Okukola Katonda by’Ayagala Kindeetedde Essanyu
Byayogerwa Bill Yaremchuk
Mu Maaki 1947, nga waakayita wiiki ntono oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyange mu mugigi ogw’omunaana ogw’Essomero lya Gireyaadi eritendeka abaminsani eryali mu South Lansing, New York mu Amerika., nnatandika olugendo lwange olwantuusa e Singapore gye nnali ŋŋenda okuweereza.
DAVE FARMER, omu ku baminsani abafulumira mu mugigi ogw’omusanvu ogw’essomero lya Gireyaadi era nga naye nzaalwa ya Canada, gwe nnali agenda okuweereza nange. Twalinnya emmeeri eyaliko ey’amaggye eyali eyitibwa Marine Adder okuva e San Francisco mu California.
Omwalo gw’e Hong Kong kye kifo emmeri yaffe we yasooka okuyimirira mu buvanjuba bwa Asiya. Bye twalaba byali byennyamiza. Ssematalo II yali akosezza nnyo ekitundu ekyo—abantu baali bagalamidde ku mabbali g’enguudo, nga bayala era nga bafa essaawa yonna. Twamalawo akaseera katono ne tudda ku mmeeri era ne twolekera Manila, ekibuga ekikulu ekya Philippines.
Eyo nayo olutalo lwali lukosezzaayo nnyo. Omwalo gwali gujjudde emirongooti gy’amatanga g’emmeeri ezaali zikubiddwa mu lutalo, era ng’obwavu bungi. Abajulirwa ba Yakuwa baatwaniriza ne batutwala ku Kizimbe kyabwe eky’Obwakabaka. Baali basanyufu wadde nga baali balina ebizibu.
Twaddamu okuyimirira nga tutuuse e Batavia (kati ekiyitibwa Jakarta) mu Indonesia. Eyo waaliyo olutalo lw’omunda olwali luyinda era tetwakkirizibwa na kuva ku mmeeri kubanga waaliwo okulwanagana mu bitundu ebiriraanyewo. Emmeeri bwe yayolekera Singapore, nnatandika okulowooza ku mbeera gye twandisanzeeyo. Ebifo ebirungi ennyo eby’omu Asiya ow’ebuvanjuba bye twali tusomyeko mu butabo bw’abalambuzi byonna bwe biti bwe byali byonooneddwa?
Mu nnaku ntono nnakizuula nti tekyali bwe kityo. Ebyaddirira byandaga nti ddala omulimu nze ne Dave gwe twali tugenze okukola gwali guwagirwa Katonda.
Engeri gye Twakkirizibwa Okusigala
Nga wayise omwezi nga gumu bukya tuva e San Francisco, emmeeri yaffe yalwa ddaaki n’etuuka ku kizinga ekiyitibwa St. John ekya Singapore. Wano emmeeri zonna we zaasookeranga nga tezinnafuna lukusa kutuuka ku mwalo. Abakola ku by’okuyingira mu ggwanga baatukolako era paasipooti zaffe zaakubibwamu sitampu etukkiriza okuyingira. Enkeera, emmeeri yaffe yatuuka ku mwalo. Empapula ezitwogerako bwe zaamala okukeberebwa, twava ku mmeeri.
Enkeera twaddayo ku mwalo okusiibula baminsani bannaffe be twali tuzze nabo. Bo baali bagenda Buyindi ne Ceylon (kati eyitibwa Sri Lanka). Omugoba w’emmeeri olwatulaba, n’atulumba. Yali munyiivu era yatuboggolera ng’agamba nti twali tetuteekeddwa kuva ku mmeeri. Emabegako ng’emmeeri tennatuuka, akulira eby’okuyingira mu ggwanga, Mw. Haxworth, yali amugambye obutatukkiriza kuva ku mmeeri ng’etuuse ku mwalo. Ekyo twali tetukimanyi, era n’oyo eyatukkiriza okuva ku mmeeri yali takimanyi.
Bwe twatwalibwa ewa Mw. Haxworth, yatuboggolera n’agamba nti twali tetukkirizibwa kuyingira mu Singapore. Olw’okuba ekyo twali tetukimanyi, twamuggirayo paasipooti zaffe omwali mukubiddwa sitampu etukkiriza okuyingira. N’obusungu bungi, yazitusikako n’asazaamu sitampu eyo. Kyokka emmeeri yali yagenze dda! Mw. Haxworth yasigaza paasipooti zaffe okumala omwaka mulamba, n’oluvannyuma yazituddiza nga zikubiddwamu sitampu endala etukkiriza okusigala.
