondebwa. ‘Tegazaalibwa.’ Ate amagezi gano gagambibwa nti googera era galina kye gakola, ekiraga nti muntu.—Engero 8:1.
Ekitabo ky’Engero kigamba nti edda ennyo amagezi gaali ne Yakuwa, Omutonzi, ‘ng’omukoza.’ Awatali kubuusabuusa ekyo kikwata ku Yesu. Dda nnyo nga tannajja ku nsi, Yesu yakolera wamu ne Yakuwa era eyo ye nsonga lwaki Ekigambo kya Katonda kigamba: “Ye w’olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye.”—Abakkolosaayi 1:17; Okubikkulirwa 3:14.
Kiba kituukirawo okuyita Omwana wa Katonda amagezi okuva bwe yategeeza abalala ebigendererwa bya Yakuwa n’amateeka ge. Yesu nga tannajja ku nsi, yali Kigambo kya Katonda oba Omwogezi we. (Yokaana 1:1) Ayogerwako nga ‘amaanyi era amagezi ga Katonda.’ (1 Abakkolinso 1:24, 30) Ng’ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi nnyo Omwana wa Katonda, eyayagala abantu n’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lwabwe!—Yokaana 3:16.