LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 5-7
  • Yesu Yayigiriza Nti Eriyo Omuliro Ogutazikira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Yayigiriza Nti Eriyo Omuliro Ogutazikira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Olowooza Otya?
  • Amagombe Kye Ki? Ddala Kifo Abantu Gye Babonyaabonyezebwa Emirembe Gyonna?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Baani Abagenda Emagombe?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ggeyeena kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Ekintu Bangi Kye Bakkiririzaamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 5-7

Yesu Yayigiriza Nti Eriyo Omuliro Ogutazikira?

Yesu yagamba nti: “Eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng’olina amaaso gombi; envunyu yaabwe gye tefiira, so n’omuliro teguzikira.”​—MAKKO 9:47, 48.

Olulala Yesu yayogera ku kiseera ky’okusala omusango we yandigambidde ababi nti: “Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.” Era yagamba nti ababi abo “baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo.”​—MATAYO 25:41, 46.

BW’OBA tobyetegerezza bulungi, ebigambo ebyo Yesu bye yayogera biyinza okulabika ng’ebiwagira enjigiriza nti eriyo omuliro ogutazikira. Kya lwatu nti Yesu yali tayinza kwogera bintu bikontana na Kigambo kya Katonda, ekigamba nti: “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Omubuulizi 9:5.

Kati olwo Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku muntu okusuulibwa mu “ggeyeena”? ‘Omuliro ogutaggwaawo’ Yesu gwe yayogerako gwali gwa ddala oba gwali gwa kabonero? Mu ngeri ki ababi gye ‘bagenda mu kibonerezo ekitaggwawo’? Ka twetegereze ebibuuzo bino kimu ku kimu.

Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku muntu okusuulibwa mu “Ggeyeena”? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “Ggeyeena” mu Makko 9:47 kiri Geʹen·na. Ekigambo kino kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya Geh Hin·nomʹ, ekitegeeza “Ekiwonvu kya Kinomu.” Ekiwonvu kya Kinomu kyali kisangibwa wabweru w’ekibuga Yerusaalemi eky’edda. Mu biseera bya bakabaka ba Isiraeri, ekiwonvu ekyo kyasaddaakirwangamu abaana​—ekintu ekyali eky’omuzizo mu maaso ga Katonda era kye yavumirira ennyo. Katonda yagamba nti yali wa kuzikiriza abo abeenyigira mu bikolwa ng’ebyo eby’okusinza okw’obulimba. Olwo Ekiwonvu kya Kinomu kyandiyitiddwa “kiwonvu kya ttambiro” kubanga “emirambo gy’abantu bano” gyandisigadde omwo nga tegiziikiddwa. (Yeremiya 7:30-34) Bw’atyo Yakuwa yalagula nti Ekiwonvu kya Kinomu kyandibadde kifo awasuulibwa emirambo, so si abantu abalamu gye babonyaabonyerezebwa.

Mu kiseera kya Yesu, abantu b’omu Yerusaalemi ebisasiro baabisuulanga mu Kiwonvu kya Kinomu. Omwo mwe baasuulanga n’emirambo gy’abantu abaabanga bazzizza emisango egy’amaanyi, era buli kiseera kyabangamu omuliro okusobola okwokya ebisasiro n’emirambo egyasuulibwangamu.

Yesu bwe yayogera ku nvunyu etefa n’omuliro ogutazikira, kirabika yali ajuliza bigambo ebiri mu Isaaya 66:24. Ng’ayogera ku ‘mirambo gy’abasajja abaayonoona’ eri Katonda, Isaaya agamba nti “envunyu yaabwe terifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa.” Yesu wamu n’abo abaali bamuwuliriza baali bakimanyi nti ebigambo bya Isaaya ebyo byali byogera ku ekyo ekyakolebwanga emirambo gy’abantu abatagwana kuziikibwa.

N’olwekyo, Yesu bwe yayogera ku Kiwonvu kya Kinomu, oba Ggeyeena, yakikozesa ng’akabonero ak’okufa nga tewali ssuubi lya kuzuukira. Yanogaanya ensonga eno bwe yagamba nti Katonda “ayinza okuzikiriza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.” (Matayo 10:28) Ggeyeena kabonero ka kufa okw’emirembe n’emirembe, so si kifo abantu gye babonaabonera emirembe n’emirembe.

