LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 6/15 lup. 22-26
  • Nyweza “Okwagala Kwo okw’Olubereberye”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nyweza “Okwagala Kwo okw’Olubereberye”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Wakakasiza ku Ki nti Bye Wali Oyiga Ge Mazima?
  • Nyweza “Okwagala Kwo okw’Olubereberye”
  • Weekebere
  • Ebintu by’Osaanidde Okusiima
  • Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 6/15 lup. 22-26

Nyweza “Okwagala Kwo okw’Olubereberye”

“Nyweza ky’olina.”​—KUB. 3:11.

1, 2. Wawulira otya bwe wakakasa nti bye wali oyiga ku Yakuwa ge mazima?

OJJUKIRA lwe wasooka okuwulira ku bintu ebirungi ennyo Yakuwa by’asuubiza abantu abawulize? Bw’oba wali wa ddiini ndala, wawulira otya bwe baakunnyonnyola ebigendererwa bya Katonda okuva mu Byawandiikibwa, oba bwe baakunnyonnyola enjigiriza ezaali zikuzibuwalira okutegeera? Oboolyawo wakiraba nti wali wabuzaabuzibwa. Naye kati oli musanyufu nnyo olw’okuba omanyi amazima. Bw’oba nga wakuzibwa bazadde Bakristaayo, wawulira otya bwe wakakasa nti bye wali oyiga ku Yakuwa ge mazima era n’osalawo okubitambulirako?​—Bar. 12:2.

2 Ab’oluganda bangi baawulira essanyu lingi, baasiima nnyo okusembezebwa Yakuwa era baawulira nga bali kumpi naye. (Yok. 6:44) Essanyu eryo lyabaleetera okwagala okubuulira buli omu ku bye baali bayize n’okwenyigira mu byonna ebikolebwa mu kibiina. Naawe bw’otyo bwe wali?

3. Ekibiina ky’omu Efeso kyali mu mbeera ki Yesu we yakiweerereza obubaka?

3 Mu bubaka bwe eri ekibiina Ekikristaayo eky’omu Efeso eky’omu kyasa ekyasooka, Yesu yayogera ku “kwagala kwo okw’olubereberye.” Abaefeso baalina engeri ennungi nnyingi, naye okwagala kwabwe eri Yakuwa kwali kukendedde. Yesu kye yava abagamba nti: “Mmanyi ebikolwa byo, n’okufuba kwo n’okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba; era olina okugumiikiriza, era waguma olw’erinnya lyange, so tewakoowa. Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw’olubereberye.”​—Kub. 2:2-4.

4. Lwaki okubuulirira kwa Yesu eri Abaefeso kutuukirawo leero?

4 Okubuulirira kwa Yesu eri Abaefeso n’ab’omu bibiina ebirala okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa kwali kukwatira ddala ku mbeera eyaliwo okumala ebbanga mu Bakristaayo abaafukibwako amafuta oluvannyuma lwa 1914. (Kub. 1:10) Kyokka, na kati kisoboka Abakristaayo abamu okuddirira mu ‘kwagala kwe baalina olubereberye’ eri Yakuwa n’eri amazima. Ka tulabe engeri okufumiitiriza ku bintu bye wayitamu gye kiyinza okukuyamba okuddamu okuba n’okwagala kwe walina olubereberye eri Katonda n’eri amazima, n’engeri gy’oyinza okukunywezaamu.

Wakakasiza ku Ki nti Bye Wali Oyiga Ge Mazima?

5, 6. (a) Buli Mukristaayo alina kuba mukakafu ku ki? (b) Kiki ekyakuleetera okukakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima? (c) Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okuddamu okwagala amazima nga bwe kyali mu kusooka?

5 Buli muntu eyeewaayo eri Yakuwa alina okusooka ‘okukakasa ebyo Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisiimibwa, era ebitukuvu.’ (Bar. 12:1, 2, NW) Ekyo kizingiramu okuyiga amazima agali mu Baibuli. Buli muntu alina ekintu eky’enjawulo ekyamuleetera okukakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima. Abamu ekyabasikiriza kwe kulaba erinnya lya Katonda mu Baibuli oba okutegeera embeera y’abafu. (Zab. 83:18; Mub. 9:5, 10) Abalala ekyabasikiriza kwali kwagala kwe baalaba mu bantu ba Yakuwa. (Yok. 13:34, 35) Ate bo abalala ekyabasikiriza kwe kutegeera kye kitegeeza obutaba ba nsi. Baakiraba nti Abakristaayo ab’amazima tebalina kwennyigira mu bya bufuzi oba mu ntalo za mawanga.​—Is. 2:4; Yok. 6:15; 17:14-16.