Obuweereza mu Singapore Buvaamu Ebibala
We twatuukira e Singapore mu Apuli 1947 ng’eriyo Omujulirwa wa Yakuwa omu yekka era yali ayitibwa Joshua. Yaweereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna, oba payoniya, okutuusa lwe yafa mu myaka gy’ensanvu. Mu bbanga si ddene, abo abaali bayiga Baibuli baatandika okubuulira abalala bye baali bayiga. Bwe kityo, okusaba kwaffe kwaddibwamu abakozi bwe baatandika okweyongera obungi mu mulimu guno ogw’amakungula ag’eby’omwoyo.—Matayo 9:37, 38.
Mu 1949, Mw. Haxworth bwe yali agenze mu England okuwummulako, abaminsani abalala mukaaga abaali bafulumidde mu mugigi ogw’ekumi n’ogumu ogw’Essomero lya Gireyaadi baasindikibwa mu Singapore. Ng’ebyo bikyali awo, Dave, omuminsani gwe nnali mpereza naye yawalirizibwa okuva mu Singapore olw’obulwadde. Yagenda mu Australia era yeeyongera okuweereza n’obwesigwa okutuusa lwe yafa mu 1973. Mu 1956, nnawasa Aileen Franks, omu ku baminsani omukaaga abapya.
Emyaka bwe gyagenda giyitawo, twasoma Baibuli n’abantu bangi abaafuuka Abajulirwa wamu n’abaana baabwe. Abamu ku bo na buli kati bakyali mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu nsi ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gy’ataano twasoma Baibuli ne Lester Haynes wamu ne mukyala we Joanie. Baakulaakulana mangu mu by’omwoyo era baabatizibwa nga bazzeeyo ewaabwe mu Amerika. Oluvannyuma, Lester ne Joanie baafuna ebibala bingi nnyo mu buweereza bwabwe. Baayamba abantu bangi okufuuka Abajulirwa, ng’omwo mwe mwali n’abaana baabwe abasatu.
Joanie yagamba nti: “Omwaka ogwo gwe twali mu Singapore gwakyusiza ddala obulamu bwaffe. Singa temwatuyamba, na buli kati twandibadde tukyatambulatambula mu mawanga. Ndi musanyufu nti ggwe wayigiriza Lester amazima kubanga okuviira ddala ku ntandikwa, yalina omusomesa gw’asobola okuyigirako okwagala Yakuwa ne baganda baffe Abakristaayo. Ekyo tekimuvangamu.”
Okuweereza mu Singapore n’Ab’Omu Maka Gange
Mu mwaka gwa 1962 waaliwo ekintu ekyakyusa ennyo obulamu bwaffe. Omusawo waffe yategeeza Aileen nti yali lubuto. Twali tukyayagala okuweereza ng’abaminsani, naye ekyo twandikikoze tutya ng’eno bwe tukuza omwana? Nathan H. Knorr, mu kiseera ekyo eyali alabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna, yatuwandiikira n’ampa amagezi nfune omulimu tusobole okusigala mu Singapore. Kino tekyali kyangu n’akamu.
Abagwira abasinga baali bakola mu makampuni g’abagwira era nga bali mu bifo bya waggulu. Ssaalina bumanyirivu bwonna mu bya bizineesi kubanga olwava mu ssomero, emyaka 23 egyali giyise, nnayingirirawo obuweereza obw’ekiseera kyonna. Kye nnakola kwe kusasula kampuni emu mu London enoonyeza abantu emirimu enkolere ebbaluwa eraga bye mbadde nkola ng’omuminsani, era egiweereze mu makampuni ag’enjawulo mu Singapore.
Amakampuni agamu ganzirangamu nti, “Tetulina mulimu gwe tuyinza kuwa muntu wa bisaanyizo by’olina.” Baali bakitwala nti obumanyirivu bwange bwali bwa waggulu nnyo ku mirimu gye baalina! Waayita emyezi nga sinnafuna mulimu, era mu kiseera ekyo muwala waffe Judy yazaalibwa. Mu kiseera ekyo Ow’oluganda Knorr yali akyaddeko mu Singapore, era yayitirako mu ddwaliro okulaba Judy ne maama we. Yatugamba nti, “Muyinza okugira nga mubeera mu maka g’abaminsani okutuusa Bill lw’anaafuna omulimu.”
Oluvannyuma lw’emyezi mitonotono, nnafuna omulimu nga kitunzi wa kampuni emu esaabaza abantu mu nnyonyi. Omusaala gwe nnali nfuna gwali tegumala bulungi. Nga wayise emyaka ebiri, kampuni y’Abamerika emu esaabaza abantu mu nnyonyi yampa omulimu era omusaala gwange gwakubisibwamu emirundi ebiri. Nnagenda nfuna obumanyirivu mu mulimu gwange, era nnafuna n’ebiseera ebimala okubeera n’ab’omu maka gange n’okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo.
