Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Lwaki kikulu nnyo okukuuma obugolokofu bwaffe?
Bwe tukuuma obugolokofu tuba tulaga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa era nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba. Ku bugolokofu bwaffe Katonda kwasinziira okutulamula, n’olwekyo twetaagisa okubukuuma tusobole okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.—12/15, olupapula 4-6.
• Ebimu ku bitiibwa ebiraga ekifo Yesu ky’alina mu kigendererwa kya Katonda bye biruwa?
Omwana eyazaalibwa omu yekka. Kigambo. Amiina. Omutabaganya w’endagaano empya. Kabona asinga obukulu. Ezzadde eryasuubizibwa.—12/15, olupapula 15.
• Lwaki kyali kyetaagisa omuweereza wa Eriya okulengera awali ennyanja ng’eno nnabbi bw’asaba enkuba? (1 Bassek. 18:43-45)
Eriya yalaga nti yali amanyi bulungi emitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba. Ebire ebikwata waggulu w’ennyanja byandivuddemu enkuba n’etonnya ku nsi.—4/1, olupapula 22-25.
• Tuyinza tutya okwogera ku ssanyu lye tufuna mu buweereza bwaffe?
Nga tuteekateeka omutima gwaffe, ku ngeri gye tuyinza okuyambamu abalala. Bwe tuba tubuulira, tube n’ekiruubirirwa eky’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli. Bwe tusanga abantu abateefiirayo, tusobola okukyusakyusa mu nnyanjula zaffe zisobole okusikiriza abantu b’omu kitundu kyaffe.—1/15, olupapula 8-10.
• Ebigenge ebyogerwako mu Baibuli bye bimu n’ebyo eby’omu kiseera kino?
Akawuka akaleeta ebigenge kaaliwo mu biseera bya Baibuli. (Leev. 13:4, 5) Baibuli era eyogera ku bigenge ebibeera mu ngoye ne mu mayumba. “Ebigenge” ebyo biyinza okuba nga yali ngeri ya bukuku. (Leev. 13:47-52)—2/1-E, olupapula 19.
• Enjigiriza z’omu Baibuli ziyinza zitya okuyamba Omukristaayo bwe kituuka ku bulombolombo obukolebwa ng’omuntu afudde?
Wadde ng’Omukristaayo ayinza okukungubagira omwagalwa we, aba akimanyi bulungi nti omwagalwa we oyo talina ky’amanyi. Abo abatali bakkiriza bayinza okumuvumirira, naye ye yeewala obulombolombo obulina akakwate n’endowooza nti abafu balina kye basobola okukola abalamu. Okusobola okwewala ebizibu, Abakristaayo abamu bateeka mu buwandiike ebyo bye baagala bikolebwe nga baziikibwa.—2/15, olupapula 29-31.
• Okusinziira ku Zabbuli 1:1, bintu ki ebisatu bye tulina okwewala bwe tuba twagala okuba abasanyufu?
Olunyiriri olwo lwogera ku “kuteesa kw’ababi,” ku “kkubo ly’abo abalina ebibi,” ne ku “ntebe y’abanyooma.” Yee, okusobola okuba abasanyufu, tulina okwewala abo abanyooma oba abatagoberera mateeka ga Katonda. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okusanyukira amateeka ga Yakuwa.—3/1-E, olupapula 17.
• ‘Ekitabo kya Yasali’ ‘n’Ekitabo eky’Entalo za Mukama,’ byandiba nga byali bitabo bya mu Baibuli naye ne bibula? (Yos. 10:13; Kubal. 21:14)
Nedda. Kirabika byali biwandiiko ebitaaluŋŋamizibwa ebyaliwo mu biseera bya Baibuli naye ng’abawandiisi ba Baibuli baabijulizangamu.—3/15, olupapula 32.
• Nkyukakyuka ki ey’amaanyi eyakolebwa mu nkyusa ya Baibuli mu Lulatini?
Mu 1979, Ppaapa Yowaana Pawulo II yatongoza Nova Vulgata, enkyusa empya mu Lulatini. Mu kyusa ya Baibuli eyo ey’olukuba olwasooka, mu bitundu ebimu mwalimu erinnya lya Katonda, Iahveh. (Kuv. 3:15; 6:3) Kyokka, mu lukuba olw’okubiri mu 1986, ekitiibwa Dominus [Mukama] kyateekebwa mu kifo ky’erinnya lya Katonda Iahveh.—4/1-E, olupapula 22.