6 Ebintu ebyo ebyogeddwako n’ebirala bye byaleetera abantu bangi okutandika okwagala Katonda. Jjukira gwe ekyakuleetera okukakasa nti gano ge mazima. Olw’okuba oli muntu wa njawulo ku balala, ebintu ebyakusikiriza okwagala Yakuwa n’okukkiririza mu bisuubizo bye biyinza okuba nga nabyo bya njawulo ku by’abalala. Oteekwa okuba ng’ebintu ebyo okyabitwala nga bikulu nga bwe kyali nga waakabiyiga. Amazima tegakyukangako. N’olwekyo, okufumiitiriza ku bintu ebyo nate kiyinza okukuyamba okuddamu okwagala amazima nga bwe kyali mu kusooka.​—Soma Zabbuli 119:151, 152; 143:5.

Nyweza “Okwagala Kwo okw’Olubereberye”

7. Lwaki twetaaga okunyweza okwagala kwe twalina mu kusooka eri amazima, era kino tuyinza kukikola tutya?

7 Oboolyawo waliwo ebintu bingi by’oyiseemu bukya weewaayo eri Yakuwa. Okwagala kwe walina eri amazima mu kusooka kwali kukulu, naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, walina okunyweza okwagala kwo osobole okwaŋŋanga ebizibu ebyagezesa okukkiriza kwo. Era Yakuwa yakuyamba. (1 Kol. 10:13) N’olwekyo, ebintu by’ogenze oyitamu nabyo bikulu nnyo gy’oli. Bikuyambye okunyweza okwagala kwe walina mu kusooka, era biyinza okukuyamba okutegeera ebirungi era ebisiimibwa Katonda.​—Yos. 23:14; Zab. 34:8.

8. Kiki Yakuwa kye yagamba Musa, era ekyo kyayamba kitya Abaisiraeri okweyongera okutegeera Katonda?

8 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera Abaisiraeri gye beesangamu Yakuwa bwe yabategeeza nti yali agenda kubanunula okuva mu buddu e Misiri. Katonda yagamba Musa nti: “Nja kubeera ekyo kye nnaabeera.” (Kuv. 3:7, 8, 13, 14, NW) Yakuwa yali ategeeza nti yali ajja kukola kyonna ekyetaagisa okununula abantu be. Yakuwa bye yakola byayamba Abaisiraeri okutegeera nti yali Muyinza wa Bintu Byonna, Mulamuzi, Mukulembeze, Mununuzi, Mulwanyi, era Oyo Awa abantu be bye beetaaga.​—Kuv. 12:12; 13:21; 14:24-31; 16:4; Nek. 9:9-15.

9, 10. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okutegeera obulungi Katonda, era lwaki kirungi okwejjukanya ebintu ng’ebyo?

9 Embeera yo ya njawulo ku y’Abaisiraeri abo. Wadde kiri kityo, oteekwa okuba ng’olina by’oyiseemu ebikulaze nti Katonda akufaako gwe ng’omuntu, era kino kinywezezza okukkiriza kwo. Oboolyawo Yakuwa yakulaga mu ngeri emu oba endala nti y’Atuwa buli kye twetaaga, y’Atubudaabuda, oba nti y’Atuyigiriza. (Soma Isaaya 30:20b, 21.) Oba oyinza okuba ng’olina kye wasaba n’oddibwamu. Mukristaayo munno ayinza okuba yakuyamba ng’olina ekizibu. Oba oyinza okuba nga wali weesomesa n’ozuula ebyawandiikibwa ebyakuyamba mu mbeera gye walimu.