Okuweereza Yakuwa kye kyali kisinga obukulu mu bulamu bwaffe, era eby’omwoyo bye twali tukulembeza. Kino kyansobozesa okufuna enkizo nnyingi mu kibiina. Aileen yaddamu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Mu kiseera kye kimu omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu Singapore gweyongera okukula. Mu myaka gy’enkaaga, twagula ekizimbe ekya kalinaabiri ne tukikozesa ng’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Mwakuŋŋaanirangamu ebibiina bina.
Omulimu Gwaffe Guwerebwa!
Bwe wayita ekiseera, wajjawo okuyigganyizibwa. Nga Jjanwali 14, 1972, twagenda okukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka nga bulijjo. Naye twasanga ggeeti esibiddwako olujegere ne kkufulu. Kwaliko n’akapande akagamba nti Ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Singapore kiwereddwa!a
Okuggala Ekizimbe ky’Obwakabaka tekwatulemesa kusinza Yakuwa, naye kye nnali nneebuuza kyali nti, ‘Nze n’ab’omu maka gange Katonda ayagala tukole ki?’ Nnalowooza nti singa tugobebwa mu Singapore, twandibadde tetusobola kuddayo kulaba ku mikwano gyaffe. Kye nnava nsaba mukama wange anzikirize nkolere e Kuala Lumpur mu Malaysia. Olwo twandisobodde okuddangayo mu Singapore nga bwe twagala. Kyanneewunyisa bwe yaŋŋamba nkole nga maneja wa ofiisi y’omu Kuala Lumpur, era ng’omusaala gwange gwandikubisiddwamu emirundi ebiri, ne nfunirako n’ebirala.
Muli nneebuuza nti, ‘Ddala Katonda ayagala tuve mu Singapore tuleke baganda baffe?’ Ng’amaka, ensonga eyo twagibuulira Yakuwa mu kusaba. Twakiraba nti Yakuwa ye yali ayagadde tujje wano. N’olwekyo, nnasalawo tusigale. Mukama wange yeewuunya nnyo bwe nnasalawo okugaana omulimu omulungi gwe yali ampadde.
Kyali kizibu okubeera mu nsi eyo ng’omulimu gwaffe guwereddwa kubanga essaawa yonna twali tuyinza okukwatibwa ne tusibibwa. Emirundi mingi twalaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 34:7, awagamba nti: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.”
Tuweereza mu Nsi Endala
Mu 1993, oluvannyuma lw’okuweereza emyaka egisoba mu 46 mu Singapore, twasabibwa okugenda e New Zealand gye twandisobodde okuweereza nga tetukaluubirirwa nnyo. Kya lwatu nti twanakuwala nnyo okuleka mikwano gyaffe nfiirabulago mu Singapore. Naye twali tukimanyi nti okukkiriza kwabwe kwali kunywevu era nti kwali kuzimbiddwa n’ebintu ebitakwata muliro. Kino kibayambye okusigala nga banywevu mu kugezesebwa kwe boolekaganye nakwo.—1 Abakkolinso 3:12-14.
Oluvannyuma lw’okuweereza mu New Zealand emyaka egisukka 14, nze ne Aileen tukyaweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, wadde nga kati tukaddiye. Bakulu bange Mike, ow’emyaka 94, ne Peter, ow’emyaka 90 bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa mu Canada.
Mu 1998, muwala waffe Judy yaddayo mu buvanjuba bwa Asiya n’aweereza eyo okumala ebbanga. Mu bbaluwa emu gye yatuwandiikira yagamba nti: “Nneebaza Yakuwa buli lunaku olw’okumpa enkizo okuweereza mu nsi eno. Nammwe mwebale nnyo okuntendeka obulungi n’okwefiiriza ne munsobozesa okutuuka wano.” Mu 2003 yakomawo e New Zealand okutuyamba.b
Twebaza Yakuwa olw’okuba twasobola okwanukula omulanga gwa Mukama waffe gwe yakuba, abakozi beeyongere obungi mu mulimu gw’amakungula ag’eby’omwoyo. Ekyo kituleetedde essanyu lingi nnyo. Era ‘ensi bw’eneggwawo’ nga Baibuli bw’egamba, tujja kubaawo nga Katonda atuukiriza kye yasuubiza nti: “Oyo akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwawo.”—1 Yokaana 2:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Watchtower eya Jjuuni 1, 1972, olupapula 341-9.
b Omwagalwa Aileen yafa nga Jjanwali 24, 2008, ng’ekitundu kino kimalirizibwa okuwandiikibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
We twagendera mu Singapore mu 1947, Joshua ye Mujulirwa yekka eyaliyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Nga ndi ne Dave Farmer mu Hong Kong nga tugenda e Singapore mu 1947
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Nga ndi ne Aileen mu 1958
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Nga tuli ne muwala waffe, Judy
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Kimroy Photography
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Kimroy Photography