‘Omuliro ogutaggwaawo’ Yesu gwe yayogerako gwali gwa ddala oba gwali gwa kabonero? Weetegereze nti ‘omuliro ogutaggwaawo’ Yesu gwe yayogerako mu Matayo 25:41 gwategekerwa “Setaani ne bamalayika be.” Olowooza omuliro gusobola okwokya ebitonde eby’omwoyo? Kyandiba nti ekigambo ‘omuliro’ Yesu yakikozesa mu ngeri ya kabonero? Tewali kubuusabuusa nti ‘endiga n’embuzi’ bye yayogerako mu ssuula eyo byali bya kabonero, so si bya ddala; byali bikiikirira abantu abalungi n’ababi. (Matayo 25:32, 33) Bwe kityo n’omuliro ogutazikira Yesu gwe yayogerako gwokya ababi mu ngeri ya kabonero.

Mu ngeri ki ababi gye ‘bagenda mu kibonerezo ekitaggwaawo’? Wadde ng’enkyusa za Baibuli ezisinga obungi zikozesa ekigambo ‘ekibonerezo’ mu Matayo 25:46, ekigambo ky’Oluyonaani koʹla·sin ekyakozesebwa wano kitegeeza “okuziyiza omuti okukula,” oba okugusalira nga gutemebwako amatabi agateetaagisa. N’olwekyo, abo abalinga endiga bwe banaaba baweebwa obulamu obutaggwawo, abo abalinga embuzi bajja ku kuweebwa ‘ekibonerezo ekitaggwaawo,’ mu ngeri nti bajja kuggyibwako obulamu emirembe gyonna.

Olowooza Otya?

Yesu tayigirizangako nti abantu balina omwoyo ogutafa. Naye, emirundi mingi yayigiriza ku kuzuukira kw’abafu. (Lukka 14:13, 14; Yokaana 5:25-29; 11:25) Lwaki Yesu yandigambye nti abafu bajja kuzuukira ng’ate akimanyi nti emyoyo gyabwe tegifa?

Yesu tayigirizangako nti Katonda ajja kubonyaabonya ababi emirembe n’emirembe. Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula [okuzikirira, NW], naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Lwaki Yesu yagamba nti abo abatamukkiririzaamu bandizikiridde? Bwe kiba nti ababi baali ba kubeerawo babonyaabonyezebwe emirembe gyonna mu muliro ogutazikira, teyandikyogedde butereevu?

Enjigiriza nti eriyo omuliro ogutazikira teyeesigamiziddwa ku Baibuli. Yatandikira mu bakaafiiri n’oluvannyuma n’eyingizibwa mu Bukristaayo. (Laba akasanduuko “Ensibuko y’Enjigiriza y’Omuliro Ogutazikira,” ku lupapula 6.) Katonda tabonyaabonya bantu mu muliro ogutazikira. Naye okukimanya nti omuliro ogutazikira teguliiyo kikwata kitya ku ngeri gy’otwalamu Katonda?

[Akasanduuko akali ku lupapula 6]

ENSIBUKO Y’ENJIGIRIZA Y’OMULIRO OGUTAZIKIRA

YATANDIKIRA MU BAKAAFIIRI: Abamisiri ab’edda baali bakkiriza nti eriyo omuliro ogutazikira. Ekitabo ekiyitibwa Ȧm-Ṭuat, ekyakubibwa mu 1375 B.C.E., kyogera ku bantu “abajja okusuulibwa mu binnya omuli omuliro; nga . . . tebasobola kubivaamu, era . . . nga tebasobola kudduka muliro ogwo.” Omufirosoofo Omuyonaani ayitibwa Plutarch (awo nga mu 46-120 E.E.) yayogera bw’ati ku abo abali mu nsi y’eyo wansi: “Baakuba ebiwoobe olw’okubonyaabonyezebwa okw’entiisa.”