10 Ebintu ng’ebyo bw’obibuulirako abalala biyinza obutabawuniikiriza, olw’okuba tebyali byamagero. Naye ate gwe olaba nga bikulu nnyo. Yee, Yakuwa yakola ekyo kyennyini ekyali kyetaagisa ku lulwo. Lowooza ku myaka gy’omaze mu mazima. Osobola okujjukira emirundi gye wawulira nti ddala Yakuwa akufaako? Bwe kiba kityo, okwejjukanya ebyaliwo n’engeri gye wawuliramu kiyinza okukuleetera okuddamu okwagala Yakuwa nga bwe kyali mu biseera ebyo. Ebyo ebyaliwo bitwale nga bya muwendo nnyo, era obifumiitirizeeko. Biwa obukakafu nti Yakuwa akufaako gwe ng’omuntu, era ekyo tewali ayinza kukikwerabiza.

Weekebere

11, 12. Kiki ekiyinza okuviirako okwagala Omukristaayo kwe yalina eri amazima okuddirira, era Yesu yawa magezi ki?

11 Bw’oba owulira nti tokyayagala Katonda n’amazima nga bwe kyali mu kusooka, kino tekivudde ku kuba nti Katonda akyuse. Yakuwa takyuka. (Mal. 3:6; Yak. 1:17) Akyakwagala nga bwe yakwagalanga edda. Kati olwo bwe wabaawo ekikyuse mu nkolagana yo ne Yakuwa, kiyinza kuba nga kivudde ku ki? Kyandiba nti kati olina ebikweraliikiriza bingi? Oboolyawo mu biseera eby’emabega wali munyiikivu mu kusaba, mu kwesomesa, era ng’ofumiitiriza nnyo okusinga bwe kiri kati. Kyandiba nti wali munyiikivu mu buweereza bw’ennimiro era ng’ojjumbira enkuŋŋaana okusinga bwe kiri kati?​—2 Kol. 13:5.

12 Oyinza obutakiraba nti olina engeri gy’oddiriddemu, naye singa okiraba, kiyinza kuba nga kivudde ku ki? Kyandiba nti okufuba okukola ku byetaago by’ab’omu maka go, okulabirira obulamu bwo, oba okukola ku byetaago ebirala, kikuleetedde okwerabira nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi? Yesu yagamba abatume be nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.”​—Luk. 21:34-36.

13. Ekigambo kya Katonda Yakobo yakigeraageranya ku ki?

13 Omuwandiisi wa Baibuli Yakobo yakubiriza bakkiriza banne okwekebera mu bwesimbu nga bakozesa Ekigambo kya Katonda. Yakobo yawandiika nti: “Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. Kubanga omuntu yenna bw’aba omuwulizi w’ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng’omuntu eyeeraba amaaso ag’obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: kubanga yeeraba n’agenda, amangu ago ne yeerabira bw’afaananye. Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.”​—Yak. 1:22-25.

14, 15. (a) Baibuli eyinza etya okukuyamba okulongoosa mu mbeera yo ey’eby’omwoyo? (b) Bibuuzo ki by’oyinza okufumiitirizaako?

14 Omuntu asobola okukozesa endabirwamu okulaba obanga alabika bulungi. Ng’ekyokulabirako, singa omusajja alaba nti ettaayi ye teteredde, agitereeza. Singa omukazi alaba nti enviiri ze tezirabika bulungi, azikolako. Mu ngeri y’emu, Ebyawandiikibwa bituyamba okwekebera tusobole okumanya kye tuli. Bwe twekebera nga tukozesa Baibuli, olwo tuba tugikozesa ng’endabirwamu. Naye kigasa ki okutunula mu ndabirwamu ne tutatereeza kikyamu kye tuba tulabye? Kiba kya magezi okukolera ku kye tulaba mu ‘mateeka ga Katonda amatuukirivu,’ ne tubeera “bakozi” baago. N’olwekyo, omuntu yenna bw’akiraba nti okwagala kwe okw’olubereberye eri Yakuwa n’eri amazima kukendedde, yandirowoozezza ku bibuuzo nga bino: ‘Bizibu ki bye njolekagana nabyo mu bulamu, era mbikwata ntya? Edda nnabikwatanga ntya? Waliwo ekikyuse?’ Singa okwekebera ng’okwo kulaga nti olina obunafu obumu, tobubuusa maaso. Era bwe wabaawo enkyukakyuka ezeetaagisa okukola, tolonzalonza kuzikola.​—Beb. 12:12, 13.

