LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 10/1 lup. 26
  • Nnategeera nti Ddala Obulamu bwa Muwendo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nnategeera nti Ddala Obulamu bwa Muwendo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Ettemu Eryali ku Ssomero Engeri Bantu Gye Baabudabudibwamu Oluvanyuma—
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yakuwa Atulaga Engeri y’Okubalamu Ennaku Zaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 10/1 lup. 26

Nnategeera nti Ddala Obulamu bwa Muwendo

OBUDDE BWALI BWA KU MAKYA NGA APULI 16, 2007. Nga nneekukumye mu nsonda mu ofiisi eyali ku mwaliiro ogw’okusatu mu kizimbe ekiyitibwa Norris Hall ekiri mu ttendekero eriyitibwa Virginia Polytechnic Institute and State University (Virginia Tech), nnaddamu okukijjukira nti buli lunaku lwe tumalako nga tuli balamu ddala luba lwa muwendo.

Nnali mu ofiisi yange nga nteekateeka kukkirira ku mwaliiro ogw’okubiri nzigyeyo ebbaluwa zange. Profesa omu yajja n’ansaba ŋŋende mu ofiisi ye mbeeko kye ntereeza ku kompyuta ye. Twali tuyingira ofiisi ye bwe tuti, ne tuwulira amasasi ku mwaliiro ogw’okubiri nga gavugira kumukumu. Olw’okuba twali tetumanyi kiguddewo, tweggalira mangu mu ofiisi ne tusibawo, ne tulinda ekinaddirira. Nnagenda mu nsonda ne nneekukuma, ne ntandika okusaba Yakuwa Katonda anyambe okwolekagana na byonna ebyali biyinza okubaawo.

Nga ndi eyo mu nsonda, nnajjukira ekintu ekyantuukako emyaka 15 emabega. Nnali nkola nga makanika wa mmotoka mu ggalagi emu. Omukebe gw’amafuta mukozi munnange gwe yali akutte gakwata omuliro. Mu kupapa okungi, yanjira mu maaso amafuta agaali gaaka omuliro! Omuliro gwanjokya nnyo okuva mu kiwato okudda waggulu era nnasika omukka gw’amafuta ogwokya mungi. Baanziirusiza mu nnyonyi ey’ekika kya nnamunkanga ne bantwala mu ddwaliro erijjanjaba abookeddwa omuliro, era nnali mu mbeera mbi nnyo okumalira ddala emyezi esatu ne kitundu. Bansiibula oluvannyuma lw’okujjanjabirwa emyezi etaano, era eky’okuba nti nnali nkyali mulamu ku bwakyo kyampa essanyu. Ekyantuukako kyannyamba okukiraba nti buli lunaku lwe mmalako nga ndi mulamu luba lwa muwendo. Era kyannyamba okuba omumalirivu okukozesa obulamu bwange okuweereza oyo eyabumpa, Yakuwa Katonda—ng’omu ku Bajulirwa be.—Zabbuli 90:12; Isaaya 43:10.

Nnali sikyasobola kukola bwamakanika olw’ebisago bye nnafuna, era bw’etyo nnayiga ebya kompyuta ne ntandika okukola mu Virginia Tech. Eyo ye nsonga lwaki nnali mu Norris Hall ku olwo ku makya.

Bwe twali twekwese, tetwakirowooza nako nti amasasi ge twali tuwulira ku mwaliiro ogwatuli wansi gandisse abantu ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’Amerika. Gye byaggwera ng’omusajja asse abantu 32, era nga naye yesse. Oluvannyuma lw’amasasi ago okuvugira eddakiika nga 20, twawulira abapoliisi nga bali mu lukuubo. Twabakowoola ne batuyamba okudduka mu kizimbe.

Ekikangabwa kino kyanjigiriza nti ddala obulamu busobola okuggwawo essaawa yonna. (Yakobo 4:14) Nga kikulu nnyo okussa obwesige bwaffe mu oyo eyatuwa obulamu, Yakuwa Katonda, n’okukimanya nti buli lunaku lwe tumalako nga tuli balamu kiba kirabo kya muwendo okuva gy’ali!—Zabbuli 23:4; 91:2.

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

AP Photo/​The Roanoke Times, Alan Kim

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share