ESENSERA ENZIKIRIZA Y’EKIYUDAAYA: Munnabyafaayo Josephus (37-awo nga mu100 E.E.) yagamba nti Abassene, nga kino kyali kiwayi kya nzikiriza ya Kiyudaaya, baali bakkiriza nti “emyoyo gibeerawo emirembe gyonna, tegifa.” Yagattako nti: “[Enjigiriza eno] efaananako ey’Abayonaani . . . Bagamba nti eriyo ekifo eky’enzikiza era eky’entiisa ennyo omusuulibwa emyoyo emibi ne gibonyaabonyezebwa emirembe gyonna.”

EYINGIRA MU BUKRISTAAYO: Mu kyasa ekyokubiri E.E., ekitabo ekiyitibwa Apocalypse of Peter kyagamba bwe kiti ku babi: “Waliwo omuliro ogutazikira ogwabategekerwa.” Era kyagamba nti: “Eziraeli malayika w’obusungu atwala abasajja n’abakazi nga baaka omuliro, n’abasuula mu kifo ekikutte enzikiza . . . era malayika ow’obusungu ababonereza.” Mu kiseera ekyo kye kimu, omuwandiisi ayitibwa Theophilus ow’e Antiyokiya yajuliza ebigambo ebyayogerwa nnabbi Sibyl, omukazi eyali Omuyonaani, eyalagula bw’ati ku kubonerezebwa kw’ababi: “Omuliro gujja kubookya, era mujja kwokebwanga buli lunaku.” Bino bye bimu ku bigambo Theophilus by’agamba nti “bya mazima, bya mugaso, bya bwenkanya, era biganyula abantu bonna.”

YAYOKYA ABANTU NGA YEEKWASA OMULIRO OGUTAZIKIRA: Mary I, eyali kwini wa Bungereza (1553-1558), yawanika Abapolotesitante nga 300 ku miti n’abookya, kigambibwa nti yagamba: “Oba nga Katonda ayokya aboonoonyi mu muliro ogutazikira, siraba lwaki nange sibookya nga bakyali wano ku nsi.”

ENNYINNYONNYOLA ERIWO KATI: Emabegako, amadiini agamu gaakyusa enjigiriza yaago ku muliro ogutazikira. Ng’ekyokulabirako, mu 1995 akakiiko akayitibwa Doctrine Commission of the Church of England kaagamba nti: “Okuba mu muliro ogutazikira tekitegeeza kubonaabona mirembe gyonna, wabula kitegeeza omuntu okusalawo okukola ebintu ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala awatali kwekuba mu kifuba, ne kimuviiramu okufiirwa obulamu.”

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

‘ENNYANJA EY’OMULIRO’ KYE KI?

Okubikkulirwa 20:10 wagamba nti Omulyolyomi ajja kusuulibwa mu ‘nnyanja ey’omuliro’ era nti ajja ‘kubonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.’ Singa Omulyolyomi yali wa kubonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe, Katonda yandibadde alina okumuleka nga mulamu. Naye Baibuli egamba nti Yesu ajja ‘kumuzikiriza.’ (Abaebbulaniya 2:14) Ennyanja y’omuliro eyo ey’akabonero ekiikirira ‘kufa okw’okubiri.’ (Okubikkulirwa 21:8) Kuno si kwe kufa Baibuli kw’esooka okwogerwako​—okufa olw’ekibi kya Adamu​—okufa ng’omuntu asobola okuzuukira. (1 Abakkolinso 15:21, 22) Olw’okuba Baibuli tegamba nti ‘ennyanja ey’omuliro’ ejja kuleeta abafu abagirimu, ‘okufa okw’okubiri’ kuteekwa okuba nga kufa kwa ngeri ndala, okutaliiko kuzuukira.

Mu ngeri ki abo abagenda mu “nnyanja eyaka n’omuliro” gye babonyaabonyezebwa emirembe gyonna? Oluusi, “okubonyaabonya” kitegeeza “kusiba” muntu. Lumu badayimooni baagamba Yesu nti: “Ozze wano kutubonyaabonya [kutusibira mu bunnya] ng’entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?” (Matayo 8:29; Lukka 8:30, 31) N’olwekyo, abo bonna abali mu “nnyanja” eyo bajja “kubonyaabonyezebwa” nga basibibwa emirembe gyonna, oba nga bafa ‘okufa okw’okubiri.’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share