15 Okufumiitiriza ng’okwo kuyinza n’okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa ebinaakusobozesa okukulaakulana mu by’omwoyo. Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okubuulirira mukozi munne Timoseewo asobole okulongoosa mu buweereza bwe. Pawulo yamugamba nti: “Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.” Kiba kirungi singa naffe tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda ne tulaba kye tulina okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo.​—1 Tim. 4:15.

16. Kiki ky’olina okwegendereza bw’oba weekebera ng’okozesa Ebyawandiikibwa?

16 Kijjukire nti bw’oneekebera mu bwesimbu ojja kubaako obunafu bw’ozuula. Naye ekyo tokiganya kukumalamu maanyi. Ekigendererwa mu kwekebera kwe kulaba we weetaaga okulongoosaamu. Kya lwatu nti Setaani ayagala Omukristaayo awulire nti talina mugaso gwonna olw’obutali butuukirivu bwe. Mu butuufu, kyagambibwa nti Katonda tasiima baweereza be bye bakola. (Yobu. 15:15, 16; 22:3) Yesu yalaga bulungi nti ekyo kya bulimba; Katonda buli omu ku ffe amutwala nga wa muwendo. (Soma Matayo 10:29-31.) Okumanya obunafu bwo kyandikuleetedde okuba omumalirivu okukola enkyukakyuka nga weesigama ku buyambi bwa Yakuwa. (2 Kol. 12:7-10) Bwe kiba nti obulwadde oba obukadde bukulemesa okukola ebintu ebimu, weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako, naye toggwamu maanyi era tokkiriza kwagala kwo kukendeera.

Ebintu by’Osaanidde Okusiima

17, 18. Miganyulo ki egiva mu kunyweza okwagala kwo okw’olubereberye?

17 Emiganyulo egiva mu kunyweza okwagala kwo okw’olubereberye mingi. Osobola okweyongera okumanya ebikwata ku Katonda n’okwongera okusiima obulagirizi bwe. (Soma Engero 2:1-9; 3:5, 6.) Omuwandiisi wa zabbuli yawandiika nti: ‘Mu kukuma emisango gya Yakuwa mulimu empeera nnene.’ “Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.” Ate era, “balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, abatambulira mu mateeka ga Mukama.”​—Zab. 19:7, 11; 119:1.

18 Awatali kubuusabuusa, okkiriza nti waliwo ebintu bingi by’osaanidde okusiima. Otegeera bulungi amakulu g’ebintu ebiriwo mu nsi. Oganyulwa mu nteekateeka zonna ez’eby’omwoyo Katonda z’ateereddewo abantu be leero. Era oteekwa okuba ng’oli musanyufu nti Yakuwa yakuleeta mu kibiina kye era n’akuwa enkizo ey’okubeera omu ku Bajulirwa be. Siima ebintu ebyo ebirungi by’olina! Singa wali wa kukola lukalala lwa bintu ebyo, lwandibadde luwanvu. Bulijjo okufumiitiriza ku birungi by’olina kijja kukuyamba okussa mu nkola okubuulirira kuno: “Nyweza ky’olina.”​—Kub. 3:11.

19. Ng’oggyeko okufumiitiriza ku nkolagana yo ne Katonda, bintu ki ebirala ebiyinza okukuyamba okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo?

19 Ekimu ku by’oyinza okukola okunywezaamu ky’olina kwe kufumiitiriza ku ngeri okukkiriza kwo gye kuzze kweyongera okunywera. Enfunda n’enfunda magazini eno eraze ebintu ebirala ebiyinza okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Mu ebyo mwe muli okusaba, okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okuzenyigiramu, n’okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ebintu bino biyinza okukuyamba okuzza obuggya okwagala kwo okw’olubereberye.​—Bef. 5:10; 1 Peet. 3:15; Yuda 20, 21.

Wandizzeemu Otya?

• Ebintu ebyakuleetera okwagala Yakuwa biyinza bitya okukuzzaamu amaanyi kati?

• Okulowooza ku ebyo by’ozze oyitamu kiyinza kukuwa bukakafu ku ki?

• Lwaki osaanidde okwekebera okulaba obanga ddala okyayagala Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Kiki ekyakusikiriza era ekyakukakasa nti gano ge mazima?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Bwe weekebera, olina w’olaba aweetaaga okulongoosaamu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share